Abebbulaniya
11 Okukkiriza bwe butaba na kubuusabuusa kwonna nti ky’osuubira kijja kutuukirira,+ bwe bukakafu obulaga* nti ky’okkiriza ddala gye kiri wadde nga tekirabika. 2 Olw’okuba abasajja ab’edda* baalina okukkiriza ng’okwo, Katonda yakiraga nti yali abasiima.
3 Olw’okukkiriza, tutegeera nti enteekateeka z’ebintu* zaateekebwawo okuyitira mu kigambo kya Katonda, ne kiba nti ebyo ebirabika byava mu bintu ebitalabika.
4 Olw’okukkiriza, Abbeeri yawaayo eri Katonda ssaddaaka ey’omuwendo okusinga eya Kayini,+ era okuyitira mu kukkiriza okwo yakakasibwa nti yali mutuukirivu, kubanga Katonda yasiima ebirabo bye,+ era wadde nga yafa, akyayogera+ okuyitira mu kukkiriza kwe.
5 Olw’okukkiriza,+ Enoka yatwalibwa aleme okulaba okufa, era tewali wonna we yali ayinza kusangibwa kubanga Katonda yamutwala;+ naye bwe yali nga tannatwalibwa, Katonda yakiraga nti yali amusanyusizza. 6 Awatali kukkiriza tekisoboka kusanyusa Katonda, kubanga oyo atuukirira Katonda ateekwa okukkiriza nti gyali era nti y’awa empeera abo abafuba okumunoonya.+
7 Olw’okukkiriza, Nuuwa+ bwe yalabulwa Katonda ku bintu ebyali bitannalabika,+ yakiraga nti yali atya Katonda n’azimba eryato+ ery’okuwonyezaamu ab’omu maka ge; era okuyitira mu kukkiriza okwo yasalira ensi omusango,+ n’afuuka omusika w’obutuukirivu obuva mu kukkiriza.
8 Olw’okukkiriza, Ibulayimu+ bwe yayitibwa, yalaga obuwulize n’agenda mu kifo kye yali agenda okufuna ng’obusika; yagenda wadde nga yali tamanyi gy’alaga.+ 9 Olw’okukkiriza, yabeera mu nsi eyamusuubizibwa ng’alinga ali mu nsi engwira,+ n’abeera mu weema+ ne Isaaka ne Yakobo, basika banne ab’ekisuubizo kye kimu.+ 10 Yali alindirira ekibuga ekirina emisingi gyennyini, era ng’eyakuba pulaani yaakyo era eyakizimba ye Katonda.+
11 Olw’okukkiriza, Saala naye yaweebwa amaanyi n’afuna olubuto* wadde nga yali asussizza emyaka egy’okuzaala,+ kubanga yakitwala nti Oyo eyamusuubiza mwesigwa.* 12 Bwe kityo, omusajja eyali ng’afudde+ yavaamu abaana+ bangi ng’emmunyeenye ez’omu ggulu era ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja ogutabalika.+
13 Bano bonna baafa nga balina okukkiriza wadde ng’ebintu ebyasuubizibwa tebyatuukirira mu kiseera kyabwe,+ naye baabirengerera wala+ ne babisanyukira era ne balangirira mu lujjudde nti bagenyi era batuuze ab’akaseera obuseera mu nsi gye baalimu. 14 Abo aboogera bwe batyo, bakyoleka nti banoonya n’obunyiikivu ekifo ekyabwe ku bwabwe. 15 Kyokka, singa bajjukiranga ekifo gye baava+ bandibadde bafuna akakisa okuddayo. 16 Naye kaakano baluubirira ekifo ekisingako obulungi eky’omu ggulu. N’olwekyo, Katonda takwatibwa nsonyi kuyitibwa Katonda waabwe,+ kubanga abateekeddeteekedde ekibuga.+
17 Olw’okukkiriza, Ibulayimu bwe yagezesebwa+ yalinga ddala awaddeyo Isaaka, era omusajja oyo eyali asanyuse olw’okufuna ebisuubizo yali agenda kuwaayo omwana we eyazaalibwa omu yekka,+ 18 wadde nga yali agambiddwa nti: “Eririyitibwa ezzadde lyo liriyitira mu Isaaka.”+ 19 Naye yakitwala nti Katonda yali asobola okumuzuukiza mu bafu; era mu ngeri ey’akabonero, yafuna omwana we okuva mu kufa.+
20 Era olw’okukkiriza, Isaaka yawa Yakobo+ ne Esawu+ emikisa n’ababuulira ebyali bigenda okubaawo mu maaso.
21 Olw’okukkiriza, Yakobo bwe yali anaatera okufa,+ yawa buli omu ku baana ba Yusufu+ omukisa era n’asinza Katonda nga yeewaniridde ku muggo gwe.+
22 Olw’okukkiriza, Yusufu bwe yali anaatera okufa, yayogera ku ky’abaana ba Isirayiri okuva e Misiri era yawa ekiragiro ekikwata ku magumba ge.*+
23 Olw’okukkiriza, bazadde ba Musa baamukwekera emyezi esatu nga bamaze okumuzaala,+ kubanga baalaba nti yali alabika bulungi nnyo,+ era tebaatya kiragiro kya kabaka.+ 24 Olw’okukkiriza, Musa bwe yakula+ yagaana okuyitibwa mutabani wa muwala wa Falaawo,+ 25 n’alondawo okuyisibwa obubi ng’ali wamu n’abantu ba Katonda, mu kifo ky’okubeera mu ssanyu ly’ekibi ery’akaseera obuseera, 26 kubanga okuvumibwa kwe yayolekagana nakwo ng’oyo Eyafukibwako Amafuta* yakutwala ng’eky’obugagga ekisinga obugagga bw’e Misiri; kubanga yeekaliriza empeera eyali ey’okumuweebwa. 27 Olw’okukkiriza, yava e Misiri,+ n’atatya busungu bwa kabaka,+ kubanga yeeyongera okuba omunywevu ng’alinga alaba Oyo atalabika.+ 28 Olw’okukkiriza, yakwata Okuyitako era n’amansira omusaayi ku myango, omuzikiriza aleme kutuusa kabi* ku baana baabwe ababereberye.+
29 Olw’okukkiriza, baayita mu Nnyanja Emmyufu nga balinga abayita ku lukalu,+ naye Abamisiri bwe baagezaako okugiyitamu n’ebamira.+
30 Olw’okukkiriza, bbugwe wa Yeriko yagwa oluvannyuma lw’abantu okumwetooloola okumala ennaku musanvu.+ 31 Olw’okukkiriza, Lakabu malaaya teyazikiririra wamu n’abo abaajeema, kubanga yasembeza abakessi mu mirembe.+
32 Njogere ki nate? Ebiseera bijja kunzigwaako bwe nnaayogera ku Gidiyoni,+ Balaka,+ Samusooni,+ Yefusa,+ Dawudi,+ Samwiri,+ ne bannabbi abalala, 33 olw’okukkiriza baawangula obwakabaka,+ baaleetawo obutuukirivu, baafuna ebisuubizo,+ baaziba obumwa bw’empologoma,+ 34 baazikiza amaanyi g’omuliro,+ baasimattuka ekitala,+ abanafu baafuulibwa ba maanyi,+ baafuuka bazira mu ntalo,+ baawangula amagye agaabalumbanga.+ 35 Abakazi baafuna abantu baabwe abazuukizibwa,+ naye abasajja abalala baabonyaabonyezebwa olw’okuba baali tebayinza kukkiriza kununulibwa,* balyoke bafune okuzuukira okusinga obulungi. 36 Abalala baagezesebwa nga basekererwa, nga bakubibwa, n’ekisinga ebyo, nga basibibwa enjegere,+ era nga bateekebwa mu kkomera.+ 37 Baakubibwa amayinja,+ baagezesebwa, baasalibwamu n’emisumeeno, battibwa n’ekitala,+ baatambulanga nga bambadde amaliba g’endiga, ag’embuzi,+ nga bali mu bwetaavu, nga babonaabona,+ era nga bayisibwa bubi;+ 38 era ensi yali tebasaanira. Baatambulatambulanga mu ddungu ne mu nsozi, era baabeeranga mu mpuku+ ne mu binnya.
39 Kyokka, bano bonna wadde nga Katonda yakiraga nti yali abasiima olw’okukkiriza kwabwe, tebaafuna ekyo kye yasuubiza, 40 kubanga Katonda yalowooza ku kutuwa ekisinga obulungi,+ baleme okufuulibwa abatuukiridde nga ffe tetuliiko.