Matayo
5 Bwe yalaba ekibiina ky’abantu, n’ayambuka ku lusozi; bwe yamala okutuula abayigirizwa be ne bajja w’ali. 2 Awo n’atandika okuyigiriza ng’agamba nti:
3 “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo,*+ kubanga Obwakabaka obw’omu ggulu bwabwe.
4 “Balina essanyu abakungubaga, kubanga balibudaabudibwa.+
5 “Balina essanyu abateefu,*+ kubanga balisikira ensi.+
6 “Balina essanyu abalumwa enjala n’ennyonta+ ey’eby’obutuukirivu, kubanga balikkusibwa.+
7 “Balina essanyu abo abasaasira abalala,+ kubanga nabo balisaasirwa.
8 “Balina essanyu abalongoofu mu mutima,+ kubanga baliraba Katonda.
9 “Balina essanyu abaleetawo emirembe,*+ kubanga baliyitibwa baana ba Katonda.
10 “Balina essanyu abayigganyizibwa olw’obutuukirivu,+ kubanga Obwakabaka obw’omu ggulu bwabwe.
11 “Mulina essanyu abantu bwe babavumanga,+ bwe babayigganyanga,+ era ne babawaayiriza ebintu ebibi ebya buli kika ku lwange.+ 12 Musanyuke era mujaguze,+ kubanga empeera yammwe+ nnene mu ggulu; kubanga bwe batyo bwe baayigganya bannabbi abaabasookawo.+
13 “Mmwe muli munnyo+ gwa nsi, naye omunnyo bwe guggwaamu obuka bwagwo, obuka obwo buzzibwamu butya? Guba tegukyagasa, wabula gusuulibwa ebweru+ abantu ne bagulinnyirira.
14 “Mmwe muli kitangaala kya nsi.+ Ekibuga ekiri ku lusozi tekiyinza kukisibwa. 15 Abantu tebakoleeza ttaala ne bagivuunikako ekibbo,* wabula bagiteeka ku kikondo kyayo n’esobola okwakira bonna abali mu nnyumba.+ 16 Nammwe muleke ekitangaala kyammwe kyakirenga abantu,+ basobole okulaba ebikolwa byammwe ebirungi,+ bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.+
17 “Temulowooza nti nnajja kuggyawo Mateeka oba ebigambo bya Bannabbi. Sajja kubiggyawo wabula okubituukiriza.+ 18 Mazima ddala mbagamba nti, eggulu n’ensi ne bwe biggwaawo, ennukuta esinga obutono oba akatundu k’ennukuta ey’omu Mateeka tebiriggwaawo okutuusa ng’ebintu bino byonna bituukiridde.+ 19 N’olwekyo, omuntu yenna amenya erimu ku mateeka agatwalibwa nti si makulu nnyo, era n’ayigiriza abalala okugamenya, aliyitibwa asembayo* mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Naye oyo agakwata era n’agayigiriza, aliyitibwa mukulu* mu Bwakabaka obw’omu ggulu. 20 Mbagamba nti obutuukirivu bwammwe bwe butasinga obwo obw’abawandiisi n’Abafalisaayo,+ temuliyingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu.+
21 “Mwawulira ab’edda bwe baagambibwa nti: ‘Tottanga,+ era buli atta anaavunaanibwanga mu mbuga z’amateeka.’+ 22 Naye nze mbagamba nti buli asigala ng’asunguwalidde+ muganda we ajja kuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka; era buli akozesa ebigambo ebiweebuula muganda we, ajja kuvunaanibwa mu Lukiiko Olukulu; so ng’ate oyo agamba nti ‘Musirusiru ggwe atalina mugaso!’ ajja kuba agwana kusuulibwa mu Ggeyeena.*+
23 “Bw’oba otutte ekirabo kyo ku kyoto+ n’ojjukira nti muganda wo alina ky’akwemulugunyaako, 24 ekirabo kyo kireke mu maaso g’ekyoto osooke ogende otabagane ne muganda wo, n’oluvannyuma oddeyo oweeyo ekirabo kyo.+
25 “Tabagananga mangu n’oyo akuvunaana omusango ng’okyali naye mu kkubo, aleme okukuwaayo ew’omulamuzi, n’omulamuzi aleme okukuwaayo eri omukuumi w’omu kkooti n’osibibwa mu kkomera.+ 26 Mazima nkugamba nti tolivaayo okutuusa ng’omaze okusasula ssente yo esembayo obutono.*
27 “Mwawulira bwe kyagambibwa nti: ‘Toyendanga.’+ 28 Naye nze mbagamba nti buli atunuulira omukazi+ n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe.+ 29 Eriiso lyo erya ddyo bwe liba nga likuleetera okwesittala, liggyeemu olisuule.+ Waakiri ofiirwa ekitundu ekimu eky’omubiri gwo, okusinga omubiri gwo gwonna okusuulibwa mu Ggeyeena.+ 30 Ate era omukono gwo ogwa ddyo bwe guba nga gukuleetera okwesittala, gusaleko ogusuule.+ Waakiri ofiirwa ekitundu ekimu eky’omubiri gwo, okusinga omubiri gwo gwonna okusuulibwa mu Ggeyeena.+
31 “Ate era kyagambibwa nti: ‘Buli agoba* mukazi we amuwenga ebbaluwa eraga nti amugobye.’+ 32 Naye mbagamba nti, buli agoba* mukazi we, okuggyako ng’amugobye lwa bwenzi,* aba amutadde mu mbeera eyinza okumusuula mu bwenzi, na buli awasa omukazi aba agobeddwa mu ngeri eyo aba ayenze.+
33 “Era mwawulira ab’edda bwe baagambibwa nti: ‘Tolayiranga n’ototuukiriza,+ naye oteekwa okutuukiriza bye weeyama eri Yakuwa.’*+ 34 Kyokka nze mbagamba nti: Temulayiranga n’akatono,+ newakubadde okulayira eggulu, kubanga ye ntebe ya Katonda; 35 newakubadde ensi, kubanga ye ntebe y’ebigere bye;+ newakubadde Yerusaalemi, kubanga kye kibuga kya Kabaka omukulu.+ 36 Tolayiranga mutwe gwo, kubanga oluviiri lwagwo olumu toyinza kulufuula lweru oba luddugavu. 37 Naye ekigambo kyammwe ‘Yee,’ kibeerenga yee, n’ekigambo kyammwe ‘Nedda,’ kibeerenga nedda;+ ekisingako awo kiva eri omubi.+
38 “Mwawulira bwe kyagambibwa nti: ‘Eriiso linaaweebwangayo olw’eriiso n’erinnyo olw’erinnyo.’+ 39 Naye nze mbagamba nti: Temulwanyisanga muntu mubi; buli akukuba oluyi ku ttama lyo erya ddyo, omukyusizanga n’erya kkono.+ 40 Era singa omuntu ayagala okukutwala mu mbuga z’amateeka asobole okutwala ekyambalo kyo eky’omunda, omuwanga n’eky’okungulu.+ 41 Omuntu ali mu buyinza bw’akuwalirizanga okutambula naye mayiro* emu, otambulanga naye mayiro bbiri. 42 Akusabanga omuwanga, era tommanga oyo ayagala okukwewolako.*+
43 “Mwawulira bwe kyagambibwa nti: ‘Yagalanga muliraanwa* wo+ naye okyawe omulabe wo.’ 44 Naye nze mbagamba nti: Mweyongere okwagala abalabe bammwe+ era n’okusabira abo ababayigganya,+ 45 mulyoke mubeere abaana ba Kitammwe ali mu ggulu,+ kubanga omusana gwe agwakiza ababi n’abalungi, era enkuba agitonnyeseza abatuukirivu n’abatali batuukirivu.+ 46 Bwe mwagala abo ababaagala, mpeera ki gye mufuna?+ N’abasolooza omusolo tebakola kye kimu? 47 Era bwe mubuuza baganda bammwe bokka, kintu ki eky’enjawulo kye muba mukoze? N’ab’amawanga tebakola bwe batyo? 48 N’olwekyo, mulina okuba abatuukiridde nga Kitammwe ow’omu ggulu bw’atuukiridde.+