ESSUULA 22
“Sinza Katonda”
OMULAMWA: Okwejjukanya ebintu ebikulu ebiri mu kitabo kya Ezeekyeri n’engeri gye bitukwatako leero era n’engeri gye bijja okutukwatako mu biseera eby’omu maaso
1, 2. (a) Kintu ki ffenna kye tulina okusalawo? (b) Kiki malayika omwesigwa kye yakola nga Yokaana ayagala okumusinza?
BULI omu ku ffe alina okuddamu ekibuuzo kino ekikulu: Ani gwe nnaasinza? Bangi bayinza okugamba nti ekibuuzo ekyo kyangu okuddamu, kubanga Katonda yekka gwe tulina okusinza. Naye ebigambo obugambo si bye biraga nti omuntu asinza Katonda. Ebyo bye tukola biraga obanga tusinza Yakuwa Katonda oba tusinza Sitaani.
2 Sitaani ayagala nnyo okusinzibwa. Ekyo kyeyoleka lwatu bwe yali akema Yesu. Nga bwe twalaba mu Ssuula 1 ey’ekitabo kino, Sitaani yasuubiza okuwa Yesu obuyinza ku bwakabaka bwonna obw’omu nsi. Naye kiki Sitaani kye yali ayagala Yesu akole okusobola okumuwa obuyinza obwo? Yagamba Yesu nti: “Nja kubikuwa singa ovunnama n’onsinza.” (Mat. 4:9) Okwawukana ku Sitaani, malayika eyaleetera omutume Yokaana obubaka obuli mu kitabo ky’Okubikkulirwa ye yagaana okusinzibwa. (Soma Okubikkulirwa 22:8, 9.) Yokaana bwe yali ayagala okusinza malayika oyo, malayika oyo yamugamba nti: “Ekyo tokikola!” Mu kifo ky’ekyo yamugamba nti: “Sinza Katonda.”
3. (a) Ekitabo kino kibadde na kigendererwa ki? (b) Kiki kye tugenda okwekenneenya?
3 Ekigendererwa ky’ekitabo kino kibadde kya kutuyamba okuba abamalirivu okukola ekyo malayika kye yagamba Yokaana, kwe kugamba, okusinza Yakuwa Katonda yekka. (Ma. 10:20; Mat. 4:10) Kati ka tulabe mu bufunze ebyo bye tuyize ku kusinza okulongoofu mu bunnabbi bwa Ezeekyeri n’okwolesebwa kwe yafuna. Era nga tukozesa Ebyawandiikibwa tugenda kwekenneenya ebyo ebiribaawo mu kiseera eky’omu maaso abantu bonna ku nsi lwe balyolekagana n’okugezesebwa okusembayo. Abo abaliyita mu kugezesebwa okwo be baliraba okusinza okulongoofu nga kuzziddwawo mu bujjuvu.
Ensonga Essatu Ezikkaatirizibwa mu Kitabo kya Ezeekyeri
4. Nsonga ki esatu ezikkaatirizibwa mu kitabo kya Ezeekyeri?
4 Ekitabo kya Ezeekyeri kikkaatiriza ensonga ssatu ezikwata ku kusinza okulongoofu. Abo abasinza Yakuwa mu ngeri entuufu (1) balina okuba nga basinza Yakuwa yekka, (2) balina okuba nga bali bumu mu kusinza okulongoofu, ne (3) balina okuba nga baagala abalala. Lowooza ku ngeri obunnabbi n’okwolesebwa ebyogeddwako mu kitabo kino gye biraga obulungi ensonga ezo essatu.
Ensonga esooka: Okusinza Yakuwa yekka
5-9. Biki bye tuyize ku nsonga ekwata ku kusinza Yakuwa yekka?
5 Essuula 3:a Okwolesebwa okulaga nga Yakuwa yeetooloddwa musoke era ng’ali waggulu w’ebitonde eby’omwoyo eby’amaanyi ennyo kutuyigiriza nti Omuyinza w’Ebintu Byonna ye yekka agwanidde okusinzibwa.—Ezk. 1:4, 15-28.
6 Essuula 5: Okwolesebwa okulaga engeri Abayisirayiri gye baali boonoonyemu yeekaalu kwali kwennyamiza nnyo! Okwolesebwa okwo kulaga nti tewali kintu kisobola kukwekebwa Yakuwa. Abantu bwe bakola ebintu ebitali bya bwesigwa, gamba ng’okusinza ebifaananyi, abalaba, ne bwe baba nga babikolera mu nkukutu. Ebikolwa ng’ebyo bimunyiiza era abonereza abo ababikola.—Ezk. 8:1-18.
7 Essuula 7: Okuba nti Yakuwa yasalira omusango amawanga agaayisa obubi Isirayiri, kiraga nti Yakuwa ajja kusalira omusango abo abayisa obubi abantu be. (Ezk. 25:6) Ate era waliwo ekintu ekirala kye tuyigira ku ngeri Isirayiri gye yakolaganamu n’amawanga ago. Bwe kituuka ku bwesigwa, Yakuwa gwe tulina okukulembeza. Tetusaanidde kukkiriza ba ŋŋanda zaffe abataweereza Yakuwa kutuleetera kumenya misingi gya Yakuwa, era tetusaanidde kussa bwesige bwaffe mu bya bugagga oba okuwuliriza gavumenti z’abantu okusinga Yakuwa.
8 Essuula 13 ne 14: Okwolesebwa okukwata ku yeekaalu eri ku lusozi oluwanvu ennyo kutuyigiriza nti tulina okutambulira ku mitindo gya Yakuwa egya waggulu nga tukimanyi nti Yakuwa asukkulumye ku bakatonda abalala bonna.—Ezk. 40:1–48:35.
9 Essuula 15: Obunnabbi obugeraageranya Isirayiri ne Yuda ku bamalaaya butujjukiza nti Yakuwa akyayira ddala abo abenda mu by’omwoyo.—Ezk., sul. 16, 23.
Ensonga ey’okubiri: Okuba obumu mu kusinza okulongoofu
10-14. Ensonga ey’okusigala nga tuli bumu mu kusinza okulongoofu ekkaatiriziddwa etya?
10 Essuula 8: Obunnabbi obulaga nti Yakuwa yanditaddewo “omusumba omu” okulabirira abantu be butuyigiriza nti tulina okuba nga tukolera wamu mu mirembe era nga tuli bumu wansi w’obukulembeze bwa Yesu.—Ezk. 34:23, 24; 37:24-28.
11 Essuula 9: Obunnabbi bwa Ezeekyeri obukwata ku kuggya abantu ba Katonda mu buwaŋŋanguse e Babulooni ne bazzibwayo mu nsi yaabwe bulimu eby’okuyiga eri abo bonna abaagala okusanyusa Yakuwa leero. Abaweereza ba Yakuwa ab’amazima balina okwekutulira ddala ku madiini ag’obulimba. Wadde nga twava mu madiini ag’enjawulo, ng’embeera yaffe ey’eby’enfuna tefaanagana, era nga tuli ba mawanga ga njawulo, tulina okusigala nga tuli bumu era ekyo kitwawulawo ku bantu abatasinza Yakuwa.—Ezk. 11:17, 18; 12:24; Yok. 17:20-23.
12 Essuula 10: Okwolesebwa okukwata ku magumba amakalu agaddamu okulamuka kwakkaatiriza ensonga ey’okuba obumu. Nga tulina enkizo ya maanyi okuba mu bantu ba Yakuwa abaayonjebwa mu by’omwoyo era abakolera awamu ng’eggye!—Ezk. 37:1-14.
13 Essuula 12: Ate era obumu bwakkaatirizibwa nnyo mu bunnabbi obukwata ku miggo ebiri egyafuuka omuggo ogumu. Nga kizzaamu nnyo amaanyi okulaba ng’abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala batuukiriza obunnabbi obwo! Wadde nga tuli mu nsi erimu enjawukana eziva ku madiini ne ku by’obufuzi, ffe tuli bumu olw’okuba twagalana era tuli beesigwa.—Ezk. 37:15-23.
14 Essuula 16: Okwolesebwa okukwata ku musajja alina akacupa ka bwino n’abasajja abakutte eby’okulwanyisa kulimu okulabula okukulu ennyo. “Ekibonyoobonyo ekinene” bwe kinaatandika, abo bokka abanaasangibwa nga basinza Yakuwa mu ngeri entuufu be bajja okussibwako akabonero bawonewo.—Mat. 24:21; Ezk. 9:1-11.
Ensonga ey’okusatu: Okwagala abalala
15-18. Lwaki tulina okweyongera okwoleka okwagala, era ekyo tuyinza kukikola tutya?
15 Essuula 4: Okwolesebwa okukwata ku biramu ebina kwatuyigiriza ebikwata ku ngeri za Yakuwa, era ng’esingirayo ddala obukulu kwe kwagala. Bwe twoleka okwagala mu bye twogera ne bye tukola tuba tukiraga nti Yakuwa ye Katonda waffe.—Ezk. 1:5-14; 1 Yok. 4:8.
16 Essuula 6 ne 11: Olw’okuba Katonda ayagala nnyo abantu yateekawo abakuumi, gamba nga Ezeekyeri. Ate era olw’okuba Katonda kwagala, teyandyagadde muntu yenna kuzikirizibwa bw’anaaba ng’azikiriza ensi ya Sitaani. (2 Peet. 3:9) Tusobola okwoleka okwagala nga Katonda singa tuwagira omulimu ogukolebwa omukuumi Yakuwa gw’ataddewo leero.—Ezk. 33:1-9.
17 Essuula 17 ne 18: Yakuwa akimanyi nti bangi tebajja kusiima busaasizi bw’abalaga era bajja kugezaako okusaanyaawo abaweereza be abeesigwa. Okwagala kujja kuleetera Yakuwa okulwanirira abantu be “Googi ow’omu nsi y’e Magoogi” bw’anaabalumba. Okwagala kwe tulina eri bantu bannaffe kutuleetera okulabula abantu bangi nga bwe kisoboka nti Yakuwa ajja kuzikiriza abo bonna abayigganya abantu be.—Ezk. 38:1–39:20; 2 Bas. 1:6, 7.
18 Essuula 19, 20, ne 21: Okwagala Yakuwa kw’alina eri abantu kweyolekera mu kwolesebwa okukwata ku mugga ogw’amazzi agawa obulamu ne mu ngeri ensi gy’egabanyizibwamu. Okwolesebwa okwo kulaga ebirungi ebiva mu kikolwa Yakuwa kye yakola ekisingayo okwoleka okwagala kwe bwe yawaayo Omwana we tusobole okusonyiyibwa ebibi era n’okubeera abantu abatuukiridde ab’omu maka ga Yakuwa. Emu ku ngeri esingayo obulungi gye tuyinza okulaga abantu nti tubaagala kwe kubabuulira ku biseera eby’omu maaso ebirungi Katonda by’ategekedde abo abakkiririza mu Mwana we.—Ezk. 45:1-7; 47:1–48:35; Kub. 21:1-4; 22:17.
Bajja Kwoleka Obwetoowaze obw’Ekitalo Oluvannyuma lw’Obufuzi obw’Emyaka Olukumi
19. Biki Yesu by’anaakola mu kiseera ky’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi? (Laba akasanduuko “Okugezesebwa Okusembayo.”)
19 Mu kiseera ky’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi, Yesu ajja kuzuukiza abantu buwumbi na buwumbi amalewo obulumi obuleetebwa ‘omulabe, kufa.’ (1 Kol. 15:26; Mak. 5:38-42; Bik. 24:15) Ebyafaayo by’omuntu bibadde ng’olugero olunakuwaza ennyo. Naye Yesu bw’anaagenda azuukiza abantu abaaliwo mu mirembe egy’enjawulo ajja kuba ng’asangula olugero olwo, abenga awa abo abanaazuukizibwa akakisa okuwandiika olugero olulala olunyuma. Ng’asinziira ku ssaddaaka ye, Yesu ajja kumalawo obulwadde, entalo, n’enjala. Ate era ajja kutuyamba okuggweeramu ddala ekibi kye twasikira ku Adamu ekisibukako okubonaabona kwonna. (Bar. 5:18, 19) Yesu ajja “okuggyawo ebikolwa by’Omulyolyomi” byonna. (1 Yok. 3:8) Kiki ekinaddirira?
Abanaazuukizibwa bajja kuweebwa akakisa okuwandiika olugero olulala olunyuma
20. Yesu ne banne 144,000 banaayoleka batya obwetoowaze obw’amaanyi? Nnyonnyola. (Laba ekifaananyi ku lupapula 226.)
20 Soma 1 Abakkolinso 15:24-28. Abantu bonna bwe banaaba bafuuse abatuukiridde era ng’ensi efuuliddwa olusuku lwa Katonda ng’ekigendererwa kya Katonda bwe kyali mu kusooka, Yesu ne 144,000 abanaafuga naye bajja kukola ekintu ekyoleka obwetoowaze obw’ekitalo. Bajja kuwaayo Obwakabaka eri Yakuwa. Kyeyagalire era mu mirembe, bajja kuwaayo obuyinza bwe banaaba babadde nabwo okumala emyaka lukumi. Ebyo byonna Obwakabaka bye bunaaba bukoze bijja kuba bya lubeerera.
Okugezesebwa Okusembayo
21, 22. (a) Ensi eneeba etya ku nkomerero y’emyaka olukumi? (b) Lwaki Yakuwa ajja kusumulula Sitaani ne badayimooni?
21 Oluvannyuma Yakuwa ajja kukola ekintu ekyewuunyisa, ekiraga nti yeesiga abaweereza be abali ku nsi. Ajja kulagira Sitaani ne badayimooni bateebwe okuva mu bunnya mwe banaaba bamaze emyaka lukumi. (Soma Okubikkulirwa 20:1-3.) Ensi mu kiseera ekyo ejja kuba ya njawulo nnyo ku eyo gye baali bamanyi. Nga Amagedoni tannabaawo, abantu abasinga obungi baali babuzaabuziddwa Sitaani era ng’obukyayi n’obusosoze bibaleetedde okuba n’enjawukana. (Kub. 12:9) Naye emyaka olukumi we ginaggweerako abantu bonna bajja kuba basinza Yakuwa nga bali bumu era nga baagalana. Ensi yonna ejja kuba lusuku lwa Katonda.
22 Lwaki Yakuwa ajja kuleka Sitaani ne badayimooni, abalabe abo ab’omutawaana ennyo, okwetaayiza mu nsi eneeba emaze okulongoosebwa? Ekyo kiri bwe kityo kubanga abantu abasinga obungi ku abo abanaabaawo ku nkomerero y’emyaka olukumi bajja kuba ng’obwesigwa bwabwe eri Yakuwa tebugezesebwangako. Abasinga obungi bajja kuba nga baafa tebamanyi bikwata ku Yakuwa naye ne bazuukizibwa okuba mu Lusuku lwa Katonda. Ng’oggyeeko okuba nti Yakuwa anaaba abazuukizza, era ajja kuba abawadde byonna bye beetaaga mu by’omubiri ne mu by’omwoyo. Bajja kuba tebabeerangako na muntu yenna abapikiriza oba abasendasenda kukola bintu bibi. Bajja kuba beetooloddwa abantu abaagala Yakuwa era abamuweereza. Nga bwe yakola eri Yobu, Sitaani ayinza okulumiriza abantu abo abanaazukizibwa nti baweereza Katonda olw’okuba abakuuma era olw’okuba abawa emikisa. (Yob. 1:9, 10) N’olwekyo, Yakuwa bw’anaaba tannawandiika mannya gaffe mu kitabo eky’obulamu gabeeremu emirembe gyonna, ajja kutuwa akakisa okukyoleka kaati nti tumunywereddeko era nti gwe tutwala nga Kitaffe era Omufuzi waffe ow’oku ntikko.—Kub. 20:12, 15.
23. Kusalawo ki buli muntu kw’ajja okwolekagana nakwo?
23 Okumala akaseera katono, Sitaani ajja kuweebwa akakisa agezeeko okusendasenda abantu okulekera awo okuweereza Katonda. Okugezesebwa okwo kunaaba kutya? Tewali kubuusabuusa nti buli muntu ajja kuba ayolekaganye n’okusalawo okufaanana n’okwo Adamu ne Kaawa kwe baayolekagana nakwo. Buli muntu ajja kuba alina okusalawo obanga anaanywerera ku mitindo gya Yakuwa, anaawagira obufuzi bwe, era anaamusinza, oba anaajeemera Katonda n’adda ku ludda lwa Sitaani.
24. Lwaki abajeemu abo bayitibwa Googi ne Magoogi?
24 Soma Okubikkulirwa 20:7-10. Kituukirawo okuba nti abo abanaajeema ku nkomerero y’emyaka olukumi bayitibwa Googi ne Magoogi. Ekyo kiri kityo kubanga bajja kwoleka engeri ezifaananako n’ez’abajeemu Ezeekyeri be yayogerako abajja okulumba abantu ba Katonda mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. “Googi ow’omu nsi y’e Magoogi,” Ezeekyeri gwe yayogerako, ge mawanga ag’enjawulo agaliba galwanyisizza obufuzi bwa Yakuwa. (Ezk. 38:2) Mu ngeri y’emu, abo abajja okujeema ku nkomerero y’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi bayitibwa ‘mawanga.’ Ekyo nno kirina kye kituyamba okumanya. Lwaki? Kubanga mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, eky’okuba nti abantu baawuddwamu amawanga ag’enjawulo kijja kuba kyaggibwawo dda; abantu bonna bajja kuba wansi wa gavumenti emu, Obwakabaka bwa Katonda. Ffenna tujja kuba ggwanga limu. Mu kuyita abajeemu abo Googi ne Magoogi era mu kubayita “amawanga,” obunnabbi obwo buba bulaga nti Sitaani ajja kusobola okuleetawo enjawukana mu bamu ku bantu ba Katonda. Tewali muntu ajja kuwalirizibwa kudda ku ludda lwa Sitaani. Abantu bonna bajja kuba batuukiridde era buli omu ajja kwesalirawo.
25, 26. Bantu bameka abaneegatta ku Sitaani, era kiki ekinaabatuukako?
25 Bantu bameka abaneegatta ku Sitaani? Omuwendo gw’abo abanaajeema “gulinga omusenyu gw’ennyanja.” Naye ebigambo ebyo tebitegeeza nti abantu bangi nnyo bajja kujeema. Ekyo tukimanya tutya? Lowooza ku ekyo Yakuwa kye yasuubiza Ibulayimu. Yakuwa yagamba Ibulayimu nti ezzadde lye lyandibadde “ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja.” (Lub. 22:17, 18) Naye bonna awamu abali mu zzadde eryo bali 144,001. (Bag. 3:16, 29) Wadde ng’omuwendo ogwo munene, bw’ogugeraageranya n’omuwendo gw’abantu bonna teguba munene nnyo. Mu ngeri y’emu, omuwendo gw’abo abaneegatta ku Sitaani guyinza okuba omunene, naye tegujja kuba munene nnyo. Abajeemu abo tebajja kusobola kusaanyaawo bantu ba Katonda abeesigwa.
26 Abo bonna abanaajeema bajja kuzikirizibwa mu bwangu. Bano awamu ne Sitaani ne badayimooni, bajja kusaanyizibwawo ddala era tebajja kuddamu kuba balamu nate. Okusalawo kwabwe okubi n’ebyo ebinaakuvaamu bye bijja okujjukirwa emirembe gyonna.—Kub. 20:10.
27-29. Birungi ki ebirindiridde abo abanaayita mu kugezesebwa okusembayo?
27 Ku luuyi olulala, abo abanaayita mu kugezesebwa okusembayo, amannya gaabwe gajja kuwandiikibwa mu “kitabo eky’obulamu” gabeeremu emirembe gyonna. (Kub. 20:15) Abantu abo abeesigwa bajja kuba baana ba Katonda, nga bali bumu, era nga basinza Katonda nga bw’agwanidde okusinzibwa.
28 Lowooza ku biseera ebyo ebirungi eby’omu maaso. Ojja kuba n’eby’okukola bingi ebikuleetera essanyu, era ojja kuba n’emikwano emirungi mingi. Ggwe awamu n’abantu abalala temujja kuddamu kubonaabona. Olw’okuba ojja kuba otuukiridde, ojja kuba tokyetaaga kinunulo okusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Buli muntu ajja kuba mukwano gwa Katonda nga tewali kimukugira. N’ekisinga obukulu, mu ggulu ne ku nsi, Yakuwa ajja kuba asinzibwa mu ngeri etuukiridde. Mazima ddala okusinza okulongoofu kujja kuba kuzziddwawo mu bujjuvu!
29 Onoobaawo okulaba ebintu ebyo nga bituukirira? Ojja kubaawo singa oneeyongera okukola ebintu ebisatu ebikulu bye tulabye mu kitabo kya Ezeekyeri: Weemalire ku Yakuwa, sigala ng’oli bumu n’abantu be mu kusinza okulongoofu, era laga abalala okwagala. Waliwo ekintu ekirala ekikulu ennyo kye tuyiga mu bunnabbi bwa Ezeekyeri. Kintu ki ekyo?
“Bajja Kumanya nti Nze Yakuwa”
30, 31. Ebigambo “bajja kumanya nti nze Yakuwa” binaaba na makulu ki (a) eri abalabe ba Katonda? (b) eri abantu ba Katonda?
30 Mu kitabo kya Ezeekyeri, ebigambo “bajja kumanya nti nze Yakuwa” biddiŋŋanwa enfunda n’enfunda. (Ezk. 6:10; 39:28) Eri abalabe ba Katonda, ebigambo ebyo bijja kuba biraga nti boolekedde lutalo na kuttibwa. Ng’oggyeeko okuwalirizibwa okukkiriza nti Yakuwa gy’ali, bajja kumanya amakulu g’erinnya lye ekkulu eritegeeza nti “Aleetera Ebintu Okubaawo.” “Yakuwa ow’eggye” ajja kufuuka “mulwanyi muzira,” era ajja kubalwanyisa. (1 Sam. 17:45; Kuv. 15:3) Kyaddaaki bajja kukitegeera nti tewali kintu kyonna kiyinza kulemesa Yakuwa kutuukiriza kigendererwa kye. Naye ekyo bajja kukitegeera nga buyise.
31 Eri abantu ba Katonda, ebigambo “bajja kumanya nti nze Yakuwa” bijja kuba bitegeeza mirembe na bulamu. Yakuwa ajja kutuleetera okubeera ekyo kye yali ayagala tubeere mu kusooka; batabani be ne bawala be abooleka engeri ze ku kigero ekituukiridde. (Lub. 1:26) Yakuwa yamala dda okukyoleka nti ye Kitaffe atwagala era ye Musumba waffe atukuuma. Mu kiseera ekitali kya wala, ajja kufuuka Kabaka waffe omuwanguzi. Ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, ka tufube okukolera ku bubaka obuli mu kitabo kya Ezeekyeri. Ka bulijjo tukyoleke mu bigambo ne mu bikolwa nti tumanyi Yakuwa n’amakulu g’erinnya lye. Bwe tukola bwe tutyo, ekibonyoobonyo ekinene bwe kinaatandika, tetujja kutya. Mu kifo ky’ekyo, tujja kuyimusa emitwe gyaffe, kubanga tujja kuba tukimanyi nti okununulibwa kwaffe kunaatera okutuuka. (Luk. 21:28) Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, ka tufube okuyamba abantu buli wamu, okumanya n’okwagala Katonda, Oyo yekka agwanidde okusinzibwa era alina erinnya erisinga amannya gonna, Yakuwa.—Ezk. 28:26.
a Zino ssuula ez’ekitabo kino.