“Obwakabaka Bwange Si bwa mu Nsi Muno”
“Kino kye kyandeeta mu nsi nsobole okuwa obujulirwa ku mazima.”—YOK. 18:37.
1, 2. (a) Enjawukana zeeyongedde zitya mu nsi? (b) Bibuuzo ki ebigenda kuddibwamu mu kitundu kino?
MWANNYINAFFE omu abeera mu Bulaaya agamba nti: “Okuviira ddala mu buto, nnalaba ebikolwa eby’okunyigiriza abalala. Ekyo kyandeetera okukyawa eby’obufuzi eby’omu nsi yange, era nnawagiranga abantu abaali bagezaako okuleetawo enkyukakyuka. Mu butuufu, okumala emyaka mingi nnali muganzi w’omu ku batujju.” Ow’oluganda omu mu nsi emu ey’omu Afirika naye edda yali yeenyigira mu bikolwa eby’obukambwe. Agamba nti: “Nnali nkitwala nti eggwanga lyange lisinga amawanga amalala, era nneegatta ku kibiina ekimu eky’eby’obufuzi. Baatutendeka okutta abo abataali ba ku ludda lwaffe nga tukozesa amafumu era twattanga n’abo ab’eggwanga lyaffe abaali batawagira kibiina kyaffe eky’eby’obufuzi.” Mwannyinaffe omulala abeera mu Bulaaya agamba nti: “Nnali musosoze era nnali saagalira ddala muntu yenna ow’eggwanga eddala oba ow’eddiini endala.”
2 Leero abantu mu nsi beeyongedde okuba n’endowooza ezifaananako n’ezo muganda waffe ne bannyinaffe abo ze baalina. Abantu bangi beenyigira mu bikolwa eby’obukambwe nga baagala okufuna obwetwaze era waliwo enjawukana nnyingi mu by’obufuzi. Ate era mu nsi ennyingi abagwira tebaagalibwa. Nga Bayibuli bwe yalagula, mu nnaku zino ez’enkomerero, abantu bangi “tebakkiriza kukkaanya.” (2 Tim. 3:1, 3) Wadde ng’enjawukana zeeyongera mu nsi, Abakristaayo bayinza batya okusigala nga bali bumu? Waliwo kye tuyinza okuyigira ku ngeri Yesu gye yakwatamu embeera mu kyasa ekyasooka, wadde nga waaliwo enjawukana nnyingi mu by’obufuzi. Mu kitundu kino tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino ebisatu: Lwaki Yesu teyeegatta ku bibiina ebireetawo enjawukana mu bantu? Yesu yalaga atya nti abaweereza ba Katonda tebasaanidde kwenyigira mu bya bufuzi? Era Yesu yakiraga atya nti tetulina kwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe?
ENDOWOOZA YESU GYE YALINA KU BIBIINA EBYALI BIRWANIRIRA OBWETWAZE
3, 4. (a) Nkyukakyuka ki mu by’obufuzi Abayudaaya ze baali basuubira okubaawo mu kiseera kya Yesu? (b) Ekyo kyakwata kitya ku bayigirizwa ba Yesu?
3 Abayudaaya bangi Yesu be yali abuulira baali baagala okufuna obwetwaze, balekere awo okufugibwa Rooma. Abayudaaya bannalukalala be baali batumbula endowooza eyo mu bantu. Bangi ku bannalukalala abo baali bagoberera endowooza za Yuda Omugaliraaya. Omusajja oyo eyaliwo mu kyasa ekyasooka yali yeeyita Masiya era yawabya abantu bangi. Munnabyafaayo Omuyudaaya ayitibwa Josephus yagamba nti Yuda Omugaliraaya “yakubiriza abantu b’eggwanga lye okujeema, ng’agamba nti okusasula Rooma omusolo kyali kikolwa kya butiitiizi.” Yuda oyo yattibwa Abaruumi. (Bik. 5:37) Abamu ku bannalukalala Abayudaaya baatandika n’okukola ebikolwa eby’obukambwe okusobola okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe.
4 Ng’oggyeeko bannalukalala abo, Abayudaaya aba bulijjo baali balindirira Masiya nga balowooza nti yandibadde munnabyabufuzi. Baali balowooza nti Masiya bwe yandizze, yandireetedde ensi yaabwe okuba ey’ekitiibwa era yandibaggye wansi w’obufuzi bwa Rooma. (Luk. 2:38; 3:15) Bangi baali balowooza nti Masiya yali agenda kussaawo obwakabaka ku nsi mu Isirayiri. Era baali balowooza nti ekyo kyandireetedde Abayudaaya abaali basaasaanidde mu bitundu by’ensi ebitali bimu okukomawo mu nsi yaabwe. Lumu Yokaana Omubatiza yabuuza Yesu nti: “Ye ggwe Wuuyo gwe tubadde tulindirira, oba tulindirire mulala?” (Mat. 11:2, 3) Yokaana ayinza okuba nga yali ayagala okumanya obanga waliwo omuntu omulala eyali ajja okutuukiriza ebyo Abayudaaya bye baali basuubira. N’abayigirizwa ababiri Yesu be yasisinkana oluvannyuma lw’okuzuukira nga bagenda e Emawo nabo baalina bye baali basuubira mu Masiya naye ne bitatuukirira. (Soma Lukka 24:21.) Era nga wayise ekiseera kitono, abatume ba Yesu baamubuuza nti: “Mukama waffe, ogenda kuzzaawo obwakabaka bwa Isirayiri mu kiseera kino?”—Bik. 1:6.
5. (a) Lwaki abantu b’e Ggaliraaya baali baagala Yesu abe kabaka waabwe? (b) Yesu yatereeza atya endowooza yaabwe?
5 Ebintu ebyo abantu bye baali basuubira mu Masiya biteekwa okuba nga byaleetera abantu b’omu Ggaliraaya okwagala Yesu abe kabaka waabwe. Bateekwa okuba nga baali balaba nti Yesu yali asobola okuba omukulembeze omulungi ennyo, kubanga yali mwogezi mulungi, yali asobola okuwonya abalwadde, era yali asobola okufunira abantu abalumwa enjala emmere. Yesu bwe yamala okuliisa abasajja nga 5,000, yamanya ekyo ekyali mu birowoozo by’abantu. Bayibuli egamba nti: “Yesu bwe yamanya nti baali banaatera okujja okumukwata bamufuule kabaka, n’addayo ku lusozi n’abeera eyo yekka.” (Yok. 6:10-15) Naye enkeera nga bali ku luuyi olulala olw’Ennyanja y’e Ggaliraaya, okucamuukirira abantu abamu kwe baalina kuyinza okuba nga kwawola. Yesu yannyonnyola ekibiina ky’abantu omulimu ogwali gumuleese. Yali azze kuyamba ggwanga lya Isirayiri mu by’omwoyo, so si mu mu bya mubiri. Yabagamba nti: “Temukolerera mmere eggwaawo, wabula mukolerere emmere etaggwaawo ereeta obulamu obutaggwaawo.”—Yok. 6:25-27.
6. Yesu yakyoleka atya nti yali talina kiruubirirwa kya kwenyigira mu bya bufuzi bya nsi? (Laba ekifaananyi ku lupapula 3.)
6 Yesu bwe yali anaatera okuttibwa, yakiraba nti abamu ku bagoberezi be baali bamusuubira okussaawo obwakabaka ku nsi, nga businziira mu Yerusaalemi okufuga. Yatereeza endowooza gye baalina bwe yabagerera olugero olukwata ku mina. Olugero olwo lwalaga nti Yesu, “omusajja ow’omu lulyo olulangira,” yandigenze mu nsi ey’ewala, ekintu ekyandibadde kitwala ekiseera ekiwanvu. (Luk. 19:11-13, 15) Yesu era yategeeza omufuzi wa Rooma ayitibwa Pontiyo Piraato nti teyalina ludda lwe yali awagira mu by’obufuzi. Piraato yabuuza Yesu nti: “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?” (Yok. 18:33) Oboolyawo gavana oyo yali alowooza nti Yesu yali ayinza okuleetawo obwegugungo, era ng’ekyo kye kintu Piraato kye yali atya ennyo. Yesu yamuddamu nti: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.” (Yok. 18:36) Yesu yali tayinza kwenyigira mu bya bufuzi kubanga Obwakabaka bwe bwali bwa kuba mu ggulu. Yagamba Piraato nti omulimu gwe ku nsi gwali gwa ‘kuwa bujulirwa ku mazima.’—Soma Yokaana 18:37.
7. Lwaki oluusi tekiba kyangu kwewalira ddala kubaako ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi by’ensi?
7 Bwe tutegeera obulungi omulimu ogwatuweebwa nga Yesu bwe yali ategeera obulungi omulimu ogwamuweebwa, tujja kwewala okubaako oludda lwe tuwagira mu by’obufuzi by’ensi, ka kibe mu mitima gyaffe. Ekyo oluusi tekiba kyangu. Omulabirizi omu akyalira ebibiina yagamba nti: “Omwoyo gw’okwagala okuleetawo enkyukakyuka gweyongera buli lukya mu bantu abali mu kitundu kyaffe. Kati abantu bangi balina mwoyo gwa ggwanga era bangi balowooza nti enkyukakyuka mu by’obufuzi zisobola okubayamba okuba n’obulamu obulungi. Naye eky’essanyu kiri nti ab’oluganda bafubye okukuuma obumu bw’ekibiina nga beemalira ku mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Bakimanyi nti Katonda yekka y’ajja okumalawo obutali bwenkanya n’ebizibu ebirala byonna bye twolekagana nabyo.”
YESU YAKWATA ATYA ENSONGA Z’EBY’OBUFUZI EZIREETAWO ENJAWUKANA?
8. Obumu ku butali bwenkanya Abayudaaya ab’omu kyasa ekyasooka bwe baayolekagana nabwo bwe buliwa?
8 Ekimu ku bintu ebireetera abantu okwenyigira mu by’obufuzi, bwe butali bwenkanya obuba buliwo. Mu kiseera kya Yesu, ensonga y’okuwa omusolo yaleetera abantu okwenyigira mu by’obufuzi. Mu butuufu, akeegugungo Yuda Omugaliraaya eyayogeddwako waggulu ke yatandikawo kaava ku kuba nti Rooma yali eragidde abantu okwewandiisa basobole okuba nga bonna bawa omusolo. Waliwo emisolo mingi abantu mu bwakabaka bwa Rooma gye baalina okusasula, gamba ng’omusolo ku by’amaguzi, ku ttaka, ne ku mayumba. Ate era olw’okuba abasolooza b’omusolo baali balya nnyo enguzi, kyaleetera abantu okuwulira nti okusasula omusolo gwali mugugu. Abasolooza omusolo baaguliriranga abakungu mu gavumenti ne babawa obuyinza bwe baakozesanga okuggya ssente nnyingi ku bantu. Zaakayo omukulu w’abasolooza b’omusolo mu Yeriko yagaggawala nnyo olw’okunyaga ssente ku bantu. (Luk. 19:2, 8) Kirabika abasolooza b’omusolo bangi baakolanga nga ye.
9, 10. (a) Abalabe ba Yesu baagezaako batya okumuleetera okwenyigira mu nsonga z’eby’obufuzi? (b) Kiki kye tuyigira ku ngeri Yesu gye yabaddamu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 3.)
9 Abalabe ba Yesu baagezaako okusuula Yesu mu katego abeeko oludda lw’awagira ku nsonga y’okusasula omusolo. Omusolo ogwali gwogerwako gw’egwo ogw’okusasula eddinaali emu, era nga buli muntu eyali mu ttwale lya Rooma yalina okugusasula. (Soma Matayo 22:16-18.) Abayudaaya baali tebaagalira ddala musolo ogwo. Okugusasula kyali kiraga nti baali wansi w’obufuzi bwa Rooma. “Abagoberezi ba Kerode” abaaleeta ensonga eyo baali basuubira nti Yesu bwe yandivumiridde okuwa omusolo ogwo, yandibadde avunaanibwa ogw’okuleetera abantu okujeemera gavumenti. Ate Yesu bwe yandigambye nti omusolo ogwo gwali gulina okusasulwa, oboolyawo abamu ku bagoberezi be bandimuvuddeko.
10 Yesu yeewala okubaako oludda kwe yeekubiira ku nsonga ekwata ku kusasula emisolo. Yagamba nti: “Ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali, naye ebya Katonda mubiwe Katonda.” (Mat. 22:21) Kya lwatu nti Yesu yali akimanyi nti bangi ku basolooza b’omusolo baali balya enguzi. Naye yali tayagala kuwugulibwa kuva ku kintu ekisinga obukulu. Yali akimanyi nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okugonjoola ebizibu by’abantu byonna. Yesu yateerawo abagoberezi be bonna ekyokulabirako ekirungi. Abagoberezi ba Yesu basaanidde okwewala okwenyigira mu nsonga ezikwata ku by’obufuzi, ka kibe nti kye boogerako kituufu oba nedda. Mu kifo ky’okuwa endowooza yaabwe ku butali bwenkanya obuliwo mu nsi oba okubuvumirira, Abakristaayo banoonya Bwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe.—Mat. 6:33.
11. Tusobola tutya okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku butali bwenkanya obuli mu nsi?
11 Waliwo Abajulirwa ba Yakuwa bangi abasobodde okweggyamu endowooza z’eby’obufuzi ezaali zisimbye amakanda mu mitima gyabwe. Mwannyinaffe omu abeera mu Bungereza yagamba nti: “Oluvannyuma lw’okusoma amasomo agakwata ku mbeera z’abantu ku yunivasite, nnawulira nga njagala wabeewo enkyukakyuka ez’amaanyi. Nnali njagala okulwanirira eddembe ly’abaddugavu, kubanga twali tunyigiriziddwa okumala emyaka mingi. Wadde nga nnali mmanyi okwogera ne mmatiza abantu, ku nkomerero nnasigalanga siri musanyufu. Nnali sinnakimanya nti obusosoze busibuka mu mitima gy’abantu era nti okusobola okubumalawo bulina kuggibwa mu mitima gy’abantu. Kyokka bwe nnatandika okuyiga Bayibuli, nnakiraba nti nze kennyini nnalina okusooka okweggyamu obusosoze. Era muganda wange omuzungu ye yannyamba okubweggyamu. Kati mpeereza nga payoniya mu kibiina kya bakiggala era nfuba okubuulira abantu aba buli ngeri.”
“ZZAAYO EKITALA KYO MU KIFO KYAKYO”
12. ‘Kizimbulukusa’ ki Yesu kye yagamba abayigirizwa be okwewala?
12 Mu kiseera kya Yesu, abakulu b’eddiini baali beenyigira mu by’obufuzi. Ekitabo ekiyitibwa Daily Life in Palestine at the Time of Christ kigamba nti: “Ebibiina by’eddiini Abayudaaya bye baalimu era byali bisobola okutwalibwa ng’ebibiina by’obufuzi.” N’olwekyo Yesu yalabula abayigirizwa be n’abagamba nti: “Mutunule; mwegendereze ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’ekya Kerode.” (Mak. 8:15) Mu kwogera ku Kerode, kirabika Yesu yali ayogera ku bagoberezi ba Kerode. Bo Abafalisaayo baali baagala Abayudaaya okufuna obwetwaze. Ate Matayo alaga nti Yesu abagoberezi be yabalabula ne ku Basaddukaayo. Abasaddukaayo bo baali baagala embeera y’eby’obufuzi esigale nga bwe yali. Bangi ku bo baali baweereddwa ebifo ebitali bimu mu gavumenti ya Rooma. Yesu yagamba abayigirizwa be okwewala enjigiriza oba ekizimbulukusa ky’ebibiina ebyo ebisatu. (Mat. 16:6, 12) Ebigambo ebyo Yesu yabyogera nga waakayita ekiseera kitono bukya abantu baagala kumufuula kabaka.
13, 14. (a) Waayo ekyokulabirako ekiraga nti okugattika eby’obufuzi n’eddiini kireetawo ebikolwa eby’obukambwe n’obutali bwenkanya. (b) Lwaki obutali bwenkanya tebusaanidde kutuleetera kwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe? (Laba ekifaananyi ku lupapula 3.)
13 Okugattika eddiini n’eby’obufuzi, kitera okuvaamu ebikolwa eby’obukambwe. Yesu yagamba abagoberezi be okwewala okubaako oludda lwe bawagira mu by’obufuzi. Eyo y’emu ku nsonga lwaki bakabona abakulu n’Abafalisaayo baakola olukwe okutta Yesu. Baali bamutwala ng’omulabe waabwe mu by’eddiini ne mu by’obufuzi. Baagamba nti: “Bwe tumuleka obulesi, abantu bonna bajja kumukkiririzaamu, era Abaruumi bajja kujja batwale ekifo kyaffe n’eggwanga lyaffe.” (Yok. 11:48) N’olwekyo, Kayaafa kabona asinga obukulu ye yakulemberamu mu lukwe olw’okutta Yesu.—Yok. 11:49-53; 18:14.
14 Kayaafa yatuma abasirikale okukwata Yesu ekiro. Ekyo Yesu yakimanya nga bukyali era bwe yali alya n’abatume be ekijjulo ekyasembayo, yabagamba bafuneyo ebitala. Ebitala bibiri byali bimala okubayigiriza ekintu ekikulu. (Luk. 22:36-38) Mu kiro ekyo, Peetero yakozesa ekitala n’atema omu ku abo abaali mu kibinja ekyali kizze okukwata Yesu. Peetero yakiraba nga tekyali kya bwenkanya kukwata Yesu. (Yok. 18:10) Naye Yesu yagamba Peetero nti: “Zzaayo ekitala kyo mu kifo kyakyo kubanga abo bonna abakwata ekitala balittibwa na kitala.” (Mat. 26:52, 53) Ekyo Yesu kye yagamba Peetero kyali kikwatagana bulungi n’ebigambo bye yayogera mu ssaala gye yasaba ekiro ekyo, bwe yagamba nti abayigirizwa be si ba nsi. (Soma Yokaana 17:16.) Eky’okulwanyisa obutali bwenkanya baalina kukirekera Katonda.
15, 16. (a) Bayibuli eyambye etya Abakristaayo okwewala okwenyigira mu bukuubagano bw’ensi? (b) Njawulo ki Yakuwa gy’alaba wakati w’abantu be n’abantu abali mu nsi ya Sitaani?
15 Mwannyinaffe abeera mu Bulaaya, eyayogeddwako ku ntandikwa, ekyo naye yakiyiga. Agamba nti: “Nnakiraba nti ebikolwa eby’obukambwe tebireetawo bwenkanya. Abo abeenyigira mu bikolwa eby’obukambwe emirundi mingi bakomekkereza bafiiriddwa obulamu bwabwe. Ate era bangi ku bo baggwebwako essanyu. Kyansanyusa nnyo okukimanya nti Bayibuli eraga nti Katonda yekka y’asobola okuleetawo obwenkanya ku nsi. Kati mmaze emyaka 25 nga mbuulira abantu obubaka obwo.” Ow’oluganda abeera mu nsi emu ey’omu Afirika, kati mu kifo ky’okukwata effumu okutta abantu akozesa “ekitala eky’omwoyo,” kwe kugamba, Ekigambo kya Katonda, okubabuulira obubaka obw’emirembe, ka babe ba ggwanga ki. (Bef. 6:17) Ate ye mwannyinaffe omulala abeera mu Bulaaya bwe yamala okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa, yafumbirwa ow’oluganda ow’eggwanga erimu edda lye yali tayagala. Bonna abo abasatu baakola enkyukakyuka ezo olw’okuba baali baagala okukoppa Kristo.
16 Nga kikulu nnyo okukola enkyukakyuka ezo! Bayibuli egeraageranya abantu ku nnyanja efuukuuse. (Is. 17:12; 57:20, 21; Kub. 13:1) Wadde ng’eby’obufuzi bireetera abantu okwegugunga, bireetawo enjawukana, era bireetera abantu okwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe, ffe tusigala tuli mu mirembe era nga tuli bumu. Yakuwa bw’atunuulira ensi eno ejjudde enjawukana, ateekwa okuba ng’asanyuka nnyo okulaba nti abantu be bo bali bumu.—Soma Zeffaniya 3:17.
17. (a) Bintu ki ebisatu ebisobola okutuyamba okusigala nga tuli bumu? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
17 Tulabye ebintu bisatu ebisobola okutuyamba okusigala nga tuli bumu: (1) Okussa obwesige mu Bwakabaka bwa Katonda nga tuli bakakafu nti bwe bwokka obusobola okumalawo obutali bwenkanya, (2) nga twewala okubaako oludda lwe tuwagira mu nsonga z’eby’obufuzi, ne (3) okwewala okwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe. Naye oluusi obusosoze busobola okukifuula ekizibu gye tuli okusigala nga tuli bumu. Ekitundu ekiddako kijja kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okuvvuunuka obusosoze, nga bwe kyali mu Bakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka.