Lukka
4 Awo Yesu ng’ajjudde omwoyo omutukuvu n’avaayo ku Mugga Yoludaani, omwoyo ne gumutwala mu ddungu+ 2 n’abeerayo okumala ennaku 40 ng’akemebwa Omulyolyomi.+ Mu nnaku ezo teyalya kintu kyonna, era bwe zaggwaako enjala n’emuluma. 3 Awo Omulyolyomi n’amugamba nti: “Bw’oba ng’oli mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere.” 4 Naye Yesu n’amuddamu nti: “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taba mulamu lwa mmere yokka.’”+
5 Awo Omulyolyomi n’amutwala ku lusozi, era mu kaseera katono n’amulaga obwakabaka bwonna obw’omu nsi.+ 6 N’amugamba nti: “Nja kukuwa obuyinza ku bwakabaka buno bwonna n’ekitiibwa kyabwo, kubanga bwampeebwa,+ era mbuwa oyo yenna gwe mba njagadde. 7 Kale singa onsinza,* bwonna bujja kuba bubwo.” 8 Yesu n’amuddamu nti: “Kyawandiikibwa nti, ‘Yakuwa* Katonda wo gw’olina okusinza, era ye yekka gw’olina okuweereza.’”+
9 Awo n’amutwala e Yerusaalemi n’amuteeka waggulu ku kisenge kya* yeekaalu n’amugamba nti: “Bw’oba ng’oli mwana wa Katonda, yima wano weesuule wansi,+ 10 kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Aliragira bamalayika be okukukuuma,’ 11 era nti ‘Balikusitulira mu mikono gyabwe oleme kukoona kigere kyo ku jjinja.’”+ 12 Yesu n’amuddamu nti: “Kyagambibwa nti, ‘Togezesanga Yakuwa* Katonda wo.’”+ 13 Omulyolyomi bwe yamala okumukema, n’amuleka okutuusa lwe yandifunye akakisa akalala.+
14 Awo Yesu n’addayo e Ggaliraaya+ ng’alina amaanyi ag’omwoyo. Era ebirungi ebyali bimwogerwako ne bibuna mu bitundu byonna ebiriraanyeewo. 15 Awo n’atandika okuyigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era bonna baali bamussaamu ekitiibwa.
16 Awo n’agenda e Nazaaleesi+ gye yakulira, era ng’enkola ye bwe yabanga ku Ssabbiiti, yayingira mu kkuŋŋaaniro,+ n’ayimirira okusoma. 17 Ne bamuwa omuzingo gwa nnabbi Isaaya, n’aguzingulula, n’atuuka we kyawandiikibwa nti: 18 “Omwoyo gwa Yakuwa* gundiko, kubanga yanfukako amafuta okubuulira abaavu amawulire amalungi; yantuma okulangirira nti abawambe bajja kuteebwa era nti n’abazibe b’amaaso bajja kulaba, okusumulula abo abanyigirizibwa,+ 19 okubuulira omwaka gwa Yakuwa* ogw’okukkiririzibwamu.”+ 20 Bwe yamala okusoma, n’azingako omuzingo n’aguddiza omuweereza, n’atuula; bonna abaali mu kkuŋŋaaniro ne bamutunuulira enkaliriza. 21 Awo n’abagamba nti: “Olwa leero ekyawandiikibwa kino kye muwulidde kituukiridde.”+
22 Bonna ne batandika okumwogerako obulungi era ne beewuunya ebigambo ebirungi bye yali ayogera,+ ne bagamba nti: “Ono si mwana wa Yusufu?”+ 23 Awo n’abagamba nti: “Awatali kubuusabuusa mujja kuŋŋamba olugero luno nti, ‘Musawo, weewonye. Ebintu bye twawulira bye wakola mu Kaperunawumu+ bikolere na wano mu kitundu ky’ewammwe.’” 24 Naye n’agamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti tewali nnabbi akkirizibwa mu kitundu ky’ewaabwe.+ 25 Ng’ekyokulabirako, waaliwo bannamwandu bangi mu Isirayiri mu biseera bya Eriya enkuba bwe yamala emyaka esatu n’emyezi mukaaga nga tetonnya, era enjala n’eba nnyingi mu nsi.+ 26 Kyokka Eriya teyatumibwa eri omu ku bakazi abo, wabula yatumibwa eri nnamwandu ow’e Zalefaasi mu nsi ya Sidoni.+ 27 Ate era, waaliwo abagenge bangi mu Isirayiri mu biseera bya nnabbi Erisa, naye tewali n’omu yalongoosebwa* wabula Naamani Omusuuli.”+ 28 Awo bonna abaawulira ebintu ebyo mu kkuŋŋaaniro ne basunguwala,+ 29 ne basituka ne bamufulumya mu kibuga, ne bamutwala ku kagulungujjo k’olusozi okwazimbibwa ekibuga kyabwe nga baagala okumukasuka wansi. 30 Naye n’abayitamu wakati n’agenda.+
31 Awo n’agenda e Kaperunawumu, ekibuga eky’omu Ggaliraaya, n’atandika okubayigiriza ku Ssabbiiti,+ 32 ne bawuniikirira olw’engeri gye yali ayigirizaamu,+ kubanga yali ayogera na buyinza. 33 Mu kkuŋŋaaniro mwalimu omusajja eyaliko omwoyo omubi, n’aleekaana nnyo nti:+ 34 “Otulanga ki ggwe Yesu Omunnazaaleesi?+ Wajja kutuzikiriza? Nkumanyi; ggwe Mutukuvu wa Katonda.”+ 35 Naye Yesu n’aguboggolera ng’agamba nti: “Sirika, era muveeko.” Dayimooni bwe yamala okusuula omusajja oyo wansi wakati mu bo, n’emuvaako nga temukozeeko kabi. 36 Bwe baalaba bino, bonna ne beewuunya nnyo, ne bagambagana nti: “Eno njogera ya ngeri ki? Kubanga akozesa obuyinza n’amaanyi okulagira emyoyo emibi ne giva ku muntu!” 37 Awo amawulire agamukwatako ne gabuna mu bitundu byonna ebyali biriraanyeewo.
38 Bwe yava mu kkuŋŋaaniro n’ayingira mu nnyumba ya Simooni. Maama wa muka Simooni yalina omusujja ogw’amaanyi, ne bamusaba amuwonye.+ 39 N’ayimirira we yali n’alagira omusujja okumuvaako, era ne gumuvaako. Amangu ago n’ayimuka n’atandika okubaweereza.
40 Enjuba bwe yali egwa, abo bonna abaalina abalwadde ab’endwadde ez’enjawulo ne babamuleetera; n’abawonya ng’assa emikono ku buli omu ku bo.+ 41 Era dayimooni ne ziva ku bantu bangi, nga zireekaana nga zigamba nti: “Ggwe Mwana wa Katonda.”+ Naye n’aziboggolera n’atazikkiriza kwogera+ kubanga zaali zimanyi nti ye Kristo.+
42 Naye bwe bwakya, n’afuluma n’agenda mu kifo awataali bantu.+ Kyokka ekibiina ky’abantu ne kimunoonya okutuusa bwe baamulaba, ne bagezaako okumuziyiza aleme okubavaako. 43 Naye n’abagamba nti: “Nnina okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala, kubanga ekyo kye kyantumya.”+ 44 Awo n’agenda okubuulira mu makuŋŋaaniro g’omu Buyudaaya.