Ssaddaaka Ezaasanyusa Katonda
“Buli kabona asinga obukulu alondebwa olw’omulimu ogw’okuwangayo ebirabo era ne ssaddaaka.”—ABAEBBULANIYA 8:3.
1. Lwaki abantu bawulira nti beetaaga okudda eri Katonda?
“OKUWAAYO ssaddaaka kirabika kya mu ‘butonde’ eri omuntu ng’okusaba; okuwaayo ssaddaaka kyoleka engeri omuntu gy’alowoozaamu ku bimukwatako ye kennyini ate kwo okusaba engeri omuntu gy’alowoozaamu ku Katonda,” bw’atyo bw’awandiika, Alfred Edersheim, omukugu mu byafaayo bya Baibuli. Okuva ekibi bwe kyayingira mu nsi, kyaleeta obulumi, okwawulibwawo okuva ku Katonda, n’obutaba na ssuubi. Kyetaagisa okununulibwa okuva mu mbeera ng’eyo. Kyangu okutegeera nti abantu bwe babeera mu mbeera ng’eyo embi, bawulira obwetaavu bw’okudda eri Katonda bafune obuyambi.—Abaruumi 5:12.
2. Okuwaayo ebiweebwayo eri Katonda okwasooka okwogerwako mu Baibuli kwe kuluwa?
2 Okuwaayo ebiweebwayo eri Katonda okusooka okwogerwako mu Baibuli kukwata ku Kayini ne Abbeeri. Tusoma tuti: “Ennaku bwe zaayitawo Kayini n’alyoka aleeta ebibala by’ettaka okubiwaayo eri Katonda. Abbeeri naye n’aleeta ku baana b’endiga ze ababereberye n’amasavu gaazo.” (Olubereberye 4:3, 4) Oluvannyuma, tulaba nti Nuuwa, Katonda gwe yawonyawo ku Mataba agaazikiriza abantu ababi abaaliwo mu kiseera kye, ‘yawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto’ eri Yakuwa. (Olubereberye 8:20) Emirundi mingi, Ibulayimu, omuweereza wa Katonda omwesigwa era ow’omukwano, ng’asikirizibwa ebisuubizo bya Katonda n’emikisa gye, ‘yazimba ekyoto era n’akoowoola erinnya lya Yakuwa.’ (Olubereberye 12:8; 13:3, 4, 18, NW) Oluvannyuma, Ibulayimu yayolekagana n’okugezesebwa eri okukkiriza kwe okusingirayo ddala, Yakuwa bwe yamugamba okuwaayo omwana we Isaaka ng’ekiweebwayo ekyokebwa. (Olubereberye 22:1-14) Kyokka, wadde ebyaliwo bino bittottolwa mu bigambo bitono, bitangaaza nnyo ku kuwaayo ssaddaaka nga bwe tujja okulaba.
3. Ssaddaaka zirina kifo ki mu kusinza?
3 Okusinziira ku bino n’ebirala ebiri mu Baibuli, kitegeerekeka bulungi nti okuwaayo ssaddaaka kyali kitundu kikulu eky’okusinza nga Yakuwa tannaba na kuwa mateeka agakwata ku nsonga eyo. Nga kikwatagana n’ekyo, ekitabo ekimu kinnyonnyola “ssaddaaka” nga “omukolo gw’eddiini omuweerwayo ekintu eri katonda okusobola okuteekawo, okukuuma, n’okuzzaawo enkolagana ennungi wakati w’omuntu n’ekyo ky’atwala ng’ekitukuvu.” Naye kino kireetawo ebibuuzo ebikulu bye tusaanidde okwekkaanya, gamba nga: Lwaki ssaddaaka zeetaagisa mu kusinza? Ssaddaaka za ngeri ki ezisiimibwa Katonda? Era ssaddaaka ez’edda zirina makulu ki gye tuli leero?
Lwaki Ssaddaaka Zeetaagibwa?
4. Kiki ekyavaamu Adamu ne Kaawa bwe baayonoona?
4 Adamu bwe yayonoona, yakikola mu bugenderevu. Adamu okulya ku kibala eky’omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi kyali kikolwa eky’obujeemu ekyakolebwa mu bugenderevu. Ekibonerezo olw’ekikolwa ekyo eky’obujeemu kyali kufa, nga Katonda bwe yali ayogedde: “Olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.” (Olubereberye 2:17) Mu nkomerero Adamu ne Kaawa baakungula empeera y’ekibi—baafa.—Olubereberye 3:19; 5:3-5.
5. Lwaki Yakuwa alina kye yakolawo ku lw’ezzadde lya Adamu, era Katonda yabakolera ki?
5 Naye kiri kitya ku zzadde lya Adamu? Oluvannyuma lw’okusikira ekibi n’obutali butuukirivu okuva ku Adamu, nabo baayawulibwawo okuva ku Katonda, tebalina ssuubi, era bafa ng’abantu ababiri abaasooka. (Abaruumi 5:14) Kyokka, Yakuwa si Katonda wa bwenkanya n’amaanyi kyokka, naye era—okusingira ddala—wa kwagala. (1 Yokaana 4:8, 16) N’olwekyo, abaako ky’akola okugonjoola ekizibu. Oluvannyuma lw’okugamba nti “empeera y’ekibi kwe kufa,” Baibuli yeeyongera n’egamba, “naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe.”—Abaruumi 6:23.
6. Yakuwa alina kigendererwa ki ku bikwata ku kabi akaaleetebwa ekibi kya Adamu?
6 Yakuwa Katonda kye yakola ffe okusobola okuganyulwa mu kirabo ekyo kwe kuteekawo enteekateeka eyandisobozesezza okusasulira okufiirwa okwava mu kwonoona kwa Adamu. Mu Lwebbulaniya, ekigambo, ka·pharʹ oboolyawo okusooka kyali kitegeeza “okubikka” oba “okusangulawo,” era kivvuunulwa nga “okutangirira.”a Mu ngeri endala, Yakuwa yakola enteekateeka esaanira okubikka ku kibi ekyasikirwa okuva ku Adamu era n’okusangulawo akabi akaavaamu ne kiba nti abo abasaanira okuganyulwa mu kirabo ekyo bandinunuddwa mu kibi n’okufa.—Abaruumi 8:21.
7. (a) Ssuubi ki eryateekebwawo okuyitira mu musango Katonda gwe yasalira Setaani? (b) Muwendo ki ogulina okusasulibwa abantu okusobola okununulibwa mu kibi n’okufa?
7 Essuubi ly’okusumululwa mu buddu bw’ekibi n’okufa lyasongebwako mangu ddala oluvannyuma lw’abantu ababiri okwonoona. Ng’asalira omusango Setaani, eyali akiikirirwa omusota, Yakuwa yagamba: “Obulabe n’abuteekanga wakati wo n’omukazi, era ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi: (ezzadde ly’omukazi) lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro.” (Olubereberye 3:15) Okusinziira ku bigambo ebyo eby’obunnabbi, waalabikawo essuubi eri bonna abandikkiririza mu kisuubizo ekyo. Kyokka, waliwo omuwendo ogwalina okusasulibwa okusobola okununulibwa. Ezzadde eryasuubizibwa teryandizze buzzi ne lizikiriza Setaani kyokka; Ezzadde lyali liteekwa okubetentebwa ekisinziiro, kwe kugamba, nga liteekwa okufa, kyokka okumala ekiseera kitono.
8. (a) Mu ngeri ki Kayini gy’atavaamu kalungi konna? (b) Lwaki ssaddaaka ya Abbeeri yasiimibwa Katonda?
8 Tewali kubuusabuusa nti Adamu ne Kaawa baalowooza nnyo ku ani eyandibadde Ezzadde eryasuubizibwa. Kaawa bwe yazaala omwana we eyasooka, Kayini, yagamba: “Mpeereddwa omusajja [okuva] eri Mukama.” (Olubereberye 4:1) Yali alowooza nti mutabani we ye yandibadde Ezzadde? Oba yalowooza bw’atyo oba nedda, Kayini, awamu ne bye yawaayo, tebyavaamu kalungi konna. Ku luuyi olulala, muganda we Abbeeri yayoleka okukkiriza mu kisuubizo kya Katonda era n’awaayo ebibereberye eby’ekisibo kye nga ssaddaaka eri Yakuwa. Tusoma nti: “Olw’okukkiriza Abbeeri yawa Katonda ssaddaaka esinga obulungi okukira eya Kayini, eyamutegeezesa okuba n’obutuukirivu.”—Abaebbulaniya 11:4.
9. (a) Abbeeri yakkiririza mu ki, era yakyoleka atya? (b) Ekiweebwayo kya Abbeeri kyatuukiriza ki?
9 Abbeeri teyakkiriza bukkiriza nti Katonda gy’ali, okukkiriza Kayini kw’ateekwa okuba nga yalina. Abbeeri yakkiririza mu kisuubizo kya Katonda eky’Ezzadde eryandireese obulokozi eri abantu abeesigwa. Teyabikkulirwa engeri kino gye kyandituukiriziddwamu, naye ekisuubizo kya Katonda kyaleetera Abbeeri okumanya nti omuntu omu yandibetenteddwa ekisinziiro. Yee, kirabika yakitegeera nti omusaayi gw’alina okuyiibwa—amakulu gennyini agali mu kuwaayo ssaddaaka. Abbeeri yawaayo ekirabo ekyali kizingiramu obulamu n’omusaayi eri Ensibuko y’obulamu, oboolyawo okulaga okwesunga kwe yalina eri okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Yakuwa. Ekikolwa kino eky’okukkiriza kye kyaleetera ssaddaaka ya Abbeeri okusiimibwa Yakuwa, era mu ngeri emu, kyayoleka amakulu gennyini ag’okuwaayo ssaddaaka—engeri abantu aboonoonyi gye bayinza okutuukiriramu Katonda okufuna okusiimibwa kwe.—Olubereberye 4:4; Abaebbulaniya 11:1, 6.
10. Amakulu ga ssaddaaka gaalagibwa gatya obulungi Yakuwa bwe yasaba Ibulayimu okuwaayo Isaaka?
10 Amakulu agali mu kuwaayo ssaddaaka gaalagibwa bulungi Yakuwa bwe yalagira Ibulayimu okuwaayo omwana we Isaaka ng’ekiweebwayo ekyokebwa. Wadde ssaddaaka eyo teyaweebwayo, kyayoleka ekyo Yakuwa kennyini kye yandikoze mu nkomerero—okuwaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka nga ssaddaaka esingirayo ddala eyali eweereddwayo okusobola okutuukiriza ky’ayagala eri olulyo lw’omuntu. (Yokaana 3:16) Okuyitira mu ssaddaaka n’ebiweebwayo eby’omu Mateeka ga Musa, Yakuwa yassaawo ebyokulabirako eby’obunnabbi okuyigiriza abantu be abalonde kye bateekwa okukola okusonyiyibwa ebibi byabwe era n’okunyweza essuubi lyabwe mu bulokozi. Kiki kye tuyinza okuyiga okuva ku bino?
Ssaddaaka Ezisiimibwa Yakuwa
11. Biti ki ebibiri eby’ebiweebwayo ebyaweebwangayo kabona omukulu owa Isiraeri, era lwa kigendererwa ki?
11 “Buli kabona asinga obukulu alondebwa olw’omulimu ogw’okuwangayo ebirabo ne ssaddaaka,” bwatyo omutume Pawulo bw’agamba. (Abaebbulaniya 8:3) Weetegereze nti Pawulo ateeka ebyaweebwangayo kabona omukulu mu Isiraeri ey’edda mu biti bibiri, kwe kugamba, “ebirabo,” ne “ssaddaaka,” oba “ssaddaaka olw’ebibi.” (Abaebbulaniya 5:1) Abantu okutwalira awamu bagaba ebirabo okwoleka okwagala, okusiima, awamu n’okukola omukwano, okusiimibwa oba okukkirizibwa. (Olubereberye 32:20; Engero 18:16) Mu ngeri y’emu, bingi ku biweebwayo ebyalagirwa mu Mateeka biyinza okutwalibwa nga “ebirabo” eri Katonda okusobola okukkirizibwa n’okusiimibwa.b Okumenya Amateeka kyali kyetaagisa okutereeza ekisobye, era n’olwensonga eyo, “ssaddaaka olw’ebibi” zaaweebwangayo. Ebitabo Ebitaano Ebisooka mu Baibuli, naddala Okuva, Eby’Abaleevi, n’Okubala byayogera bingi ku bikwata ku ssaddaaka n’ebiweebwayo eby’enjawulo. Wadde nga kiyinza okuba okusoomooza okw’amaanyi okutegeera n’okujjukira kalonda yenna, ensonga enkulu ezikwata ku ssaddaaka ez’enjawulo zeetaaga okwekenneenyezebwa.
12. Wa mu Baibuli we tuyinza okusanga ebikwata ku ssaddaaka oba ebiweebwayo, mu Mateeka?
12 Tuyinza okwetegereza nti mu Eby’Abaleevi essuula 1 okutuuka ku 7, ebiweebwayo ebikulu bya mirundi etaano—ekiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo eky’obutta, ekiweebwayo olw’emirembe, ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekiweebwayo olw’omusango—byogerwako kinnakimu, wadde ng’ebimu byaweebwangayo wamu. Era twetegereza nti ebiweebwayo bino byogerwako emirundi ebiri mu ssuula zino, n’ebigendererwa eby’enjawulo: omulundi gumu mu Eby’Abaleevi 1:2 okutuuka ku 6:7, nga ziwa kalonda yenna akwata ku by’okuwaayo ku kyoto, era n’omulundi ogw’okubiri, mu Eby’Abaleevi 6:8 okutuuka 7:36, nga ziraga ebitundu ebyaterekerwa bakabona era n’ebyo ebyaterekerwa oyo eyawangayo. Mu Okubala essuula 28 ne 29, tusangamu ekiyinza okutwalibwa nga enteekateeka ewa kalonda yenna, eraga ebyali eby’okuweebwangayo buli lunaku, buli wiiki, buli mwezi, era ne ku mbaga eza buli mwaka.
13. Nnyonnyola ebiweebwayo ebyaweebwangayo kyeyagalire ng’ebirabo eri Katonda.
13 Mu ebyo ebyaweebwangayo kyeyagalire ng’ebirabo oba okusobola okutuukirira Katonda okufuna okusiimibwa kwe mwe mwali ekiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo eky’obutta, n’ebiweebwayo olw’emirembe. Abeekenneenya abamu bagamba nti ekigambo ky’Olwebbulaniya ekikyusibwa “ekiweebwayo ekyokebwa” kitegeeza “ekiweebwayo ekyambuka.” Kino kituukirawo bulungi kubanga mu kiweebwayo ekyokebwa, ensolo ebaagiddwa yayokebwa ku kyoto era evvumbe ne lyambuka waggulu eri Katonda. Ekintu eky’enjawulo ku kiweebwayo ekyokebwa kyali nti oluvannyuma lw’okumansira omusaayi gwayo ku kyoto, ensolo yonna mu bulambirira yaweebwayo eri Katonda. Kabona yayokyanga “byonna ku kyoto okuba ekiweebwayo ekikolebwa n’omuliro, eky’evvumbe eddungi eri Mukama.”—Eby’Abaleevi 1:3, 4, 9; Olubereberye 8:21.
14. Ekiweebwayo eky’obutta kyaweebwangayo kitya?
14 Ekiweebwayo eky’obutta kyogerwako mu Eby’Abaleevi essuula 2. Kyali kiweebwayo ekya kyeyagalire ekyalimu obutta, nga buteekeddwamu amafuta, awamu n’omugavu. “[Kabona] annaakiggyangamu olubatu lwe olw’obutta obulungi bwakyo n’olw’amafuta gaakyo, awamu n’omugavu gwakyo gwonna; awo kabona an[n]aabyokyanga okuba ekijjukizo kyakyo ku kyoto, ekiweebwayo ekikolebwa n’omuliro, eky’evvumbe eddungi eri Mukama.” (Eby’Abaleevi 2:2) Omugavu gwali ebimu ku byali mu bubaane obutukuvu obwayokebwanga ku kyoto eky’obubaane mu weema ne mu yeekaalu. (Okuva 30:34-36) Kirabika Kabaka Dawudi yalina kino mu birowoozo bye bwe yagamba: “Okusaba kwange kuteekebwe mu maaso go ng’omugavu; okugololwa kw’emikono gyange kube nga ssaddaaka [“ekiweebwayo eky’obutta,” NW] ey’akawungeezi.”—Zabbuli 141:2.
15. Ekiweebwayo olw’emirembe kyalina kigendererwa ki?
15 Ekiweebwayo ekirala ekya kyeyagalire kyali ssaddaaka olw’emirembe, eyogerwako mu Eby’Abaleevi essuula 3. Erinnya eryo era liyinza okuvvuunulwa nga “ssaddaaka ey’okuwaayo olw’emirembe.” Mu Lwebbulaniya, ekigambo “emirembe” kitegeeza ekisingawo ku butabaawo ntalo oba okutawaanyizibwa. “Mu Baibuli, kitegeeza ekyo, era n’enkolagana ey’emirembe ne Katonda, okukulaakulana, n’essanyu,” bwe kityo ekitabo Studies in the Mosaic Institutions bwe kigamba. Bwe kityo, ssaddaaka olw’emirembe zaaweebwangayo, si kufuna mirembe ne Katonda, ng’olinga amuwooyawooya, naye okulaga okusiima oba okujaguza olw’enkolagana ey’emirembe ne Katonda abo baasiima gye balina. Kabona n’oyo eyawaayo ssaddaaka balyanga ku ssaddaaka oluvannyuma lw’omusaayi n’amasavu okuweebwayo eri Yakuwa. (Eby’Abaleevi 3:17; 7:16-21; 19:5-8) Mu ngeri ennungi era ey’akabonero, eyawangayo ssaddaaka, kabona, ne Yakuwa Katonda baali baliira wamu ekijjulo, nga kiraga enkolagana ey’emirembe gye baalina.
16. (a) Ekiweebwayo olw’ekibi n’ekiweebwayo olw’omusango byalina kigendererwa ki? (b) Ebyo byayawukana bitya ku kiweebwayo ekyokebwa?
16 Ssaddaaka ezaaweebwangayo okusonyiyibwa ebibi oba okutangirirwa olw’okumenya Amateeka zaabangamu ekiweebwayo olw’ekibi n’ekiweebwayo olw’omusango. Wadde ssaddaaka zino nazo zaabangamu okwokya ku kyoto, zaali za njawulo ku kiweebwayo ekyokebwa mu ngeri nti ensolo yonna teyaweebwangayo eri Katonda, wabula amasavu gaayo n’ebitundu byayo ebimu. Ennyama y’ensolo eyasigalangawo yasuulibwanga ebweru w’enkambi oba mu mbeera ezimu yaliibwanga bakabona. Enjawulo eno ya makulu. Ekiweebwayo ekyokebwa kyaweebwangayo ng’ekirabo eri Katonda okusobola okumutuukirira, n’olwekyo kyaweebwangayo eri Katonda yekka era mu bulambirira. Ekiweebwayo ekyokebwa kyateranga kuweebwayo luvannyuma lwa kuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi oba ekiweebwayo olw’omusango, nga kiraga nti ekiweebwayo ky’omwonoonyi okusobola okukkirizibwa Katonda, kyali kyetaagisa okusooka okusonyiyibwa ebibi.—Eby’Abaleevi 8:14, 18; 9:2, 3; 16:3, 5.
17, 18. Ekiweebwayo olw’ekibi kyaweebwayo lwa nsonga ki, era ekiweebwayo olw’omusango kyalina kigendererwa ki?
17 Ekiweebwayo olw’ekibi kyaweebwangayo lwa bibi byokka ebyakolebwanga mu butali bugenderevu eri Amateeka, ebibi ebikoleddwa olw’obunafu bw’omubiri. “Omuntu yenna bw’anaayonoonanga nga tamanyiridde, mu kigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga,” awo omwonoonyi yalinanga okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi okusinziira ku nnyimirira ye mu kitundu. (Eby’Abaleevi 4:2, 3, 22, 27) Ku luuyi olulala, aboonoonyi abateenenya baali baakuzikirizibwa; nga tewali ssaddaaka eweebwayo ku lwabwe.—Okuva 21:12-15; Eby’Abaleevi 17:10; 20:2, 6, 10; Okubala 15:30; Abaebbulaniya 2:2.
18 Amakulu n’ekigendererwa eky’ekiweebwayo olw’omusango biragibwa bulungi mu Eby’Abaleevi essuula 5 ne 6. Omuntu ayinza okuba yayonoona mu butali bugenderevu. Wadde kiri kityo, ekibi kye kiyinza okuba kyakosa muntu munne oba Yakuwa Katonda era nga ekyasoba kyetaaga okutereezebwa. Ebibi eby’ebika eby’enjawulo byogerwako. Ebimu byali bya kyama (5:2-6), ebimu byali bibi eri ‘ebintu bya Yakuwa ebitukuvu’ (5:14-16), ate ebimu, wadde nga tebikoleddwa mu bugenderevu, byasibuka ku kwegomba okubi oba obunafu bw’omubiri (6:1-3). Ng’oggyeko okwenenya ebibi ng’ebyo, eyakolanga ekibi kyali kimwetaagisa okuwa engassi nga kyetaagisa ate n’okuwaayo eri Yakuwa ekiweebwayo olw’omusango.—Eby’Abaleevi 6:4-7.
Ekisingawo Obulungi Ekyali eky’Okujja
19. Wadde baalina Amateeka n’ebiweebwayo byago, lwaki Isiraeri teyasiimibwa Katonda?
19 Amateeka ga Musa, awamu ne ssaddaaka n’ebiweebwayo ebingi, gaaweebwa Abaisiraeri okubasobozesa okutuukirira Katonda okufuna okusiimibwa kwe n’emikisa gye okutuusa okujja kw’Ezzadde eryasuubizibwa. Omutume Pawulo, Omuyudaaya enzaalwa, yakiteeka bw’ati: “Bwe kityo amateeka yali mutwazi waffe eri Kristo, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw’okukkiriza.” (Abaggalatiya 3:24) Eky’ennaku, Isiraeri ng’eggwanga tebakkiriza bulagirizi obwo wabula baakozesa bubi enkizo eyo. Bwe kityo, ebiweebwayo byabwe tebyasiimibwa Yakuwa, eyagamba: “Nzikuse endiga ennume enjokye eziweebwayo n’amasavu g’ensolo ensibe; so sisanyukira musaayi gwa nte, newakubadde ogw’abaana b’endiga, newakubadde ogw’embuzi emmandwa.”—Isaaya 1:11.
20. Kiki ekyaliwo mu 70 C.E. ku bikwata ku Mateeka ne ssaddaaka zaago?
20 Mu 70 C.E., enteekateeka y’ebintu ey’Ekiyudaaya, ne yeekaalu yaayo n’obwakabona, byakoma. Oluvannyuma lw’ekyo, ssaddaaka ezaalagirwa mu Mateeka zaali tezikyetaagisa kuweebwayo. Kino kitegeeza nti ssaddaaka, ekitundu ekikulu eky’Amateeka, tezikyalina makulu gonna eri abasinza ba Katonda leero? Tujja kwekenneenya kino mu kitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Insight on the Scriptures, ekyakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc., kinnyonnyola: “Nga bwe kikozesebwa mu Baibuli, ‘okutangirira’ kirina amakulu ‘ag’okubikka’ oba ‘okuwanyisaamu,’ era ekyo ekiwaanyisibwamu, oba ‘ekibikkako,’ kiteekwa okuba n’ekintu ekirala ekikifaanana. . . . Okusobola okutangirira ekyo Adamu kye yasubwa, ekiweebwayo olw’ekibi ekirina omuwendo ogw’enkanankana n’obulamu bw’omuntu obutuukiridde kyandibadde kirina okuweebwayo.”
b Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekitera okukyusibwa “okuwaayo” kiri qor·banʹ. Ng’awandiika ku ngeri Yesu gye yavumiriramu ekikolwa ekibi eky’abawandiisi n’Abafalisaayo, Makko yannyonnyola nti “Kolubaani” kitegeeza “kirabo ekiweereddwayo eri Katonda.”—Makko 7:11, NW.
Osobola Okunnyonnyola?
• Kiki ekyaleetera abasajja abeesigwa ab’edda okuwaayo ssaddaaka eri Yakuwa?
• Lwaki ssaddaaka zaali zeetaagibwa?
• Ssaddaaka za ngeri ki ezaaweebwangayo wansi wa Mateeka, era zaalina bigendererwa ki?
• Okusinziira ku Pawulo, Amateeka ne ssaddaaka zaago byalina kigendererwa ki ekikulu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Ssaddaaka ya Abbeeri yasiimibwa kubanga yayoleka okukkiriza kwe yalina mu kisuubizo kya Yakuwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Otegeera amakulu g’ekyaliwo kino?