Ekitangaala Ekiva eri Katonda Kiggyawo Ekizikiza!
“Mukama alyakira ekizikiza kyange.”—2 SAMWIRI 22:29.
1. Ekitangaala kikwataganyizibwa kitya n’obulamu?
“KATONDA n’ayogera nti: ‘Wabeewo ekitangaala.’ Ne wabaawo ekitangaala.” (Olubereberye 1:3, NW) Okusinziira ku bigambo ebyo ebikulu ennyo, ekitabo ky’Olubereberye kiraga nti Yakuwa ye nsibuko y’ekitangaala; ate nga singa ekitangaala tekyaliwo, obulamu tebwandisobodde kubaawo ku nsi. Era Yakuwa ye nsibuko y’ekitangaala eky’eby’omwoyo kye twetaaga ennyo mu bulamu. (Zabbuli 43:3) Kabaka Dawudi yalaga akakwate akaliwo wakati w’ekitangaala eky’eby’omwoyo n’obulamu bwe yawandiika: “Ggwe nsibuko y’obulamu; olw’ekitangaala ekiva gy’oli tusobola okulaba ekitangaala.”—Zabbuli 36:9, NW.
2. Nga Pawulo bwe yalaga, ekitangaala kikwataganyizibwa naki?
2 Nga wayiseewo emyaka nga 1,000 okuva mu kiseera kya Dawudi, omutume Pawulo yajuliza ebyawandiikibwa ebikwata ku kutondebwa. Bwe yali awandiikira ekibiina Ekikristaayo eky’omu Kkolinso, yagamba: “Katonda ye yayogera nti: ‘Ekitangaala kyake okuva mu kizikiza.’” Era Pawulo yalaga nti ekitangaala eky’omwoyo kikwataganyizibwa n’okumanya okuva eri Yakuwa bwe yagattako: “Amulisizza emitima gyaffe n’ekitangaala eky’okutegeera ekitiibwa kye ekirabikira mu Kristo.” (2 Abakkolinso 4:6, NW) Ekitangaala ekyo kitutuukako kitya?
Baibuli Ewa Ekitangaala
3. Kitangaala ki Yakuwa ky’atuwa okuyitira mu Baibuli?
3 Okusingira ddala, Yakuwa atutuusaako ekitangaala eky’eby’omwoyo ng’ayitira mu Kigambo kye, Baibuli. N’olwekyo, bwe tusoma Baibuli era ne tufuna okumanya okuva eri Katonda, tuba tufuna ekitangaala ekiva gy’ali. Okuyitira mu Baibuli, Yakuwa atutangaaza ku bigendererwa bye era n’atutegeeza engeri gye tuyinza okukolamu by’ayagala. Ekyo kireetera obulamu bwaffe okubeera n’ekigendererwa era ne kituyamba okufuna bye twetaaga mu by’omwoyo. (Omubuulizi 12:1; Matayo 5:3) Yesu yakiggumiza nti tuteekwa okukola ku byetaago byaffe eby’omwoyo. Yayogera bw’ati ng’ajuliza okuva mu Mateeka ga Musa: “Kyawandiikibwa nti Omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.”—Matayo 4:4; Ekyamateeka 8:3.
4. Mu ngeri ki Yesu gy’ali “ekitangaala ky’ensi”?
4 Yesu akwataganyizibwa n’ekitangaala eky’eby’omwoyo. Mazima ddala, yeeyogerako nga “ekitangaala ky’ensi” ng’agamba: “Oyo angoberera taatambulirenga mu kizikiza, naye anaabanga n’ekitangaala eky’obulamu.” (Yokaana 8:12, NW) Ebigambo ebyo bituyamba okutegeera ekifo ekikulu Yesu ky’alina mu kutuusa ku bantu amazima agakwata ku Yakuwa. Okusobola okwewala ekizikiza ne tutambulira mu kitangaala kya Katonda, tuteekwa okuwuliriza byonna Yesu by’atugamba era ne tugoberera ekyokulabirako kye awamu n’ebyo bye yayigiriza nga bwe biri mu Baibuli.
5. Buvunaanyizibwa ki abagoberezi ba Yesu bwe baalina ng’amaze okufa?
5 Ng’ebulayo ennaku ntono afe, Yesu bwe yali nga yeeyogerako nate ng’ekitangaala, yagamba abayigirizwa be: ‘Esigaddeyo ebiro bitono ekitangaala okuba nga kikyali gye muli. Mutambule nga mukyalina ekitangaala, ekizikiza kireme okubakwatira mu kkubo: atambulira mu kizikiza tamanya gy’agenda. Nga bwe mukyalina ekitangaala, mukkikirize, mufuuke abaana b’ekitangaala.’ (Yokaana 12:35, 36, NW) Abo abaafuuka abaana b’ekitangaala, baayiga ‘ebigambo eby’obulamu’ ebiri mu Baibuli. (2 Timoseewo 1:13, 14) Oluvannyuma, nabo baakozesa ebigambo ebyo eby’obulamu okuyamba abalala ab’emitima emyesigwa okuva mu kizikiza okuyingira mu kitangaala kya Katonda.
6. Mazima ki amakulu agakwata ku kitangaala n’ekizikiza ge tusanga mu 1 Yokaana 1:5?
6 Omutume Yokaana yawandiika: “Katonda kye kitangaala, era mu ye temuli kizikiza n’akatono.” (1 Yokaana 1:5, NW) Weetegereze enjawulo eriwo wakati w’ekitangaala n’ekizikiza. Ekitangaala eky’eby’omwoyo kiva eri Yakuwa, ate kyo ekizikiza eky’eby’omwoyo tekirina kakwate konna naye. Kati olwo, ani nsibuko y’ekizikiza?
Ensibuko y’Ekizikiza eky’Eby’Omwoyo
7. Ani aleetedde ensi okukwata ekizikiza mu by’omwoyo, era maanyi ki g’alina?
7 Omutume Pawulo yayogera ku “katonda ow’enteekateeka y’ebintu eno.” Mu kwogera bw’atyo, yali ategeeza Setaani Omulyolyomi. Era yagamba nti Omulyolyomi “yaziba amaaso g’abatakkiriza, ekitangaala ky’amawulire amalungi ag’ekitiibwa agakwata ku Kristo, ekifaananyi kya Katonda, kiremenga okubaakira.” (2 Abakkolinso 4:4, NW) Abantu bangi bagamba nti bakkiririza mu Katonda; naye ate bangi ku bo tebakkiriza nti Omulyolyomi gyali. Lwaki? Kubanga si beetegefu kukkiriza nti waliwo omubi ow’amaanyi agasukkiridde ag’omuntu asobola okubaako ky’akola ku ndowooza zaabwe. Wadde kiri kityo, nga Pawulo bwe yakiraga, Omulyolyomi gyali era alina ky’akola ku bantu baleme okulaba ekitangaala eky’amazima. Obusobozi bwa Setaani okukyusa endowooza z’abantu bulagibwa mu bunnabbi obumwogerako ‘ng’omulimba w’ensi zonna.’ (Okubikkulirwa 12:9) Era olw’enkola ya Setaani, kati abantu bonna ng’oggyeko abo abaweereza Yakuwa bali mu mbeera nnabbi Isaaya gye yalagulako: “Laba, ekizikiza kiribikka ku nsi n’ekizikiza ekikutte kiribikka ku mawanga.”—Isaaya 60:2.
8. Abo abali mu kizikiza eky’eby’omwoyo bakiraga batya nti babuzaabuziddwa?
8 Bw’oba ng’oli mu kizikiza ekikutte, oba tosobola kulaba kintu kyonna, kiba kyangu nnyo okubula oba okubuzaabuzibwa. Mu ngeri y’emu, abo abali mu kizikiza eky’eby’omwoyo tebaba na magezi era babuzaabuzibwa mu by’omwoyo. Bayinza okulemwa okwawulawo amazima ku bulimba oba ekirungi ku kibi. Nnabbi Isaaya yayogera bw’ati ku abo abali mu kizikiza eky’engeri eyo: “Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi, n’ekirungi ekibi; abateeka ekizikiza mu kifo ky’omusana, n’omusana mu kifo ky’ekizikiza; abateeka okukaawa mu kifo ky’okuwoomerera, n’okuwoomerera mu kifo ky’okukaawa!” (Isaaya 5:20) Abo abali mu kizikiza eky’eby’omwoyo bafugibwa katonda ow’ekizikiza, Setaani Omulyolyomi. Era n’olw’ensonga eyo, beeyawudde ku nsibuko y’ekitangaala n’obulamu.—Abaefeso 4:17-19.
Obuzibu Obuli mu Kuva mu Kizikiza Okudda mu Kitangaala
9. Nnyonnyola engeri abakozi b’obubi gye basikirizibwamu ekizikiza kyennyini ekya bulijjo era n’eky’eby’omwoyo.
9 Yobu omusajja omwesigwa yalaga engeri abakozi b’obubi gye basikirizibwamu ekizikiza kyennyini ekya bulijjo bwe yagamba: “Eriiso ly’omwenzi lirindirira ekizikiza, ng’ayogera nti Tewali liiso erinandaba: ne yeefuula amaaso ge.” (Yobu 24:15) Era abakozi b’obubi baba mu kizikiza eky’eby’omwoyo, ate ng’ekizikiza ng’ekyo kibafugira ddala. Omutume Pawulo yagamba nti obwenzi, okubba, omululu, obutamiivu, okuvuma n’obunyazi bikolebwa abo abali mu kizikiza ekyo. Naye omuntu yenna ajja mu kitangaala eky’Ekigambo kya Katonda asobola okukyuka. Mu bbaluwa ye eri Abakkolinso, Pawulo alaga nti enkyukakyuka ng’eyo esoboka. Abakristaayo bangi ab’omu Kkolinso baakolanga ebikolwa eby’omu kizikiza, kyokka Pawulo yabagamba: “Naye mwanaazibwa, naye mwatukuzibwa, naye mwaweebwa obutuukirivu olw’erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, n’olw’[o]mwoyo gwa Katonda waffe.”—1 Abakkolinso 6:9-11.
10, 11. (a) Yesu yalaga atya okufaayo eri omusajja gwe yazibula amaaso? (b) Lwaki abantu bangi tebaagala kitangaala?
10 Omuntu bw’ava mu kizikiza ekikutte n’adda mu kitangaala, amaaso ge gaba geetaaga okusooka okumanyiira ekitangaala. Ng’ali e Besusayida, Yesu yawonya omusajja omuzibe w’amaaso, naye nga kino yakikola mpolampola. “[Y]akwata omusajja omuzibe w’amaaso ku mukono, n’amufulumya ebweru w’embuga; awo bwe yawanda amalusu ku maaso ge, n’amussaako engalo, n’amubuuza nti Oliko ky’olaba? N’atunula waggulu, n’agamba nti Ndaba abantu, kubanga ndaba bafaanana ng’emiti, nga batambula. Ate n’amussa engalo ku maaso ge n’akanula okulaba, n’awona, n’alaba byonna bulungi.” (Makko 8:23-25) Kiyinzika okuba nti Yesu yazibula amaaso g’omusajja oyo mpolampola kimusobozese okumanyiira mpolampola okutunula mu kitangaala eky’amaanyi. Tusobola okutegeera essanyu omusajja oyo lye yafuna bwe yasobola okulaba.
11 Kyokka, essanyu ly’abo abayambibwa empolampola okuva mu kizikiza eky’eby’omwoyo ne badda mu kitangaala eky’amazima lisingira wala nnyo essanyu omusajja oyo lye yafuna. Bwe tulaba essanyu lye balina, tuyinza okwebuuza lwaki si bangi nnyo abasikirizibwa eri ekitangaala. Yesu awa ensonga: ‘Guno gwe musango kubanga ekitangaala kizze mu nsi, abantu ne baagala enzikiza okukira ekitangaala; kubanga ebikolwa byabwe byali bibi. Kubanga buli muntu yenna akola ebitasaana akyawa ekitangaala, so tajja eri ekitangaala, ebikolwa bye bireme okunenyezebwa.’ (Yokaana 3:19, 20) Yee, bangi baagala okukola “ebitasaana,” gamba ng’obwenzi, okunyigiriza abalala, okulimba, okukumpanya n’okubba; era ekizikiza kya Setaani eky’eby’omwoyo kibawa ekyanya okweyisa nga bwe balaba.
Okukulaakulanira mu Kitangaala
12. Tuganyuddwa tutya olw’okujja mu kitangaala?
12 Okuva lwe twafuna ekitangaala, nkyukakyuka ki ze tukoze mu bulamu bwaffe? Oluusi kiba kirungi okwekebera tulabe enkulaakulana gye tukoze mu by’omwoyo. Mpisa ki embi ze tuleseeyo? Bintu ki ebyali bitutawaanya bye tusobodde okutereeza? Enteekateeka zaffe ezikwata ku biseera eby’omu maaso zikyuse zitya? Nga tuyambibwako Yakuwa okuyitira mu mwoyo gwe, tusobola okweyongera okukola enkyukakyuka mu nneeyisa yaffe era ne mu ngeri gye tulowoozaamu, ezinaalaga nti ddala twagala ekitangaala. (Abaefeso 4:23, 24) Pawulo agamba bw’ati: “Mwali kizikiza, naye kaakano muli kitangaala mu Mukama waffe. Mutambulenga ng’abaana b’ekitangaala, kubanga mu bibala by’ekitangaala mubaamu obulungi bwonna n’obutuukirivu n’amazima.” (Abaefeso 5:8, 9, NW) Bwe tugoberera ekitangaala kya Yakuwa, tusobola okubeera n’essuubi era n’ekigendererwa mu bulamu, era kiganyula n’abo be tubeera nabo. Ate era, nga kisanyusa nnyo omutima gwa Yakuwa bwe tukola enkyukakyuka ng’ezo!—Engero 27:11.
13. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ekitangaala ekiva eri Yakuwa, era kiki ekyetaagisa okusobola okukola ekyo?
13 Tulaga nti tusiima obulamu obw’essanyu bwe tulina kati bwe tubunyisa ekitangaala ekiva eri Yakuwa, nga tubuulira ab’omu maka gaffe, mikwano gyaffe ne baliraanwa baffe bye tuyize mu Baibuli. (Matayo 5:12-16; 24:14) Okubuulira kwaffe awamu n’empisa zaffe ennungi ez’Ekikristaayo biba binenya abo abagaana okuwuliriza. Pawulo annyonnyola: “Mweyongerenga okutegeerera ddala Mukama waffe ky’ayagala; era temussanga kimu n’abo mu bikolwa ebitalina mugaso eby’ekizikiza, naye waakiri mubabuulirirenga bubuulirizi.” (Abaefeso 5:10, 11, NW) Kitwetaagisa okubeera n’obuvumu okusobola okuyamba abalala okuva mu kizikiza okudda mu kitangaala. N’ekisinga obukulu, kitwetaagisa okubeera ab’ekisa n’okufaayo ku balala awamu n’okwagala ennyo okubabuulira ebikwata ku kitangaala eky’amazima basobole okufuna emiganyulo egy’olubeerera.—Matayo 28:19, 20.
Weegendereze Ekitangaala Ekibuzaabuza
14. Ku bikwata ku kitangaala, kulabula ki kwe tusaanidde okugoberera?
14 Abo ababeera ku nnyanja obudde obw’ekiro, basanyukira buli kitangaala kye balaba. Mu biseera eby’edda, omuliro gwakumibwanga ku busozi obuli okumpi n’embalama z’ennyanja mu Bungereza okusobola okuyamba abali ku nnyanja oludda gye bayinza okulaga mu mbeera ey’omuyaga. Abagoba b’emmeeri baasanyukiranga nnyo ebitangaala ebyo kubanga byabasobozesanga okutuuka obulungi ku myalo. Kyokka, omuliro ogumu gwakumibwanga abantu abaagala okubuzaabuza. Mu kifo ky’okutuuka ku mwalo, emmeeri nnyingi zaabuzaabuzibwanga ne zitomera enjazi ne zimenyekamu era ebintu bye zaabanga zeetisse ne bibbibwa. Mu nsi eno ejjudde obulimba, tuteekwa okwegendereza tuleme okusikirizibwa ebitangaala ebitali bya nnamaddala ebiyinza okutuleetera okufuna ebizibu mu by’omwoyo. Tugambibwa nti, ‘Setaani yeefaananya nga malayika ow’ekitangaala.’ Mu ngeri y’emu, abaweereza be nga mw’otwalidde ne bakyewaggula, be ‘bakozi ab’obukuusa’ era nabo “beefaananya ng’abaweereza ab’obutuukirivu.” Singa tukkiriza endowooza ez’obulimba ez’abantu abo, obwesige bwe tulina mu Baibuli, Ekigambo kya Yakuwa eky’amazima, buyinza okukendeera era n’okukkiriza kwaffe kuyinza okusaanawo.—2 Abakkolinso 11:13-15; 1 Timoseewo 1:19.
15. Kiki ekinaatuyamba okusigala mu kkubo erituusa mu bulamu?
15 Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Ekigambo kyo ye ttabaaza eri ebigere byange, n’ekitangaala eri ekkubo lyange.” (Zabbuli 119:105, NW) Yee, ‘ekkubo ery’akanyigo erituusa mu bulamu’ limulisibwa ekitangaala kya Yakuwa, Katonda waffe omwagazi, “ayagala abantu aba buli kika okulokolebwa n’okutuuka ku kumanya okutuufu okw’amazima.” (Matayo 7:14; 1 Timoseewo 2:4, NW) Bwe tugoberera emisingi gya Baibuli, kijja kutukuuma obutawaba kuva mu kkubo eryo effunda okudda mu kkubo ery’ekizikiza. Pawulo yawandiika: “Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga, olw’okubuuli[ri]ra okuli mu butuukirivu.” (2 Timoseewo 3:16) Nga tugenda tukula mu by’omwoyo, tuyigirizibwa Ekigambo kya Katonda. Okuyitira mu Kigambo kya Katonda, ffe ffenyini tusobola okulaba ensobi zaffe, oba bwe kiba kyetaagisa, abakadde mu kibiina basobola okutulaga we tusobezza. Era tuyinza okutereeza ebintu ne tukkiriza okukangavvulwa mu butuukirivu ne tweyongera okutambulira mu kkubo erituusa mu bulamu.
Siima Okutambulira mu Kitangaala
16. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ekitangaala eky’ekitalo Yakuwa ky’atuwadde?
16 Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ekitangaala eky’ekitalo Yakuwa ky’atuwadde? Yokaana essuula 9 etutegeeza nti Yesu bwe yawonya omusajja eyazaalibwa nga muzibe w’amaaso, omusajja oyo yalaga nti asiimye. Mu ngeri ki? Yakkiriza nti Yesu yali Mwana wa Katonda era n’amwogerako mu lujjudde nti yali “nnabbi.” Kyokka era, mu ngeri ey’obuvumu, yawakanya abo abaali bagezaako okunyooma ebyamagero bya Yesu. (Yokaana 9:17, 30-34) Omutume Peetero, abantu abaafukibwako amafuta ab’omu kibiina Ekikristaayo abayita “bantu ba njawulo.” Lwaki? Kubanga balaga okusiima mu ngeri y’emu ng’omusajja oli eyazibulwa amaaso eyazaalibwa nga muzibe. Balaga nti basiima Yakuwa nga ‘babuulira ebirungi by’oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kitangaala kye eky’ekitalo.’ (1 Peetero 2:9, NW; Abakkolosaayi 1:13) Abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi nabo basiima mu ngeri y’emu, era bayamba baganda baabwe abaafukibwako amafuta mu kulangirira “ebirungi” bya Yakuwa. Eyo nga nkizo ya maanyi nnyo Katonda gy’awadde abantu abatatuukiridde!
17, 18. (a) Buvunaanyizibwa ki buli omu bw’alina? (b) Okufaananako Timoseewo, buli Mukristaayo akubirizibwa kwewala ki?
17 Kikulu nnyo okusiima ekitangaala eky’amazima. Jjukira nti tewali n’omu ku ffe azaalibwa ng’amanyi amazima. Abamu bagayiga mu bukulu, era mangu ddala balaba engeri ekitangaala gye kiri ekirungi ennyo okusinga ekizikiza. Abalala balina omukisa okukuzibwa abazadde abatya Katonda. Abalinga abo amazima bayinza obutagatwala ng’ekikulu. Omujulirwa omu alina bazadde be abaatandika okuweereza Yakuwa nga tannaba kuzaalibwa, agamba nti kyamutwalira ekiseera kiwanvu n’okufuba okw’amaanyi okutegeerera ddala obukulu bw’amazima ge yayigirizibwa okuva mu buto. (2 Timoseewo 3:15) Ka tube bato oba bakulu, buli omu ku ffe yeetaaga okusiima ennyo amazima Yakuwa g’atubikulidde.
18 Omuvubuka Timoseewo yayigirizibwa “ebyawandiikibwa ebitukuvu” okuva mu buwere, naye ekyamusobozesa okufuuka Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo kwali kwenyigira nnyo mu buweereza. (2 Timoseewo 3:15) Bwe kityo, yali asobola okuyamba omutume Pawulo eyamukubiriza: ‘Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, omukozi atakwatibwa nsonyi, akozesa obulungi ekigambo eky’amazima.’ Ka ffenna okufaananako Timoseewo, twewale okukola ekintu kyonna ekiyinza okutukwasa ensonyi oba ekiyinza okuvumisa erinnya lya Yakuwa!—2 Timoseewo 2:15.
19. (a) Okufaananako Dawudi, ffenna tusaanidde kugamba ki? (b) Kiki ekinaakubaganyizibwako ebirowoozo mu kitundu ekiddako?
19 Tulina ensonga nnyingi okutendereza Yakuwa eyatuwa ekitangaala eky’amazima. Okufaananako Kabaka Dawudi, naffe tugamba: “Ggwe ttabaaza yange, ai Mukama: era Mukama alyakira ekizikiza kyange.” (2 Samwiri 22:29) Kyokka era, tetwandirowoozezza nti tetulina kisingako awo kye tusaanidde kukola, kubanga ekyo kiyinza okutuviirako okuddayo mu kizikiza kye twaggyibwamu. N’olwekyo, ekitundu ekiddako kijja kutuyamba okwekenneenya engeri gye tutwalamu amazima Katonda g’atuyigirizza.
Oyize Ki?
• Yakuwa atutuusaako atya ekitangaala eky’eby’omwoyo?
• Ekizikiza eky’eby’omwoyo ekitwetoolodde kituleetera buzibu ki?
• Kabi ki ke tuteekwa okwewala?
• Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ekitangaala eky’amazima?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Yakuwa ye nsibuko y’ekitangaala ekya bulijjo n’eky’eby’omwoyo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Nga Yesu bwe yawonya omusajja omuzibe w’amaaso mpolampola, mu ngeri y’emu naffe bw’atuyamba okuva mu kizikiza eky’eby’omwoyo