ESSUULA 34
Yesu Alonda Abatume Kkumi na Babiri
ABATUME 12
Waakayita omwaka nga gumu n’ekitundu bukya Yokaana Omubatiza agamba nti Yesu ye Mwana gw’Endiga owa Katonda. Yesu bwe yatandika obuweereza bwe, waliwo abasajja abeesigwa abaafuuka abayigirizwa be. Mu bano mulimu Andereya, Simooni Peetero, Yokaana, oboolyawo Yakobo (muganda wa Yokaana), Firipo, ne Battolomaayo (era ayitibwa Nassanayiri). Oluvannyuma lw’ekiseera, abantu bangi baafuuka abagoberezi ba Kristo.—Yokaana 1:45-47.
Ekiseera kituuse Yesu alonde abatume be. Bano bagenda kufuuka mikwano gye egy’oku lusegere era bagenda kutendekebwa mu ngeri ey’enjawulo. Naye nga tannabalonda, Yesu asooka kugenda ku lusozi, oboolyawo oluli okumpi n’ennyanja y’e Ggaliraaya era nga si wala nnyo n’e Kaperunawumu. Amala ekiro kyonna ng’asaba, kirabika ng’ayagala Katonda amuwe amagezi n’omukisa. Enkeera ayita abayigirizwa be era alondamu abatume 12.
Yesu alonda abo omukaaga aboogeddwako ku ntandikwa y’essuula eno, era agattako Matayo eyali omusolooza w’omusolo. Abalala abataano be bano: Yuda (era ayitibwa Saddaayo “mutabani wa Yakobo”), Simooni Omukananaayo, Tomasi, Yakobo mutabani wa Alufaayo, ne Yuda Isukalyoti.—Matayo 10:2-4; Lukka 6:16.
Abatume bano 12 babaddenga batambula ne Yesu era abamanyi bulungi. Abamu ku bo ba ŋŋanda ze. Ng’ekyokulabirako, ab’oluganda ababiri Yakobo ne Yokaana balina oluganda ku Yesu. Ate bwe kiba nti Alufaayo yali muganda wa Yusufu eyakuza Yesu, ng’abamu bwe bagamba, ekyo kiba kitegeeza nti omutume Yakobo mutabani wa Alufaayo, naye yalina oluganda ku Yesu.
Yesu akyajjukira bulungi amannya g’abatume be bonna. Naawe ogajjukira? Ekiyinza okukuyamba okugajjukira kwe kukimanya nti kuliko ba Simooni babiri, ba Yakobo babiri, ne ba Yuda babiri. Simooni Peetero alina muganda we Andereya, ate Yakobo (mutabani wa Zebedaayo) alina muganda we Yokaana. Ekyo kisobola okukuyamba okujjukira amannya g’abatume munaana. Abalala abana ye Matayo (eyali omuwooza w’omusolo), Tomasi (eyabuusabuusa), Nassanayiri (eyali atudde wansi w’omuti), ne Firipo (mukwano gwa Nassanayiri).
Abatume 11 bava mu kibuga ky’e Ggaliraaya, Yesu gye yali abeera. Nassanayiri ava Kaana. Firipo, Peetero, ne Andereya baazaalibwa Besusayida. Oluvannyuma Peetero ne Andereya baasengukira e Kaperunawumu, kirabika Matayo gy’abeera. Yakobo ne Yokaana bayinza okuba bava Kaperunawumu oba kumpi n’ekibuga ekyo era baavubiranga ku nnyanja eri okumpi awo. Yuda Isukalyoti, eyalyamu Yesu olukwe, alabika ye mutume yekka ava e Buyudaaya.