2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri
29 Keezeekiya+ yafuuka kabaka ng’alina emyaka 25, era yafugira emyaka 29 mu Yerusaalemi. Nnyina yali ayitibwa Abiya muwala wa Zekkaliya.+ 2 Yakolanga ebirungi mu maaso ga Yakuwa+ nga jjajjaawe Dawudi bwe yakolanga.+ 3 Mu mwaka ogwasooka ogw’obufuzi bwe, mu mwezi ogusooka, yaggulawo enzigi z’ennyumba ya Yakuwa era n’aziddaabiriza.+ 4 Oluvannyuma yaleeta bakabona n’Abaleevi n’abakuŋŋaanyiza mu kibangirizi ku luuyi olw’ebuvanjuba. 5 N’abagamba nti: “Mumpulirize mmwe Abaleevi. Mwetukuze+ era mutukuze n’ennyumba ya Yakuwa Katonda wa bajjajjammwe, era muggye ebintu ebitali birongoofu mu kifo ekitukuvu.+ 6 Kubanga bakitaffe tebaali beesigwa era baakola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa Katonda waffe.+ Baamuleka, ne batawa weema ya Yakuwa kitiibwa, era baamukuba amabega.+ 7 Ate era baggala enzigi z’ekisasi+ ne bazikiza n’ettaala.+ Baalekera awo okwotereza obubaani+ n’okuwaayo eri Katonda wa Isirayiri ssaddaaka ezookebwa+ mu kifo ekitukuvu. 8 Yakuwa kyeyava asunguwalira Yuda ne Yerusaalemi,+ n’abafuula ekintu eky’entiisa, ekiwuniikiriza, era ekireetera omuntu okufuuwa oluwa nga yeewuunya, nga bwe mwerabirako n’amaaso gammwe.+ 9 Bajjajjaffe battibwa n’ekitala,+ era batabani baffe ne bawala baffe ne bakazi baffe baatwalibwa mu buwambe olw’ensonga eyo.+ 10 Kaakano omutima gwange gwagala okukola endagaano ne Yakuwa Katonda wa Isirayiri+ obusungu bwe busobole okutuvaako. 11 Baana bange, kino si kiseera kya kugayaala,* kubanga mmwe Yakuwa b’alonze okuyimirira mu maaso ge, mubeerenga abaweereza be,+ era mwokyenga ssaddaaka ze.”+
12 Awo Abaleevi bano ne bayimuka: Makasi mutabani wa Amasayi ne Yoweeri mutabani wa Azaliya ab’oku Bakokasi;+ okuva mu Bamerali,+ Kiisi mutabani wa Abudi ne Azaliya mutabani wa Yekalereri; ate okuva mu Bagerusoni,+ Yowa mutabani wa Zimma ne Edeni mutabani wa Yowa; 13 okuva mu baana ba Erizafani, Simuli ne Yeweri; ate okuva mu baana ba Asafu,+ Zekkaliya ne Mattaniya; 14 okuva mu baana ba Kemani,+ Yekyeri ne Simeeyi; n’okuva mu baana ba Yedusuni,+ Semaaya ne Wuziyeeri. 15 Baakuŋŋaanya baganda baabwe ne beetukuza ne bajja okulongoosa ennyumba ya Yakuwa, ng’ekiragiro kya kabaka bwe kyali, okusinziira ku bigambo bya Yakuwa.+ 16 Awo bakabona ne bayingira mu nnyumba ya Yakuwa okugirongoosa, ne bafulumya ebintu byonna ebitaali birongoofu bye baasanga mu yeekaalu ya Yakuwa ne babireeta mu luggya+ lw’ennyumba ya Yakuwa. Abaleevi ne babikwata ne babitwala wabweru mu Kiwonvu Kidulooni.+ 17 Bwe batyo ne batandika omulimu gw’okutukuza ku lunaku olusooka mu mwezi ogusooka, era ku lunaku olw’omunaana ne batuuka ku kisasi kya Yakuwa;+ ne batukuza ennyumba ya Yakuwa mu nnaku munaana, era ku lunaku olw’ekkumi n’omukaaga olw’omwezi ogusooka ne bamaliriza.
18 Oluvannyuma ne bagenda eri Kabaka Keezeekiya ne bamugamba nti: “Tulongoosezza ennyumba ya Yakuwa yonna, ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa+ n’ebintu byakyo byonna ebikozesebwa,+ n’emmeeza ey’emigaati egipangibwa*+ n’ebintu byakwo byonna. 19 Ebintu byonna ebikozesebwa Kabaka Akazi bye yali asudde eri mu kiseera ky’obufuzi bwe, bwe yakola ebintu ebitali bya bwesigwa,+ tubiteeseteese era tubitukuzza;+ biri mu maaso g’ekyoto kya Yakuwa.”
20 Awo Kabaka Keezeekiya n’asituka ku makya n’akuŋŋaanya abaami b’ekibuga ne bagenda ku nnyumba ya Yakuwa. 21 Ne baleeta ente ennume musanvu, n’endiga ennume musanvu, n’endiga ento ennume musanvu, n’embuzi ennume musanvu, okuba ekiweebwayo olw’ekibi ku lw’obwakabaka, ku lw’ekifo ekitukuvu, ne ku lwa Yuda.+ N’agamba bakabona, bazzukulu ba Alooni, okuziweerayo ku kyoto kya Yakuwa. 22 Awo ne basala ente,+ bakabona ne baddira omusaayi ne bagumansira ku kyoto;+ oluvannyuma ne basala endiga ennume omusaayi ne bagumansira ku kyoto, ne basala n’endiga ento ennume omusaayi ne bagumansira ku kyoto. 23 Ne baleeta embuzi ennume ez’ekiweebwayo olw’ekibi mu maaso ga kabaka n’ekibiina ne bazissaako emikono. 24 Bakabona ne bazisala ne bawaayo ekiweebwayo olw’ekibi nga bassa omusaayi gwazo ku kyoto okutangirira Isirayiri yonna; kubanga kabaka yalagira nti ekiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo olw’ekibi birina okuweebwayo ku lwa Isirayiri yonna.
25 Era yassaawo Abaleevi mu nnyumba ya Yakuwa, nga balina ebitaasa n’ebivuga eby’enkoba n’entongooli,+ nga Dawudi+ ne Gaadi+ eyategeezanga okwolesebwa okwavanga eri Katonda ne nnabbi Nasani+ bwe baalagira, kubanga ekiragiro kyava eri Yakuwa okuyitira mu bannabbi be. 26 Abaleevi ne bayimirira nga bakutte ebivuga bya Dawudi, ate bo bakabona nga bakutte amakondeere.+
27 Awo Keezeekiya n’alagira baweeyo ku kyoto ekiweebwayo ekyokebwa.+ Bwe baatandika okukiwaayo, oluyimba lwa Yakuwa ne lutandika era n’amakondeere ne gatandika okufuuyibwa nga gagoberera ebivuga bya Dawudi kabaka wa Isirayiri. 28 Ekibiina kyonna kyali kivunnamye ng’oluyimba lugenda mu maaso era nga n’amakondeere gafuuyibwa. Ebyo byonna ne bibeera bwe bityo okutuusa ekiweebwayo ekyokebwa lwe kyaggwa okuweebwayo. 29 Amangu ddala nga bamaze okukiwaayo, kabaka n’abo bonna abaali naye ne bavunnama wansi. 30 Kabaka Keezeekiya n’abaami ne bagamba Abaleevi okutendereza Yakuwa mu bigambo bya Dawudi+ n’ebya Asafu+ eyategeezanga okwolesebwa okwavanga eri Katonda. Awo ne batendereza n’essanyu lingi nnyo, era ne bavunnama wansi.
31 Awo Keezeekiya n’agamba nti: “Kaakano nga bwe mwawuliddwawo* okuweereza Yakuwa. Mujje muleete mu nnyumba ya Yakuwa ssaddaaka n’ebiweebwayo eby’okwebaza.” Ekibiina ne kitandika okuleeta ssaddaaka n’ebiweebwayo eby’okwebaza, era buli eyali ayagala yaleeta ebiweebwayo ebyokebwa.+ 32 Bino bye biweebwayo ebyokebwa ekibiina bye kyaleeta: ente 70, n’endiga ennume 100, n’endiga ento ennume 200—nga zonna za kuwaayo eri Yakuwa ng’ekiweebwayo ekyokebwa+— 33 n’ebiweebwayo ebirala ebitukuvu ebyaleetebwa byali, ente 600 n’endiga 3,000. 34 Naye bakabona baali batono nnyo nga tebasobola kubaaga nsolo zonna ez’ebiweebwayo ebyokebwa. Bwe kityo baganda baabwe Abaleevi ne babayambako+ okutuusa omulimu lwe gwaggwa era okutuusa bakabona lwe beetukuza.+ Bo Abaleevi baafaayo nnyo okwetukuza okusinga bakabona. 35 Ebiweebwayo ebyokebwa+ n’amasavu ga ssaddaaka ez’emirembe+ byali bingi nnyo, era n’ebiweebwayo eby’eby’okunywa ebigendera ku biweebwayo ebyokebwa+ nabyo byali bingi nnyo. Bwe butyo obuweereza obw’omu nnyumba ya Yakuwa ne buzzibwawo. 36 Awo Keezeekiya n’abantu bonna ne basanyuka olw’ebyo Katonda ow’amazima bye yali akoledde abantu,+ kubanga ebyo byonna byali bisobodde okubaawo mu bwangu ddala.