Abebbulaniya
12 N’olwekyo, olw’okuba tulina ekibinja ekinene bwe kityo eky’abajulirwa* ekitwetoolodde, ka tweyambuleko buli kintu kyonna ekizitowa n’ekibi ekyanguwa okutwezingako,+ era ka tudduke n’obugumiikiriza embiro ez’empaka ezituteereddwawo,+ 2 nga twekaliriza Yesu, Omubaka Omukulu era Omutuukiriza w’okukkiriza kwaffe.+ Olw’essanyu eryateekebwa mu maaso ge, yagumira omuti ogw’okubonaabona,* okuswala n’atakutwala ng’ekikulu, era n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogw’entebe ya Katonda.+ 3 Mazima ddala, mulowooze nnyo ku oyo eyagumira ebigambo by’ababi ebifeebya+ ebisingisa ababi abo omusango, muleme kukoowa ne mulekulira.+
4 Mu kulwanyisa ekibi ekyo, temulwanangako kutuuka ku kuyiwa musaayi gwammwe, 5 naye mwerabiridde ddala ebigambo ebibabuulirira ng’abaana, ebigamba nti: “Mwana wange, tonyoomanga kukangavvula okuva eri Yakuwa,* era toggwangamu maanyi ng’akugolodde; 6 kubanga abo Yakuwa* b’ayagala b’akangavvula; mu butuufu, abonereza* buli gw’atwala ng’omwana we.”+
7 Bwe muba mubonaabona mugumiikirize, nga mukitwala nti eyo ye ngeri emu ey’okukangavvulwamu.* Katonda abayisa ng’abaana.+ Kubanga mwana ki kitaawe gw’atakangavvula?+ 8 Naye bwe mutakangavvulwa ng’abalala bonna bwe bakangavvulwa, muba baana beeboolereze so si baana ddala. 9 Ate era, bakitaffe* baatukangavvulanga era twabassangamu ekitiibwa. Tetwandisinzeewo nnyo okugondera Kitaffe ow’obulamu bwaffe obw’omwoyo tusobole okuba abalamu?+ 10 Bakitaffe baatukangavvula okumala ekiseera kitono okusinziira ku ekyo kye baalaba nti kirungi, naye ye atukangavvula olw’okutuganyula tusobole okugabana ku butukuvu bwe.+ 11 Kyo kituufu nti okukangavvula kwonna okuba kuweereddwa, mu kiseera ekyo tekulabika nga kwa ssanyu, wabula kwa nnaku;* naye oluvannyuma abo abatendekeddwa okukangavvula okwo, babala ekibala eky’emirembe eky’obutuukirivu.
12 N’olwekyo, munyweze emikono egiragaye n’amaviivi agajugumira,+ 13 mutereeze amakubo g’ebigere byammwe,+ ekiremadde kireme kuggibwa mu nnyingo, wabula kiwonyezebwe. 14 Muluubirirenga okuba mu mirembe n’abantu bonna,+ era muluubirire n’obutukuvu+ kubanga we butali tewali ajja kulaba Mukama waffe. 15 Mwegendereze waleme kubaawo n’omu afiirwa ekisa kya Katonda eky’ensusso; waleme kusibukawo kikolo eky’obutwa ne kireetawo emitawaana era ne kyonoona bangi;+ 16 era mwegendereze waleme kubaawo mu mmwe muntu akola eby’obugwenyufu* oba atasiima bintu bitukuvu nga Esawu eyawaayo omugabo gwe ogw’omwana omubereberye olw’olulya lumu.+ 17 Kubanga mumanyi nti oluvannyuma bwe yayagala okufuna emikisa teyagifuna, wadde nga yafuba nnyo okukyusa endowooza ya kitaawe ng’akaaba amaziga,+ teyasobola kugikyusa.*
18 Temusemberedde lusozi olusobola okukwatibwako,+ olwaka omuliro,+ era oluliko ekire ekikutte, n’ekizikiza eky’amaanyi, ne kibuyaga,+ 19 n’okuvuga kw’ekkondeere,+ n’eddoboozi ly’ebigambo+ abantu lye baawulira ne beegayirira nti waleme kubaawo kigambo kirala kibagambibwa.+ 20 Kubanga baali tebayinza kugumiikiriza kiragiro ekyabagambibwa nti: “N’ensolo enejja ku lusozi eteekwa okukubibwa amayinja n’efa.”+ 21 Ate era, ebyalabibwa byali bya ntiisa nnyo, Musa n’atuuka n’okugamba nti: “Ntidde nnyo era nkankana.”+ 22 Naye musemberedde Olusozi Sayuuni,+ era ekibuga kya Katonda omulamu, Yerusaalemi eky’omu ggulu,+ era n’emitwalo n’emitwalo gya bamalayika 23 abakuŋŋaanye,+ n’ekibiina ky’ababereberye abawandiikiddwa mu ggulu, ne Katonda Omulamuzi wa bonna,+ n’obulamu obw’omwoyo+ obw’abatuukirivu abafuuliddwa abatuukiridde,+ 24 ne Yesu omutabaganya+ w’endagaano empya,+ n’omusaayi ogumansiddwa, ogwogera obulungi okusinga ogwa Abbeeri.+
25 Mufube okulaba nti temugaana kugondera* oyo ayogera. Bwe kiba nti abo abaalemererwa okugondera oyo eyali ku nsi eyali abatuusaako okulabula okuva eri Katonda tebaawonawo, naffe tetujja kuwonawo singa twesamba oyo ayogera ng’ayima mu ggulu.+ 26 Mu kiseera ekyo eddoboozi lye lyakankanya ensi,+ naye kaakano asuubizza nti: “Omulundi omulala gumu nja kukankanya ensi era nkankanye n’eggulu.”+ 27 Ebigambo “omulundi omulala gumu” bitegeeza okuggibwawo kw’ebintu ebinyeenyezebwa, kwe kugamba, ebintu ebikoleddwa, olwo ebyo ebitanyeenyezebwa biryoke bisigalewo. 28 N’olwekyo, nga bwe mulaba nti tugenda kufuna Obwakabaka obutayinza kunyeenyezebwa, ka tweyongere okulagibwa ekisa eky’ensusso mwe tuyinza okuyitira okuweereza Katonda mu buweereza obutukuvu, nga tumutya era nga tumuwa ekitiibwa. 29 Kubanga Katonda waffe muliro ogusaanyaawo.+