Yakuwa Atuwa Bye Twetaaga Buli Lunaku
“Temweraliikiriranga; kubanga . . . Kitammwe amanyi nga mwetaaga ebintu bino.”—LUKKA 12:29, 30, NW.
1. Yakuwa aliisa atya ebitonde bye byonna?
WALI weetegerezza enkazaluggya oba ekinyonyi ekirala kyonna nga kibojjerera mu ttaka? Oboolyawo weebuuza kye kyali kiyinza okulya mu ttaka eryo. Mu Kuyigiriza kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yalaga nti tulina kye tuyinza okuyigira ku ngeri Yakuwa gy’aliisaamu ebinyonyi. Yagamba: “Mulabe ennyonyi ez’omu bbanga, nga tezisiga so tezikungula, tezikuŋŋaanyiza mu mawanika; era Kitammwe ali mu ggulu aziriisa ezo. Mmwe temusinga nnyo ezo?” (Matayo 6:26) Mu ngeri eyeewuunyisa, Yakuwa aliisa ebitonde bye byonna.—Zabbuli 104:14, 21; 147:9.
2, 3. Bya kuyiga ki mu by’omwoyo bye tuggya mu bigambo bya Yesu nti otuwe emmere yaffe eya leero?
2 Kati olwo lwaki mu ssaala ey’okulabirako Yesu yagamba nti “Otuwe leero emmere yaffe eya leero”? (Matayo 6:11) Waliwo ebintu ebikulu mu by’omwoyo bye tuyinza okuyiga mu bigambo ebyo. Ekisooka, ebigambo ebyo bitujjukiza nti Yakuwa ye nsibuko ya byonna bye twetaaga. (Zabbuli 145:15, 16) Abantu basobola okusimba n’okulima, naye Katonda yekka yasobozesa ebintu eby’omubiri n’eby’omwoyo okukula. (1 Abakkolinso 3:7) Ebintu bye tulya ne bye tunywa birabo okuva eri Katonda. (Ebikolwa 14:17) Bwe tumusaba okutuwa bye twetaaga buli lunaku kiraga nti tusiima by’atuwa. Kya lwatu, okusaba ng’okwo tekutuggyako buvunaanyizibwa bwa kukola bwe tuba nga tulina obusobozi.—Abaefeso 4:28; 2 Abassesaloniika 3:10.
3 Eky’okubiri, bwe tusaba “emmere yaffe eya leero” kiraga nti tetusaanidde kweraliikirira nnyo biseera bya mu maaso. Yesu yayongera n’agamba: “Temwerariikiriranga nga mwogera nti Tulirya ki? oba tulinywa ki? oba tulyambala ki? Kubanga ebyo byonna amawanga bye ganoonya; kubanga Kitammwe ali mu ggulu amanyi nga mwetaaga ebyo byonna. Naye musooke munoonye obwakabaka bwe n’obutuukirivu bwe; era ebyo byonna mulibyongerwako. Kale temweraliikiriranga bya jjo: kubanga olunaku olwa jjo lulyeraliikirira ebyalwo.” (Matayo 6:31-34) Okusaba “emmere yaffe eya leero” kiraga nti tusaanidde okubeera mu bulamu obwangu ‘nga twemalira ku Katonda era nga tuba bamativu ne bye tulina.’—1 Timoseewo 6:6-8.
Emmere ey’Eby’Omwoyo eya Buli Lunaku
4. Biki ebyaliwo mu bulamu bwa Yesu n’obw’Abaisiraeri ebiggumiza obukulu bw’okulya emmere ey’eby’omwoyo?
4 Era, okusaba emmere eya buli lunaku kyanditujjukizza obwetaavu bwe tulina obw’emmere ey’eby’omwoyo eya buli lunaku. Wadde ng’enjala yali emuluma nnyo oluvannyuma lw’okumala ekiseera ekiwanvu ng’asiiba, Yesu teyakkiriza kukola Setaani kye yamugamba eky’okufuula amayinja emigaati ng’amuddamu nti: “Kyawandiikibwa nti Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.” (Matayo 4:4) Wano Yesu yali ajuliza nnabbi Musa eyagamba Abaisiraeri nti: “[Yakuwa] n’akutoowaza n’akulumya enjala, n’akuliisa emmaanu, gye wali tomanyi, so ne bajjajja bo tebagimanyanga; akutegeeze ng’omuntu taba mulamu na mmere yokka, naye olwa buli ekiva mu kamwa ka Mukama omuntu ky’ava aba omulamu.” (Ekyamateeka 8:3) Engeri Yakuwa gye yagabiramu Abaisiraeri emmaanu, yabasobozesa okufuna emmere era n’okuyiga ebintu eby’omwoyo. Eky’okuyiga ekimu eky’eby’omwoyo kyali nti baalina ‘okukuŋŋaanya emmere ya lunaku lumu buli lunaku.’ Bwe baakuŋŋaanyanga emmere esukka mu y’olunaku olumu, eyafikkangawo yawunyanga era n’ejjamu envunyu. (Okuva 16:4, 20) Kyokka, ekyo tekyabangawo ku lunaku olw’omukaaga lwe bakuŋŋaanyanga emmere ekubisaamu eya bulijjo emirundi ebiri basobole okubeera ne gye bandiridde ku Ssabbiiti. (Okuva 16:5, 23, 24) N’olwekyo, emmaanu yabajjukiza nti baalina okuba abawulize era nti obulamu bwabwe bwali tebwesigamye ku mmere yokka wabula ku “buli ekiva mu kamwa ka Mukama.”
5. Yakuwa atuwa atya emmere ey’eby’omwoyo buli lunaku?
5 Mu ngeri y’emu, naffe twetaaga okulya buli lunaku emmere ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atuwa okuyitira mu Mwana we. Olw’ensonga eno, Yesu alonze ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ awenga ab’omu nnyumba ye abeesigwa ‘emmere yaabwe mu kiseera ekituufu.’ (Matayo 24:45) Ekibiina ekyo eky’omuddu omwesigwa tekikoma ku kutuwa mmere mu bungi okuyitira mu bitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli, naye era kitukubiriza okwesomesa Baibuli buli lunaku. (Yoswa 1:8; Zabbuli 1:1-3) Okufaananako Yesu, naffe tuyinza okunywezebwa mu by’omwoyo bwe tufuba okuyiga n’okukola Yakuwa by’ayagala.—Yokaana 4:34.
Okusonyiyibwa Ebibi
6. Mabanja ki ge tulina okusaba okusonyiyibwa, era Yakuwa asinziira ku ki okugasazaamu?
6 Ekiddako mu ssaala ey’okulabirako kiri: “Otusonyiwe amabanja gaffe, nga naffe bwe tusonyiye abatwewolako.” (Matayo 6:12) Wano Yesu yali tayogera ku mabanja ga ssente. Yali ategeeza okusonyiwa ebibi. Lukka bye yawandiika ebikwata ku ssaala ey’okulabirako bigamba: “Otusonyiwe ebyonoono byaffe; kubanga naffe tusonyiwa buli gwe tubanja.” (Lukka 11:4) N’olwekyo, bwe twonoona, tuba ng’ababanjibwa Yakuwa. Naye Katonda waffe omwagazi mwetegefu ‘okusangulawo’ oba okusazaamu ebbanja eryo bwe twenenya mu bwesimbu ne ‘tukyuka,’ era ne tusaba okusonyiyibwa nga tusinziira ku ssaddaaka ya Kristo.—Ebikolwa 3:19; 10:43; 1 Timoseewo 2:5, 6.
7. Lwaki tusaanidde okusaba okusonyiyibwa ebibi buli lunaku?
7 Mu ngeri endala, twonoona bwe tulemererwa okutuukana n’emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. Olw’okuba twasikira ekibi, ffenna tusobya mu bigambo, mu bikolwa ne mu birowoozo oba tulemererwa okukola kye tusaanidde okukola. (Omubuulizi 7:20; Abaruumi 3:23; Yakobo 3:2; 4:17) N’olwekyo, ka tube nga tukimanyi nti twonoonye oba nedda, twetaaga okusaba okusonyiyibwa ebibi buli lunaku.—Zabbuli 19:12; 40:12.
8. Bwe tusaba okusonyiyibwa ebibi tusaanidde kukola ki, era miganyulo ki egivaamu?
8 Twandisabye okusonyiyibwa ebibi oluvannyuma lw’okwekebera mu bwesimbu, n’okwenenya nga tusinziira ku musaayi gwa Yesu ogwayiibwa. (1 Yokaana 1:7-9) Okusobola okukakasa nti tusaba mu bwesimbu okusonyiyibwa ebibi, tuteekwa okwoleka ‘ebikolwa ebiraga okwenenya.’ (Ebikolwa 26:20) Mu ngeri eyo tuba n’obwesige nti Yakuwa ajja kutusonyiwa ebibi byaffe. (Zabbuli 86:5; 103:8-14) Ekivaamu tufuna emirembe mu mutima, “emirembe gya Katonda egisinga okutegeera kwonna,” egijja ‘okukuuma emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe mu Kristo Yesu.’ (Abafiripi 4:7) Kyokka, essaala ya Yesu ey’okulabirako etuyigiriza n’ekirala kye tuteekwa okukola okusobola okusonyiyibwa ebibi byaffe.
Okusobola Okusonyiyibwa, Tuteekwa Okusonyiwa Abalala
9, 10. (a) Bigambo ki Yesu bye yayongereza ku ssaala ey’okulabirako, era bino byaggumiza ki? (b) Yesu yawa kyakulabirako ki ekiraga nti twetaaga okusonyiwa abalala?
9 Ekyewuunyisa, ebigambo “otusonyiwe amabanja gaffe, nga naffe bwe tusonyiye abatwewolaka,” bye byokka mu ssaala ey’okulabirako, Yesu bye yannyonnyola. Oluvannyuma lw’okufundikira okusaba, yayongerako ebigambo bino: “Kubanga bwe munaasonyiwanga abantu ebyonoono byabwe, Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga nammwe. Naye bwe mutaasonyiwenga bantu ebyonoono byabwe, ne Kitammwe taasonyiwenga byonoono byammwe.” (Matayo 6:14, 15) N’olwekyo, Yesu yakyoleka bulungi nti Yakuwa okusobola okutusonyiwa, kisinziira ku kubeera abeetegefu okusonyiwa abalala.—Makko 11:25.
10 Ku mulundi omulala, Yesu yawa ekyokulabirako ekiraga obwetaavu bw’okusonyiwa abalala bwe tuba nga twagala Yakuwa okutusonyiwa. Yagera olugero olukwata ku kabaka eyasazaamu ebbanja eddene ennyo eryali libanjibwa omuddu. Oluvannyuma, kabaka yabonereza nnyo omuddu oyo bwe yagaana okusazaamu ebbanja lya muddu munne eryali ettono ennyo ddala. Yesu yafundikira olugero lwe ng’agamba: “Bw’atyo Kitange ali mu ggulu bw’alibakola, bwe mutasonyiwa mu mitima gyammwe buli muntu muganda we.” (Matayo 18:23-35) Eky’okuyiga kitegeerekeka bulungi: Ebbanja ly’ekibi Yakuwa ly’asonyiye buli omu kuffe ddene nnyo okusinga ekibi kyonna omuntu ky’ayinza okuba nga yatukola. Ate era, Yakuwa atusonyiwa buli lunaku. N’olwekyo, tusobola okusonyiwa abalala ebibi bye batukola.
11. Kubuulirira ki Pawulo kwe yawa kwe tusaanidde okugoberera bwe tuba twagala Yakuwa okutusonyiwa, era birungi ki ebinaavaamu?
11 Omutume Pawulo yawandiika: “Mubeerenga n’obulungi mwekka na mwekka, abakwatibwa ekisa, nga musonyiwagananga, era nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.” (Abaefeso 4:32) Okusonyiwagana kuleetawo emirembe mu Bakristaayo. Pawulo yayongera n’agamba: “Mwambalenga ng’abalonde ba Katonda, abatukuvu era abaagalwa, omwoyo ogw’ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza; nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw’abeeranga n’ensonga ku muntu munne; era nga [Yakuwa] bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo. Ku ebyo byonna era mwambale okwagalana, kye kintu ekinyweza okutuukirira.” (Abakkolosaayi 3:12-14) Bino byonna bizingirwamu mu ssaala Yesu gye yatuyigiriza nti: “Otusonyiwe amabanja gaffe, nga naffe bwe tusonyiye abatwewolako.”
Obukuumi mu Kukemebwa
12, 13. (a) Kiki ekitategeezebwa mu bigambo ebiddirira ebisembayo mu ssaala ey’okulabirako? (b) Ani Mukemi omukulu, era tuba tutegeeza ki bwe tusaba obutatwalibwa mu kukemebwa?
12 Ekintu ekiddirira ekisembayo mu ssaala ya Yesu ey’okulabirako kiri: “Totutwala mu kukemebwa.” (Matayo 6:13) Yesu yali ategeeza nti tetusaanidde kusaba Yakuwa kutukema? Nedda, kubanga omuyigirizwa Yakobo yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Omuntu yenna bw’akemebwanga, tayogeranga nti Katonda ye ankema: kubanga Katonda takemeka na bubi, era ye yennyini takema muntu yenna.” (Yakobo 1:13) Ate era omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika: “Mukama, bw’onoo[laba]nga ebitali bya butuukirivu, ai Mukama, aliyimirira aluwa?” (Zabbuli 130:3) Yakuwa teyeetegereza buli nsobi gye tukola, era tagezaako kutukema kukola nsobi. Kati olwo, ebigambo ebyo eby’essaala ey’okulabirako kitegeeza ki?
13 Oyo agezaako okutukema, tugwe mu kibi olw’enkwe ze ye Setaani Omulyolyomi. (Abaefeso 6:11) Ye Mukemi omukulu. (1 Abassesaloniika 3:5) Bwe tusaba obutatwalibwa mu kukemebwa, tuba tusaba Yakuwa atuyambe tuleme okugwa bwe tuba tukemebwa. Tuba tumusaba atuyambe ‘Setaani alemenga okutuwangula,’ era tuleme okutwalirizibwa enkwe ze. (2 Abakkolinso 2:11) Tusaba tusigale ‘mu kifo eky’ekyama eky’Oyo ali Waggulu ennyo,’ tufune obukuumi obw’eby’omwoyo obuweebwa abo abagondera obufuzi bwa Yakuwa mu byonna bye bakola.—Zabbuli 91:1-3.
14. Omutume Pawulo atukakasa atya nti Yakuwa talitwabulira bwe tumusaba nga tuli mu kukemebwa?
14 Bwe kiba nti ddala twagala okusigala mu kifo ekyo, ne tukissa mu kusaba era ne tukyoleka mu bikolwa byaffe, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa tajja kutwabulira. Omutume Pawulo atukaka: ‘Tewali kukemebwa okubatuukako okutatuuka ku balala: naye Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n’okukemebwa era anassangawo n’obuddukiro, mulyoke muyinzenga okugumiikiriza.’—1 Abakkolinso 10:13.
‘Otulokole Okuva eri Omubi’
15. Lwaki kikulu nnyo n’okusinga bwe kyali kibadde okusaba okulokolebwa okuva eri omubi?
15 Okusinziira ku biwandiiko ebisingayo okwesigika eby’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani, essaala ya Yesu ey’okulabirako efundikira n’ebigambo: ‘Otulokole okuva eri omubi.’a (Matayo 6:13) Okukuumibwa ne tutawangulwa Mulyolyomi kyetaagisa nnyo naddala mu kiseera kino eky’enkomerero. Setaani ne balubaale be balwanyisa abaafukibwako amafuta, “abakwata ebiragiro bya Katonda, era abalina okutegeeza kwa Yesu,” awamu ne bannaabwe ‘ab’ekibiina ekinene.’ (Okubikkulirwa 7:9; 12:9, 17) Omutume Peetero yabuulirira Abakristaayo nti: “Mutamiirukukenga, mutunulenga; omulabe wammwe Setaani atambulatambula, ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya: oyo mumuziyizenga nga muli banywevu mu kukkiriza.” (1 Peetero 5:8, 9) Setaani ayagala okukomya omulimu gwaffe ogw’okubuulira, era okuyitira mu babaka be abali ku nsi, ka babe bannaddiini, abasuubuzi, oba bannabyabufuzi, agezaako okututiisatiisa. Kyokka, bwe tusigala nga tuli banywevu, Yakuwa ajja kutuwonya. Omuyigirizwa Yakobo yawandiika: “Mujeemulukukirenga Katonda, naye [muziyizenga] Setaani naye anaabaddukanga.”—Yakobo 4:7.
16. Yakuwa akozesa ki okuyamba abaweereza be nga bagezesebwa?
16 Yakuwa yakkiriza Omwana we okukemebwa. Kyokka Yesu bwe yaziyiza Omulyolyomi ng’akozesa Ekigambo kya Katonda, Yakuwa yatuma bamalayika okumuzzaamu amaanyi. (Matayo 4:1-11) Mu ngeri y’emu, Yakuwa akozesa bamalayika be okutuyamba bwe tusaba nga tulina okukkiriza era ne tumufuula ekigo kyaffe. (Zabbuli 34:7; 91:9-11) Omutume Peetero yawandiika: ‘Yakuwa amanyi okulokola abamutya okuva mu kukemebwa, n’okukuuma ababi okutuusa ku lunaku olw’okusalirwako omusango, babonerezebwe.’—2 Peetero 2:9.
Okununulibwa mu Bujjuvu Kuli Kumpi
17. Mu ssaala ey’okulabirako, Yesu yalaga bintu ki ebisaanidde okukulembezebwa?
17 Mu ssaala ey’okulabirako, Yesu alaga ebintu ebisaanidde okukulembezebwa. Ekisookera ddala, twanditukuzza erinnya lya Yakuwa ekkulu era ettukuvu. Olw’okuba ekintu ekinaakozesebwa okutuukiriza kino bwe Bwakabaka bwa Masiya, tusaba Obwakabaka bujje busaanyewo obwakabaka oba gavumenti z’abantu abatatuukiridde era bukakase nti ebyo Katonda by’ayagala bikolebwa ku nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu. Essuubi lyaffe ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi lyesigamye ku kutukuza erinnya lya Katonda n’obutonde bwonna okukkiriza obufuzi bwe. Oluvannyuma lw’okusaba ebintu bino byonna ebikulu, tusobola okusaba bye twetaaga buli lunaku, okusonyiyibwa ebibi byaffe, n’okulokolebwa okuva mu kukemebwa n’emitego gy’omubi, Setaani Omulyolyomi.
18, 19. Essaala ya Yesu ey’okulabirako etuyamba etya okusigala nga tutunula n’okunywereza ddala essuubi lyaffe ‘okutuukira ddala ku nkomerero’?
18 Okununulibwa kwaffe mu bujjuvu okuva eri omubi n’enteekateeka ye embi kugenda kusembera. Setaani akimanyi bulungi nti asigazza “akaseera katono” ak’okwolekeramu ‘obusungu’ bwe ku nsi naddala ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa. (Okubikkulirwa 12:12, 17) Mu kabonero akalaga ‘enkomerero y’ensi,’ Yesu yayogera ku bintu ebitali bimu, ng’ebimu ku byo bikyali bya mu biseera bya mu maaso. (Matayo 24:3, 29-31) Bwe tulaba bino nga bibaawo, essuubi lyaffe ery’okununulibwa lyongera okuba ettangaavu. Yesu yagamba: “[Ebintu] ebyo bwe bitanulanga okubaawo mutunulanga waggulu, muyimusanga emitwe gyammwe kubanga okununulibwa kwammwe kunaatera okutuuka.”—Lukka 21:25-28.
19 Essaala ey’okulabirako Yesu gye yayigiriza abayigirizwa be etulaga ebyo bye tuyinza okusaba ng’enkomerero egenda esembera. Ka tusigale nga tulina obwesige okutuukira ddala ku nkomerero, nti Yakuwa ajja kweyongera okutuwa bye twetaaga buli lunaku, eby’omwoyo n’eby’omubiri. Bwe tunyiikirira okusaba, kijja kutusobozesa ‘okunywereza ddala obwesige bwe twatandika nabwo, okutuukira ddala ku nkomerero.’—Abaebbulaniya 3:14; 1 Peetero 4:7.
[Obugambo obuli wansi]
a Baibuli ezimu enkadde gamba nga ey’Oluganda eya 1968, zifundikira essaala ya Mukama waffe n’ebigambo bino: “Kubanga obwakabaka, n’obuyinza n’ekitiibwa, bibyo, emirembe n’emirembe, Amiina.” Ekitabo ekinnyonyola ebikwata ku Baibuli ekiyitibwa The Jerome Biblical Commentary kigamba: ‘ebigambo ebyo, tebisangibwa mu biwandiiko ebisingayo okwesigika.’
Okwejjukanya
• Biki ebizingirwa mu kusaba “emmere yaffe eya leero”?
• Nnyonnyola ebigambo “otusonyiwe amabanja gaffe, nga naffe bwe tusonyiye abatwewolako.”
• Kitegeeza ki bwe tusaba Yakuwa obutatutwala mu kukemebwa?
• Lwaki twetaaga okusaba nti ‘otulokole okuva eri omubi’?
[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Lydekker
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]
Tuteekwa okusonyiwa abalala bwe tuba ab’okusonyiyibwa