Makko
10 Bwe yavaayo, n’agenda ku nsalo za Buyudaaya emitala wa Yoludaani, era ekibiina ky’abantu ne kiddamu okukuŋŋaanira w’ali. Era ng’enkola ye bwe yali, n’atandika okubayigiriza.+ 2 Awo Abafalisaayo ne bajja gy’ali okumukema, ne bamubuuza obanga kikkirizibwa omusajja okugoba* mukazi we.+ 3 N’abaddamu nti: “Kiki Musa kye yabalagira?” 4 Ne bamugamba nti: “Musa yakkiriza omusajja okugoba* mukazi we era n’okumuwa ebbaluwa eraga nti amugobye.”+ 5 Yesu n’abagamba nti: “Musa yawandiika etteeka eryo+ olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe.+ 6 Kyokka, okuva ku lubereberye lw’okutonda, ‘Yabatonda omusajja n’omukazi.+ 7 Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina,+ 8 era ababiri abo banaabanga omubiri gumu,’+ nga tebakyali babiri naye nga bali omubiri gumu. 9 N’olwekyo, Katonda ky’agasse awamu, omuntu yenna takyawulangamu.”+ 10 Bwe yaddayo mu nju abayigirizwa be ne bamubuuza ebikwata ku nsonga eyo. 11 N’abagamba nti: “Buli agoba* mukazi we n’awasa omulala, aba ayenze+ era aba ayisizza bubi mukazi we, 12 era n’omukazi bw’amala okuleka bba* n’afumbirwa omulala, aba ayenze.”+
13 Awo abantu ne batandika okumuleetera abaana abato abakwateko, naye abayigirizwa be ne bababoggolera.+ 14 Ekyo Yesu bwe yakiraba n’asunguwala, era n’abagamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi; temubagaana, kubanga Obwakabaka bwa Katonda bw’abo abalinga abaana abato.+ 15 Mazima mbagamba nti, omuntu yenna atakkiriza Bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, talibuyingiramu.”+ 16 Awo n’awambaatira abaana n’abawa omukisa ng’abassaako emikono.+
17 Bwe yali mu kkubo ng’atambula, omusajja omu n’ajja ng’adduka n’afukamira mu maaso ge n’amubuuza nti: “Omuyigiriza Omulungi, kiki kye nteekwa okukola okusobola okusikira obulamu obutaggwaawo?”+ 18 Yesu n’amugamba nti: “Lwaki ompita omulungi? Teri mulungi, okuggyako Katonda.+ 19 Amateeka ogamanyi: ‘Tottanga,+ toyendanga,+ tobbanga,+ towaayirizanga,+ tokumpanyanga,+ kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’”+ 20 Omusajja n’amugamba nti: “Omuyigiriza, bino byonna mbadde mbikwata okuva mu buto.” 21 Yesu n’amutunuulira era n’awulira ng’amwagadde, n’amugamba nti, “Ekintu kimu kyokka ky’obuzaayo okukola: Genda otunde ebintu by’olina ogabire abaavu, oliba n’obugagga mu ggulu; bw’omala okukola ekyo, ojje ongoberere.”+ 22 Naye ebigambo ebyo byamunakuwaza, n’agenda ng’anakuwadde kubanga yalina ebintu bingi.+
23 Oluvannyuma lw’okwebulunguluza abaaliwo amaaso, Yesu n’agamba abayigirizwa be nti: “Nga kijja kuba kizibu nnyo abagagga okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda!”+ 24 Naye abayigirizwa be ne beewuunya nnyo olw’ebigambo bye yayogera. Yesu n’addamu n’abagamba nti: “Baana bange, nga kizibu okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda! 25 Kyangu eŋŋamira okuyita mu katuli k’empiso okusinga omugagga okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda.”+ 26 Ne beeyongera okwewuunya, era ne bamugamba* nti: “Ddala ani ayinza okulokolebwa?”+ 27 Yesu n’abatunuulira n’abagamba nti: “Eri abantu tekisoboka, naye eri Katonda ebintu byonna bisoboka.”+ 28 Peetero n’amugamba nti: “Laba! Twaleka ebintu byonna ne tukugoberera.”+ 29 Yesu n’agamba nti: “Mazima mbagamba nti, tewali muntu eyaleka ennyumba, baganda be, bannyina, nnyina, kitaawe, abaana, oba ebibanja ku lwange ne ku lw’amawulire amalungi+ 30 ataliweebwa emirundi 100 mu kiseera kino—amayumba, baganda be, bannyina, bamaama, abaana, ebibanja, awamu n’okuyigganyizibwa+—era n’obulamu obutaggwaawo mu nteekateeka y’ebintu egenda okujja. 31 Naye bangi ab’olubereberye baliba ba luvannyuma n’ab’oluvannyuma baliba ba lubereberye.”+
32 Awo bwe baali mu kkubo nga bagenda e Yerusaalemi, nga Yesu abakulembeddemu, ne beewuunya, naye abo abaali babagoberera ne batya. Awo n’azza nate Ekkumi n’Ababiri ebbali n’atandika okubabuulira ebintu bino ebyali bigenda okumutuukako:+ 33 “Laba, tugenda e Yerusaalemi era Omwana w’omuntu ajja kuweebwayo eri bakabona abakulu n’abawandiisi. Bajja kumusalira ogw’okufa era bamuweeyo eri ab’amawanga; 34 abo bajja kumusekerera, bamuwandulire amalusu, bamukube emiggo, era bamutte, naye oluvannyuma lw’ennaku ssatu azuukizibwe.”+
35 Awo Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebedaayo,+ ne bajja w’ali ne bamugamba nti: “Omuyigiriza, twagala otukolere kyonna kye tunaakusaba.”+ 36 N’abagamba nti: “Kiki kye mwagala mbakolere?” 37 Ne bamuddamu nti: “Bw’oliba oli mu kitiibwa kyo, tukusaba otukkirize tutuule naawe, omu ku mukono gwo ogwa ddyo ate omulala ku gwa kkono.”+ 38 Yesu n’abagamba nti: “Temumanyi kye musaba. Musobola okunywa ekikopo kye nnywa, oba okubatizibwa mu kubatizibwa kwe mbatizibwamu?”+ 39 Ne bamugamba nti: “Tusobola.” Awo Yesu n’abagamba nti: “Ekikopo kye nnywa mujja kukinywa, n’okubatizibwa kwe mbatizibwamu kwe mujja okubatizibwamu.+ 40 Naye si nze asalawo alituula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ku gwa kkono, wabula ky’abo be kyategekerwa.”
41 Abalala ekkumi bwe baakiwulira ne banyiigira Yakobo ne Yokaana.+ 42 Naye Yesu n’abayita n’abagamba nti: “Mumanyi nti abo abafuga amawanga bakajjala ku bantu, n’abakulu baabwe babafugisa bukambwe.+ 43 Naye tekirina kuba bwe kityo mu mmwe; buli ayagala okuba omukulu mu mmwe ateekeddwa okubeera omuweereza wammwe,+ 44 era buli ayagala okubeera ow’olubereberye mu mmwe ateekeddwa okubeera omuddu wa bonna. 45 Kubanga n’Omwana w’omuntu teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza+ n’okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.”+
46 Awo ne bagenda e Yeriko. Naye Yesu n’abayigirizwa be awamu n’ekibiina ky’abantu bwe baali bava mu Yeriko, Battimaayo (mutabani wa Timaayo), omuzibe w’amaaso eyali asabiriza yali atudde ku mabbali g’ekkubo.+ 47 Bwe yawulira nti Yesu Omunnazaaleesi ayitawo, n’atandika okwogerera waggulu ng’agamba nti: “Yesu, Omwana wa Dawudi,+ nsaasira!”+ 48 Awo bangi ne bamuboggolera nga bamugamba asirike, naye ye ne yeeyongera okwogerera waggulu nti: “Omwana wa Dawudi, nsaasira!” 49 Yesu n’ayimirira n’abagamba nti: “Mumuyite.” Ne bamuyita ne bamugamba nti: “Guma! Yimuka; akuyita.” 50 N’asuula eri ekyambalo kye eky’okungulu, n’asituka, n’ajja eri Yesu. 51 Yesu n’amugamba nti: “Kiki ky’oyagala nkukolere?” Omusajja omuzibe w’amaaso n’amugamba nti: “Labooni,* nzibula amaaso.” 52 Yesu n’amugamba nti: “Genda, okukkiriza kwo kukuwonyezza.”+ Amangu ago n’azibuka amaaso+ n’atandika okumugoberera.