Makko
6 Eyo n’avaayo n’agenda mu kitundu ky’ewaabwe+ era abayigirizwa be ne bamugoberera. 2 Ssabbiiti bwe yatuuka, n’atandika okuyigiriza mu kkuŋŋaaniro, era bangi ku abo abaali bamuwuliriza ne bawuniikirira ne bagamba nti: “Omusajja ono yaggya wa ebintu bino?+ Lwaki yaweebwa amagezi nga gano, era lwaki akola ebyamagero ebifaanana bwe biti?+ 3 Ono si ye mubazzi,+ mutabani wa Maliyamu+ era muganda wa Yakobo,+ ne Yusufu, ne Yuda, ne Simooni?+ Ne bannyina tebali naffe wano?” Ne bagaana okumukkiririzaamu. 4 Naye Yesu n’abagamba nti: “Nnabbi assibwamu ekitiibwa buli wamu okuggyako mu kitundu ky’ewaabwe, ne mu b’eŋŋanda ze, ne mu b’omu nnyumba ye.”+ 5 N’olwekyo, teyakolerayo byamagero okuggyako okussa emikono ku balwadde abatonotono n’abawonya. 6 Mazima ddala yeewuunya abantu abo olw’obutaba na kukkiriza. Awo n’ayitaayita mu byalo by’omu kitundu ekyo ng’agenda ayigiriza.+
7 Awo n’ayita Ekkumi n’Ababiri n’abatuma babiri babiri,+ era n’abawa obuyinza okugoba emyoyo emibi.+ 8 Era yabalagira obutatwala kintu kyonna ku lugendo okuggyako omuggo. Ate era yabalagira obutatwala migaati, wadde ensawo omuba eby’okulya, wadde ssente,*+ 9 wadde ebyambalo bibiri,* naye n’abalagira bagende nga bambadde engatto. 10 Ate era yabagamba nti: “Buli we mutuuka omuntu n’abaaniriza, mubeerenga mu maka ge okutuusa lwe muliva mu kifo ekyo.+ 11 Era mu kifo gye bataabasembezenga oba gye bataabawulirizenga, bwe mubanga muvaayo, mwekunkumulangako enfuufu ku bigere byammwe okuba obujulirwa gye bali.”+ 12 Awo ne bagenda ne babuulira abantu nga babagamba beenenye;+ 13 ne bagoba dayimooni nnyingi,+ era ne basiiga abalwadde bangi amafuta ne babawonya.
14 Awo Kabaka Kerode n’awulira ku bintu ebyo, kubanga erinnya lya Yesu lyali limanyiddwa nnyo, era ng’abantu bagamba nti: “Yokaana Omubatiza azuukiziddwa mu bafu, era eno ye nsonga lwaki akola ebyamagero.”+ 15 Naye abalala baali bagamba nti: “Ye Eriya.” Ate abalala nga bagamba nti: “Oyo nnabbi, nga bannabbi abalala.”+ 16 Naye Kerode bwe yabiwulira n’agamba nti: “Yokaana gwe nnatemako omutwe azuukiziddwa.” 17 Kubanga Kerode yali yalagira Yokaana akwatibwe era asibibwe mu kkomera olwa Kerodiya, muka muganda we Firipo. Kerode yali awasizza Kerodiya+ 18 era Yokaana yamugambanga nti: “Tekikkirizibwa mu mateeka kweddiza muka muganda wo.”+ 19 Kerodiya yalina empalana ku Yokaana era yali ayagala kumutta, kyokka nga talina bw’akikola. 20 Kerode yali atya Yokaana olw’okuba yali musajja mutuukirivu era mutukuvu,+ era ng’afuba okulaba nti tatuukibwako kabi. Buli lwe yawuliranga Yokaana by’ayogera, yasoberwanga n’aba nga tamanyi kya kukola, naye era yeeyongera okumuwulirizanga n’essanyu.
21 Naye lwali olwo Kerodiya n’afuna akakisa, Kerode bwe yategekera abakungu, abaduumizi b’amagye, n’abantu abatutumufu ab’omu Ggaliraaya+ ekijjulo ku mazaalibwa ge.+ 22 Muwala wa Kerodiya yajja n’azina era n’asanyusa nnyo Kerode n’abo abaali balya naye.* Kabaka n’agamba omuwala oyo nti: “Nsaba kyonna ky’oyagala nja kukikuwa.” 23 N’amulayirira ng’agamba nti: “Kyonna kyonna ky’ononsaba nja kukikuwa, ne bwe kinaaba kitundu kimu kya kubiri eky’obwakabaka bwange.” 24 Awo omuwala n’afuluma n’agamba nnyina nti: “Nsabe ki?” Nnyina n’amugamba nti: “Omutwe gwa Yokaana Omubatiza.” 25 Amangu ago n’ayanguwa n’agenda eri kabaka n’amutegeeza kye yali ayagala ng’agamba nti: “Njagala ompe kati omutwe gwa Yokaana Omubatiza ku lusaniya.”+ 26 Wadde nga kabaka yanyolwa nnyo, naye olw’ebirayiro bye yali akoze n’olw’abagenyi be* teyayagala kumumma kye yasaba. 27 Amangu ago kabaka n’atuma omusirikale n’amulagira aleete omutwe gwa Yokaana. Omusirikale n’agenda mu kkomera n’amutemako omutwe 28 n’aguleetera ku lusaniya, n’aguwa omuwala, era omuwala n’aguwa nnyina. 29 Abayigirizwa ba Yokaana bwe baakiwulira ne bagenda ne baggyayo omulambo gwe ne baguteeka mu ntaana.
30 Awo abatume ne bajja awaali Yesu ne bamubuulira ebintu byonna bye baali bakoze ne bye baali bayigirizza.+ 31 N’abagamba nti: “Mujje tugende mu kifo etali bantu muwummuleko.”+ Kubanga waaliwo abantu bangi abajjanga ng’abalala bwe bagenda, era ne batafuna na kiseera kya kuwummulamu wadde eky’okulya emmere. 32 Awo ne balinnya eryato ne bagenda bokka mu kifo etaali bantu.+ 33 Naye abantu baabalaba nga bagenda era bangi ne bakimanyaako, era ne bava mu bibuga byonna nga badduka ne babasookayo. 34 Bwe yava mu lyato, n’alaba ekibiina ky’abantu ekinene n’abasaasira+ kubanga baali ng’endiga ezitalina musumba.+ Awo n’atandika okubayigiriza ebintu bingi.+
35 Obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamugamba nti: “Ekifo kye tulimu kyesudde, era n’obudde buwungedde.+ 36 Basiibule bagende mu byalo ebiriraanye wano beegulire eky’okulya.”+ 37 N’abaddamu nti: “Mmwe mubawe eky’okulya.” Awo ne bamugamba nti: “Tugende tugule emigaati gya ddinaali* 200 tugiwe abantu bano balye?”+ 38 N’abagamba nti: “Mulinawo emigaati emeka? Mugende mulabe!” Bwe baamala okumanya emigaati gye baalina, ne bamugamba nti: “Etaano n’ebyennyanja bibiri.”+ 39 N’alagira abantu bonna batuule ku muddo mu bibinja.+ 40 Ne batuula mu bibinja bya bantu kikumi kikumi, n’ataano ataano. 41 N’akwata emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri n’atunula waggulu, n’asaba,+ n’amenyaamenyamu emigaati n’agiwa abayigirizwa be ne bagigabira abantu; era n’amenyaamenyamu ebyennyanja ebibiri, bonna ne bafuna. 42 Bonna ne balya ne bakkuta, 43 era ne bakuŋŋaanya obutundutundu bw’emigaati obwali bufisseewo ne bujjuza ebisero 12, ng’okwo tobibaliddeeko byannyanja.+ 44 Abo abaalya emigaati baali abasajja 5,000.
45 Amangu ago n’agamba abayigirizwa be okulinnya eryato bamukulemberemu bagende emitala w’ennyanja okwolekera Besusayida, nga ye bw’asiibula ekibiina ky’abantu.+ 46 Bwe yamala okubasiibula n’agenda ku lusozi okusaba.+ 47 Awo bwe bwawungeera, eryato lyali wakati mu nnyanja, naye ye ng’ali yekka ku lukalu.+ 48 Bwe yabalaba nga bategana nnyo okukuba enkasi olw’omuyaga ogwali gubava mu maaso, n’agenda gye bali ng’atambulira ku mazzi, awo nga mu kisisimuka eky’okuna;* naye yalabika ng’agenda okubayitako. 49 Bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne bagamba nti: “Oyo si muntu!” Era ne baleekaana. 50 Kubanga bonna baamulaba ne batya nnyo. Naye amangu ago n’ayogera nabo n’abagamba nti: “Mugume, ye nze; temutya.”+ 51 N’alinnya eryato mwe baali era omuyaga ne gukkakkana. Awo ne bawuniikirira nnyo, 52 kubanga baali tebategedde makulu g’ekyamagero eky’emigaati, era mu mitima gyabwe baasigala tebategedde.
53 Bwe baatuuka emitala w’ennyanja, mu kitundu ky’e Genesaleeti, ne basuula ennanga.+ 54 Bwe baali nga baakava mu lyato, abantu ne bamutegeera, 55 ne bagenda buli wamu mu kitundu ekyo, ne batandika okusomba abalwadde nga babasitulidde ku butanda, ne babatwala gye baali bawulidde nti gy’ali. 56 Mu bibuga ne mu byalo gye yagendanga, baaleetanga abalwadde baabwe mu butale era ne bamwegayiriranga waakiri bakwateko bukwasi ku lukugiro lw’ekyambalo kye eky’okungulu,+ era abo bonna abaakikwatako baawona.