Ebikolwa
13 Mu Antiyokiya mwalimu bannabbi n’abayigiriza b’ekibiina eky’omu kitundu ekyo;+ Balunabba, Simyoni eyali ayitibwa Niga, Lukiyo ow’e Kuleene, Manayeni eyayigirizibwa ne Kerode ow’essaza, ne Sawulo. 2 Bwe baali baweereza* Yakuwa* era nga basiiba, omwoyo omutukuvu ne gugamba nti: “Mu bantu bonna munzigiremu Balunabba ne Sawulo+ bakole omulimu gwe mbayitidde.”+ 3 Oluvannyuma lw’okusiiba n’okusaba, ne babassaako emikono ne babasiibula.
4 Bwe batyo abasajja abo abaatumibwa omwoyo omutukuvu ne bagenda e Serukiya, bwe baavaayo ne basaabala ne bagenda e Kupulo. 5 Bwe baatuuka e Salamisi ne batandika okubuulira ekigambo kya Katonda mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya. Baali ne Yokaana ng’abaweereza.*+
6 Bwe baamala okuyitaayita mu kizinga kyonna nga batuuse e Pafo, ne basanga omusajja Omuyudaaya ayitibwa Bali-Yesu, eyali omusamize era nga nnabbi wa bulimba. 7 Yali wamu n’ow’essaza* ayitibwa Serugiyo Pawulo, omusajja eyali ow’amagezi. Ow’essaza oyo n’ayita Balunabba ne Sawulo, ng’ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda. 8 Naye Eruma omusamize (bwe lityo erinnya lye bwe livvuunulwa) n’atandika okubaziyiza ng’ayagala ow’essaza aleme kukkiriza Mukama waffe. 9 Awo Sawulo, era ayitibwa Pawulo, n’ajjula omwoyo omutukuvu, n’amutunuulira enkaliriza 10 n’agamba nti: “Musajja ggwe ajjudde obukuusa n’ebintu ebibi ebya buli ngeri, ggwe omwana w’Omulyolyomi,+ omulabe wa buli kintu ekituukirivu, toolekere awo kukyamya makubo ga Yakuwa* ag’obutuukirivu? 11 Laba! Omukono gwa Yakuwa* gukuliko, era ojja kuziba amaaso obe nga tolaba kitangaala okumala ekiseera.” Amangu ago amaaso ge ne gajjako ekifu n’ekizikiza eky’amaanyi, n’agenda ng’awammanta nga bw’anoonya ow’okumukwata ku mukono. 12 Ow’essaza bwe yalaba ebyali bibaddewo, n’afuuka mukkiriza olw’okuba ebintu ebikwata ku Yakuwa* bye yayiga byamwewuunyisa nnyo.
13 Awo Pawulo ne banne ne basaabala ennyanja okuva e Pafo ne batuuka e Peruga eky’omu Panfuliya. Naye Yokaana+ n’abaleka n’addayo e Yerusaalemi.+ 14 Kyokka bo ne bava e Peruga ne batuuka mu Antiyokiya eky’omu Pisidiya ne bagenda mu kkuŋŋaaniro+ ku lunaku olwa Ssabbiiti ne batuula. 15 Oluvannyuma lw’Amateeka+ n’ebitabo bya Bannabbi okusomebwa, abakulu b’ekkuŋŋaaniro ne babasaba nga bagamba nti: “Ab’oluganda, bwe muba nga mulina ekigambo ekiyinza okuzzaamu abantu amaanyi, mukibabuulire.” 16 Pawulo n’ayimuka, n’abawenya n’omukono n’agamba nti:
“Mmwe Abayisirayiri nammwe abalala abatya Katonda, muwulirize. 17 Katonda w’abantu bano Abayisirayiri yalonda bajjajjaffe, era yabagulumiza bwe baali abagwira mu nsi ya Misiri, n’abaggyayo n’omukono gwe ogw’amaanyi.+ 18 Yabagumiikiriza okumala emyaka nga 40 mu ddungu.+ 19 Oluvannyuma lw’okuzikiriza amawanga musanvu agaali mu nsi ya Kanani, yagibagabanyizaamu okuba obusika bwabwe.+ 20 Ebyo byonna byaliwo mu bbanga lya myaka nga 450.
“Oluvannyuma lw’ebintu ebyo yabawa abalamuzi okutuusa mu biseera bya nnabbi Samwiri.+ 21 Naye oluvannyuma baasaba baweebwe kabaka,+ era Katonda n’abawa Sawulo mutabani wa Kiisi, omusajja ow’omu kika kya Benyamini,+ n’abafugira emyaka 40. 22 Oluvannyuma lw’okumuggya ku bwakabaka, yalonda Dawudi okubeera kabaka waabwe,+ gwe yayogerako ng’agamba nti, ‘Nzudde Dawudi omwana wa Yese,+ asanyusa omutima gwange;+ ajja okukola ebintu byonna bye njagala.’ 23 Nga bwe yasuubiza, Katonda awadde Isirayiri omulokozi, Yesu, okuva mu zzadde ly’omusajja oyo.+ 24 Nga Yesu tannajja, Yokaana yabuulira mu lujjudde abantu ba Isirayiri bonna ng’abagamba babatizibwe ng’akabonero ak’okwenenya.+ 25 Naye Yokaana bwe yali amaliriza obuweereza bwe yagambanga nti, ‘Mulowooza nze ani? Si nze oyo gwe mulowooza. Naye laba! waliwo anvaako emabega gwe sisaanira kusumulula ngatto ze.’+
26 “Ab’oluganda, mmwe bazzukulu ba Ibulayimu n’abalala abali mu mmwe abatya Katonda, ekigambo ky’obulokozi buno kyaweerezebwa ffe.+ 27 Abatuuze b’omu Yerusaalemi n’abafuzi baabwe tebaategeera mulokozi oyo, naye bwe baamusalira omusango baatuukiriza ebintu ebyayogerwa Bannabbi,+ ebisomebwa mu ddoboozi eriwulikika buli ssabbiiti. 28 Wadde tebaazuula nsonga emussa,+ baasaba Piraato Yesu attibwe,+ 29 era bwe baamala okutuukiriza ebintu byonna ebyamuwandiikibwako, ne bamuwanulayo ku muti ne bamuteeka mu ntaana.*+ 30 Naye Katonda yamuzuukiza mu bafu,+ 31 era okumala ennaku nnyingi, yalabikira abo abaava naye e Ggaliraaya okugenda e Yerusaalemi. Abo kaakano be bamuwaako obujulirwa eri abantu.+
32 “N’olwekyo tubabuulira amawulire amalungi agakwata ku kisuubizo ekyaweebwa bajjajjaffe. 33 Katonda akituukirizza eri ffe bazzukulu baabwe, ng’azuukiza Yesu,+ nga bwe kyawandiikibwa mu zabbuli ey’okubiri nti: ‘Oli mwana wange; olwa leero nfuuse kitaawo.’+ 34 Olw’okuba yamuzuukiza mu bafu era nga tagenda kudda mu kuvunda nate, kyeyava agamba nti, ‘Nja kuba mwesigwa mbalage okwagala okutajjulukuka kwe nnasuubiza Dawudi.’+ 35 Ate era mu zabbuli endala agamba nti, ‘Tolireka mwesigwa wo kuvunda.’+ 36 Dawudi yakola Katonda by’ayagala mu nnaku ze, era yafa n’aziikibwa awaali bajjajjaabe, era yavunda.+ 37 Kyokka, oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda.+
38 “Kale ab’oluganda, ka mukimanye nti Katonda ajja kubasonyiwa ebibi byammwe okuyitira mu kufa kw’omusajja oyo,+ 39 era nti mu bintu byonna bye mwali mutayinza kuggibwako musango mu Mateeka ga Musa,+ buli akkiriza aggibwako omusango okuyitira mu oyo.+ 40 N’olwekyo, mwegendereze ebyayogerwa mu Kitabo kya Bannabbi bireme okubatuukako, ebigamba nti: 41 ‘Mukirabe mmwe abanyoomi, mwewuunye, era musaanewo, kubanga waliwo kye nkola mu nnaku zammwe, kye mutajja kukkiriza, omuntu yenna ne bw’anaakibannyonnyola.’”+
42 Bwe baali bafuluma, abantu ne babeegayirira boogere ku bintu ebyo ne ku Ssabbiiti eddako. 43 Olukuŋŋaana bwe lwaggwa, Abayudaaya bangi n’abakyufu abaali basinza Katonda ne bagoberera Pawulo ne Balunabba, abaabakubiriza okunywerera ku kisa kya Katonda eky’ensusso.+
44 Ku Ssabbiiti eyaddako, kumpi ab’omu kibuga bonna baakuŋŋaana okuwulira ekigambo kya Yakuwa.* 45 Abayudaaya bwe baalaba ekibiina ky’abantu, ne bakwatibwa obuggya ne batandika okuwakanya Pawulo n’okuvumirira bye yali ayogera.+ 46 Pawulo ne Balunabba ne boogera n’obuvumu ne bagamba nti: “Kyali kigwanira ekigambo kya Katonda okusooka okwogerwa gye muli.+ Naye okuva bwe mukigaanye, ne mukiraga mmwe mmwennyini nti temusaanira kufuna bulamu butaggwaawo, ka tugende eri ab’amawanga.+ 47 Mu butuufu, Yakuwa* atuwadde ekiragiro ng’agamba nti, ‘Nkulonze okuba ekitangaala eri amawanga, n’obulokozi okutuuka ensi gy’ekoma.’”+
48 Ab’amawanga bwe baawulira kino, ne basanyuka era ne bagulumiza ekigambo kya Yakuwa,* era abo bonna abaalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo ne bafuuka bakkiriza. 49 Ate era ekigambo kya Yakuwa* kyeyongera okubunyisibwa mu kitundu ekyo kyonna. 50 Naye Abayudaaya ne bakuma omuliro mu bakazi ab’ebitiibwa abaali batya Katonda n’abakulu b’ekibuga, ne bayigganya+ Pawulo ne Balunabba ne babagoba mu kitundu kyabwe. 51 Awo Pawulo ne Balunabba ne bakunkumula enfuufu y’ebigere byabwe ng’akabonero okubalabula, ne bagenda mu Ikoniyo.+ 52 Abayigirizwa ne beeyongera okusanyuka+ n’okujjula omwoyo omutukuvu.