Lukka
19 Awo n’ayingira mu Yeriko, n’atambula n’akiyitamu. 2 Eyo waaliyo omusajja ayitibwa Zaakayo; ye yali akulira abasolooza omusolo era yali mugagga nnyo. 3 Yali ayagala nnyo okulaba Yesu, naye olw’abantu abangi n’atasobola, kubanga yali mumpi. 4 Awo n’adduka n’abeesooka mu maaso, n’alinnya omuti omusukamooli asobole okulaba Yesu, kubanga yali agenda kuyita mu kkubo eryo. 5 Yesu bwe yatuuka mu kifo ekyo, n’atunula waggulu, n’amugamba nti: “Zaakayo, kka mangu wansi, kubanga leero ŋŋenda kubeera mu nnyumba yo.” 6 Awo n’akka mangu wansi, n’amwaniriza n’essanyu ewuwe. 7 Naye abantu bwe baakiraba, bonna ne beemulugunya nga bagamba nti: “Agenze mu nnyumba y’omusajja omwonoonyi.”+ 8 Zaakayo n’ayimirira n’agamba Mukama waffe nti: “Mukama wange, kimu kya kubiri eky’ebintu bye nnina ŋŋenda kukigabira abaavu, era buli gwe nnanyagako ssente ŋŋenda kumuliyirira emirundi ena.”+ 9 Awo Yesu n’agamba nti: “Olwa leero obulokozi buzze mu nnyumba eno kubanga ono naye mwana wa Ibulayimu. 10 Omwana w’omuntu yajja kunoonya na kulokola abo abaabula.”+
11 Abayigirizwa bwe baali bawuliriza ebyo, n’abagerera olugero olulala kubanga yali kumpi ne Yerusaalemi era baali balowooza nti Obwakabaka bwa Katonda bwali bugenda kulabika mangu ago.+ 12 Awo n’agamba nti: “Waaliwo omusajja ow’omu lulyo olulangira eyagenda mu nsi ey’ewala+ okulya obwakabaka era oluvannyuma akomewo. 13 Yayita abaddu be kkumi, n’abawa mina* kkumi, n’abagamba nti, ‘Muzikozese okusuubula okutuusa lwe ndikomawo.’+ 14 Naye abatuuze b’omu nsi ye baali tebamwagala, era oluvannyuma lw’okugenda, baatuma ababaka gye yali agenze bagambe nti, ‘Tetwagala musajja oyo kufuuka kabaka waffe.’
15 “Bwe yakomawo ng’amaze okulya obwakabaka, yayita abaddu be yali awadde ssente eza ffeeza, asobole okumanya amagoba ge baali bafunye mu kusuubula.+ 16 Ow’olubereberye n’ajja n’amugamba nti, ‘Mukama wange, mina yo yavaamu mina kkumi.’+ 17 N’amugamba nti, ‘Weebale nnyo, omuddu omulungi! Olw’okuba mu kintu ekitono ennyo olaze nti oli mwesigwa, nkuwadde obuyinza ku bibuga kkumi.’+ 18 Ow’okubiri n’ajja n’agamba nti, ‘Mukama wange, mina yo yavaamu mina ttaano.’+ 19 Ono naye n’amugamba nti, ‘Naawe beera n’obuyinza ku bibuga bitaano.’ 20 N’omulala n’ajja n’agamba nti, ‘Mukama wange, mina yo gye nnatereka mu lugoye yiino. 21 Nnakutya kubanga oli mukambwe; otwala by’otaatereka era okungula by’otaasiga.’+ 22 N’amugamba nti, ‘Ggwe omuddu omubi, nkusalira omusango okusinziira ku ebyo by’oyogedde. Wali okimanyi nti ndi mukambwe, nti ntwala kye saatereka era nti nkungula kye saasiga;+ 23 kati olwo lwaki ssente zange eza ffeeza tewaziwa basuubuzi? Bwe nnandikomyewo nnandizifunye nga ziriko amagoba.’
24 “Awo n’agamba abaali bayimiridde awo nti, ‘Mumuggyeeko mina mugiwe oyo alina mina ekkumi.’+ 25 Naye ne bamugamba nti, ‘Mukama waffe, oyo alina mina kkumi!’— 26 ‘Mbagamba nti, buli alina alyongerwako; naye oyo atalina, ne ky’alina kirimuggibwako.+ 27 Era n’abalabe bange abo abaali batayagala mbeere kabaka waabwe, mubaleete wano mubattire mu maaso gange.’”
28 Bwe yamala okwogera ebyo, ne yeeyongerayo n’agenda e Yerusaalemi. 29 Bwe yali anaatera okutuuka e Besufaage era n’e Bessaniya ku lusozi oluyitibwa Olusozi olw’Emizeyituuni,+ n’atuma abayigirizwa be babiri,+ 30 n’abagamba nti: “Mugende mu kabuga kali ke mulengera, era bwe munaakayingiramu, mujja kulaba omwana gw’endogoyi ogusibiddwa oguteebagalwangako muntu yenna. Mugusumulule muguleete. 31 Naye omuntu yenna bw’ababuuza nti, ‘Lwaki mugusumulula?’ Mumugambe nti, ‘Mukama waffe agwetaaga.’” 32 Abo abaatumibwa ne bagenda, ne bagusanga nga bwe yali abagambye.+ 33 Naye bwe baali bagusumulula, bannannyini gwo ne bababuuza nti: “Lwaki musumulula omwana gw’endogoyi ogwo?” 34 Ne babaddamu nti: “Mukama waffe agwetaaga.” 35 Ne bagutwala awali Yesu, ne baguteekako ebyambalo byabwe eby’okungulu, ne bamutuuzaako.+
36 Bwe yali agenda, ne baalirira ebyambalo byabwe eby’okungulu mu kkubo.+ 37 Amangu ddala nga yaakatuuka okumpi n’ekkubo eriserengeta okuva ku Lusozi olw’Emizeyituuni, ekibiina kyonna eky’abayigirizwa ne kitandika okujaganya n’okutendereza Katonda mu ddoboozi ery’omwanguka olw’ebyamagero byonna bye baali balabye, 38 nga bagamba nti: “Aweereddwa omukisa oyo ajja nga Kabaka mu linnya lya Yakuwa!* Emirembe gibe mu ggulu, era ka tugulumize Katonda ali waggulu!”+ 39 Naye abamu ku Bafalisaayo abaali mu kibiina ky’abantu ne bamugamba nti: “Omuyigiriza, koma ku bayigirizwa bo.”+ 40 N’abaddamu nti: “Mbagamba nti, singa bano basirika, amayinja gajja kwogerera waggulu.”
41 Bwe yatuuka okumpi n’ekibuga, n’akitunuulira, n’akikaabira,+ 42 ng’agamba nti: “Singa ku lunaku luno wali otegedde ebintu ebireeta emirembe—naye kati tosobola kubiraba na maaso go.+ 43 Kubanga ennaku zijja abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo eky’emiti emisongovu era ne bakwetooloola ne bakuzingiza ku buli luuyi.+ 44 Balikuzikiriza ggwe n’abaana bo,+ era tebalikulekamu jjinja liri ku linnaalyo+ kubanga tewamanya kiseera kye wakebererwamu.”
45 Awo n’ayingira mu yeekaalu, n’agobamu abo abaali batundiramu,+ 46 ng’abagamba nti: “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eriba nnyumba ya kusabiramu,’+ naye mmwe mugifudde mpuku y’abanyazi.”+
47 Awo ne yeeyongera okuyigiririza mu yeekaalu buli lunaku. Naye bakabona abakulu n’abawandiisi, n’abantu abakulu mu ggwanga baali baagala kumutta;+ 48 naye ne babulwa engeri y’okukikolamu kubanga abantu baakuŋŋaaniranga w’ali okumuwuliriza.+