Zekkaliya
8 Awo Yakuwa n’agamba nate nti: 2 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Ndyagala nnyo Sayuuni era ndikirumirirwa nnyo,+ ndikirumirirwa nga ndiko obusungu bungi.’”
3 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Ndikomawo mu Sayuuni+ era ndibeera mu Yerusaalemi;+ Yerusaalemi kiriyitibwa ekibuga eky’amazima,*+ era olusozi lwa Yakuwa ow’eggye luliyitibwa olusozi olutukuvu.’”+
4 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Abasajja abakadde n’abakazi abakadde baliddamu nate okutuula mu bibangirizi by’omu Yerusaalemi ebya lukale nga buli omu akutte omuggo mu mukono gwe olw’okukaddiwa ennyo.+ 5 Era ebibangirizi by’ekibuga ebya lukale birijjula abaana abalenzi n’abawala ababizannyiramu.’”+
6 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Wadde nga kirirabika ng’ekizibu ennyo eri abo abaliba basigaddewo ku bantu bano mu nnaku ezo, ddala kiriba kizibu nnyo gye ndi?’ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.”
7 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Ndinunula abantu bange mu nsi ey’ebuvanjuba ne mu nsi ey’ebugwanjuba.+ 8 Ndibaleeta ne babeera mu Yerusaalemi;+ baliba bantu bange, nange ndiba Katonda waabwe ow’amazima*+ era omutuukirivu.’”
9 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Emikono gyammwe ka gibe gya maanyi,*+ mmwe abawulira ebigambo bino ebya bannabbi;+ bino bye bigambo bye baayogera ku lunaku omusingi gw’ennyumba ya Yakuwa ow’eggye lwe gwazimbibwa, yeekaalu esobole okuzimbibwa. 10 Ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, tewaaliwo mpeera esasulwa okupangisa omuntu oba ensolo;+ kyabanga kya kabi okuyingira oba okufuluma olw’omulabe, kubanga nnaleetera abantu buli omu okwefuulira munne.’
11 “‘Naye kaakano abantu b’eggwanga lino abasigaddewo sijja kubayisa nga bwe nnabayisanga edda,’+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba. 12 ‘Ensigo ez’emirembe zijja kusigibwa; omuzabbibu gujja kubala ebibala,+ ensi ejja kubaza emmere, eggulu lijja kuwa omusulo gwalyo; era abantu abasigaddewo nja kubaleetera okusikira ebintu bino byonna.+ 13 Mwali kintu abantu kye bajuliza nga bakolima mu mawanga,+ mmwe ennyumba ya Yuda nammwe ennyumba ya Isirayiri, naye nja kubalokola era mujja kuba mukisa.+ Temutya.+ Emikono gyammwe ka gibe gya maanyi.’*+
14 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agambye, ‘“Nga bwe nnasalawo okubatuusaako akabi olwa bajjajjammwe okunsunguwaza ne sejjusa,” Yakuwa ow’eggye bw’agamba,+ 15 “era bwe ntyo mu kiseera kino nsazeewo okukolera Yerusaalemi n’ennyumba ya Yuda ebirungi.+ Kale temutya.”’+
16 “‘Bino bye mulinanga okukola: Mwogerenga amazima buli omu eri munne.+ Musalenga emisango mu miryango gy’ebibuga byammwe nga mugisala mu mazima, era ng’ensala yammwe ereetawo emirembe.+ 17 Temulowoozanga mu mitima gyammwe kukola kabi ku bannammwe,+ era mukyawenga okulayira eby’obulimba;+ kubanga bino byonna bye bintu bye nkyawa,’+ Yakuwa bw’agamba.”
18 Awo Yakuwa ow’eggye n’aŋŋamba nate nti: 19 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Okusiiba okw’omwezi ogw’okuna,+ n’okw’omwezi ogw’okutaano,+ n’okw’omwezi ogw’omusanvu,+ n’okw’omwezi ogw’ekkumi+ kunaabanga kusanyuka na kujaguza eri ennyumba ya Yuda—embaga ez’okusanyukirako.+ Kale mwagalenga amazima n’emirembe.’
20 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Amawanga n’abantu ab’omu bibuga bingi balijja; 21 era abantu ab’omu kibuga ekimu baligenda eri abantu b’omu kibuga ekirala ne bagamba nti: “Mwanguwe tugende tusabe Yakuwa atukwatirwe ekisa era tunoonye Yakuwa ow’eggye. Nange nja kugenda.”+ 22 Abantu bangi n’amawanga ag’amaanyi balijja e Yerusaalemi okunoonya Yakuwa ow’eggye+ era n’okusaba Yakuwa abakwatirwe ekisa.’
23 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Mu nnaku ezo abantu kkumi okuva mu nnimi zonna ez’amawanga+ balikwata ku kyambalo* ky’Omuyudaaya* ne bakinyweza nga bagamba nti: “Twagala kugenda nammwe+ kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.”’”+