Yokaana
17 Yesu bwe yamala okwogera ebintu ebyo, n’ayimusa amaaso ge eri eggulu n’agamba nti: “Kitange, essaawa etuuse. Gulumiza omwana wo, omwana wo alyoke akugulumize.+ 2 Omuwadde obuyinza ku bantu bonna,+ asobole okuwa abo bonna b’omuwadde+ obulamu obutaggwaawo.+ 3 Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo,+ kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima+ n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.+ 4 Nkugulumizza ku nsi+ kubanga mmalirizza omulimu gwe wampa okukola.+ 5 Kaakano Kitange, ngulumiza mbeere ku lusegere lwo mu kitiibwa kye nnalina nga ndi ku lusegere lwo ng’ensi tennabaawo.+
6 “Erinnya lyo ndimanyisizza eri abantu be wampa mu nsi.+ Baali babo n’obampa era bakoledde ku kigambo kyo.* 7 Kati bategedde nti ebintu byonna bye wampa byava gy’oli; 8 kubanga ebigambo bye wampa mbibawadde+ era babikkirizza; bategedde nti nnajja kukukiikirira+ era bakkirizza nti wantuma.+ 9 Mbasabira; sisabira nsi naye nsabira abo be wampa, kubanga babo; 10 ebyange byonna bibyo, n’ebibyo byange,+ era ngulumiziddwa mu bo.
11 “Nze sikyali mu nsi, naye bo bali mu nsi+ era nzija gy’oli. Kitange Omutukuvu, bakuume+ olw’erinnya lyo lye wampa, basobole okuba omu* nga ffe bwe tuli omu.*+ 12 Bwe nnali nabo nnabakuumanga+ olw’erinnya lyo lye wampa; mbakuumye era tewali n’omu ku bo azikiridde+ okuggyako omwana w’okuzikirira,+ ekyawandiikibwa kisobole okutuukirizibwa.+ 13 Naye kati nzija gy’oli, era ebintu bino mbyogerera mu nsi basobole okuba n’essanyu lye nnina mu bujjuvu.+ 14 Mbawadde ekigambo kyo, naye ensi ebakyaye, kubanga si ba nsi+ nga nange bwe siri wa nsi.
15 “Sikusaba kubaggya mu nsi, naye nkusaba obakuume olw’omubi.+ 16 Si ba nsi,+ nga nange bwe siri wa nsi.+ 17 Batukuze* ng’okozesa amazima;+ ekigambo kyo ge mazima.+ 18 Nga bwe wantuma mu nsi, nange mbatumye mu nsi.+ 19 Era nneetukuza ku lwabwe nabo basobole okutukuzibwa okuyitira mu mazima.
20 “Sisabira bano bokka, naye era nsabira n’abo abananzikiririzaamu okuyitira mu kigambo kya bano, 21 bonna basobole okubeera omu,+ nga ggwe Kitange bw’oli obumu nange, era nga nange bwe ndi obumu naawe,+ nabo babeere bumu naffe, ensi eryoke ekkirize nti wantuma. 22 Mbawadde ekitiibwa kye wampa, basobole okubeera omu nga naffe bwe tuli omu.+ 23 Nze ndi bumu nabo era naawe oli bumu nange, basobole okubeerera ddala obumu, ensi etegeere nti wantuma era nti obaagala nga bw’onjagala. 24 Kitange, njagala abo be wampa babeere nange gye nnaabeera,+ basobole okulaba ekitiibwa kye wampa, kubanga wanjagala ng’ensi tennatandika.*+ 25 Kitange Omutuukirivu, ensi tekutegedde;+ naye nze nkumanyi+ era na bano bategedde nti ggwe wantuma. 26 Mbamanyisizza erinnya lyo era nja kulimanyisa,+ okwagala kwe wandaga kubeere mu bo era nange mbeere bumu nabo.”+