Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Ebikulu Okuva mu Kitabo ky’Eby’Abaleevi
OMWAKA tegunayitawo bukya Abaisiraeri banunulibwa okuva mu buddu e Misiri. Kaakano nga bafuuliddwa eggwanga eppya, bali mu lugendo olunaabatuusa mu nsi y’e Kanani. Ekigendererwa kya Yakuwa kwe kusobozesa eggwanga ettukuvu okubeera mu nsi eyo. Kyokka, empisa z’Abakanani mbi nnyo ate nga n’ebikolebwa mu ddiini yaabwe nabyo bibi nnyo. N’olwekyo, Katonda ow’amazima awa eggwanga lya Isiraeri amateeka agajja okubaawulawo okusobola okumuweereza. Amateeka ago gaawandiikibwa mu kitabo kya Baibuli eky’Eby’Abaleevi. Ekitabo kino ekyawandiikibwa nnabbi Musa mu ddungu ly’e Sinaayi, awo nga mu 1512 B.C.E., bye kyogerako byaliwo mu bbanga lya mwezi nga gumu. (Okuva 40:17; Okubala 1:1-3) Enfunda n’enfunda Yakuwa akubiriza abantu be abamusinza okuba abatukuvu.—Eby’Abaleevi 11:44; 19:2; 20:7, 26.
Abajulirwa ba Yakuwa leero tebali wansi wa Mateeka Katonda ge yawa okuyitira mu Musa. Okufa kwa Yesu Kristo kwaggyawo Amateeka ago. (Abaruumi 6:14; Abaefeso 2:11-16) Kyokka, emisingi egisangibwa mu kitabo ky’Eby’Abaleevi gisobola okutuganyula era ne gituyigiriza bingi ebikwata ku ngeri y’okusinzaamu Katonda waffe Yakuwa.
EBIWEEBWAYO EBITUKUVU—EBYA KYEYAGALIRE N’EBY’ETTEEKA
Ebimu ku biweebwayo ne ssaddaaka eby’omu Mateeka, byaweebwangayo kyeyagalire, ate ng’ebirala omuntu yalinga ateekeddwa okubiwaayo. Ng’ekyokulabirako, ekiweebwayo ekyokebwa kyali kya kyeyagalire. Kyaweebwangayo mu bulambalamba eri Katonda, era nga ne Yesu Kristo bwe yeewaayo kyeyagalire mu bulambalamba ng’ekinunulo. Ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe zaagabanibwanga. Ekitundu ekimu kyaweebwangayo eri Katonda ku kyoto, ekirala kyaweebwanga kabona, ate ekirala n’ekitwalibwa oyo eyabanga awaddeyo ssaddaaka. Mu ngeri y’emu, eri Abakristaayo abaafukibwako amafuta, Ekijjukizo ky’okufa kwa Kristo kijjulo ekiriirwa awamu.—1 Abakkolinso 10:16-22.
Ebiweebwayo olw’ekibi n’ebiweebwayo olw’omusango byali bya tteeka. Ebiweebwayo olw’ekibi byatangiriranga ebibi ebyakolebwanga mu butamanya oba mu butali bugenderevu. Ate byo ebiweebwayo olw’omusango byaterezanga ensobi eyabanga ekoleddwa eri Katonda era ne kisobozesa omwonoonyi eyeenenyezza okuddamu okufuna enkizo eyali emuggiddwako. Waalingawo n’ebiweebwayo eby’obutta ebyaweebwangayo okwebaza Yakuwa olw’amakungula amalungi. Bino byonna bitukwatako kubanga ebiweebwayo ebyalagibwa mu ndagaano y’Amateeka byali bisonga ku Yesu Kristo ne ssaddaaka ye oba ku miganyulo egyandivudde mu ssaddaaka eyo.—Abaebbulaniya 8:3-6; 9:9-14; 10:5-10.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
2:11, 12—Lwaki Yakuwa yali takkiriza mubisi ‘ng’ekiweebwayo ekyokebwa’? Omubisi ogwogerwako wano gwali tegutegeeza ogwo ogw’enjuki. Wadde ng’ekigambo omubisi gw’enjuki kye kikozeseddwa wano, ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwamu ekigambo kino, kiraga nti omubisi ogwogerwako mu nnyiriri zino tegwali ogwo ogw’enjuki. Newakubadde nga gwali tegukkirizibwa ‘ng’ekiweebwayo ekyokebwa,’ omubisi ogwo gwali guzingirwa mu ‘bibereberye eby’omu nnimiro.’ (2 Ebyomumirembe 31:5) Omubisi guno gulabika okuba nga gwali ogwo oguva mu bibala. Okuva bwe gwali gusobola okukaatuuka, gwali tegusobola kuweebwayo ku kyoto.
2:13—Lwaki omunnyo gwali gulina okuteekebwa “ku buli kiweebwayo”? Kino tekyakolebwanga kuwoomesa ssaddaaka. Okwetooloola ensi, omunnyo gukozesebwa okukuuma ebintu bireme okuvunda. Kirabika gwateekebwanga ku biweebwayo kubanga gukiikirira obutali bwonoonefu oba obutavunda.
Bye Tuyigamu:
3:17. Okuva amasavu bwe gaali gatwalibwa okuba ekitundu ekisingirayo ddala obulungi, eky’okugaana Abaisiraeri okugalya kiyinza okuba nga kyabasobozesa okutegeera nti ekintu ekyali kisingayo obulungi kyalinga kya Yakuwa. (Olubereberye 45:18) Kino kitujjukiza nti tusaanidde okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi.—Engero 3:9, 10; Abakkolosaayi 3:23, 24.
7:26, 27. Abaisiraeri baali tebateekwa kulya musaayi. Eri Katonda, omusaayi gukiikirira obulamu. Eby’Abaleevi 17:11 lugamba nti: “Obulamu bw’ennyama buba mu musaayi.” Ne leero etteeka ery’okwewala omusaayi likyali kkulu eri abasinza ab’amazima.—Ebikolwa 15:28, 29.
OBWAKABONA BUSSIBWAWO
Baani abaaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okukola emirimu egikwata ku ssaddaaka n’ebiweebwayo? Obuvunaanyizibwa buno bwaweebwa bakabona. Nga bwe kyali kiragiddwa Katonda, Musa -yakulembera omukolo ogw’okufuula Alooni kabona asinga obukulu, ne batabani be bana abaalinga ab’okuweereza nga bakabona wansi we. Kirabika omukolo ogwo gwamala ennaku musanvu era olunaku olwaddirira emirimu gy’obwakabona ne gitandika.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
9:9—Okuyiwa omusaayi ku ntobo y’ekyoto n’okuguteeka ku bintu ebitali bimu kyalina makulu ki. Kino kyali kitegeeza nti Yakuwa yali akkirizza omusaayi olw’ekigendererwa eky’okutangirira ebibi. Enteekateeka yonna ey’okutangirira ebibi yali yeesigamye ku musaayi. Omutume Pawulo yagamba: ‘Mu Mateeka kumpi ebintu byonna byatukuzibwanga na musaayi. Era awataba kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa.’—Abaebbulaniya 9:22, NW.
10:1, 2—Kibi ki ekiyinza okuba nga kye kyakolebwa Nadabu ne Abiku batabani ba Alooni? Nga waakayita akaseera katono ddala nga Nadabu ne Abiku bamaze okukola ekintu ekitali kituufu mu buweereza bwabwe obw’obwakabona, Yakuwa yagaana bakabona okukozesa omwenge oba ekitamiiza kyonna nga baweereza mu weema. (Eby’Abaleevi 10:9) Kino kiraga nti batabani ba Alooni ababiri bayinza okuba nga baali batamidde ku lunaku olwogerwako wano. Kyokka, ensonga yennyini eyabattisa yali ya kuwaayo ‘omuliro gw’okwotereza Yakuwa gwe yali tabalagidde.’
Bye Tuyigamu:
10:1, 2. Abaweereza ba Yakuwa leero bateekwa okutuukiriza by’abeetaagisa. Era tebateekwa kwetulinkiriza nga batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.
10:9. Bwe tuba nga tutuukiriza obuweereza bwaffe obukwatagana n’okusinza Katonda tetusaanidde kunywa mwenge ogututuusa ku ssa ly’okutamiira.
OKUSINZA OKUTUKUVU KUTWETAAGISA OKUBA ABAYONJO
Amateeka g’eby’okulya agakwata ku nsolo ennongoofu n’ezitali nnongoofu gaaganyula Abaisiraeri mu ngeri bbiri. Amateeka ago gaabakuumanga obutakwatibwanga ndwadde era ne gabaawulira ddala ku bantu ab’amawanga agaali gabaliraanye. Amateeka amalala gaali gakwata ku butayonoonebwa bifudde, okutukuzibwa kw’omukyala oluvannyuma lw’okuzaala, engeri omugenge gye yandibadde ayisibwamu, era n’obutali bulongoofu obwavanga ku ndwadde ey’okuva amazzi mu bitundu eby’ekyama. Baalinanga okukola ku nsonga ezikwata ku abo abafuuse abatali balongoofu.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
12:2, 5—Lwaki okuzaala kwafuulanga omukazi ‘obutaba mulongoofu’? Ebitundu ebisobozesa okuzaala byali bya kuzaala abantu abatuukiridde. Kyokka, olw’ebyo ebyava mu kibi ekisikire, abantu abatatuukiridde baazaalibwa. Omuntu okumala akaseera nga si ‘mulongoofu’ olw’okuzaala, oba olw’ensonga endala yonna, gamba ng’okulwala kw’abakazi okwa buli mwezi, n’okufulumya amazzi ag’ekisajja, byajjukizanga Abaisiraeri nti baasikira ekibi. (Eby’Abaleevi 15:16-24; Zabbuli 51:5; Abaruumi 5:12) Amateeka agakwata ku kwetukuza gandiyambye Abaisiraeri okutegeera nti baali beetaaga ekinunulo okubikka ku bibi n’okusobozesa abantu okuba abatuukiridde nate. Bwe kityo Amateeka gaafuuka “omutwazi eri Kristo.”—Abaggalatiya 3:24.
15:16-18—‘Amaanyi agava mu muntu’ agoogerwako mu nnyiriri zino kye ki? Kirabika gano ge mazzi agava mu musajja ekiro nga yeerooteredde oba ng’abadde nga yetabye n’omukazi.
Bye Tuyigamu:
11:45. Yakuwa Katonda mutukuvu era ayagala abo abamusinza nabo babe batukuvu. Bateekwa okuba abatukuvu era n’okusigala nga bayonjo mu mubiri ne mu by’omwoyo.—2 Abakkolinso 7:1; 1 Peetero 1:15, 16.
12:8. Yakuwa yakkiriza abaavu okuwaayo ebinnyonyi ng’ekiweebwayo mu kifo ky’endiga eyali ey’essente ennyingi. Yakuwa asaasira abaavu.
OBUTUKUVU BUTEEKWA OKUKUUMIBWA
Ssaddaaka ezisingayo obukulu ezaaweebwayo olw’ekibi zeezo ezaaweebwangayo omulundi gumu mu mwaka ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi. Ente ennume yaweebwangayo ku lwa kabona n’ekika kya Leevi. Embuzi yaweebwangayo ku lw’ebika ebirala. Embuzi endala yasindikibwanga mu ddungu nga nnamu oluvannyuma lw’abantu okugyatulirako ebibi byabwe. Embuzi zombi zaatwalibwanga okuba ekiweebwayo kimu eky’ebibi. Kino kyali kisonga ku Yesu Kristo nti yandibadde aweebwayo era nti yandiggyewo ebibi.
Amateeka agakwata ku kulya ennyama n’agakwata ku bintu ebirala gatuyamba okutegeera obukulu bw’okuba abatukuvu bwe tuba nga tusinza Yakuwa. N’olwekyo, kyali kituukirawo bakabona okwekuumanga nga batukuvu. Embaga essatu ezaabangawo buli mwaka, gyabanga mikolo gya kusanyuka n’okwebaza Omutonzi. Ate era Yakuwa yawa abantu be amateeka agakwata ku butakozesa bubi linnya lye, okukwatanga olunaku lwa Ssabbiiti n’olwa Jjubiri, n’engeri y’okuyisaamu abaavu n’abaddu. Okugondera Katonda kwandivuddemu emikisa ng’ate okumujeemera kwandivuddemu akabi ak’amaanyi. Era waalingawo amateeka agaali gakwata ku kukola obweyamo n’omuwendo oyo eyabanga yeeyamye gwe yali asobola okuwa, era n’agakwata ku bisolo ebibereberye, n’okuwa ekimu eky’ekkumi ‘ng’ekitukuvu eri Yakuwa.’
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
16:29—Mu ngeri ki Abaisiraeri gye baali ‘ab’okubonereza emmeeme zaabwe’? Ekintu kino kyakolebwanga oluvannyuma lw’Olunaku lw’Okutangirirako ebibi era nga kikwataganyizibwa n’okusonyiyibwa kw’ebibi. Kirabika okusiiba mu kiseera ekyo kwali kukwataganyizibwa n’okwenenya ebibi. N’olwekyo, kirabika ‘ng’okubonereza emmeeme’ kyali kitegeeza okusiiba.
19:27—Ekiragiro ekikwata ku “kumwa enkiya” oba “okwonoona ensonda z’ekirevu” ky’alina makulu ki? Kirabika etteeka lino lyaweebwa okuziyiza Abayudaaya okusala ebirevu byabwe oba enviiri mu ngeri eyeefaanaanyiriza engeri ezimu ez’ekikaafiiri. (Yeremiya 9:25, 26; 25:23; 49:32) Kyokka, etteeka lya Katonda eryo teryategeeza nti Abayudaaya tebaalinga ba kusala birevu oba okumwa ebyenyi byabwe.—2 Samwiri 19:24.
25:35-37—Kyalinga kikyamu Abaisiraeri okusaba amagoba? Singa ssente zaabanga ziwoleddwa kukola bizineesi, eyabanga awoze yasobolanga okusaba amagoba. Kyokka, Etteeka lyagaana okusabanga amagoba omwavu eyabanga awoleddwa. Kyalinga kikyamu okukola amagoba mu muntu eyabanga mu mbeera embi mu byenfuna.—Okuva 22:25.
26:19—Mu ngeri ki ‘eggulu gye lyandifuuse ng’ekyuma n’ettaka ng’ekikomo’? Olw’okuba enkuba yandibadde tetonnya, eggulu mu nsi y’e Kanani lyandirabise ng’ekyuma ekitasobola kuyitamu tuzzi twonna. Ettaka lyandifaananye ng’ekikomo olw’obutafuna nkuba.
26:26—Kyali kitegeeza ki ‘abakazi kkumi okufumbira emigaati gyabwe mu kyoto kimu’? Mu mbeera eza bulijjo, buli mukazi yandibadde yeetaaga okuba n’ekyoto ekikye kye yandifumbiddeko emigaati gyonna gye yandyetaaze. Naye ebigambo bino biraga nti emmere yandibadde ya kkekwa ne kiba nti ekyoto kimu kyandimaze abakazi kkumi okufumbirako emigaati. Embeera eno yali emu ku ebyo ebyandivudde mu kulemererwa okubeera abatukuvu.
Bye Tuyigamu:
20:9. Mu maaso ga Yakuwa, omwoyo ogw’obukyayi gwali gutwalibwa mu tuluba lye limu n’ekikolwa eky’ettemu. N’olwekyo singa omuntu yabanga ajolonze bazadde be, yaweebwanga ekibonerezo kye kimu n’ekyo ekyaweebwanga oyo eyabanga akoze ekikolwa eky’obutemu. Kino tekyandituleetedde kwagala bakkiriza banaffe?—1 Yokaana 3:14, 15.
22:32; 24:10-16, 23. Erinnya lya Yakuwa terisaanidde kuvumibwa. Wabula, tuteekwa okulitendereza era n’okusaba litukuzibwe.—Zabbuli 7:17; Matayo 6:9.
ENGERI EKITABO KY’EBY’ABALEEVI GYE KIKWATA KU KUSINZA KWAFFE
Abajulirwa ba Yakuwa tebakyali wansi wa Mateeka. (Abaggalatiya 3:23-25) Kyokka, okuva ekitabo ky’Eby’Abaleevi gye kitulaga engeri Yakuwa gy’atunuuliramu ebintu ebitali bimu, kisobola okubaako kye kikola ku kusinza kwaffe.
Bw’oba ng’oteekateeka okusoma kwa Baibuli okwa buli wiiki mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, awatali kubuusabuusa ojja kulaba nti Katonda yeetaagisa abaweereza be okuba abatukuvu. Era ekitabo kino kisobola okutuleetera okuwa Oyo Asingiridde Obukulu ekisingayo obulungi, nga bulijjo tusigala nga tuli batukuvu okusobola okuleetera abalala okumutendereza.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Ebiweebwayo eby’omu Mateeka byali bisonga ku Yesu Kristo ng’ekinunulo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Omukolo ogw’Emigaati Egitazimbulukusiddwa gwali gwa kusanyuka
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Embaga eza buli mwaka, gamba ng’ey’Ensiisira, gyalinga mikolo gya kwebaza Yakuwa