Kuuma Omutima Gwo
“Onyiikiranga nnyo nnyini okukuumanga omutima gwo; kubanga omwo mwe muva ensulo ez’obulamu.”—ENGERO 4:23.
1, 2. Lwaki twetaaga okukuuma omutima gwaffe?
OMUSAJJA omukadde eyali ku bizinga by’e Caribbean yava mu kifo kye yali yeewogomyemu oluvannyuma lw’embuyaga ey’amaanyi ennyo. Nga yeetegereza ebintu ebyali byonooneddwa embuyaga, yalaba nti omuti omunene ennyo ogwali mu maaso g’omulyango gwe okumala amakumi g’emyaka, gwali tegukyaliwo. Yeebuuza, ‘Ekyo kisoboka kitya, ng’ate emiti emitono mu kitundu giwonyeewo?’ Bwe yatunuulira ekikonge ky’omuti guno ogwali gugudde, yafuna eky’okuddamu. Omuti ogwali gulabika ng’omunywevu ennyo, gwali guvunze munda era ng’embuyaga yayoleka bwolesi embeera eyo.
2 Nga kiba kya nnaku nnyo omusinza ow’amazima alabika ng’omunywevu mu kkubo ly’Ekikristaayo, bwaddirira ng’okukkiriza kwe kugezeseddwa. Baibuli eyogera kituufu bw’egamba nti “okulowooza okw’omu mutima gw’omuntu kubi okuva mu buto bwe.” (Olubereberye 8:21) Kino kitegeeza nti bwe watabaawo kufuba kwa maanyi, n’emitima emirungi giyinza okukemebwa okukola ekibi. Okuva bwe watali muntu atayinza butonoona, twetaaga okulowooza ennyo ku magezi gano: “Onyiikiranga nnyo nnyini okukuumanga omutima gwo.” (Engero 4:23) Kati olwo, tuyinza tutya okukuuma omutima gwaffe ogw’akabonero?
Tuteekwa Okwekebera Buli Kiseera
3, 4. (a) Bibuuzo ki ebiyinza okubuuzibwa ku bikwata ku mutima? (b) Kiki ekinaatuyamba okukebera omutima gwaffe ogw’akabonero?
3 Singa ogenda eri omusawo okukukebera, kirabika ajja kukebera n’omutima gwo. Embeera y’obulamu bwo awamu n’omutima gwo biraga nti ofuna ebiriisa ebimala? Omusaayi gwo gutambula bulungi? Omutima gwo gukyakuba bulungi era n’amaanyi? Omubiri gwo ogukozesa emizannyo? Omutima gwo gweraliikirira ekisukkiridde?
4 Obanga omutima gwo gwetaaga okukeberwa, olw’ogwo ogw’akabonero tegwetaaga kukeberwa? Yakuwa agukebera. (1 Ebyomumirembe 29:17) Naffe twandikoze kye kimu. Tutya? Nga twebuuza ebibuuzo nga: Omutima gwange gufuna emmere ey’eby’omwoyo emala okuyitira mu kwesomesa n’okubeerawo mu nkuŋŋaana? (Zabbuli 1:1, 2; Abaebbulaniya 10:24, 25) Obubaka bwa Yakuwa bukulu eri omutima gwange, nga bulinga ‘omuliro ogwaka mu magumba gange,’ ne bunkubiriza okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa? (Yeremiya 20:9; Matayo 28:19, 20; Abaruumi 1:15, 16) Nfuba okwenyigira mu ngeri ezitali zimu ez’obuweereza obw’ekiseera kyonna nga bwe kisoboka? (Lukka 13:24) Omutima gwange ogw’akabonero nguteeka mu mbeera ki? Nkolagana n’abalala abali mu kusinza okw’amazima? (Engero 13:20; 1 Abakkolinso 15:33) Ka tubeere bangu okulaba ekitubulako era tubeeko ne kye tukola okukitereeza.
5. Okugezesebwa eri okukkiriza kwaffe kuyinza kutuganyula kutya?
5 Okukkiriza kwaffe kutera okugezesebwa. Ekyo kitusobozesa okumanya embeera y’omutima gwaffe. Musa yabagamba bw’ati Abaisiraeri abaali banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize: “Era onojjukiranga olugendo lwonna Mukama katonda wo lwe yakutambuliza emyaka gino amakumi ana mu ddungu, akutoowaze, akukeme, okumanya ebyali mu mutima gwo, oba ng’ogenda okwekuumanga ebiragiro bye oba si weewaawo.” (Ekyamateeka 8:2) Bwe twolekagana n’embeera ze tutasuubira oba bwe tukemebwa, tetutera kwewuunya engeri gye tweyisaamu? Okugezesebwa Yakuwa kw’akkiriza okubaawo kuyinza okutuyamba okumanya obunafu bwaffe, ne kituwa omukisa okukola enkyukakyuka. (Yakobo 1:2-4) Tetulemanga okufumiitiriza n’okusaba nga twolekaganye n’okugezesebwa!
Bye Twogera Biraga Ki?
6. Ebintu bye twagala okwogerako byoleka bitya ekiri mu mutima gwaffe?
6 Tumanya tutya kye tutwala ng’eky’omuwendo mu mutima gwaffe? Yesu yagamba: “Omuntu omulungi ekirungi akiggya mu tterekero eddungi ery’omutima gwe; n’omubi ekibi akiggya mu tterekero ebbi: kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima akamwa ke bye koogera.” (Lukka 6:45) Kye twogerako kiraga omutima kye gumaliridde okukola. Tutera kwogera ku bya bugagga ne bye tukoze mu nsi? Oba bye twogera bikwata ku bintu n’ebiruubirirwa eby’omwoyo? Mu kifo ky’okwogera ku nsobi z’abalala, tugezaako okuzibikkako? (Engero 10:11, 12) Twogera nnyo ku bantu abalala n’ebifa ku bulamu bwabwe ate ne twogera kitono ku by’omwoyo n’empisa ennungi? Kino kyandiraga nti tweyingiza mu nsonga z’abalala?—1 Peetero 4:15.
7. Kyakuyiga ki ekikwata ku kukuuma omutima gwaffe kye tufuna okuva ku ebyo ebyatuuka ku Yusufu ne baganda be?
7 Lowooza ku kyaliwo mu maka agamu amanene. Batabani ba Yakobo ekkumi ‘baayombesa’ muganda waabwe omuto, Yusufu. Lwaki? Baakwatibwa obuggya kubanga kitaabwe gwe yali asinga okwagala. Oluvannyuma, Yusufu bwe yafuna ebirooto okuva eri Katonda ebikakasa nti yali asiimibwa Yakuwa, ‘beeyongera okumukyawa.’ (Olubereberye 37:4, 5, 11) Olw’ettima, baatunda muganda waabwe oyo mu buddu. Nga bagezaako okukweka ekikolwa kyabwe ekibi, baalimba kitaabwe nti Yusufu yali attiddwa ensolo enkambwe. Ku olwo, kkumi ku baganda ba Yusufu baalemererwa okukuuma omutima gwabwe. Bwe tuvumirira abalala, kyandiraga nti tulina obuggya mu mutima gwaffe? Tulina okwegendereza ebiva mu kamwa kaffe era ne twanguwa okweggyamu endowooza enkyamu.
8. Kiki ekinaatuyamba okukebera omutima gwaffe bwe tulimba?
8 Wadde nga ‘Katonda tayinza kulimba,’ naye bo abantu abatatuukiridde bayinza okulimba. (Abaebbulaniya 6:18) Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti “abantu bonna b[a]limba.” (Zabbuli 116:11) N’omutume Peetero yalimba bwe yeegaana Yesu emirundi esatu. (Matayo 26:69-75) Kya lwatu, tulina okwewala okulimba, kubanga Yakuwa akyawa “olulimi olulimba.” (Engero 6:16-19) Singa tulimba, kiba kirungi okwekkaanya ekiviirako ekyo. Olw’okutya abantu? Olw’okutya okubonerezebwa? Oboolyawo olw’okutya okuswala oba n’okwerowoozaako ffekka? Ka kibeere ki, nga kiba kirungi nnyo singa tufumiitiriza ku nsonga, mu bwetoowaze ne tukkiriza ekibi kyaffe, ne twegayirira Yakuwa okutusonyiwa, era ne tusaba atuyambe okuvvuunuka obunafu bwaffe! ‘Abakadde mu kibiina’ be bayinza okutuwa obuyambi ng’obwo.—Yakobo 5:14.
9. Okusaba kwaffe kuyinza kwoleka kutya ekiri mu mutima gwaffe?
9 Mu kuddamu okusaba kwa Kabaka Sulemaani okw’okufuna amagezi n’okumanya, Yakuwa yagamba: “Kubanga ekyo kibadde mu mutima gwo, so tosabye bugagga, ebintu, newakubadde ekitiibwa, . . . , amagezi n’okumanya oweereddwa; era ndikuwa n’obugagga n’ebintu n’ekitiibwa.” (2 Ebyomumirembe 1:11, 12) Okuva ku ekyo Sulemaani kye yasaba ne ky’atasaba, Yakuwa yamanya ekyali mu mutima gwe. Bye twogera nga tusaba Yakuwa biraga ekiri mu mutima gwaffe? Okusaba kwaffe kulaga nti twagala okumanya, amagezi n’okutegeera? (Engero 2:1-6; Matayo 5:3) Ensonga z’Obwakabaka ze tuteekako omutima gwaffe? (Matayo 6:9, 10) Singa tusaba olw’okutuusa obutuusa omukolo, ekyo kiraga nti twetaaga okuwaayo ebiseera okufumiitiriza ku bikolwa bya Yakuwa. (Zabbuli 103:2) Abakristaayo bonna bateekwa okumanya okusaba kwabwe kye kwoleka.
Ebikolwa Byaffe Biraga Ki?
10, 11. (a) Obwenzi n’obukaba bisibuka wa? (b) Kiki ekinaatuyamba ‘obutayenda mu mutima’?
10 Kigambibwa nti ebikolwa byaffe, so si bye twogera, bye bisinga okulaga kye tuli. Mazima ddala ebikolwa byaffe bibikkula ekyo ekiri munda yaffe. Ng’ekyokulabirako, ku bikwata ku mpisa, okukuuma omutima kuzingiramu ekisingawo ku kwewala obwewazi obukaba oba obwenzi. Mu kubuulira kwe okw’oku Lusozi, Yesu yagamba: “Buli muntu atunuulira omukazi okumwegomba, ng’amaze okumwendako mu mutima gwe.” (Matayo 5:28) Tuyinza tutya okwewala okwenda mu mitima gyaffe?
11 Yobu omusajja eyalina okukkiriza yassaawo ekyokulabirako ekirungi eri Abakristaayo abafumbo. Awatali kubuusabuusa, Yobu yakolagana n’abakazi abato era n’abayamba nga kyetaagisa. Kyokka, omusajja ono omwesimbu teyalina kirowoozo kyonna eky’okwetaba nabo. Lwaki? Kubanga yali amaliridde obutatunuulira mukazi yenna olw’okumwegomba. Yagamba: “Nalagaana endagaano n’amaaso gange; kale nandiyinzizza ntya okutunuulira omuwala?” (Yobu 31:1) Tukole endagaano efaananako ng’eyo n’amaaso gaffe, tusobole okukuuma omutima gwaffe.
12. Wandikozesezza otya Lukka 16:10 mu kukuuma omutima gwo?
12 Omwana wa Katonda yagamba: “Aba omwesigwa ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mwesigwa: era aba omulyazaamaanyi ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mulyazaamaanyi.” (Lukka 16:10) Yee, twetaaga okwekkaanya enneeyisa yaffe mu bintu ebitono eby’obulamu bwaffe obwa bulijjo, era n’engeri gye tweyisaamu mu maka gaffe nga tuli ffekka. (Zabbuli 101:2) Nga tuli mu maka gaffe, nga tulaba ttivi, oba nga tuli ku Internet, tufuba okugoberera okubuulirira kuno okw’omu Byawandiikibwa: “Naye obwenzi n’obugwagwa bwonna n’okwegomba n’okwogerebwa tebyogerebwangako mu mmwe, nga bwe kigwanira abatukuvu; newakubadde eby’ensonyi, newakubadde ebinyumizibwa eby’obusiru, newakubadde okubalaata, ebitasaana”? (Abaefeso 5:3, 4) Kiri kitya eri ebikolwa eby’obukambwe ebiba ku ttivi oba mu mizannyo gya vidiyo? Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba, “Mukama akema abatuukirivu: naye omubi n’oyo ayagala eby’amaanyi [“ebikolwa eby’ettemu,” NW] emmeeme [Ye] ebakyawa.”—Zabbuli 11:5.
13. Kiki kye tulina okwegendereza nga tulowooza ku biva mu mutima?
13 Yeremiya yalabula nti: “Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etewonyezeka.” (Yeremiya 17:9) Obulimba bw’omutima buyinza okweyoleka bwe tubaako bye twekwasa olw’ensobi zaffe, bwe tutwala ebisobyo byaffe ng’ekintu ekitali kikulu, oba ne twewaana olw’ebyo bye tukoze. Omutima omulimba era gusobola okuba omunnanfuusi—ng’oyogera kino ate n’okola kiri. (Zabbuli 12:2; Engero 23:7) Nga kiba kikulu nnyo okuba abeesimbu ne tukebera ekiva mu mutima!
Eriiso Lyaffe Liraba Wamu?
14, 15. (a) Eriiso ‘eriraba awamu’ lye liruwa? (b) Okukuuma eriiso nga liraba wamu, kituyamba kitya okukuuma omutima?
14 Yesu yagamba: “Ettabaaza y’omubiri lye liiso.” Yagattako: “eriiso lyo bwe liraba awamu, omubiri gwo gwonna gunaabanga n’okutangaala.” (Matayo 6:22) Eriiso eriraba awamu liba lyemalidde ku kiruubirirwa oba kigendererwa kimu, nga teriwugulibwa kukivaako. Mazima ddala, eriiso lyaffe lyandyemalidde ku ‘kusooka okunoonya obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe.’ (Matayo 6:33) Kiki ekiyinza okutuuka ku mutima gwaffe ogw’akabonero singa eriiso lyaffe teriraba wamu?
15 Lowooza ku nsonga y’okweyimirizaawo. Okukola ku byetaago by’omu maka gaffe, kintu ekyetaagisa eri Omukristaayo. (1 Timoseewo 5:8) Naye kiba kitya singa twegomba okubeera n’ebintu ebiri ku mulembe, ebisingayo obulungi oba emmere, engoye, ennyumba n’ebintu ebirala abantu bye basinga okwettanira? Ekyo tekyanditadde omutima gwaffe n’endowooza mu buddu, ne kituleetera okuddirira mu kusinza kwaffe? (Zabbuli 119:113; Abaruumi 16:18) Mu kufuba okukola ku byetaago eby’omubiri, kyandibadde kya magezi okukulembeza amaka gaffe, bizineesi n’eby’obugagga? Jjukira okubuulirira okwaluŋŋamizibwa: “Mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwanga olw’obuluvu n’okutamiiranga n’okweraliikiriranga eby’obulamu buno, era olunaku luli luleme okubatuukako ng’ekyambika; kubanga bwe lutyo bwe lituuka ku bonna abali [m]u nsi yonna.”—Lukka 21:34, 35.
16. Kubuulirira ki Yesu kwe yawa okukwata ku liiso, era lwaki?
16 Eriiso lirina enkolagana ya maanyi n’endowooza n’omutima. Kye liraba kirina kinene nnyo kye kikola ku birowoozo byaffe, enneewulira zaffe ez’omunda n’ebikolwa. Ng’akozesa olulimi olw’akabonero, Yesu yayogera ku kukemebwa okubaawo olw’okulaba: “Oba ng’eriiso lyo erya ddyo likwesittaza, liggyeemu, lisuule wala: kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, omubiri gwo gwonna guleme okusuulibwa mu Ggeyeena.” (Matayo 5:29) Eriiso lirina okukugirwa ne litatunuulira bintu bitasaanira. Ng’ekyokulabirako, teriteekwa kutunuulira bintu ebiyinza okusiikuula okwegomba okubi.
17. Okugoberera Abakkolosaayi 3:5, kituyamba kitya okukuuma omutima?
17 Okulaba si kwe kwokka kwe tuyitiramu okumanya ebiri mu nsi. Ebintu ebirala nga okukwatako n’okuwulira, nabyo birina kye bikola, era twetaaga okwegendereza ku bikwata ku bintu bino. Omutume Pawulo yabuulirira bw’ati: “Kale mufiise ebitundu byammwe ebiri ku nsi; obwenzi, obugwagwa, okwegomba okw’ensonyi, omululu omubi n’okuyaayaana, kwe kusinza ebifaananyi.”—Abakkolosaayi 3:5.
18. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okwekuuma ebirowoozo ebibi?
18 Okwegomba okubi kuyinza okusibuka mu ndowooza yaffe. Okwemalira ku kwegomba ng’okwo kiyinza okubaako kye kikola ku mutima. ‘Okwegomba kuba olubuto ne kuzaala okwonoona.’ (Yakobo 1:14, 15) Bangi bakikkiriza nti omuze ogw’okukwatirira ebitundu eby’ekyama bwe gutyo bwe gutandika. Nga kikulu nnyo okujjuza ebirowoozo byaffe n’ebintu eby’omwoyo! (Abafiripi 4:8) Era singa ekirowoozo ekitasaanira kitujjira, tusaanidde okukyesamba.
‘Weereza Yakuwa n’Omutima Ogutuukiridde’
19, 20. Tuyinza tutya okuweereza Yakuwa n’omutima ogutuukiridde?
19 Ng’akaddiye, Kabaka Dawudi yagamba mutabani we: “Naawe, Sulemaani, mutabani wange, tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n’omutima ogutuukiridde n’emmeeme esanyuka: kubanga Mukama akebera emitima gyonna, era ategeera okufumiitiriza kwonna okw’ebirowoozo.” (1 Ebyomumirembe 28:9) Sulemaani kennyini yasaba okufuna ‘omutima omuwulize.’ (1 Bassekabaka 3:9) Kyokka, yakisanga nga kizibu okukuuma omutima ogwo obulamu bwe bwonna.
20 Bwe tuba ab’okutuuka ku buwanguzi mu nsonga eyo, tetulina kufuna mutima gusanyusa Yakuwa kyokka, naye era tulina okugukuuma. Okusobola okukola ekyo, tulina okussaayo omwoyo ku bye tujjukizibwa okuva mu Kigambo kya Katonda. (Engero 4:20-22) Era twandigifudde empisa yaffe okukeberanga omutima gwaffe, ne tufumiitiriza ku bigambo n’ebikolwa byaffe. Naye, okufumiitiriza ng’okwo kuba na mugaso ki okuggyako nga tusabye obuyambi bwa Yakuwa tutereeze obunafu bwonna bwe tuyinza okulaba? Era nga kiba kikulu nnyo okwegendereza bye tulaba oba bye tuwulira! Bwe tukola bwe tutyo, tuba n’obukakafu nti ‘emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaakuumanga emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe mu Kristo Yesu.’ (Abafiripi 4:6, 7) Yee, tubeere bamalirivu okukuuma omutima gwaffe okusinga ekintu ekirala kyonna era n’okuweereza Yakuwa n’omutima ogutuukiridde.
Okyajjukira?
• Lwaki kikulu nnyo okukuuma omutima?
• Okwegendereza bye twogera kituyamba kitya okukuuma omutima gwaffe?
• Lwaki twandikuumye eriiso lyaffe nga ‘liraba wamu’?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]
Kiki kye tutera okwogerako mu buweereza bw’ennimiro, mu nkuŋŋaana, n’awaka?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20]
Eriiso eriraba awamu teriwugulibwa