Yakobo
1 Nze Yakobo+ omuddu wa Katonda era owa Mukama waffe Yesu Kristo, nnamusa ebika ekkumi n’ebibiri ebisaasaanye.
2 Musanyukenga baganda bange bwe mwolekagananga n’okugezesebwa okutali kumu,+ 3 nga mumanyi nti okukkiriza kwammwe okugezeseddwa kuvaamu obugumiikiriza.+ 4 Naye muleke obugumiikiriza butuukirize omulimu gwabwo, mulyoke mubeere abantu abatuukiridde era abakola obulungi mu byonna nga temulina kibabulako mu buli kintu kyonna.+
5 N’olwekyo, bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe eyeetaaga amagezi, asabenga Katonda,+ kubanga agabira bonna nga talina gw’akambuwalira,*+ era gajja kumuweebwa.+ 6 Naye asabenga mu kukkiriza+ nga tabuusabuusa n’akamu,+ kubanga oyo abuusabuusa alinga ejjengo ly’ennyanja eritwalibwa embuyaga, ng’erizza eno n’eri. 7 Mu butuufu, omuntu oyo talowoozanga nti ajja kufuna ekintu kyonna okuva eri Yakuwa;* 8 omuntu oyo atta aga n’aga,+ tanywerera mu makubo ge gonna.
9 Naye ow’oluganda omwavu asanyukenga* olw’okugulumizibwa kwe,+ 10 n’omugagga olw’okutoowazibwa kwe,+ kubanga aliggwaawo ng’ekimuli ky’oku ttale. 11 Ng’enjuba bw’evaayo n’omusana gwayo omungi n’ewotosa ekimera era ekimuli kyakyo ne kigwa, obulungi bwakyo obw’okungulu ne busaanawo, bw’atyo n’omuntu omugagga bw’alisaanawo mu makubo ge.+
12 Alina essanyu omuntu agumiikiriza ng’agezesebwa,+ kubanga bw’alimala okusiimibwa, alifuna engule ey’obulamu+ Yakuwa* gye yasuubiza abo abeeyongera okumwagala.+ 13 Omuntu yenna bw’agezesebwanga tagambanga nti: “Katonda y’angezesa.” Kubanga Katonda tayinza kugezesebwa na bintu bibi era ye kennyini tagezesa muntu yenna. 14 Naye buli muntu agezesebwa ng’atwalirizibwa era ng’asendebwasendebwa okwegomba kwe.+ 15 Oluvannyuma okwegomba bwe kuba olubuto kuzaala ekibi; ate ekibi bwe kimala okukolebwa kireeta okufa.+
16 Temulimbibwanga baganda bange abaagalwa. 17 Buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukiridde kiva waggulu+ era kikka wansi nga kiva eri Kitaawe w’ebyaka ebiri ku ggulu,+ era ye takyukakyuka ng’ekisiikirize.+ 18 Ye yayagala okutuzaala ng’akozesa ekigambo eky’amazima+ tubeere ebimu ku bibala ebibereberye eby’ebitonde bye.+
19 Kino mukimanye baganda bange abaagalwa: Buli muntu abenga mwangu okuwuliriza, alwengawo okwogera,+ alwengawo okusunguwala;+ 20 kubanga obusungu bw’omuntu tebuleeta butuukirivu bwa Katonda.+ 21 N’olwekyo, mweggyeeko obucaafu bwonna na buli kintu kyonna ekibi,+ era mukkirize mu bukkakkamu okusigibwamu ekigambo ekiyinza okuwonya obulamu bwammwe.
22 Kyokka, mubeere bakozi ba kigambo+ so si abawulira obuwulizi nga mwerimbalimba n’endowooza enkyamu. 23 Kubanga omuntu yenna bw’awulira ekigambo naye n’atakikolerako,+ aba ng’omuntu atunula mu ndabirwamu okweraba mu maaso. 24 Kubanga yeeraba, n’agenda, era amangu ago ne yeerabira bw’afaanana. 25 Naye oyo eyeetegereza amateeka agaatuukirira+ era ag’eddembe, n’aganyiikiriramu, omuntu oyo taba muwulizi eyeerabira wabula aba muntu agondera ekigambo, era ajja kuba musanyufu mu kukola bw’atyo.+
26 Omuntu yenna bw’alowoozanga nti asinza Katonda,* kyokka n’atafuga lulimi lwe,+ aba alimbalimba omutima gwe, era okusinza kwe tekugasa. 27 Okusinza* okulongoofu era okutaliiko bbala mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe kwe kuno: okulabirira bamulekwa+ ne bannamwandu+ mu nnaku yaabwe,+ n’okwekuuma obutaba na mabala ga nsi.+