Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Nakkumu, Ekya Kaabakuuku, n’Ekya Zeffaniya
OBWAKABAKA kirimaanyi obwa Bwasuli bumaze okuzikiriza Samaliya, ekibuga ekikulu eky’obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi. Bwasuli era emaze ekiseera ng’etiisatiisa Yuda. Nnabbi Nakkumu owa Yuda alina obubaka eri ab’omu kibuga ekikulu Nineeve ekya Bwasuli. Ekitabo kya Nakkumu ekyawandiikibwa nga 632 B.C.E. tegunnatuuka, kye kirimu obubaka obwo.
Babulooni bwe bwakabaka kirimaanyi obuddawo, era bakabaka abamu ababufuga Bakaludaaya. Ekitabo kya Kaabakuuku, ekirabika nga kyamalirizibwa mu 628 B.C.E., kiragula nti Yakuwa ajja okukozesa obwakabaka kirimaanyi obwo okussa mu nkola emisango gye era kyogera n’ekinaatuuka ku Babulooni.
Zeffaniya ow’omu Yuda asooka Nakkumu ne Kaabakuuku okuweereza nga nnabbi. Mu buweereza bwe obumala emyaka egisukka mu 40 nga Yerusaalemi tekinnazikirizibwa mu 607 B.C.E., alangirira obubaka obw’okuzikiriza n’obw’essuubi eri Yuda. Mu kitabo kya Zeffaniya mulimu n’obubaka bw’omusango eri amawanga amalala.
“ZIKISANZE EKIBUGA EKY’OMUSAAYI!”
“Omugugu gwa Nineeve” guva eri Yakuwa Katonda, oyo ‘atatera kusunguwala era ow’amaanyi amangi.’ Wadde nga Yakuwa “kigo ku lunaku olw’okulabiramu ennaku” eri abo abamunoonya, Nineeve kya kuzikirizibwa.—Nakkumu 1:1, 3, 7.
‘Mukama ajja kuzzaawo ekitiibwa ekingi ekya Yakobo.’ Kyokka Bwasuli ebonyaabonyezza eggwanga ly’abantu ba Katonda ‘ng’empologoma etaagulataagula.’ Yakuwa ‘ajja kwokya amagaali ga Nineeve mu mukka. Era ekitala kirizikiriza empologoma zaakyo ento.’ (Nakkumu 2:2, 12, 13) “Zikisanze ekibuga eky’omusaayi”—Nineeve. Abo ‘bonna abawulira ebigambo byo bakikubira mu ngalo’ nga basanyuka.—Nakkumu 3:1, 19.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:9—Nineeve ‘okumalirwawo ddala’ kiritegeeza ki eri Yuda? Kijja kutegeeza nti Bwasuli teriddamu kulumba Yuda nate; ‘obunaku tebuliyimuka mulundi gwakubiri.’ Ng’ayogera ku kibuga Nineeve ng’ekitakyaliwo, Nakkumu awandiika nti: ‘Laba, ku nsozi ebigere by’oyo abuulirira ebigambo ebirungi, alangira emirembe! Kuuma embaga zo, ggwe Yuda.’—Nakkumu 1:15.
2:6—“Enzigi ez’oku mugga” ezaggulwawo ze ziruwa? Enzigi ezoogerwako bye bituli amazzi g’Omugga Tiguli ge byawummula mu bbugwe wa Nineeve. Nineeve tekyalimu kutya mu 632 B.C.E. ng’amagye g’Abababulooni n’ag’Abameedi gakirumbye. Kyawulira nti tewali ayinza kukiwamba olwa bbugwe waakyo omugulumivu. Kyokka, Omugga Tiguli gwabooga olw’enkuba ey’amaanyi. Okusinziira ku munnabyafaayo Diodorus, kino kyaleetera “ekitundu ky’ekibuga okujjula amazzi era ne gamenya ekitundu kinene ekya bbugwe.” Mu ngeri eyo, enzigi ez’oku mugga zaggulwawo, era nga bwe kyali kyalagulwa, Nineeve kyawambibwa mangu ng’omuliro bwe gwokya ensambu enkalu.—Nakkumu 1:8-10.
3:4—Mu ngeri ki Nineeve gye kyali ng’omukazi omwenzi? Nineeve kyalimbanga amawanga nga kisuubiza okugayamba n’okukolagana obulungi nago, naye ate ne kigaleetako effugabbi. Ng’ekyokulabirako, Bwasuli yayambako Kabaka Akazi owa Yuda okulwanyisa Busuuli eyali yeekobaanye ne Isiraeri. Kyokka oluvannyuma, ‘kabaka wa Bwasuli yajja eri Akazi n’amweraliikiriza.’—2 Ebyomumirembe 28:20.
Bye Tuyigamu:
1:2-6. Yakuwa okuba nti abonereza abalabe olw’obutasinza ye yekka kiraga nti abasinza be abasuubira kusinza ye yekka.—Okuva 20:5.
1:10. Bbugwe ow’amaanyi okuli ebikumi n’ebikumi by’ebigo teyalobera kigambo kya Yakuwa eri Nineeve kutuukirizibwa. Abalabe b’abantu ba Yakuwa mu kiseera kino tebajja kusimattuka musango gwa Katonda.—Engero 2:22; Danyeri 2:44.
‘OMUTUUKIRIVU ALIBA MULAMU’
Essuula ebiri ezisooka ez’ekitabo kya Kaabakuuku ziraga nga nnabbi Kaabakuuku ayogera ne Yakuwa Katonda. N’ennaku ennyingi olw’ebyo ebyali mu Yuda, Kaabakuuku abuuza Katonda nti: “Onjoleseza ki obutali butuukirivu n’otunuulira obukyamu?” Yakuwa amuddamu nti: “Kubanga, laba, ngolokosa Abakaludaaya, eggwanga eryo ekkakali eryanguyiriza.” Nnabbi ono yeewuunya okulaba nti Katonda yandikozesezza “abo abakuusakuusa” okubonereza Yuda. (Kaabakuuku 1:3, 6, 13) Kaabakuuku akakasibwa nti omutuukirivu aliba mulamu, naye nti omulabe tajja kusimattuka musango. N’ekirala, Kaabakuuku awandiika ebibonyoobonyo bitaano ebijja okutuuka ku Bakaludaaya.—Kaabakuuku 2:4.
Ng’asaba okulagibwa obusaasizi, Kaabakuuku ayogera “mu ddoboozi ery’okukungubaga” ku ngeri Yakuwa gye yalagamu amaanyi ge ag’ensusso gamba nga ku Nnyanja Emmyufu, mu ddungu, n’e Yeriko. Nnabbi ono era alagula nti Yakuwa ajja kujja n’obusungu okuzikiriza abalabe be ku Kalumagedoni. Akomekkereza okusaba kwe n’ebigambo nti: “Yakuwa, Mukama, ge maanyi gange, naye afuula ebigere byange okuba ng’eby’empeewo, era alintambuliza ku bifo byange ebigulumivu.”—Kaabakuuku 3:1, 19.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:5, 6—Lwaki okugolokosa Abakaludaaya okulumba Yerusaalemi kyandyewuunyisizza Abayudaaya? Ekiseera Kaabakuuku we yatandikira okuweereza nga nnabbi, Yuda yali wansi wa bufuzi kirimaanyi obwa Misiri. (2 Bassekabaka 23:29, 30, 34) Wadde ng’Abababulooni baali batandise okuba ab’amaanyi, eggye lyabwe lyali terinnaba kuwangula Falaawo Neeko. (Yeremiya 46:2) Ate era, yeekaalu ya Yakuwa yali ekyaliyo mu Yerusaalemi, era nga bakabaka ab’omu lunyiriri lwa Dawudi gye baali bafugira. Eri Abayudaaya ab’omu kiseera ekyo, “omulimu” gwa Katonda okukkiriza Abakaludaaya okuzikiriza Yerusaalemi kyandirabise ng’ekitasoboka. Wadde ng’ebigambo bya Kaabakuuku byandirabise ng’ebitasobola kutuukirira, okwolesebwa okukwata ku Bababulooni okuzikiriza Yerusaalemi kwali ‘tekujja kulema kujja’ mu 607 B.C.E.—Kaabakuuku 2:3.
Bye Tuyigamu:
1:1-4; 1:12–2:1. Kaabakuuku yabuuza mu bwesimbu, era Yakuwa yamuddamu. Katonda ow’amazima awuliriza okusaba kw’abaweereza be abeesigwa.
2:1, NW. Okufaananako Kaabakuuku, tusaanidde okusigala nga tuli bulindaala mu by’omwoyo era nga tuli banyiikivu mu buweereza bwaffe. Era tusaanidde okuba abeetegefu okutereeza endowooza yaffe bwe ‘tukangavvulwa,’ oba bwe tugololwa.
2:3; 3:16. Nga bwe tulindirira n’okukkiriza okujja kw’olunaku lwa Yakuwa, ka tuleme kwerabira bukulu bwa biseera bye tulimu.
2:4. Okusobola okuwonawo ku lunaku lwa Yakuwa olw’omusango, tuteekwa okusigala nga tuli beesigwa.—Abebbulaniya 10:36-38.
2:6, 7, 9, 12, 15, 19. Zimusanze oyo ayagala okufuna amagoba ng’ayitira mu bukumpanya, ayagala eby’obukambwe, eyeenyigira mu bwenzi, oba asinza ebifaananyi. Tuteekwa okwewala ebikolwa bino.
2:11. Singa tugaana okwanika obubi bw’ensi eno, ‘ejjinja lijja kwogerera waggulu.’ Kikulu nnyo okuba abanyiikivu mu kubuulira obubaka bw’Obwakabaka!
3:6. Tewali kintu kyonna, wadde n’enteekateeka z’abantu ezirabika nga nnywevu ng’ensozi, kijja kulemesa Yakuwa kussa mu nkola musango gw’asaze.
3:13. Tuli bakakafu nti ku Kalumagedoni si bonna nti bajja kuzikirizibwa. Yakuwa ajja kulokola abaweereza be abeesigwa.
3:17-19. Wadde tuyinza okutuukibwako ebizibu eby’amaanyi nga Kalumagedoni tannatuuka oba ng’atandise, tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa ‘amaanyi’ nga bwe tweyongera okumuweereza.
‘OLUNAKU LWA YAKUWA LULI KUMPI’
Okusinza Baali kubunye wonna mu Yuda. Okuyitira mu nnabbi we Zeffaniya, Yakuwa agamba: “Ndigololera ku Yuda omukono gwange ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi.” Zeffaniya alabula nti: ‘Olunaku lwa Yakuwa luli kumpi.’ (Zeffaniya 1:4, 7, 14) Abo bokka abakola Katonda by’ayagala be bajja ‘okukwekebwa’ ku lunaku olwo.—Zeffaniya 2:3.
“Zisanze . . . ekibuga ekijooga”—Yerusaalemi! “Munnindirire, bw’ayogera Mukama, okutuusa ku lunaku lwe ndigolokoka okukwata omuyiggo: kubanga mmalilirdde okukuŋŋaanaya amawanga . . . okubafukako okunyiiga kwange.” Naye Katonda asuubiza nti: “Ndibafuula erinnya n’ettendo mu mawanga gonna ag’omu nsi zonna, bwe ndikomyawo obusibe bwange mmwe nga mulaba.”—Zeffaniya 3:1, 8, 20.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
2:13, 14—‘Eddoboozi erinaayimbanga’ nga Nineeve kimaze okuzikirizibwa lya baani? Okuva Nineeve bwe kyali eky’okufuuka ekifo omubeera ebisolo eby’omu nsiko n’ebinyonyi, eddoboozi eryandiyimbyenga lyandibadde lya binyonyi oboolyawo n’embuyaga y’omu ddungu ng’eyita mu madirisa g’ebizimbe omutali bantu.
3:9—“Olulimi olulongoofu,” lwe luluwa era lwogerwa lutya? Ge mazima agakwata ku Katonda agali mu Kigambo kye Baibuli. Amazima ago gazingiramu enjigiriza zonna ez’omu Baibuli. Olulimi olwo tulwogera bwe tukkiriza amazima, bwe tugayigiriza abalala, era bwe tukola Katonda by’ayagala.
Bye Tuyigamu:
1:8. Kirabika abantu b’omu kiseera kya Zeffaniya abamu baali baagala kukola mukwano n’abantu b’amawanga agaali gabeetooloodde nga bambala “ebyambalo ebinnaggwanga.” Nga kyandibadde kya busiru abasinza ba Yakuwa leero okugezaako okufaanana ensi mu ngeri ng’eyo!
1:12; 3:5, 16. Yakuwa yatumanga bannabbi be okulabula abantu be ku misango gye. Kino yakikolanga wadde ng’Abayudaaya bangi baali tebafaayo ku bubaka obwali bubabuulirwa, nga bagamba nti, ‘Mukama taliiko kabi konna k’alitukola.’ Ng’olunaku lwa Yakuwa olukulu bwe lugenda lusembera, twetaaga okweyongera okubuulira mu kifo ky’okuleka ‘emikono gyaffe okuddirira’ olw’abantu obutafaayo ku bubaka bw’Obwakabaka.
2:3. Yakuwa yekka y’asobola okutulokola ku lunaku lw’obusungu bwe. Okusobola okusigala nga tusiimibwa mu maaso ge, twetaaga ‘okunoonya Yakuwa’ nga twekenneenya Ekigambo kye, Baibuli; nga tumusaba okutuwa obulagirizi bwe; era nga tunyweza enkolagana yaffe naye. Tuteekwa ‘okunoonya obutuukirivu’ nga tufuba okubeera ab’empisa ennungi. Era twetaaga ‘okunoonya obuwombeefu’ nga tufuba okuba abawombeefu era abawulize.
2:4-15; 3:1-5. Ku lunaku Yakuwa mw’anasizza mu nkola omusango gwe, Kristendomu ejja kuzikirizibwa wamu n’amawanga gonna agabonyaabonyezza abantu ba Katonda, nga Yerusaalemi bwe kyazikirizibwa wamu n’amawanga agaali gakiriraanye. (Okubikkulirwa 16:14, 16; 18:4-8) Tusaanidde okubuulira emisango gya Katonda awatali kutya.
3:8, 9. Nga bwe tulindirira olunaku lwa Yakuwa, tweteekateeka okuwonawo nga tuyiga okwogera “olulimi olulongoofu,” era nga ‘tukaabirira erinnya lya Katonda’ nga twewaayo gy’ali. Era tuweereza Yakuwa “n’omwoyo gumu” nga tuli wamu n’abantu be era tumuwa “ssaddaaka ey’ettendo” ng’ekirabo.—Abebbulaniya 13:15.
“Lwanguwa Mangu Nnyo”
Omuwandiisi wa zabbuli yayimba nti: “Kubanga waliba akaseera katono, n’omubi talibeerawo. Weewaawo, ekifo kye olikitunuulira ddala, naye talibeerawo.” (Zabbuli 37:10) Bwe tufumiitiriza ku ebyo ebiri mu kitabo kya Nakkumu ebyalagulwa ku Nineeve n’ebiri mu kitabo kya Kaabakuuku ebyalagulwa ku Babulooni ne ku Yuda, tuba bakakafu nti ebigambo ebyo eby’omuwandiisi wa zabbuli bijja kutuukirira. Naye, tulina kulindirira kutuusa ddi?
Zeffaniya 1:14 wagamba nti: “Olunaku olukulu olwa Mukama luli kumpi era lwanguwa mangu nnyo.” Ekitabo kya Zeffaniya era kitulaga kye tusaanidde okukola okusobola okukwekebwa ku lunaku olwo era ne kitulaga ne kye tuteekwa okukola kati okweteekateeka okuwonawo. Mazima ddala, “ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi.”—Abebbulaniya 4:12.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 8]
Bbugwe wa Nineeve omugulumivu teyalemesa bunnabbi bwa Nakkumu kutuukirizibwa
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Randy Olson/National Geographic Image Collection