Essuula 11
Abanaawona Bateekwa Okuba Nga “Si ba Nsi”
1, 2. (a) Kiki Yesu kye yayogera ku nkolagana y’abayigirizwa be n’ensi? (b) Ekyo kiki kye kitategeeza, era lwaki?
KIKI Yesu kye yali ategeeza mu kugamba nti abagoberezi be “bali mu nsi,” naye kyokka nga bateekwa okuba nga “si ba nsi”? (Yokaana 17:11, 14) Okuba mu abo abanaawonawo okubeera mu Nteekateeka Empya eza Katonda, twetaaga okutegeera kino.
2 Okusooka weekenneenye ‘obutaba ba nsi’ kye kitategeeza. Tekitegeeza nti tweyawule tubeere ffekka obwannamunigina mu mpuku oba okweyawulira mu kifo eky’okubeera obwannnamunigina oba mu kifo ekirala ekyesudde. Obutafaanana n’ekyo, ekiro ekyasembayo nga tannafa Yesu yasaba Kitaawe ku lw’abayigirizwa be, ng’agamba nti: “Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakuumenga [olw’omubi, NW]. Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.”—Yokaana 17:15, 16.
3, 4. (a) Mu bintu ki we kyetaagisiriza Abakristaayo okukolagana n’abantu b’ensi? (b) Naye bateekwa kwewala ki?
3 Mu kifo ky’okwekweka abantu, abayigirizwa ba Yesu ‘baatumibwa mu nsi’ okumanyisa amazima. (Yokaana 17:18) Mu kukola bwe bati, baali bali nga “omusana gw’ensi,” nga baleka ekitangaala eky’amazima kyake abantu basobole okulaba amazima ga Katonda bwe gakola mu bulamu bw’abantu ku lw’obulungi bwabwe.—Matayo 5:14-16.
4 Abakristaayo baba n’enkolagana n’abantu bangi nga bakola emirimu okweyimirizaawo n’ab’omu maka gaabwe era bwe baba nga batwalira abantu amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Bwe kityo, ng’omutume Pawulo bw’alaga, tebasuubirwa ‘kuva mu nsi’ mu ngeri yennyini. Tebasobola “obuteegattanga” n’akatono n’abantu ab’ensi. Naye basobola era bateekwa okwewala ebikolwa ebibi eby’abantu abasinga obungi.—1 Abakkolinso 5:9-11.
5. Mu bikwata ku Nuuwa n’ab’omu maka ge okweyawula ku nsi okwetaagibwa kulagibwa kutya?
5 Embeera efaananako n’eyo ey’omu kiseera kya Nuuwa Yakuwa bwe yalaba nti “abantu bonna baali mu bulamu obwonoonefu ku nsi.” (Olubereberye 6:12, The New English Bible) Naye Nuuwa n’ab’omu maka ge baali ba njawulo. Olw’okugaana okwetaba mu bwonoonefu obwali bubeetoolodde era n’olw’okubuulira obutuukirivu, Nuuwa ‘yasalira ensi omusango.’ Yakyoleka nga bwe yali tetuukagana ne Katonda by’ayagala awataliwo kya kwekwasa kyonna. (Abaebbulaniya 11:7; 2 Peetero 2:5) Ye nsonga lwaki, Amataba agaabuna ensi bwe gaazikiriza abantu abatatya Katonda, ye n’ab’omu maka ge baawona. Baali “mu nsi” naye mu kiseera kye kimu baali “si ba nsi.”—Olubereberye 6:9-13; 7:1; Matayo 24:38, 39.
Okwagala Okutuufu eri Abantu b’Ensi Kwe Kuluwa?
6. Kituufu okulaga okwagala kwonna eri abantu b’ensi?
6 Okufuuka ‘atali wa nsi’ era kitegeeza okufuuka omukyayi w’abantu? Okukola ekyo kyandibadde kifuula omuntu okuba atakkiriziganya ne Yakuwa Katonda, oyo, Omwana we Yesu gwe yagamba nti, ‘yayagala ensi [y’abantu] ennyo bw’ati n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme okuzikirizibwa naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.’ Bwe kityo ekisa kya Katonda n’okusaasira eri abantu aba buli ngeri kitussizzaawo ekyokulabirako eky’okugoberera.—Yokaana 3:16 NW; Matayo 5:44-48.
7, 8. (a) Baibuli eyogera ki ku kwagala ensi? (b) Nsi ki gye tukeekwa okweyawulako? (c) Lwaki tuteekwa okwewala ensi n’okwegomba kwayo?
7 Naye omutume Yokaana tatutegeeza nti, “Temwagalanga nsi newakubadde ebiri mu nsi. Omuntu yenna bw’ayagala ensi, okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye”? Obanga Katonda kennyini yayagala ensi, lwaki omutume yayogera kino?—1 Yokaana 2:15.
8 Baibuli eraga nti Katonda ayagala ensi y’abantu nga abantu abali mu mbeera etatuukiridde, ey’okufa era abali mu bwetaavu obw’amaanyi obw’obuyambi. Ku luuyi olulala, Setaani ategese abantu abasinga obungi mu kubeera nga bawakanya Katonda. Eyo ye “nsi”—ekibiina ky’abantu ekyeyawudde ku Katonda era ekiri wansi w’obuyinza bwa Setaani—Abakristaayo ab’amazima gye bateekwa okweyawulako. (Yakobo 1:27) Ekigambo kya Katonda kitulabula obutayagala okwegomba okukyamu n’ebikolwa eby’ensi: “Buli ekiri mu nsi, okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwegulumiza kw’obulamu okutaliimu tebiva eri Kitaffe naye biva eri ensi. Era ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.”—1 Yokaana 2:15-17.
9, 10. (a) Kiyinzika kitya okugamba nti okwegomba kuno ‘kuva eri ensi’? (b) Okwegomba kuno kubadde naki kye kukoze ku bantu?
9 Yee, okwegomba okwo okw’omubiri n’okw’amaaso n’okwegulumiza okw’omuntu ku bubwe “biva eri ensi.” Bye ebyo ebyajjawo mu bazadde b’abantu ababereberye ne bibaleetera okunoonya obwetwaze okuva ku Katonda basobole okugoberera eby’okwesanyusa ku bwabwe. Okugoberera okwegomba kuno okw’okwerowoozaako okw’ensi kwabaleetera okumenya amateeka ga Katonda.—Olubereberye 3:1-6, 17.
10 Lowooza ku ebyo by’olaba okukwetooloola. Abantu abasinga obungi mu bulamu bwabwe tebassa nnyo omwoyo ku kwegomba kw’omubiri n’okw’amaaso “n’okwegulumiza kw’obulamu okutaliimu”? Bino si bye bintu ebisalawo essuubi lyabwe ne bye baagala, nga bifuga engeri gye beeyisamu ne gye bakolaganamu bokka na bokka? Olwa kino, ebyafaayo by’omuntu biraga embeera ey’okwawukana n’entalo, ey’obugwenyufu n’obumenyi bw’amateeka, ey’omulugube mu by’obusuubuzi, ey’okuluubirira okuyitirira okw’amalala, era n’okufuba okufuna ettutumu n’obuyinza.
11. Bwe kityo nno, lwaki okwagala kwa Katonda eri ensi tekukontana n’ekyo Ekigambo kye kye kivumirira?
11 Olwo nno, tusobola okulaba nti okwagala ensi nga Katonda bw’akola kwa njawulo nnyo okuva ku kwagala okwegomba kwayo okukyamu n’ebikolwa, by’avumirira. Okwagala kwa Katonda eri abantu kwaggulawo ekkubo ery’okufuna eddembe okuva mu kwegomba okwo okw’ekibi n’ebibi ebikuvaamu, nga mw’otwalidde n’okufa. Yalaga okwagala okwo ng’awaayo Omwana we yennyini okununula abantu. Naye singa omuntu yenna agaana ssaddaaka eyo ne yeeyongera mu bujeemu, Baibuli egamba nti “obusungu bwa Katonda bubeera ku ye.”—Yokaana 3:16, 36; Abaruumi 5:6-8.
Okwekuuma Okuva ku Buyinza bwa “Omufuzi w’Ensi Eno”
12. Tuyinza tutya okutegeera obanga okwagala kwe tulina eri abantu b’ensi kusanyusa Katonda oba nedda?
12 Ate kiri kitya ku ffe? “Twagala” abantu b’omu nsi mu ngeri nti twagalira ddala mu bwesimbu okubayamba okuzuula ekkubo ery’obulamu mu kusiimibwa kwa Katonda? Oba twagala ebintu ebyo byennyini ebibalemesa okufuuka abaweereza ba Katonda—omwoyo gwabwe ogwa kyetwala, okwegulumiza kwabwe n’ekitiibwa? Singa twagala okubeera n’abantu olw’engeri ng’ezo, olwo tuba ‘twagala ensi’ mu ngeri omutume gye yavumirira.
13. Okwagala kw’ensi kuyinza kutya okulemesa omuntu okuweereza Katonda?
13 Abantu bangi ab’omu kiseera kya Yesu baali baagala amakubo g’ensi. Bwe kityo beewala okusalawo okw’obuvumu ng’abayigirizwa ba Yesu. Baali tebaagala kufiirwa bumanyifu bwabwe n’ekifo kyabwe mu bantu be baali bakolagana nabo mu ngeri eza bulijjo era ne mu by’eddiini. Baali baagala okutenderezebwa abantu okusinga okusiimibwa kwa Katonda. (Yokaana 12:42, 43) Kya mazima, abamu baakolanga ebikolwa eby’okusaasira era n’ebikolwa ebirala eby’eddiini. Naye okusinga baakola bwe batyo olw’okwagala okutunuulirwa abalala. (Matayo 6:1-6; 23:5-7; Makko 12:38-40) Ggwe tolaba abantu abalaga okwagala okw’engeri eno eri ekkubo ly’ensi ebbi leero? Kyokka Baibuli eraga nti “okwagala” okw’engeri eno kutwala butwazi mu kuzikirira.
14. Ani yakema Yesu bwe yali ku nsi, era kyavaamu ki?
14 Omwana wa Katonda kennyini yakemebwa mu ngeri ze zimu na zino. Kaweefube yakolebwa okumuteekamu okwegomba okw’okwerowoozaako yeegulumize olw’okusamaaliriza abantu—okufaanana ng’ensi. Yasuubizibwa n’okusuubizibwa okuweebwa obufuzi bw’amawanga gonna ag’ensi n’ekitiibwa kyabwo. Naye yagaanira ddala kaati okukubirizibwa okwo eri okwegomba okw’okwerowoozako. Kwava eri oyo eyasooka okusoomooza obufuzi bwa Yakuwa Katonda, Setaani Omulyolyomi.—Lukka 4:5-12.
15. Laga okuva mu Baibuli yo ani ‘mufuzi w’ensi eno.’
15 Okumanya ku kusuubiza kwa Setaani okw’obufuzi eri Yesu kikulu mu kutegeera ensonga lwaki tuteekwa ‘obutaba ba nsi.’ Kulaga nti ensi y’abantu okutwalira awamu, nga mw’otwalidde n’obufuzi bwamu, omufuzi waayo atalabika ye Mulabe wa Katonda. Yesu kennyini yayogera ku Setaani nga “omufuzi w’ensi eno.” (Yokaana 12:31; 14:30, NW; 2 Abakkolinso 4:4) Omutume Pawulo era yayogera ku ‘myoyo egy’obubi,’ balubaale abali wansi w’obuyinza bwa Setaani, nga “abafuga ensi ab’omu kizikiza kino” abatalabika. Pawulo yalabula Abakristaayo ku bwetaavu bw’okuba n’ekyambalo eky’okulwanyisa eky’omwoyo okwekuuma “abafuzi” bano.—Abaefeso 6:10-13.
16. Kitundu kyenkana wa eky’ensi ekikyamiziddwa Setaani era ekiri mu buyinza bwe?
16 Batono nnyo ddala abeekuumye okuva ku buyinza bw’omufuzi ono atalabika n’amagye ge. Bwe kityo “ensi,” kwe kugamba, enkuyanja y’abantu abeeyawudde ku Katonda, “eri mu buyinza bw’omubi.” Ng’akozesa enkola ya balubaale ‘akyamya ensi yonna etuuliddwamu,’ ng’otwaliddemu n’abafuzi b’ensi, ng’aboolekeza okulwanyisa Katonda n’Obwakabaka bwe.—1 Yokaana 5:19, NW; Okubikkulirwa 12:9; 16:13, 14; 19:11-18.
17. (a) Endowooza eyolesebwa ensi eraga ki ku oyo akulembera abantu? (b) Kyandibadde kisanyusa Omutonzi singa tulaga omwoyo ng’ogwo?
17 Kino kiyinza okuwulikika ng’ekizibu okukkiriza. Kyokka, abantu abasinga ab’ensi eno tebalaga mu lwatu endowooza n’ebikolwa by’Omulabe wa Katonda? Okwetooloola ensi tulaba okulimba, obukyayi, ettemu, n’obussi ebimanyisa abo ‘ab’Omulyolyomi,’ nga bamulina nga ‘kitaabwe’ ow’eby’omwoyo. (1 Yokaana 3:8-12; Yokaana 8:44; Abaefeso 2:2, 3) Ddala omwoyo guno teguva eri Omutonzi Omwagazi.
18. Endowooza yaffe ku bikwata ku bufuzi eraga mu ngeri ki obanga tetuli wansi w’obuyinza bwa ‘omufuzi w’ensi eno’?
18 Era, abantu abasingira ddala obungi tebeesiga ntegeka z’abantu okuleeta emirembe n’obutebenkevu? Abantu bameka b’omanyi ddala abatunuulira Katonda n’Obwakabaka bwe okumalawo ebizibu by’abantu? Naye obwesige bwe balina mu ntegeka z’abantu ez’eby’obufuzi buteekeddwa wakyamu, nga Yesu bwe yagamba nti: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.” Obwakabaka bwe tebulina ‘nsibuko’ yaabwo mu nsi eno, kubanga abantu si be babuteekawo oba okubukuumira mu buyinza. Nteekateeka ya Katonda ye kennyini. (Yokaana 18:36; Isaaya 9:6, 7) Bwe kityo, okubeera mu abo abasuubira okuwona Obwakabaka obwo bwe bunajja okulwanyisa abalabe baabwo bonna, twetaaga okutegeera ekiriwo nti Setaani ye afuga ensi eno n’enteekateeka zaayo. Ekyo kitwaliramu enteekateeka zaayo ez’eby’obufuzi ng’ekibiina ky’Amawanga Amagatte. Twetaaga okwekuuma bino byonna nga tunywerera ddala ku gavumenti ya Yakuwa ey’obutuukirivu efugibwa Kristo Yesu.—Matayo 6:10, 24, 31-33.
19. Nga bwe kikakasibwa n’ebyafaayo, mu ngeri ki Abakristaayo ab’edda mwe baakiraga nti tebaali ‘ba nsi’?
19 Ebyafaayo biraga nti Abakristaayo ab’edda baalinga abatuuze abassaamu ab’obuyinza ekitiibwa, abakuuma amateeka. Naye baali bamaliridde ‘obutaba ba nsi,’ newakubadde nga kino kyabaleetako okuyigganyizibwa. Tusoma ebigambo nga bino:
“Obukristaayo obw’edda bwali tebutegeerebwa kinene era bwatunuulirwanga n’ekisa kitono okuva eri abo abaafuganga ensi enkaafiiri. . . . Abakristaayo baagana okwetaba mu mirimu egimu egy’Abaruumi abatuuze. . . . Tebaabanga mu bifo eby’obufuzi.”—On the Road to Civilization, A World History.57
“Baagana okubaako n’ekifo kyonna mu mirimu egy’eby’obufuzi oba mu by’okwerinda kw’obwakabaka. . . . Kyali tekisoboka nti Abakristaayo, awatali kuleka omulimu ogusinga obutukuvu, bandisobodde okukola emirimu gy’obuserikale, egy’abalamuzi, oba egy’abalangira.”—History of Christianity.58
“Origen [eyaliwo mu kyasa eky’okubiri n’eky’okusatu eky’omu Mbala Eno] . . . agamba nti ‘Ekkanisa Enkristaayo tesobola kwetaba mu kulwana na ggwanga lyonna. Bamaze okuyiga okuva ku Mukulembeze waabwe nti bo baana ba mirembe.’ Mu kiseera ekyo Abakristaayo bangi battibwa olw’okugaana okuweereza mu magye.”—Treasury of the Christian World.59
20. Okwekuuma okuva ku buyinza bwa ‘omufuzi w’ensi eno,’ bintu ki eby’ensi ebyawulayawula abaweereza ba Yakuwa bye beewala?
20 Olw’okwekuuma obutennyigira mu nsonga za nsi, abaweereza ba Yakuwa tebalina kye bagatta ku mwoyo gwa ggwanga gwayo ogwawulayawula, ku busosoze bwayo, oba ku bukuubagano bw’abantu baayo. Endowooza yaabwe eragirirwa Katonda ewagira emirembe n’obutebenkevu mu bantu ab’engeri zonna. (Ebikolwa 10:34, 35) Mu butuufu, abanaawona “ekibonyoobonyo ekinene” ekijja bajja kuva “mu ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi.”—Okubikkulirwa 7:9, 14.
Mikwano gya Nsi oba Mikwano gya Katonda?
21. Lwaki omuntu agoberera Baibuli tasobola kusuubira okwagalibwa ensi?
21 Yesu yabuulira abayigirizwa be nti: “Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo; naye kubanga temuli ba nsi, naye nze nnabalonda mu nsi, ensi kyeva ebakyawa. . . . Oba nga banjigganya nze, nammwe banaabayigganyanga.” (Yokaana 15:19, 20) Amazima ag’enkukunala gali nti engeri yokka ey’okufunamu omukwano gw’ensi kwe kufaanana nga yo—okuba n’okwegomba kwayo, ebiruubirirwa, n’okwekubiira kwayo, okwegomba endowooza yaayo n’amagezi, n’okutwala ebikolwa byayo n’amakubo gaayo. Naye abawagira ensi eno tebaagala nsobi zaabwe kwatuukirizibwa oba okulabulwa ku kabi akali mu kkubo lye bakutte. Eno ye nsonga lwaki, singa omuntu agoberera enjigiriza za Baibuli mu by’empisa n’engeri z’obulamu era n’agiwagira mu kwogera kwe, tayinza kusimattuka bukyayi bwa nsi.—Yokaana 17:14; 2 Timoseewo 3:12.
22. Kusalawo ki ku bikwata ku mukwano okwolekedde buli omu ku ffe?
22 Bwe kityo, Baibuli eraga nti tulina eky’okusalawo eky’enkukunala. Mu Yakobo 4:4 tusoma nti: “Temumanyi ng’omukwano gw’ensi bwe bulabe bwa Katonda? Kale, omuntu yenna bw’ayagala okubeera mukwano gw’ensi yeefuula mulabe wa Katonda.” Katonda naye alina emitindo gye egy’omukwano, era tegituukagana n’egyo egy’ensi y’abantu aboonoonyi.—Zabbuli 15:1-5.
23. (a) Kiki ekiraga nti omuntu mukwano gwa nsi? (b) Tuyinza tutya okulaga nti tuli mikwano gya Katonda?
23 Okufuna omukwano gwa Katonda tekyesigama ku kubeera oba obutabeera mu kimu ku bibiina by’ensi eno kyokka. Singa twoleka omwoyo gw’ensi, n’okukkiriziganya n’endowooza yaayo ey’obulamu, olwo tuba tweraga okuba mikwano gy’ensi, ssi gya Katonda. Omwoyo gw’ensi guvaamu “ebikolwa by’omubiri” nga “obwenzi, empitambi, obukaba, okusinza ebifaananyi, okuloga, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu empaka, okweyawula, okwesalamu, ettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebiri ng’ebyo.” Baibuli eyogera lwatu nti “abakola ebiri ng’ebyo tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.” Ku luuyi olulala, bwe tuba mikwano gya Katonda, tujja kuba n’omwoyo gwe awamu n’ebibala byagwo ebya ‘okwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, okwegendereza.”—Abaggalatiya 5:19-23.
24. (a) Lwaki si kya magezi okwefaananyiriza abantu ensi b’ewa ekitiibwa? (b) Endowooza yaffe ku bikwata ku bintu eby’obugagga eyinza etya okulaga omukwano gwe tunoonya?
24 Kale nno, mwoyo gw’ani ffe gwe twoleka? Ekyo kijja kutuyamba okumanya mikwano gy’ani ddala gye tuli. Mu mbeera gye tulimu, nga twolekanye n’enkola y’ensi eno embi eriwo, tetwandyewunyizza okusanga obwetaavu bw’okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe tulyoke tusanyuse Katonda. Ng’ekyokulabirako abantu b’ensi bawa ekitiibwa n’ettendo eri abo olw’okuluusana kwabwe ennyo abatuuka mu bugagga obungi, obuyinza oba ettutumu. Abantu beefaananya ab’ensi ng’abo abeekoledde erinnya era n’abo abaweebwa ekitiibwa nga bakatonda, nga babakoppa enjogera, empisa, endabika n’ennyambala. Ggwe oyagala okumanyibwa ng’oyo atendereza abantu abali ng’abo? Ebyo bye batuuseko bya njawulo ddala okuva ku ebyo Ekigambo kya Katonda bye kitukubiriza okufuula ebiruubirirwa byaffe mu bulamu. Baibuli etuluŋŋamya eri eby’obugagga eby’omwoyo n’amaanyi era n’ekitiibwa eky’okuweereza ng’ababaka era aboogezi ba Katonda ku nsi. (1 Timoseewo 6:17-19; 2 Timoseewo 1:7, 8; Yeremiya 9:23, 24) Ppokopoko w’ensi ow’eby’obusuubuzi aleetera abantu okululunkanira eby’obugagga, okulowooza nti essanyu lyesigama ku bintu by’olina. Bwe kityo bino babissaako nnyo omwoyo okusinga ebintu eby’omwoyo. Yee, okugoberera ekkubo ly’ensi kujja kukufunira omukwano gw’ensi. Naye kujja kukusalako ku mukwano gwa Katonda. Kiki ekikusingirawo? Kiki ekinaakukulembera mu ssanyu erisingako era ery’olubeerera?
25. (a) Kiki kye twandisuubidde okuva eri ensi bwe tuleka emabega amakubo gaayo? (b) Kiki ddala ekinaatuyamba ‘okufuula amagezi gaffe amaggya’ okulaba ebintu nga Katonda bw’abiraba?
25 Kyangu okwekkiriranya n’engeri z’ensi. Era, olw’omwoyo gwayo omubi, abawagira ensi eno tebajja kukisanyukira singa okwata ekkubo eddala. (1 Peetero 4:3, 4) Okunyigirizibwa kujja kukuleetebwako otuukane nayo, okukkiriza ekibiina ky’abantu b’ensi okukukyusa ofaanane nga bw’efaanana. Amagezi ag’ensi, endowooza zaayo ku ekyo ekireeta obuwanguzi mu bulamu, bijja kukozesebwa mu kugezaako okufuga ebirowoozo byo. Bwe kityo, kitwala okufuba kwa maanyi era n’okukkiriza ‘okufuula amagezi go amaggya’ okulaba ebintu nga Katonda bw’abiraba, ng’otegeera ensonga lwaki ‘amagezi g’ensi busirusiru mu maaso ge.’ (Abaruumi 12:2; 1 Abakkolinso 1:18-20; 2:14-16; 3:18-20) Mu kusoma Ekigambo kya Katonda n’obunyiikivu tuyinza okutegeerera ddala obutaliimu bw’amagezi g’ensi ag’obulimba. Tuyinza okulaba obubi obumaze okuva mu ‘magezi,’ ng’ago era n’enkomerero embi gye gateekwa okukulemberamu. Olwo era tuyinza okusiimira ddala mu bujjuvu amagezi ag’ekkubo lya Katonda era n’emikisa emikakafu gye likakasa.
Tekigasa Kuwaayo Bulamu n’Amaanyi eri Ensi Eggwaawo
26. Kyandibadde kya magezi okwetaba mu mulimu gw’ebibiina by’ensi ebiyambi n’ekigendererwa eky’okulongoosa embeera?
26 Abamu bayinza okukiwakanya bwe bati: ‘Naye ebibiina bingi eby’ensi bikola bulungi, nga bikolerera obukuumi, eby’obulamu, eby’enjigiriza, n’eddembe ly’abantu.’ Kya mazima, ebibiina ebimu biwaako ku buyambi obw’akaseera eri emitawaana gy’abantu emitonotono. Naye byonna kitundu kya nsi eyakuwanye ku Katonda. Era biwugula ebirowoozo by’abantu okwongera mu maaso embeera zino eziriwo ez’ebintu. Tewali na kimu ku byo kiwagira gavumenti ya Katonda eri ensi, Obwakabaka bwe wansi w’Omwana we. Mu buli ngeri, wadde n’abamenyi b’amateeka abamu bayinza okuba n’amaka, okugalabirira, era n’okukola ebikolwa eby’okuyamba abantu b’omu kitundu. Naye ebintu bino byandibadde nsonga ntuufu gye tuli okuwa obuwagizi bwaffe eri ebibiina by’abamenyi b’amateeka mu ngeri yonna?—Geraageranya 2 Abakkolinso 6:14-16.
27. Ngeri ki yokka gye tuyinza okuyambamu abantu b’omu nsi eno okubeera mu abo abanaawona okuyingira mu Nteekateeka Empya eza Katonda?
27 Ddala tuyinza okulaga okwagala okw’amazima eri abantu nga twegatta n’enteekateeka yonna ey’ensi, nga tuwaayo ebiseera byaffe n’amaanyi eri zo? Bw’oba oyagala okuyamba omuntu omulwadde oba ow’endwadde, wandikikoze ng’osembera kumpi nnyo okwatibwe obulwadde bwe bumu oba endwadde? Oba tojja kuba wa buyambi obusingawo ddala singa ggwe kennyini osigala mu bulamu obulungi era n’ogezaako okuyamba omuntu oyo okuzuula ekkubo ery’okuba omulamu obulungi? Ekibiina ky’abantu ekiriwo leero kirwadde mu by’omwoyo. Tewali n’omu ku ffe ayinza okukiwonya, kubanga Ekigambo kya Katonda kiraga nti obulwadde bwakyo bukitwala mu kufa. (Geraageranya Isaaya 1:4-9.) Naye tusobola okuyamba abantu kinnoomu abali mu nsi okuzuula ekkubo ery’okufuna obulamu obulungi obw’eby’omwoyo era n’okuwonawo okuyingira mu Nteekateeka Empya eya Katonda—bwe tusigala nga tweyawudde ku nsi. (2 Abakkolinso 6:17) Eky’amagezi nno, weewale okwevuluga mu nteekateeka z’ensi. Fuba nnyo okwewala okusiigibwa omwoyo gw’ensi era n’okugoberera amakubo gaayo agatali matuukirivu. Teweerabiranga: “Ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.”—1 Yokaana 2:17.