Ezera
3 Omwezi ogw’omusanvu+ bwe gwatuuka ng’Abayisirayiri* bali mu bibuga byabwe, baakuŋŋaanira mu Yerusaalemi nga bali bumu. 2 Awo Yesuwa+ mutabani wa Yekozadaki ne bakabona banne, ne Zerubbaberi+ mutabani wa Seyalutyeri+ ne baganda be ne basituka ne bazimba ekyoto kya Katonda wa Isirayiri basobole okukiweerangako ebiweebwayo ebyokebwa nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka ga Musa+ omusajja wa Katonda ow’amazima.
3 Baazimba ekyoto mu kifo we kyabeeranga wadde nga baali batya abantu b’omu bitundu ebyali bibeetoolodde,+ era ne batandika okuwangayo eri Yakuwa ku kyoto ekyo ssaddaaka ezookebwa, ez’oku makya n’ez’akawungeezi.+ 4 Ne bakwata Embaga ey’Ensiisira nga bwe kyawandiikibwa,+ nga buli lunaku bawaayo ssaddaaka ezookebwa ezaalagirwa okuweebwayo ku lunaku olwo.+ 5 Oluvannyuma baawaayo ebiweebwayo ebyokebwa+ ebya buli lunaku, n’ebiweebwayo ku kuboneka kw’omwezi+ ne ku mbaga za Yakuwa zonna entukuvu,+ era baawaayo n’ebiweebwayo ebyava eri buli omu eyawa Yakuwa ekiweebwayo ekya kyeyagalire.+ 6 Okuva ku lunaku olusooka olw’omwezi ogw’omusanvu+ baatandika okuwaayo eri Yakuwa ssaddaaka ezookebwa, wadde ng’omusingi gwa yeekaalu ya Yakuwa gwali tegunnazimbibwa.
7 Awo ne bawa abatemi b’amayinja+ ne baffundi+ ssente, era ne bawa Abasidoni n’Abatuulo eby’okulya n’eby’okunywa n’amafuta baggye embaawo z’entolokyo e Lebanooni bazireete e Yopa nga baziyisa ku nnyanja,+ nga Kuulo kabaka wa Buperusi bwe yabakkiriza.+
8 Mu mwaka ogw’okubiri kasookedde bajja ku nnyumba ya Katonda ow’amazima e Yerusaalemi, mu mwezi ogw’okubiri, Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yesuwa mutabani wa Yekozadaki, ne baganda baabwe abalala, ne bakabona n’Abaleevi, awamu n’abo bonna abaali bakomyewo e Yerusaalemi okuva mu buwambe,+ baatandika omulimu. Ne balonda Abaleevi okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu balabirire omulimu gw’ennyumba ya Yakuwa. 9 Awo Yesuwa ne batabani be ne baganda be era ne Kadumyeri ne batabani be, abaana ba Yuda, ne beegatta wamu okulabirira abaali bakola omulimu mu nnyumba ya Katonda ow’amazima, awamu ne batabani ba Kenadadi+ ne batabani baabwe ne baganda baabwe Abaleevi.
10 Abazimbi bwe baamala okuzimba omusingi gwa yeekaalu ya Yakuwa,+ bakabona nga bambadde ebyambalo by’omulimu gwabwe era nga bakutte amakondeere,+ n’Abaleevi abaana ba Asafu nga bakutte ebitaasa, ne bayimirira okutendereza Yakuwa nga bagoberera obulagirizi bwa Dawudi kabaka wa Isirayiri.+ 11 Ne batandika okuyimba mu mpalo+ nga batendereza Yakuwa era nga bamwebaza, “kubanga mulungi; okwagala okutajjulukuka kw’alaga Isirayiri kwa mirembe na mirembe.”+ Awo abantu bonna ne boogera mu ddoboozi erya waggulu ennyo nga batendereza Yakuwa olw’okuba omusingi gw’ennyumba ya Yakuwa gwali gumaze okuzimbibwa. 12 Bangi ku bakabona n’Abaleevi n’abakulu b’ebika*—abasajja abakadde abaalaba ennyumba eyasooka+—ne bakaaba mu ddoboozi erya waggulu bwe baalaba ng’omusingi gw’ennyumba eno guzimbiddwa, ate abalala bangi ne baleekaana nnyo olw’essanyu.+ 13 Abantu baali tebasobola kwawula maloboozi g’abo abaali baleekaana olw’essanyu ku g’abo abaali bakaaba, kubanga abantu baali baleekaana nnyo era ng’amaloboozi gawulirwa wala nnyo.