Yoswa
18 Awo ng’ensi emaze okuwambibwa,+ ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri kyakuŋŋaanira e Siiro,+ ne basimba eyo weema ey’okusisinkaniramu.+ 2 Naye waali wakyaliwo ebika musanvu eby’Abayisirayiri ebyali bitannaweebwa busika bwabyo. 3 Awo Yoswa n’agamba Abayisirayiri nti: “Munaatuusa wa okulonzalonza? Mugende mulye ensi Yakuwa Katonda wa bajjajjammwe gye yabawa.+ 4 Mumpe abasajja basatu okuva mu buli kika ab’okutuma; bajja kugenda bayiteeyite mu nsi eno yonna, bagipime ng’obusika bwabwe bwe buli, bawandiike bye bapimye balyoke bakomewo gye ndi. 5 Bajja kugigabanyaamu ebitundu musanvu.+ Yuda ajja kusigala mu kitundu kye ku luuyi olw’ebukiikaddyo,+ ate ab’ennyumba ya Yusufu bajja kusigala mu kitundu kyabwe ku luuyi olw’ebukiikakkono.+ 6 Mupime ensi mugigabanyeemu ebitundu musanvu era muwandiike bye mupimye mubindeetere, ndyoke mbakubire obululu+ wano mu maaso ga Yakuwa Katonda waffe. 7 Naye Abaleevi tebajja kuweebwa mugabo mu mmwe,+ kubanga obwakabona bwa Yakuwa bwe busika bwabwe;+ Gaadi ne Lewubeeni n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase+ baamala dda okufuna obusika bwabwe ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Yoludaani, Musa omuweereza wa Yakuwa bwe yabawa.”
8 Awo abasajja ne beeteekateeka okugenda, era Yoswa n’alagira abasajja abo abaali ab’okupima ensi ng’agamba nti: “Mugende muyiteeyite mu nsi mugipime era muwandiike bye munaapima mukomewo gye ndi; nja kubakubira obululu wano mu Siiro mu maaso ga Yakuwa.”+ 9 Awo abasajja ne bagenda ne bayitaayita mu nsi eyo ne bagipima ne bagigabanyaamu ebitundu musanvu, era ne bawandiika mu kitabo ebitundu ebyo n’ebibuga ebibirimu, oluvannyuma ne baddayo eri Yoswa mu lusiisira e Siiro. 10 Awo Yoswa n’abakubira akalulu mu maaso ga Yakuwa+ e Siiro, n’agabanyizaamu Abayisirayiri ensi ng’emigabo gyabwe bwe gyali.+
11 Akalulu ne kagwa ku kika kya Benyamini ng’empya zaabwe bwe zaali, era ekitundu kye baaweebwa okuyitira mu kukuba akalulu kyali wakati w’abantu ba Yuda+ n’abantu ba Yusufu.+ 12 Ensalo yaabwe ey’ebukiikakkono yali etandikira ku Yoludaani n’eyambuka ku kaserengeto akali ku luuyi lwa Yeriko+ olw’ebukiikakkono, n’egenda ku lusozi ku luuyi olw’ebugwanjuba, ne yeeyongerayo ku ddungu ly’e Besi-aveni.+ 13 Ensalo yava awo n’etuuka e Luuzi, ku kaserengeto ka Luuzi ak’ebukiikaddyo, kwe kugamba, Beseri,+ n’ekkirira e Atalosu-addali+ ku lusozi oluli ebukiikaddyo bwa Besu-kolooni ow’eky’Emmanga.+ 14 Ensalo yeeyongerayo ku luuyi olw’ebugwanjuba ne yeetooloola n’edda ebukiikaddyo ng’eva ku lusozi olutunudde mu Besu-kolooni okwolekera ebukiikaddyo; yakoma Kiriyasu-bbaali, kwe kugamba, Kiriyasu-yalimu,+ ekibuga kya Yuda. Eyo ye nsalo ya Benyamini ey’ebugwanjuba.
15 Ensalo ey’ebukiikaddyo yava ku nkomerero ya Kiriyasu-yalimu, ne yeeyongerayo ebugwanjuba, n’egenda n’etuuka ku nsulo y’amazzi g’e Nefutowa.+ 16 Ensalo yaserengeta n’etuuka ku nkomerero y’olusozi olutunudde mu Kiwonvu ky’Omwana wa Kinomu,+ ekiri mu Kiwonvu ky’Abaleefa+ ku luuyi olw’ebukiikakkono, era n’ekkirira mu Kiwonvu kya Kinomu n’etuuka ku kaserengeto k’Omuyebusi+ ku luuyi olw’ebukiikaddyo, n’ekkirira ku Eni-rogeri.+ 17 Era yeeyongerayo ebukiikakkono n’etuuka ku Eni-semesi n’egenda e Gerirosi, ekiri mu maaso g’ekkubo eryambuka e Adummimu,+ n’ekkirira n’etuuka ku jjinja+ lya Bokani+ omwana wa Lewubeeni. 18 Era yeeyongerayo n’etuuka ku kaserengeto ak’ebukiikakkono mu maaso ga Alaba, n’ekkirira mu Alaba. 19 Ensalo yeeyongerayo n’etuuka ku kaserengeto ka Besu-kogula+ ak’ebukiikakkono, n’ekoma ku kyondo ky’Ennyanja ey’Omunnyo*+ eky’ebukiikakkono ku luuyi olw’ebukiikaddyo olw’Omugga Yoludaani. Eyo ye yali ensalo ey’ebukiikaddyo. 20 Yoludaani ye yali ensalo y’ekitundu kya Benyamini ku luuyi olw’ebuvanjuba. Ezo ze zaali ensalo okwetooloola obusika bwa bazzukulu ba Benyamini ng’empya zaabwe bwe zaali.
21 Bino bye bibuga by’ab’ekika kya Benyamini ng’empya zaabwe bwe zaali: Yeriko, Besu-kogula, Emeku-kezizi, 22 Besu-alaba,+ Zemalayimu, Beseri,+ 23 Avvini, Pala, Ofula, 24 Kefala-moni, Ofuni, ne Geba+—ebibuga 12 n’ebyalo ebibyetoolodde.
25 Gibiyoni,+ Laama, Beerosi, 26 Mizupe, Kefira, Moza, 27 Lekemu, Irupeeri, Talala, 28 Zeera,+ Ka-yerefu, Yebusi, kwe kugamba, Yerusaalemi,+ Gibeya,+ ne Kiriyasi—ebibuga 14 n’ebyalo ebibyetoolodde.
Obwo bwe bwali obusika bwa bazzukulu ba Benyamini ng’empya zaabwe bwe zaali.