Lukka
15 Awo abasolooza omusolo n’aboonoonyi bonna ne bajja gy’ali okumuwuliriza.+ 2 Abafalisaayo n’abawandiisi ne beemulugunya nga bagamba nti: “Omusajja ono asembeza aboonoonyi era alya nabo.” 3 Awo n’abawa ekyokulabirako kino ng’agamba nti: 4 “Ani ku mmwe bw’aba n’endiga 100, emu n’ebula, ataleka 99 ku ttale n’agenda okunoonya eyo eba ebuze, okutuusa lw’agizuula?+ 5 Bw’agizuula, agiteeka ku bibegaabega bye n’asanyuka. 6 Bw’atuuka eka, ayita mikwano gye ne baliraanwa be n’abagamba nti, ‘Munsanyukireko, kubanga nzudde endiga yange eyali ebuze.’+ 7 Mbagamba nti, ne mu ggulu ebaayo essanyu lingi olw’omwonoonyi omu eyeenenya+ okusinga olw’abatuukirivu 99 abateetaaga kwenenya.
8 “Oba, mukazi ki aba ne ssente eza ffeeza* kkumi n’abuzaako emu, atakoleeza ttaala era n’ayera ennyumba ye, n’anoonya n’obwegendereza okutuusa lw’agizuula? 9 Bw’agizuula, ayita mikwano gye* ne baliraanwa be n’abagamba nti, ‘Munsanyukireko, kubanga nzudde ssente yange eya ffeeza* eyali embuzeeko.’ 10 Mbagamba nti ne bamalayika ba Katonda basanyuka nnyo olw’omwonoonyi omu eyeenenya.”+
11 Awo n’agamba nti: “Waliwo omusajja eyalina abaana babiri. 12 Omuto n’agamba kitaawe nti, ‘Taata, mpa omugabo gwe nnina okufuna ku bintu byo.’ Awo ebintu bye n’abibagabanyizaamu. 13 Nga wayiseewo ennaku ntono, omulenzi omuto yakuŋŋaanya ebintu bye byonna n’agenda mu nsi ey’ewala, era ebintu bye n’abyonoonera eyo nga yeenyigira mu mpisa embi. 14 Bwe yamalawo ebintu bye byonna, enjala ey’amaanyi n’egwa mu nsi eyo, era n’aba ng’ali mu bwetaavu. 15 Yatuuka n’okwesiba ku omu ku batuuze b’omu nsi eyo, era omutuuze oyo n’amusindika ku ttale okulunda embizzi.+ 16 Yeegombanga okulya emmere embizzi gye zaalyanga naye nga tewali amuwa kintu kyonna.
17 “Bwe yeerowooza n’agamba nti, ‘Bapakasi bameka kitange b’alina abafuna emmere mu bungi, nga nze ndi wano nfa njala! 18 Nja kugenda ewa kitange mmugambe nti: “Taata, nnayonoona eri Katonda* ne mu maaso go. 19 Sikyasaana kuyitibwa mwana wo. Nfuula ng’omu ku bapakasi bo.”’ 20 Awo n’ayimuka n’agenda ewa kitaawe. Bwe yali akyali wala, kitaawe n’amulengera n’amukwatirwa ekisa, n’adduka n’amugwa mu kifuba n’amunywegera. 21 Awo omwana n’amugamba nti, ‘Taata, nnayonoona eri Katonda* ne mu maaso go.+ Sikyasaana kuyitibwa mwana wo.’ 22 Naye kitaawe n’agamba abaddu be nti, ‘Mwanguwe! muleete olugoye olusingayo obulungi mulumwambaze, mumunaanike empeta, era mumwambaze n’engatto. 23 Muleete ennyana eya ssava, mugitte, era tulye tusanyuke, 24 kubanga omwana wange ono yali afudde naye kati azuukidde;+ yali azaaye naye kati azaawuse.’ Awo ne batandika okusanyuka.
25 “Mutabani we omukulu yali mu nnimiro, era bwe yali akomawo n’atuuka okumpi n’ennyumba, n’awulira abayimba n’abazina. 26 Awo n’ayita omu ku baweereza n’amubuuza ekyali kigenda mu maaso. 27 N’amugamba nti, ‘Muganda wo azze, era kitaawo amuttidde ennyana eya ssava, kubanga akomyewo nga mulamu bulungi.’* 28 Naye n’anyiiga era n’agaana okuyingira. Awo kitaawe n’afuluma n’amwegayirira. 29 N’addamu kitaawe nti, ‘Laba! Nkuweerezza emyaka mingi era tewali mulundi na gumu lwe nnali njeemedde ebiragiro byo, naye nze tompangayo wadde akabuzi okusanyukirako awamu ne mikwano gyange. 30 Naye mutabani wo ono eyamalira eby’obugagga byo mu bamalaaya bw’atuuse n’omuttira ennyana eya ssava.’ 31 Awo n’amuddamu nti, ‘Mwana wange, bulijjo obaddenga nange era ebintu byange byonna bibyo. 32 Naye tubadde tulina okujaguza n’okusanyuka kubanga muganda wo yali afudde naye azuukidde; yali azaaye naye azaawuse.’”