Matayo
26 Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo byonna, n’agamba abayigirizwa be nti: 2 “Mukimanyi nti ebulayo ennaku bbiri embaga ey’Okuyitako etuuke,+ era Omwana w’omuntu agenda kuweebwayo akomererwe ku muti.”+
3 Awo bakabona abakulu n’abakadde ne bakuŋŋaanira mu luggya lwa kabona asinga obukulu ayitibwa Kayaafa,+ 4 ne bateesa+ ku ngeri gye bayinza okukwatamu Yesu mu lukujjukujju, bamutte. 5 Naye ne bagamba nti: “Tetumukwata ku lunaku lwa mbaga kubanga abantu bayinza okwegugunga.”
6 Awo Yesu bwe yali e Bessaniya mu nnyumba ya Simooni omugenge,+ 7 omukazi n’ajja w’ali ng’alina eccupa y’amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi, n’agafuka ku mutwe gwa Yesu, Yesu bwe yali ng’alya.* 8 Abayigirizwa bwe baakiraba ne basunguwala ne bagamba nti: “Lwaki amafuta gano goonoonebwa? 9 Gandibadde gatundibwa ssente nnyingi ne ziweebwa abaavu.” 10 Yesu bwe yamanya kino, n’abagamba nti: “Lwaki omukazi mumumalako emirembe? Ankoledde ekintu ekirungi. 11 Abaavu mubeera nabo bulijjo,+ naye nze temujja kuba nange bulijjo.+ 12 Bw’afuse amafuta ag’akaloosa ku mubiri gwange, akikoze ng’anteekateeka okuziikibwa.+ 13 Mazima mbagamba nti, yonna mu nsi amawulire gano amalungi gye galibuulirwa, omukazi ono ky’akoze nakyo kiryogerwako okumujjukira.”+
14 Awo Yuda Isukalyoti,+ omu ku Kkumi n’Ababiri n’agenda eri bakabona abakulu,+ 15 n’abagamba nti: “Munampa ki mmuweeyo gye muli?”+ Ne bamusuubiza okumuwa ebitundu bya ffeeza 30.+ 16 Okuva olwo, n’atandika okunoonya engeri y’okumulyamu olukwe.
17 Ku lunaku olusooka olw’Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse,+ abayigirizwa ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti: “Oyagala tukutegekere wa gy’onooliira Okuyitako?”+ 18 N’abagamba nti: “Mugende mu kibuga ewa gundi mumugambe nti, ‘Omuyigiriza agambye nti: “Ekiseera kyange ekigereke kinaatera okutuuka; embaga ey’Okuyitako nja kugikwatira wuwo n’abayigirizwa bange.”’” 19 Abayigirizwa ne bakola nga Yesu bwe yabalagira, ne bategeka embaga ey’Okuyitako.
20 Obudde bwe bwawungeera,+ n’atuula n’abayigirizwa be 12 ku mmeeza.+ 21 Bwe baali balya, Yesu n’abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti, Omu ku mmwe ajja kundyamu olukwe.”+ 22 Ne banakuwala nnyo era bonna ne batandika okumubuuza nti: “Ye nze Mukama wange?” 23 N’abaddamu nti: “Oyo akoza nange mu kibya y’ajja okundyamu olukwe.+ 24 Mazima ddala Omwana w’omuntu agenda ng’Ebyawandiikibwa bwe bimwogerako, naye zisanze+ omuntu oyo alyamu Omwana w’omuntu olukwe!+ Kyandisinzeeko singa omuntu oyo teyazaalibwa.”+ 25 Yuda eyali anaatera okumulyamu olukwe n’amubuuza nti: “Labbi, ye nze?” Yesu n’amuddamu nti: “Ggwe kennyini okyogedde.”
26 Bwe baali balya, Yesu n’akwata omugaati n’asaba, n’agumenyamu,+ n’aguwa abayigirizwa, ng’agamba nti: “Mukwate mulye, guno gukiikirira omubiri gwange.”+ 27 Ate era n’akwata ekikopo, ne yeebaza, n’akibawa ng’agamba nti: “Munyweko mmwenna,+ 28 kino kikiikirira ‘omusaayi gwange+ ogw’endagaano,’+ ogugenda okuyiibwa ku lw’abangi+ basobole okusonyiyibwa ebibi.+ 29 Mbagamba nti: Siriddamu kunywa ku mwenge gwa mizabbibu okutuusa ku lunaku luli lwe ndigunywa nammwe nga musu mu Bwakabaka bwa Kitange.”+ 30 Bwe baamala okuyimba ennyimba ezitendereza Katonda,* ne bagenda ku Lusozi olw’Emizeyituuni.+
31 Yesu n’abagamba nti: “Mmwenna mujja kwesittala olw’ekyo ekigenda okuntuukako ekiro kino, kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Ndikuba omusumba, endiga ez’omu kisibo ne zisaasaana.’+ 32 Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulemberamu okugenda e Ggaliraaya.”+ 33 Naye Peetero n’amugamba nti: “Wadde abalala bonna baneesittala olw’ekyo ekigenda okukutuukako, nze sijja kwesittala!”+ 34 Yesu n’amugamba nti: “Mazima ddala nkugamba nti ekiro kya leero enkoko bw’eneeba tennakookolima, ojja kunneegaana emirundi esatu.”+ 35 Peetero n’amugamba nti: “Ne bwe kinaaba nga kitegeeza kufiira wamu naawe, sijja kukwegaana.”+ Abayigirizwa abalala bonna nabo ne boogera ekintu kye kimu.
36 Yesu n’agenda n’abayigirizwa be mu kifo ekiyitibwa Gesusemane,+ n’abagamba nti: “Mutuule wano ŋŋende eri nsabe.”+ 37 N’atwala Peetero ne batabani ba Zebedaayo ababiri, n’atandika okuwulira ennaku ey’amaanyi era ne yeeraliikirira nnyo.+ 38 N’abagamba nti: “Nnina ennaku ya maanyi, era ejula okunzita. Musigale wano, mutunule wamu nange.”+ 39 Ne yeeyongerako katono mu maaso, n’avunnama, n’asaba+ ng’agamba nti: “Kitange, bwe kiba kisoboka, nzigyaako ekikopo kino.+ Naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”+
40 N’akomawo eri abayigirizwa, n’abasanga nga beebase, n’agamba Peetero nti: “Mulemereddwa okusigala nga mutunula wamu nange, wadde essaawa emu bw’eti?+ 41 Musigale nga mutunula+ era nga musaba,+ muleme kugwa nga mukemeddwa.+ Kyo kituufu omwoyo gwagala naye omubiri munafu.”+ 42 N’addayo omulundi ogw’okubiri, n’asaba ng’agamba nti: “Kitange, bwe kiba kisoboka ekikopo kino kinzigibweko nneme kukinywa. Naye bwe kiba tekisoboka, ky’oyagala ka kikolebwe.”+ 43 N’akomawo nate n’abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaali gabazitoye. 44 N’ava we baali, n’agenda nate omulundi ogw’okusatu, n’asaba ekintu kye kimu. 45 Awo n’akomawo eri abayigirizwa n’abagamba nti: “Mu kiseera nga kino mwebase era muwummudde! Laba! Essaawa etuuse Omwana w’omuntu aliibwemu olukwe aweebweyo mu mikono gy’aboonoonyi. 46 Musituke tugende. Laba! Andyamu olukwe atuuse.” 47 Bwe yali akyayogera, laba! Yuda, omu ku Kkumi n’Ababiri, n’ajja n’ekibinja ky’abantu nga balina ebitala n’emiggo nga batumiddwa bakabona abakulu n’abakadde.+
48 Oyo eyamulyamu olukwe yali abawadde akabonero, ng’agamba nti: “Gwe nnaanywegera nga y’oyo; mumukwate.” 49 Awo n’ajja butereevu awali Yesu, n’amugamba nti: “Labbi, emirembe gibe naawe!” n’amunywegera. 50 Naye Yesu n’amugamba nti: “Kiki ekikuleese?”+ Awo ne bajja ne bakwata Yesu ne bamutwala. 51 Naye, omu ku abo abaali ne Yesu n’asowolayo ekitala kye n’atema omuddu+ wa kabona asinga obukulu, n’amukutulako okutu. 52 Yesu n’amugamba nti: “Zzaayo ekitala kyo mu kifo kyakyo+ kubanga abo bonna abakwata ekitala balittibwa na kitala.+ 53 Oba olowooza nti sisobola kusaba Kitange n’ampeereza mu kiseera kino ebibinja* bya bamalayika ebisukka mu kkumi n’ebibiri?+ 54 Kati olwo Ebyawandiikibwa binaatuukirira bitya ebigamba nti kino kirina okuba bwe kityo?” 55 Mu kiseera ekyo, Yesu n’agamba ekibiina ky’abantu nti: “Muzze n’ebitala n’emiggo okunkwata ng’abakwata omubbi? Buli lunaku nnatuulanga mu yeekaalu ne njigiriza+ naye ne mutankwata.+ 56 Bino byonna biri bwe biti ebyawandiikibwa* bannabbi bisobole okutuukirizibwa.”+ Awo abayigirizwa bonna ne bamwabulira ne badduka.+
57 Abo abaakwata Yesu baamutwala ewa Kayaafa+ kabona asinga obukulu, abawandiisi n’abakadde we baali bakuŋŋaanidde.+ 58 Naye Peetero n’amugoberera ng’amwesudde akabanga akawerako, n’atuuka mu luggya lwa kabona asinga obukulu n’ayingira n’atuula wamu n’abaweereza alabe bwe binaaba.+
59 Mu kiseera ekyo, bakabona abakulu n’ab’Olukiiko Olukulu bonna baali banoonya obujulizi obw’obulimba bwe bandisinziddeko okutta Yesu.+ 60 Naye ne batabufuna wadde nga waaliwo abajulizi ab’obulimba bangi abajja.+ Oluvannyuma, ne wajjawo babiri 61 ne bagamba nti: “Omusajja ono yagamba nti, ‘Nsobola okumenya yeekaalu ya Katonda ne ngizimbira mu nnaku ssatu.’”+ 62 Awo kabona asinga obukulu n’ayimirira n’amubuuza nti: “Tolina na kimu ky’oddamu? Kiki ky’oyogera ku ebyo abasajja bano bye bakulumiriza?”+ 63 Naye Yesu n’ataddamu kigambo.+ Kabona asinga obukulu n’amugamba nti: “Nkulayiza mu maaso ga Katonda omulamu otubuulire oba nga ggwe Kristo Omwana wa Katonda!”+ 64 Yesu n’amugamba nti: “Ggwe kennyini okyogedde. Naye mbagamba nti okuva leero mugenda kulaba Omwana w’omuntu+ ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogw’Oyo ow’Amaanyi,+ era ng’ajjira ku bire eby’eggulu.”+ 65 Awo kabona asinga obukulu n’ayuza ekyambalo kye eky’okungulu n’agamba nti: “Avvodde! Tukyetaaga obujulizi obulala? Muwulidde bw’avvoola. 66 Mulowooza mutya?” Ne bagamba nti: “Agwanidde okufa.”+ 67 Awo ne bamuwandulira amalusu mu maaso,+ era ne bamukuba ebikonde.+ Abalala ne bamukuba empi mu maaso,+ 68 nga bagamba nti: “Ggwe Kristo, bw’oba oli nnabbi, tubuulire ani akukubye?”
69 Awo Peetero bwe yali atudde ebweru mu luggya, omuwala omuweereza n’agenda w’ali, n’amugamba nti: “Naawe wabadde ne Yesu Omugaliraaya!”+ 70 Naye ne yeegaanira mu maaso gaabwe bonna, ng’agamba nti: “Ky’oyogerako sikimanyi.” 71 Bwe yafuluma n’agenda ku mulyango oguyingira mu luggya, omuwala omulala n’amulaba, n’agamba abaali awo nti: “Omusajja ono yabadde ne Yesu Omunnazaaleesi.”+ 72 N’addamu ne yeegaana ng’alayira nti: “Omusajja oyo simumanyi!” 73 Oluvannyuma lw’akaseera katono, abo abaali bayimiridde awo ne basembera ne bagamba Peetero nti: “Mazima ddala naawe oli omu ku bo kubanga enjogera yo ekiraga.” 74 Naye n’atandika okukolima n’okulayira nti: “Omusajja oyo simumanyi.” Amangu ago enkoko n’ekookolima. 75 Peetero n’ajjukira ebigambo Yesu bye yamugamba nti: “Enkoko bw’eneeba tennakookolima, ojja kunneegaana emirundi esatu.”+ Awo n’afuluma ebweru n’akaaba nnyo.