Matayo
10 Awo n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’abawa obuyinza okugoba emyoyo emibi+ n’okuwonya endwadde eza buli kika.
2 Amannya g’abatume ekkumi n’ababiri ge gano:+ Simooni ayitibwa Peetero+ ne muganda we Andereya;+ Yakobo mutabani wa Zebedaayo ne muganda we Yokaana;+ 3 Firipo ne Battolomaayo;+ Tomasi+ ne Matayo+ omusolooza w’omusolo; Yakobo mutabani wa Alufaayo; ne Saddayo; 4 Simooni Omukananaayo* ne Yuda Isukalyoti, oluvannyuma eyamulyamu olukwe.+
5 Ekkumi n’ababiri abo Yesu yabatuma n’abalagira nti:+ “Temugenda eri ab’amawanga era temuyingira mu kibuga kyonna eky’Abasamaliya;+ 6 naye mugende eri endiga ezaabula ez’ennyumba ya Isirayiri.+ 7 Bwe muba mugenda, mubuulire nga mugamba nti: ‘Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.’+ 8 Muwonye abalwadde,+ muzuukize abafu, muwonye abagenge balongooke, era mugobe dayimooni. Mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa. 9 Temutwala zzaabu oba ffeeza oba kikomo mu nkoba zammwe omuteekebwa ssente,+ 10 oba ensawo omuli eby’okulya ku lugendo, oba ebyambalo bibiri,* oba engatto, oba omuggo;+ kubanga omukozi agwanira okuweebwa emmere ye.+
11 “Mu buli kibuga oba mu buli kyalo mwe munaayingira, munoonyeemu oyo agwanira, mubeere mu maka ge okutuusa lwe mulivaayo.+ 12 Bwe muba muyingidde mu nnyumba, mulamuse ab’omu nnyumba eyo. 13 Bwe baba bagwanira, emirembe gyammwe gijja kubeera nabo;+ naye bwe baba tebagwanira, emirembe gyammwe gijja kubaddira. 14 Omuntu yenna bw’ataabasembeze oba bw’ataawulirize bigambo byammwe, bwe muba muva mu nnyumba eyo oba mu kibuga ekyo, mwekunkumuleko enfuufu ku bigere byammwe.+ 15 Mazima ddala mbagamba nti, ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango, ekibonerezo ekiriweebwa ekibuga ekyo kiriba kinene okusinga ekya Sodomu ne Ggomola.+
16 “Laba! Mbatuma nga muli ng’endiga wakati mu misege; n’olwekyo mubeere beegendereza ng’emisota ng’ate temuliiko kya kunenyezebwa ng’amayiba.+ 17 Mwegendereze, kubanga abantu balibawaayo mu mbuga z’amateeka+ era balibakubira+ mu makuŋŋaaniro gaabwe.+ 18 Mulitwalibwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka+ ku lwange, bube obujulirwa gye bali n’eri amawanga.+ 19 Kyokka, bwe babawangayo temweraliikiriranga bwe mulyogera oba bye mulyogera; mu kiseera ekyo muliweebwa eby’okwogera;+ 20 kubanga si mmwe muliba mwogera, wabula omwoyo gwa Kitammwe gwe gulyogerera mu mmwe.+ 21 Ate era, ow’oluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w’omwana aliwaayo omwana we, n’abaana balyefuulira bazadde baabwe ne babawaayo okuttibwa.+ 22 Era mulikyayibwa abantu bonna olw’erinnya lyange,+ naye oyo agumiikiriza* okutuuka ku nkomerero y’alirokolebwa.+ 23 Bwe babayigganyanga mu kibuga ekimu, muddukiranga mu kirala;+ mazima mbagamba nti temulimalako bibuga bya Isirayiri byonna ng’Omwana w’omuntu tannatuuka.
24 “Omuyizi tasinga amuyigiriza, n’omuddu tasinga mukama we.+ 25 Omuyizi asuubire nti ajja kuyisibwa ng’oyo amuyigiriza, era n’omuddu nga mukama we.*+ Bwe kiba nti abantu nnyinimu bamuyise Beeruzebuli,*+ ab’omu nnyumba ye tebalibayita kye kimu? 26 N’olwekyo temubatya; kubanga tewali kibikkiddwa ekitalibikkulwa, oba ekyama ekitalimanyibwa.+ 27 Kye mbabuulira mu kizikiza mukyogereranga mu kitangaala; era kye muwulira mu kaama mukyogereranga waggulu ku nnyumba.+ 28 Temutyanga abo abatta omubiri naye nga tebasobola kuzikiriza bulamu;+ wabula mutye oyo asobola okuzikiriza byombi obulamu n’omubiri mu Ggeyeena.+ 29 Enkazaluggya ebbiri tezigula ssente emu ey’omuwendo omutono ennyo?* Kyokka tewali n’emu egwa ku ttaka nga Kitammwe tamanyi.+ 30 Naye mmwe n’omuwendo gw’enviiri eziri ku mitwe gyammwe gumanyiddwa. 31 N’olwekyo temutya; muli ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.+
32 “Buli anjatula mu maaso g’abantu,+ nange ndimwatula mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.+ 33 Naye buli anneegaanira mu maaso g’abantu nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.+ 34 Temulowooza nti nnajja kuleeta mirembe ku nsi; sajja kuleeta mirembe wabula ekitala.+ 35 Nnajja okwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, muka mwana ne nnyazaala we.+ 36 Mu butuufu, abalabe b’omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye. 37 Oyo ayagala kitaawe oba nnyina okusinga nze, tansaanira; n’oyo ayagala mutabani we oba muwala we okusinga nze, tansaanira.+ 38 Era buli atasitula muti gwe ogw’okubonaabona* n’angoberera, tansaanira.+ 39 Buli awonya obulamu bwe alibufiirwa, na buli afiirwa obulamu bwe ku lwange alibufuna.+
40 “Oyo abasembeza nange aba ansembezza, era oyo ansembeza aba asembezza n’Oyo eyantuma.+ 41 Oyo asembeza nnabbi olw’okuba nnabbi ajja kufuna empeera ng’eya nnabbi,+ n’oyo asembeza omuntu omutuukirivu olw’okuba mutuukirivu ajja kufuna empeera ng’ey’omuntu omutuukirivu. 42 Era buli awa omu ku bato bano ekikopo ky’amazzi agannyogoga okunywa olw’okuba muyigirizwa wange, mazima mbagamba nti talirema kuweebwa mpeera ye.”+