1 Yokaana
4 Abaagalwa, temukkiriza buli kigambo ekyaluŋŋamizibwa,*+ naye mugezese ebigambo ebyaluŋŋamizibwa* mulabe obanga biva eri Katonda,+ kubanga bannabbi ab’obulimba bangi balabise mu nsi.+
2 Ekigambo ekiruŋŋamiziddwa Katonda mukimanyira ku kino: Buli kigambo ekiruŋŋamiziddwa ekyoleka nti Yesu Kristo yajja ng’omuntu* kiva eri Katonda,+ 3 naye buli kigambo ekiruŋŋamiziddwa ekigamba nti Yesu teyajja ng’omuntu tekiva eri Katonda.+ Era ekyo kye kigambo ekyaluŋŋamizibwa eky’omulabe wa Kristo kye mwawulira nti kijja,+ era kati weekiri mu nsi.+
4 Mmwe abaana abato muva eri Katonda, era muwangudde+ abantu abo kubanga oyo ali ku ludda lwammwe+ asinga oyo ali ku ludda lw’ensi.+ 5 Bo bava eri ensi;+ kyebava boogera ebiva mu nsi era ensi ebawuliriza.+ 6 Ffe tuva eri Katonda. Oyo yenna ategeera Katonda atuwuliriza,+ naye oyo atava eri Katonda tatuwuliriza.+ Eyo ye ngeri gye tumanyaamu ekigambo ekiruŋŋamiziddwa eky’amazima n’ekigambo ekiruŋŋamiziddwa eky’obulimba.+
7 Abaagalwa, tweyongere okwagalana,+ kubanga okwagala kuva eri Katonda, era buli alina okwagala aba azaaliddwa Katonda era amanyi Katonda.+ 8 Oyo atalina kwagala tamanyi Katonda, kubanga Katonda kwagala.+ 9 Bwe kuti okwagala kwa Katonda bwe kwayolesebwa gye tuli: Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu yekka,+ tusobole okufuna obulamu okuyitira mu ye.+ 10 Okwagala okwo kweyoleka bwe kuti: tekiri nti ffe twayagala Katonda, wabula Katonda ye yatwagala n’atuma Omwana we okuba ssaddaaka+ etangirira ebibi byaffe+ tusobole okutabagana ne Katonda.
11 Abaagalwa, bwe kiba nti bw’atyo Katonda bwe yatwagala, naffe tugwanidde okwagalana.+ 12 Tewali yali alabye ku Katonda.+ Bwe tweyongera okwagalana, Katonda abeera mu ffe era okwagala kwe kutuukirira mu ffe.+ 13 Ku kino kwe tumanyira nti tuli bumu naye era nti naye ali bumu naffe, kubanga atuwadde omwoyo gwe. 14 Ate era, ffe ffennyini twalaba era tuwa obujulirwa nti Kitaffe yatuma Omwana we okuba Omulokozi w’ensi.+ 15 Buli akkiriza nti Yesu Kristo Mwana wa Katonda,+ Katonda abeera bumu naye era naye abeera bumu ne Katonda.+ 16 Tutegedde nti Katonda atwagala era tuli bakakafu ku ekyo.+
Katonda kwagala,+ era oyo asigala mu kwagala abeera bumu ne Katonda, era ne Katonda abeera bumu naye.+ 17 Eno ye ngeri okwagala gye kutuukiridde mu ffe, tusobole okwogera n’obuvumu+ ku lunaku olw’omusango, kubanga ng’oyo bw’ali, naffe bwe tutyo bwe tuli mu nsi eno. 18 Mu kwagala temuliimu kutya,+ naye okwagala okutuukiridde kusuula* okutya ebweru kubanga okutya kutukugira. Mazima ddala oyo atya aba tannatuukirira mu kwagala.+ 19 Ffe tulina okwagala kubanga ye yasooka okutwagala.+
20 Omuntu yenna bw’agamba nti, “Njagala Katonda,” naye nga tayagala muganda we, aba mulimba.+ Kubanga oyo atayagala muganda we+ gw’alabako tayinza kwagala Katonda gw’atalabangako.+ 21 Era twafuna ekiragiro kino okuva gy’ali, nti oyo ayagala Katonda asaanidde okwagala ne muganda we.+