Yokaana
14 “Emitima gyammwe ka gireme kweraliikiriranga.+ Mukkiririze mu Katonda;+ nange munzikiririzeemu. 2 Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi. Singa tekibadde bwe kityo nnandibagambye. Ŋŋenda okubateekerateekera ekifo.+ 3 Era bwe nnaagenda ne mbateekerateekera ekifo, nja kukomawo mbatwale gye ndi, nammwe mubeere eyo gye ndi.+ 4 Era gye ŋŋenda ekkubo mulimanyi.”
5 Tomasi+ n’amugamba nti: “Mukama waffe, tetumanyi gy’ogenda. Tuyinza tutya okuba ng’ekkubo tulimanyi?”
6 Yesu n’amugamba nti: “Nze kkubo,+ n’amazima,+ n’obulamu.+ Tewali ajja eri Kitange okuggyako ng’ayitidde mu nze.+ 7 Singa mwali mummanyi, mwandibadde mumanyi ne Kitange; okuva kati mumumanyi era mumulabye.”+
8 Firipo n’amugamba nti: “Mukama waffe, tulage Kitaawo ekyo kinaatumala.”
9 Yesu n’amugamba nti: “Firipo, ebbanga lino lyonna lye mbadde nammwe tommanyi? Buli andaba aba alabye ne Kitange.+ Oyinza otya okugamba nti, ‘Tulage Kitaawo’? 10 Temukikkiriza nti nze ndi bumu ne Kitange era nti ne Kitange ali bumu nange?+ Ebintu bye mbagamba sibyogera ku bwange,+ naye Kitange abeera obumu nange, akola emirimu gye. 11 Mukikkirize bwe ŋŋamba nti ndi bumu ne Kitange, era nti ne Kitange ali bumu nange; oba si ekyo, mukkirize olw’ebintu byennyini bye nkola.+ 12 Mazima ddala mbagamba nti oyo anzikiririzaamu alikola bye nkola, era alikola ebisinga na bino,+ kubanga ŋŋenda eri Kitange.+ 13 Ate era, buli kyonna kye musaba mu linnya lyange ndikikola, Kitange asobole okugulumizibwa okuyitira mu Mwana.+ 14 Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange, nja kukikola.
15 “Bwe muba munjagala, mujja kukwatanga ebiragiro byange.+ 16 Nja kusaba Kitange era ajja kubawa omuyambi* omulala abeere nammwe emirembe gyonna,+ 17 omwoyo ogw’amazima+ ensi gw’etayinza kufuna, kubanga tegulaba era tegumanyi.+ Mmwe mugumanyi kubanga gubeera nammwe era guli mu mmwe. 18 Sijja kubaleka nga bamulekwa. Nzija gye muli.+ 19 Mu kaseera katono ensi ejja kuba tekyandaba, naye mmwe mujja kundaba+ kubanga ndi mulamu era nammwe mujja kuba balamu. 20 Ku lunaku olwo mujja kumanya nti ndi bumu ne Kitange, era nti muli bumu nange, era nti nange ndi bumu nammwe.+ 21 Oyo akkiriza ebiragiro byange n’abikwata, y’oyo anjagala. Era oyo anjagala Kitange ajja kumwagala, era nange nja kumwagala era nneeyoleke gy’ali.”
22 Yuda,+ atali Isukalyoti, n’amubuuza nti: “Mukama waffe, kijja kitya okuba nti oyagala okweyoleka gye tuli so si eri ensi?”
23 Yesu n’amuddamu nti: “Omuntu yenna bw’aba ng’anjagala, ajja kukolera ku kigambo kyange,+ era Kitange ajja kumwagala, era tujja kujja gy’ali tubeere naye.+ 24 Oyo atanjagala takolera ku bigambo byange. Ekigambo kye muwulira si kyange, wabula kya Kitange eyantuma.+
25 “Mbabuulidde ebintu bino nga nkyali nammwe. 26 Naye omuyambi, omwoyo omutukuvu, Kitange gw’ajja okusindika mu linnya lyange, ajja kubayigiriza ebintu byonna era abajjukize ebintu byonna bye nnabagamba.+ 27 Mbalekera emirembe; mbawa emirembe gyange.+ Sigibawa mu ngeri ensi gy’egiwaamu. Emitima gyammwe ka gireme kweraliikirira oba kutya. 28 Muwulidde bwe mbagambye nti, ‘Ŋŋenda era nkomawo gye muli.’ Singa munjagala mwandisanyuse olw’okuba ŋŋenda eri Kitange, kubanga Kitange ansinga obuyinza.+ 29 Nkibabuulidde nga tekinnabaawo, bwe kinaabaawo musobole okukkiriza.+ 30 Sijja kwogera bingi nammwe, kubanga omufuzi w’ensi+ ajja, era tanninaako buyinza.+ 31 Naye nkola nga Kitange bwe yandagira ensi esobole okumanya nti njagala Kitange.+ Musituke tuve wano.