Okubikkulirwa
21 Ne ndaba eggulu eriggya n’ensi empya;+ kubanga eggulu eryasooka n’ensi eyasooka byali biweddewo,+ era n’ennyanja+ nga tekyaliwo. 2 Era ne ndaba ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi Ekiggya, nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda+ nga kitegekeddwa ng’omugole alungiyiziddwa olwa bba.+ 3 Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka okuva mu ntebe ey’obwakabaka nga ligamba nti: “Laba! Weema ya Katonda eri wamu n’abantu; anaabeeranga wamu nabo, era banaabeeranga bantu be. Katonda kennyini anaabeeranga wamu nabo.+ 4 Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe+ era okufa tekulibaawo nate,+ newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.+ Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.”
5 Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka+ n’agamba nti: “Laba! ebintu byonna mbizza buggya.”+ Era n’agamba nti: “Wandiika, kubanga ebigambo bino byesigika era bya mazima.” 6 N’aŋŋamba nti: “Bituukiridde! Nze Alufa era nze Omega,* olubereberye era enkomerero.+ Oyo alumwa ennyonta ndimuwa amazzi agava mu nsulo ez’amazzi ag’obulamu ku bwereere.+ 7 Oyo awangula alisikira ebintu bino, era ndiba Katonda we, naye aliba mwana wange. 8 Naye abatiitiizi, n’abatalina kukkiriza,+ n’abatali balongoofu era aboonoonefu ennyo, n’abatemu,+ n’abo abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu,*+ n’abeenyigira mu by’obusamize, n’abasinza ebifaananyi, n’abalimba bonna,+ omugabo gwabwe guliba mu nnyanja eyaka omuliro n’obuganga.*+ Kino kitegeeza okufa okw’okubiri.”+
9 Omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu ebyali bijjudde ebibonyoobonyo omusanvu+ ebisembayo, n’ajja n’aŋŋamba nti: “Jjangu nkulage omugole, mukazi w’Omwana gw’Endiga.”+ 10 N’antwala ku lusozi olunene era oluwanvu ng’akozesa amaanyi g’omwoyo, n’andaga ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda+ 11 nga kirina ekitiibwa kya Katonda.+ Okumasamasa kwakyo kwalinga okw’ejjinja erisingayo okuba ery’omuwendo, kwalinga ejjinja eriyitibwa yasepi eritemagana.+ 12 Kyalina bbugwe omunene era omuwanvu ng’aliko emiryango 12, era ku miryango egyo kwaliko bamalayika 12, era nga giwandiikiddwako amannya ag’ebika 12 eby’abaana ba Isirayiri. 13 Ebuvanjuba waaliyo emiryango esatu, mu bukiikakkono waaliyo emiryango esatu, mu bukiikaddyo waaliyo emiryango esatu, n’ebugwanjuba waaliyo emiryango esatu.+ 14 Bbugwe w’ekibuga era yaliko amayinja g’omusingi 12, nga gawandiikiddwako amannya 12 ag’abatume+ 12 ab’Omwana gw’Endiga.
15 Eyali ayogera nange yali akutte olumuli olwa zzaabu olw’okupimisa, asobole okupima ekibuga n’emiryango gyakyo, ne bbugwe waakyo.+ 16 Enjuyi z’ekibuga ennya zaali zenkanankana, era obuwanvu bwakyo bwali bwenkanankana n’obugazi bwakyo. N’apima ekibuga ng’akozesa olumuli, nga kiweza sitadiya 12,000;* obuwanvu bwakyo, obugazi bwakyo, n’obugulumivu bwakyo byali byenkanankana. 17 Era yapima ne bbugwe waakyo ng’aweza emikono 144* okusinziira ku kipimo ky’omuntu, ate era nga kye kipimo kya malayika. 18 Bbugwe waakyo yazimbibwa na mayinja ga yasepi,+ era ekibuga kyali kya zzaabu omulongoofu alinga endabirwamu etangaala. 19 Emisingi gy’ekibuga gyali giyooyooteddwa n’amayinja ag’omuwendo: omusingi ogusooka gwali gwa yasepi, ogw’okubiri gwa safiro, ogw’okusatu gwa kalukedoni, ogw’okuna gwa zumaliidi, 20 ogw’okutaano gwa sadonikisi, ogw’omukaaga gwa sadiyo, ogw’omusanvu gwa kirisoliti, ogw’omunaana gwa berulo, ogw’omwenda gwa topazi, ogw’ekkumi gwa kirisoperaso, ogw’ekkumi n’ogumu gwa kuwakinso, ogw’ekkumi n’ebbiri gwa amesusito. 21 Era emiryango 12 gyali luulu 12; buli gumu gwali gwakolebwa mu luulu emu. Oluguudo olunene olw’ekibuga lwali lwa zzaabu omulongoofu, ng’alinga endabirwamu etangaala.
22 Era saakirabamu yeekaalu, kubanga Yakuwa* Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna+ n’Omwana gw’Endiga ye yeekaalu yaakyo. 23 Era ekibuga kyali tekyetaaga njuba na mwezi kukimulisa, kubanga ekitiibwa kya Katonda kyali kikimulisa,+ era Omwana gw’Endiga ye yali ettaala yaakyo.+ 24 Amawanga galitambulira mu kitangaala kyakyo,+ ne bakabaka b’ensi balireeta ekitiibwa kyabwe mu kyo. 25 Emiryango gyakyo tegiriggalwa emisana lyonna, kubanga tewalibeerayo budde bwa kiro.+ 26 Era balikireetamu ekitiibwa ky’amawanga n’ettendo lyago.+ 27 Tekiriyingiramu kintu kyonna kitali kirongoofu wadde omuntu yenna akola ebyenyinyaza era alimba;+ abo bokka abaawandiikibwa mu muzingo ogw’obulamu ogw’Omwana gw’Endiga be balikiyingiramu.+