Matayo
16 Awo Abafalisaayo n’Abasaddukaayo ne bajja gy’ali, era olw’okwagala okumukema ne bamusaba abalage akabonero okuva mu ggulu.+ 2 N’abaddamu nti: “Bwe buwungeera mutera okugamba nti, ‘Obudde bujja kuba bulungi olw’okuba eggulu limyuse,’ 3 ate bwe bukya, mugamba nti, ‘Olwa leero obudde bujja kuba bunnyogovu era enkuba ejja kutonnya, kubanga eggulu limyuse era likutte ebire.’ Musobola okutunuulira eggulu ne mutegeera embeera y’obudde bw’eneebeera, naye bwe mulaba obubonero bw’ebiseera temusobola kutegeera makulu gaabwo. 4 Omulembe guno omubi era ogutali mwesigwa* gwagala okulaba akabonero, naye tewali kabonero kajja kuguweebwa+ okuggyako aka Yona.”+ Bwe yamala okwogera ebyo, n’abaviira n’agenda.
5 Awo abayigirizwa ne bagenda emitala, naye ne beerabira okutwala emigaati.+ 6 Yesu n’abagamba nti: “Mutunule, era mwegendereze ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.”+ 7 Ne batandika okwogera bokka na bokka nti: “Tetwaleese migaati.” 8 Yesu bwe yakimanya, n’abagamba nti: “Mmwe abalina okukkiriza okutono, lwaki mugamba nti temulina migaati? 9 Temunnategeera kye ntegeeza, oba temujjukira emigaati etaano egyaweebwa abantu 5,000 n’ebisero ebingi bye mwakuŋŋaanya?+ 10 Oba emigaati omusanvu egyaweebwa abantu 4,000 n’ebisero ebingi bye mwakuŋŋaanya?+ 11 Lwaki temukitegeera nti mbadde soogera ku migaati? Naye mwegendereze ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.”+ 12 Awo ne balyoka bategeera nti yali tabagamba kwegendereza kizimbulukusa kya migaati, wabula enjigiriza z’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.
13 Awo Yesu bwe yatuuka mu bitundu by’e Kayisaliya ekya Firipo, n’abuuza abayigirizwa nti: “Omwana w’omuntu abantu bagamba nti y’ani?”+ 14 Ne bamuddamu nti: “Abamu bagamba nti ye Yokaana Omubatiza,+ abalala nti ye Eriya,+ ate abalala nti ye Yeremiya oba omu ku bannabbi.” 15 N’ababuuza nti: “Ate mmwe mugamba nti nze ani?” 16 Simooni Peetero n’addamu nti: “Ggwe Kristo,+ Omwana wa Katonda omulamu.”+ 17 Yesu n’amugamba nti: “Oli wa mukisa ggwe Simooni omwana wa Yona, kubanga omubiri n’omusaayi* si bye byakubikkulira ekyo, wabula Kitange ali mu ggulu ye yakikubikkulira.+ 18 Era nkugamba nti: Ggwe Peetero,+ era ku lwazi luno+ kwe ndizimba ekibiina kyange, era enzigi z’emagombe* tezirikiwangula. 19 Nja kukuwa ebisumuluzo by’Obwakabaka obw’omu ggulu, era kyonna ky’olisiba ku nsi ne mu ggulu kiriba kisibiddwa, ne kyonna ky’olisumulula ku nsi ne mu ggulu kiriba kisumuluddwa.” 20 Awo n’akuutira abayigirizwa be obutabuulira muntu yenna nti ye Kristo.+
21 Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okunnyonnyola abayigirizwa be nti ateekwa okugenda e Yerusaalemi, abonyaabonyezebwe nnyo abakadde, bakabona abakulu n’abawandiisi, era attibwe, naye ku lunaku olw’okusatu azuukizibwe.+ 22 Awo Peetero n’amuzza ebbali n’amunenya ng’agamba nti: “Weesaasire Mukama wange; kino tekirikutuukako n’akatono.”+ 23 N’akyuka, n’agamba Peetero nti: “Dda ennyuma wange Sitaani! Oli nkonge gye ndi, kubanga endowooza yo si ya Katonda wabula ya bantu.”+
24 Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti: “Omuntu yenna bw’aba ayagala okungoberera, alekere awo okwetwala yekka, asitule omuti gwe ogw’okubonaabona* angobererenga.+ 25 Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibufiirwa, naye buli afiirwa obulamu bwe ku lwange alibufuna.+ 26 Ddala kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye n’afiirwa obulamu bwe?+ Oba kiki omuntu ky’ayinza okuwaayo okununula obulamu bwe?+ 27 Kubanga Omwana w’omuntu alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe ng’ali wamu ne bamalayika be, era alisasula buli omu okusinziira ku bikolwa bye.+ 28 Mazima mbagamba nti waliwo abamu ku bali wano abatalirega ku kufa okutuusa nga bamaze okulaba Omwana w’omuntu ng’ajja mu Bwakabaka bwe.”+