Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda
Yesu bwe yali ku nsi, yagamba abagoberezi be basabenga Obwakabaka bwa Katonda: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:9, 10) Era yayogera nnyo ku “enjiri ey’obwakabaka.” (Matayo 4:23) Mu butuufu, yayogera nnyo ku Bwakabaka okusinga ekintu ekirala kyonna. Lwaki? Kubanga Obwakabaka Katonda bw’ajja okukozesa okumalawo emitawaana egifudde obulamu okuba obuzibu ennaku zino. Ng’ayitira mu Bwakabaka, Katonda annakomya mangu entalo, endwadde, n’obumenyi bw’amateeka era ajja kuleetawo okwegatta n’emirembe.
Wandyagadde okubeera mu nsi bw’etyo? Bwe kiba bwe kityo, osaanye osome akatabo kano. Muko, ojja kuyiga nti Obwakabaka gavumenti, naye nga esinga gavumenti endala yonna eyali efuze abantu. Era ojja kulaba engeri esanyusa Katonda gye yajjanga annyonnyolamu abaweereza be ebigendererwa by’Obwakabaka. Era nate, ojja kulaba engeri Obwakabaka gye buyinza okukuyambamu leero.
Mu butuufu, oyinza okufuuka afugibwa Obwakabaka bwa Katonda kaakati. Naye nga tonnaba kusalawo kukola ekyo, wetaaga okumanya ebisingawo. Kale tukukubiriza okwetegereza akatabo kano. Buli kye kanaakutegeeza ku Bwakabaka kiva mu Baibuli.
Okusooka byonna, ka tulabe lwaki twetaaga nnyo Obwakabaka bwa Katonda.
Mu ntandikwa y’ebyafaayo by’omuntu, Katonda yakola omuntu ng’atuukiridde n’amussa mu lusuku. Mu kisera ekyo tewaali bwetaavu bwa Bwakabaka.
Naye nno, Adamu ne Kaawa, bazadde baffe abasooka, bawuliriza Setaani, malayika omujeemu. Yabategeeza eby’obulimba ku Katonda nabo n’abaleetera okujeemera Katonda. Bwe kityo kyali kibagwanira okufa kubanga “empeera y’ekibi kwe kufa.”—Abaruumi 6:23.
Omuntu atatuukiridde ate nga mwonoonyi tayinza kuzaala baana batuukiridde. N’olwekyo abaana ba Adamu bonna baazaalibwa nga tebatuukiridde, nga bonoonyi era nga bafa.—Abaruumi 5:12.
Okuva olwo, abantu baali beetaga Obwakabaka bwa Katonda okubayamba okuva mu kikolimo ky’ekibi n’okufa. Era Obwakabaka bulinaaza ku linnya lya Katonda obulimba bwonna Setaani bwe yalisiiga.
Yakuwa Katonda yasuubiza nti “ezzadde” ery’enjawulo (oba omwana) lirizaalibwa okulokola abantu okuva mu kibi. (Olubereberye 3:15) “Ezzadde” lino yali wa kuba Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda.
Oyo ye yandibadde ani?
Emyaka nga 2,000 oluvannyuma lwa Adamu okwonoona, waaliwo omusajja omwesigwa ennyo erinnya lye Ibulayimu. Yakuwa yagamba Ibulayimu ave mu kibuga kye agende abeere mu weema mu nsi ya Palesitaini.
Ibulayimu yakola byonna Yakuwa bye yamugamba okukola ng’omwo mwe mwali ekimu ekyali ekizibu ennyo. Yakuwa yamugamba aweeyo omwana we Isaaka, ku kyoto.
Mu butuufu Yakuwa yali teyeetaaga muntu nga ssaddaaka. Wabula yayagala okumanya okwagala Ibulayimu kwe yalina gy’ali bwe kwali kwenkana. Ibulayimu yali kumpi kutta Isaaka Yakuwa bwe yamuziyiza.
Olw’okukkiriza kwa Ibulayimu okungi, Yakuwa yasuubiza okuwa ensi ya Palesitaini eri ezzadde lye era n’agamba nti Ezzadde essuubize lyandiyitidde mu lunyiriri lwe, n’olwo olwa mutabani we Isaaka.—Olubereberye 22:17,18; 26:4, 5.
Isaaka yalina abalongo abalenzi, Esawu ne Yakobo. Yakuwa yagamba nti Ezzadde essuubize lyandiyitidde mu Yakobo.—Olubereberye 28:13-15.
Yakobo, Yakuwa gwe yatuuma Isiraeri, yalina abaana 12 era nga bonna oluvannyuma baazaala abaana. Bwe kityo abaana ba Ibulayimu ne batandika okwala.—Olubereberye 46:8-27.
Enjala ey’amaanyi bwe yagwa mu kitundu ekyo, Yakobo awamu ne nnyumba ye ne baserengeta e Misiri nga bayitiddwa Falaawo, omufuzi w’e Misiri.—Olubereberye 45:16-20.
Mu Misiri kyabikkulibwa nti Ezzadde essuubize lyandiyitidde mu mutabani wa Yakobo ayitibwa Yuda.—Olubereberye 49:10.
Oluvannyuma Yakobo yafa, era abaana be beeyongera obungi okutuuka bwe baaba ng’eggwanga. Olwo nno Abamisiri ne batandika okubatya era ne babafuula abaddu.—Okuva 1:7-14.
Oluvannyuma Yakuwa yatuma Musa omusajja omwesigwa ennyo, ategeeze Falaawo eyaliwo mu kiseera ekyo aleke abaana ba Isiraeri bagende mu ddembe.—Okuva 6:10, 11.
Falaawo yagaana, bw’atyo Yakuwa n’aleeta ebibonyoobonyo kkumi ku Bamisiri. Ekibonyoobonyo ekyasembayo, kwe kusindika malayika ow’okuzikiriza atte abaana bonna ab’obulenzi ababereberye aba Misiri.—Okuva, essuula 7 okutuukuka Okuva, essuula 12.
Katonda yategeeza Abaisiraeri nti bwe bandisse akaliga ku ky’ekiro omusaayi gwako ogumu ne bagusiiga ku mifuubeeto malayika ow’okuzikiriza yandiyisse ku nnyumba zaabwe. Bwe kityo Abaisiraeri ababereberye baalokolebwa.—Okuva 12:1-35.
Ekyavaamu Falaawo kwe kulagira Abaisiraeri bave mu Misiri. Naye ate Yakyusa endowooza ye n’abagoberera abakomyewo.
Yakuwa n’aggulawo ekkubo Abaisiraeri bayite mu nnyanja emyufu. Era Falaawo n’eggye lye bwe baagezzako okubagoberera, ne basanikirwa amazzi.—Okuva 15:5-21.
Yakuwa yakulembera abaana ba Isiraeri okubatuusa ku lusozi oluyitibwa Sinaayi mu ddungu. Eyo gye yabawera Amateeka ge n’agamba nti bwe bandigakuumye, bandifuuse bwakabaka bwa bakabona era eggwanga ettukuvu. Bwe kityo, ebiseera nga biyiseewo, Abaisiraeri baalina omukisa okuba ekitundu ekikulu eky’Obwakabaka bwa Katonda.—Okuva 19:6; 24:3-8.
Abaisiraeri nga bamaze omwaka nga mulamba ku lusozi Sinaayi, Yakuwa yaboolekeza Palesitaini, ensi gye yali asuubizza Ibulayimu jjajjaabwe.
Mu Palesitaini, Katonda oluvannyuma yakkiriza Abaisiraeri okufugibwanga bakabaka. Olwo, Katonda yalina obwakabaka ku nsi.
Kabaka ow’okubiri mu Isiraeri yali Dawudi, muzzukulu wa Yuda. Dawudi yawangula abalabe ba Isiraeri bonna, era n’afuula Yerusaalemi okuba ekibuga ekikulu eky’eggwanga eryo.
Ebyaliwo mu bufuzi bwa Dawudi biraga nti Yakuwa bw’awagira kabaka, teba mufuzi yenna ku nsi ayinza kumuwangula.
Yakuwa yayogera nti Ezzadde essuubize yandibadde omu ku bazzukulu ba Dawudi.—1 Ebyomumirembe 17:7, 11, 14.
Sulemaani, mutabani wa Dawudi, ye yamuddirira mu kufuga. Yali kabaka wa magezi, bw’atyo Isiraeri n’akulaakulana mu kufuga kwe.
Sulemaani nate yazimba yeekaalu ennungi eya Yakuwa mu Yerusaalemi. Embeera ezaaliwo mu Isiraeri wansi w’okufuga kwa Sulemaani zitwoleka egimu ku mikisa Obwakabaka bwa Katonda obujja gye bulireetera abantu.—1 Bassekabaka 4:24, 25.
Naye nno, bakabaka bangi abaddirira Sulemaani tebaali besigwa.
Kyokka abazzukulu ba Dawudi bwe baali nga bakyafugira mu Yerusaalemi, Yakuwa yakozesa nnabbi Isaaya okwogera ku mutabani wa Dawudi eyali ajja okujja eyandifuze ensi yonna mu bwesigwa. Ono yeyandibadde Ezzadde essuubize.—Isaaya 9:6, 7.
Nnabbi Isaaya yalagula obufuzi Bwe okuba obw’ettendo ennyo n’okusinga obwa Sulemaani.—Isaaya, essuula 11 ne 65.
Olwo nno, okusinga nga bwe kyali kibaddewo, abaweereza ba Katonda ne beewuunya nnyo ani ayali ow’okuba Ezzadde eryo.
Naye nno, nga Ezzadde eryo terinnaba kujja, bakabaka ba Isiraeri bafuuka babi nnyo ne kiba nti mu 607 B.C.E. Yakuwa yaleka eggwanga liwangulibwe Abababulooni, era abantu abasinga obungi ne bawaŋŋangusizibwa e Babulooni. Naye Katonda yali teyerabidde kisuubizo kye. Ezzadde era lyandirabikidde mu lunyiriri lwa Dawudi.—Ezeekyeri 21:25-27.
Ebyatuuka ku Isiraeri byalaga nti newakubadde kabaka omwesigwa era ow’amagazi ayinza okugasa, emigaso egyo gibaako we gikoma. Abantu abesigwa bafa era abasika baabwe bayinza obutaba besigwa. Kiki ekyalina okukolebwa? Ezzadde essuubize.
Oluvannyuma lw’okuyitawo kw’emyaka ebikumi n’ebikumi nga lirindirirwa, Ezzadde lyalabika. Yeyali ani?
Malayika wa Katonda yawa eky’okuddamu eri omuwala Omuyisiraeri eyali tannaba kufumbirwa erinnya lya Malyamu. Yamugamba nti yali wa kuzaala omwana ow’obulenzi erinnya lye Yesu. Bino malayika bye yayogera:
“Oyo aliba mukulu, aliyitibwa Mwana w’Oyo Ali Waggulu ennyo; Era Yakuwa Katonda alimuwa entebe ya Dawudi kitaawe, era anaafuganga nga kabaka.”—Lukka 1:32, 33, New World Translation.
N’olwekyo Yesu yeyali ow’okuba Ezzadde essuubize n’oluvannyuma abeere kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. Naye Yesu lwaki yali wa njawulo okuva ku basajja abesigwa abaaliwo okusooka?
Yesu yazaalibwa mu ngeri ya magero. Mmama we yali mbeerera, era teyalina kitaawe muntu. Yesu yali abeera mu ggulu, era omwoyo gwa Katonda omutukuvu oba amaanyi ge agakola, gaakyusa obulamu bwa Yesu okuva mu ggulu okubussa mu lubuto lwa Malyamu. N’olwekyo teyasikira kibi kya Adamu. Mu bulamu bwe bwonna Yesu teyakola kibi.—1 Peetero 2:22.
Bwe yali nga wa myaka 30 egy’obukulu, Yesu yabatizibwa.
Yategeeza abantu ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda n’oluvannyuma ne yeeyanjula nga Kabaka w’Obwakabaka obwo.—Matayo 4:23; 21:4-11.
Yakola n’ebyamagero bingi. Yawonya abalwadde.—Matayo 9:35.
Mu ngeri ey’amagero yaliisa abayala.—Matayo 14:14-22.
Yazuukiza n’abafu.—Yokaana 11:38-44.
Eby’amagero ebyo biraga ebintu Yesu byalikolera abantu nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda.
Ojjukira kabaka Dawudi bwe yali afudde Yerusaalemi okuba ekibuga ekikulu eky’obwakabaka bwe? Yesu yannyonnyola nti Obwakabaka bwa Katonda tebwandibadde ku nsi, wabula mu ggulu. (Yokaana 18:36) Y’ensonga lwaki Obwakabaka buyitibwa “Yerusaalemi eky’omu ggulu.”—Abebbulaniya 12:22, 28.
Yesu yattottola amateeka abo abanaafugibwa Obwakabaka obwo ge balina okugondera. Amateeka gano kaakati gali mu Baibuli. Amateeka agasinga obukulu gaali nti abantu basaanidde okwagala Katonda n’okwagalana bokka na bokka—Matayo 22:37-39.
Yesu era yabikkula nti teyandibadde yekka mu kufuga Obwakabaka bwe. Wandibaddewo abantu abalondebwa okugenda mu ggulu bafugire eyo wamu naye. (Lukka 12:32; Yokaana 14:3) Bandibaddeyo bameka? Okubikkulirwa 14:1 kiddamu nti: 144,000.
Naye 144,000 bwe baba nga be bokka abagenda mu ggulu okufuga ne Yesu, olwo abantu abasigaddewo basuubire ki?
Baibuli egamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:29.
Abo abalibeera ku nsi emirembe gyonna bayitibwa “endiga endala.”—Yokaana 10:16.
N’olwekyo waliwo essuubi lya mirundi ebiri. Waliwo 144,000 abayitibwa Yakuwa Katonda okugenda mu ggulu okufuga ne Yesu Kristo. Naye bukadde na bukadde abalala, balina essuubi ekkakafu ery’okuba ku nsi emirembe gyonna nga bafugibwa Obwakabaka bwe subjects of his Kingdom.—Okubikkulirwa 5:10.
Setaani yakyawa Yesu era yamuwakanya. Yesu ng’amaze okubuulira emyaka esatu n’ekitundu, Setaani yamukwasa era ne bamutta nga bamukomerera ku muti. Lwaki kino Katonda yakikkiriza?
Jjukira, olw’okubanga twava mu Adamu, ffena twonoona era tugwanidde kufa.—Abaruumi 6:23.
Jjukira nate, olw’engeri Yesu gye yazaalibwamu ey’amagero, yali atuukiridde era nga tasaanidde kufa. Kyokka, Katonda yakkiriza Setaani ‘okubetenta Yesu ekisinziiro,’ okumutta. Naye Katonda n’amuzuukiza nate mu bulamu obutafa nga omwoyo ogutafa. Olw’okuba nti yali akyalina obwannanyini ku bulamu obutuukiride obw’omuntu, yandiyinzizza kaakati okubukozesa anunule ffe abantu okuva mu kibi.—Olubereberye 3:15; Abaruumi 5:12, 21; Matayo 20:28.
Okutuyamba okutegeera mu bujjuvu ssaddaaka ya Yesu, Baibuli ekozesa ebyokulabirako eby’obunnabbi.
Eky’okulabirako, ojjukira Yakuwa bwe yagamba Ibulayimu aweeyo omwana we, ng’ekigezo ku kwagala kwe?
Kino kyali kyakulabirako eky’obunnabbi ku ssaddaaka ya Yesu. Kino kyalaga okwagala kwa Yakuwa eri omuntu bwe kwali okunene ennyo nti yakkiriza omwana we, Yesu, atufirire tulyoke tube n’obulamu.—Yokaana 3:16.
Ojjukira engeri Yakuwa gye yawonyaamu Abaisiraeri okuva mu Misiri n’alokola ababereberye baabwe ng’aleka malayika ow’okuzikiriza n’abayitako?—Okuva 12:12, 13.
Kino kyali kyakulabirako eky’obunnabbi. Ng’omusaayi gwe ndiga bwe gwategeeza obulamu bw’ababereberye b’Abaisiraeri, n’omusaayi gwa Yesu ogwayiibwa gutegeeza bulamuu eri abo abamukkiririzamu. Era ng’ebyaliwo ekiro ekyo bwe byategeeza eddembe eri Abaisiraeri, n’okufa kwa Yesu kuwa eddembe okuva mu kibi n’okufa.
Y’ensonga lwaki Yesu ayitibwa “Omwana gw’endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by’ensi!”—Yokaana 1:29.
Kyokka, Yesu bwe yali ku nsi era yakuŋŋanya abayigirizwa n’abatendeka okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, wadde n’oluvannyuma lw’okufa kwe.—Matayo 10:5; Lukka 10:1.
Bano be bantu abasooka okulondebwa Katonda bafuge ne Yesu mu Bwakabaka bwe.—Lukka 12:32.
Ojjukira nti Katonda yasuubiza Abayudaaya nti bwe bandikuumye Amateeka ge, bandibadde “obwakabaka obwa bakabona”? Kaakati olwo baalina omukisa ogw’okuba ekitundu ky’Obwakabaka bwa Katonda baweereze nga bakabona mu ggulu bwe bandikkiriza Yesu. Naye abasinga obungi ku bo baagaana Yesu.
Bwe kityo okuva ku kiseera ekyo n’okweyongerayo, Abayuddaya baali tebakyali ggwanga lya Katonda eddonde; Palesitaini yali tekyali Nsi Nsuubize.—Matayo 21:43; 23:37, 38.
Okuva mu nnaku za Yesu okutuusa mu zaffe, Yakuwa abadde akuŋŋanya bano abanaafuga ne Yesu mu ggulu. Kaakati bali mu nkumi abasigaddewo ku nsi. Tubayita ensigalira y’abaafukibwako amafuta.—Okubikkulirwa 12:17.
Kaakati otandise okulaba Obwakabaka bwa Katonda kye butegeeza. Gavumenti mu ggulu, Kabaka wayo ye Yesu Kristo, era yeegattibwako abantu 144,000 abava ku nsi era ejja kuba n’obuyinza okuleeta emirembe ku nsi.
Oluvannyuma lw’okufa kwe Yesu yazuukizibwa n’agenda mu ggulu. Eyo yalindirira ekiseera lwe kyandituuse Katonda okumugamba atandike okufuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. (Zabbuli 110:1) Ekyo kyandibaddewo ddi?
Oluusi Yakuwa yaleetanga ebirooto eri abantu abategeeze ebifa ku Bwakabaka bwe.
Mu nnaku za Danyeri, Yakuwa yaleteera Nebukadduneeza, kabaka wa Babulooni, ekirooto eky’engeri eyo. Ekirooto kyali kya muti omunene ennyo.—Danyeri 4:10-37.
Omuti gwatemebwa n’ekikonge ne kisibibwa okumala emyaka musanvu.
Omuti gwali gutegeeza Nebukadduneeza. Ng’ekikonge bwe kyasibibwa emyaka musanvu, Nebukadduneeza yagwa eddalu okumala emyaka musanvu. Olwo amagezi ge gaddizibwawo.
Bino byonna byali byakulabirako eby’obunnabbi. Nebukadduneeza kyali kifananyi kya bufuzi bwa Yakuwa obwe nsi yonna. Okusooka, obufuzi buno bwali mu mikono gy’abazzukulu ba kabaka Dawudi mu Yerusaalemi. Babulooni bwe yawangula Yerusaalemi mu 607 B.C.E., olunyiriri lwa bakabaka abo lwakutulwamu. Tewandibaddengawo kabaka mulala mu lunyiriri lwa Dawudi “okutuusa nnyini kyo lw’alijja.” (Ezeekyeri 21:27) Oyo ye yali Yesu Kristo.
Kyanditutte bbanga ki okuva 607 B.C.E. okutuusa Yesu lwe yanditandise okufuga? Emyaka musanvu egy’obunnabbi. Amakulu nti, emyaka 2,520. (Okubikkulirwa 12:6, 14) Era emyaka 2,2520 okuva mu mwaka 607 B.C.E. gitutuusa mu 1914 C.E.
Bwe kityo Yesu yatandika okufuga mu ggulu mu 1914. Ekyo kyategeeza ki?
Baibuli etubuulira ng’eyitira mu kwolesebwa kwa Yokaana omutume.
Yalaaba omukazi mu ggulu ng’azaala omwana ow’obulenzi.—Okubikkulirwa 12:1-12.
Omukazi yali ategeeza entegeka ya Katonda ey’omu ggulu, omuli bamalayika ba Katonda mu ggulu. Omwana ow’obulenzi ategeeza Bwakabaka bwa Katonda. Buno ‘bwazaalibwa’ mu 1914.
Kiki ekyadirira? Ekintu ekyasooka Yesu kye yakola nga Kabaka kwe kusuula Setaani, ne bamalayika abo abaajeema naye okuva mu ggulu ne basuulibwa ku nsi.—Okubikkulirwa 12:9.
Baibuli etubuulira ebyavaamut: “Kale musanyuke, eggulu n’abatuulamu. Zisanze ensi n’ennyanja: kubanga Omulyolyomi asse gye muli ng’alina obusungu bungi, ng’amanyi ng’alina akaseera katono.”—Okubikkulirwa 12:12.
Bwe kityo Yesu bwe yatandika okufuga mu ggulu, abalabe be baatandika okukola ennyo ku nsi. Nga Baibuli bwe yalagula, yatandika okufugira wakati mu balabe be.—Zabbuli 110:1, 2.
Kino omuntu kyali kya kumuviiramu ki?
Yesu yatugamba nti: entalo, enjala, endwadde, ne musisi.—Matayo 24:7, 8; Lukka 21:10, 11.
Ebintu bino tubirabye nga bibawo okuva mu 1914, y’ensonga endala kwe tutegeerera nti Obwakabaka bwatandika okufuga mu ggulu mu mwaka ogwo.
Era wandibaddewo ‘amawanga okunakuwala, abantu nga bazirika olw’entiisa.’ (Lukka 21:25, 26) Ebyo nabyo tubirabye okuva mu 1914.
Omutume Paulo yagattako nti “abantu baliba nga beeyagala bokka, abaagala ebintu, . . . abatagondera bazzadde baabwe, . . . abatatabagana, abawaayiriza, abateegendereza.”—2 Timoseewo 3:1-5.
Kaakati omanyi lwaki obulamu buzibu ennaku zino. Setaani abadde akola nnyo. Naye n’Obwakabaka bwa Katonda bubadde bukola nnyo.
Amangu nga 1914 gumaze okuyita, ensigalira y’abo abasuubira okufuga ne Yesu mu ggulu baatandika okutegeeza amawulire amalungi nti Obwakabaka bwassibwaawo. Omulimu guno kaakati gubunye ensi yonna nga Yesu bwe yayogera.—Matayo 24:14.
Kiki ekigendererwa mu mulimu guno ogw’okuubulira?
Ekisooka, kwe kutegeeza abantu ku Bwakabaka bwa Katonda.
Ekyokubiri, kwe kuyamba abantu okusalawo obanga baagala okuba abafugibwa Obwakabaka.
Yesu yagamba nti mu nnaku zaffe abantu bandyawuliddwamu abaffananyizibwa endiga n’embuzi.—Matayo 25:31-46.
“Endiga” bandibadde abo abamwagala ne baganda be. “Embuzi” baliba nga kino tebakikola.
“Endiga” bandifunye obulamu obutaggwaawo naye “embuzi” tebandibufunye.
Okwawula kuno kutuukirizibwa na kubuulira mawulire malungi ag’Obwakabaka.
Buno bwe bunnabbi bwa nnabbi Isaaya.
“Awo olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma, olusozi olw’ennyumba ya [Yakuwa] lulinywezebwa ku ntikko y’ensozi era luligulumizibwa okukira ensozi; era amawanga gonna galikkulukutira ku lwo.” —Isaaya 2:2.
Abantu kaakati boolekedde “ennaku ez’oluvannyuma.”
“Enyumba ya Yakuwa ey’okusinza kaakati ‘egulumiziddwa’ okukira eddiini ez’obulimba.
“Era amawanga mangi agalyambuka ne googera nti Mujje, twambuke eri olusozi lwa [Yakuwa], eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; era anaatuyigirizanga mu makubo ge, naffe tunaatambuliranga mu mpenda ze.”—Isaaya 2:3.
Bwe kityo, bangi bava mu mawanga gonna okujja okusinza Yakuwa era ne bayita n’abalala okubeegattako. Bayiga okweyisa mu ngeri Yakuwa gy’ayagala.
“Era baliweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi, n’amafumu gaabwe okugafuula ebiwabyo: eggwanga teririyimusa kitala eri eggwanga linnalyo, so tebaliyiga kulwana nate.”—Isaaya 2:4.
Abo abasinza Yakuwa beegase wamu era ba mirembe.
Ebivudde mu mulimu guno ogw’Obwakabaka bwa Katonda biri nti kaakati waliwo abantu obukadde bungi, okwetooloola ensi yonna, abafugivwa Obwakabaka bwa Katonda.
Beetoolodde ensigalira, abasigaddewo ku abo abasuubira okugenda mu ggulu okufuga awamu ne Kristo.
Bafuna emeere okuyitira mu ntegeka ya Katonda.—Matayo 24:45-47.
Lwe luganda lw’Abakristaayo olw’ensi yonna abaagalana mu mazima.—Yokaana 13:35.
Basanyukidde emirembe mu birowoozo, essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso.—Abafiripi 4:7.
Mangu ddala, amawulire amalungi gano gajja kuba nga gamaze okubuulirwa. “Endiga” zijja kuba nga zimaze okukuŋŋaanyizibwa. Olwo Obwakabaka bunaakola ki?
Ojjukira nga Kabaka omwesigwa Dawudi yawangula abalabe b’abantu ba Katonda bonna? Kale ne Kabaka Yesu ajja kukola kye kimu.
Kabaka Nebukadduneeza lumu yafuna ekirooto eky’ekibumbe ekyali akaboneero k’obwakabaka bw’ensi zonna okuva mu kiseera kye okutuusa mu kyaffe.
Ate era n’alaba ejjinja eryatemebwa okuva mu lusozi, ne libetenta ekibumbe. Ejjinja lyategeeza Obwakabaka bwa Katonda.
Kino nga kitegeeza okuzikirizibwa kw’embeera z’ebintu zino eziriwo embi.—Danyeri 2:44.
Bino by’ebintu ku bintu Obwakabaka bye bugenda okuvunika.
Eddiini ez’obulimba zirivawo, ng’olubengo olukanyugibwa mu nnyanja.—Okubikkulirwa 18:21.
Eno y’ensonga lwaki bonna abaagala Katonda bakubirizibwa okuva mu ddiini ez’obulimba KAAKATI.—Okubikkulirwa 18:4.
Ekinaddirira Kabaka Yesu “alikuba amawanga . . . era alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma.”—Okubikkulirwa 19:15, New World Translation.
N’olwekyo Abajulirwa ba Yakuwa newakubadde nga basasula emisolo gyabwe ne bagondera n’amateeka g’ensi, tebenyigira mu byabufuzi.
Eky’enkomerero, Setaani yennyini, “ogusota ogunene,” asuulibwa mu bunnya obutakoma.—Okubikkulirwa 20:2, 3.
“Endiga,” zokka, abo abagondera Yesu nga Kabaka, be bokka abaliwona ekibonyoobonyo kino.—Matayo 25:31-34, 41, 46.
Omutume Yokaana mu kwolesebwa yalaba “endiga” abawona ekibonyoobonyo ekinene.
“Ne ndaba, era laba, ekibiina kinene omuntu yenna ky’atayinza kubala, mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi, nga bayimiridde mu maaso g’entebe ne mu maaso g’Omwana gw’endiga, nga bambadde ebyambalo ebyeru, n’amatabi g’enkindu mu mikono gyabwe.”—Okubikkulirwa 7:9.
“Ekibiina ekinene” kirimu abo bonna abakolera ku kubuulira kw’amawulire amalungi.
“Baava mu kubonaabona kuli okungi.”—Okubikkulirwa 7:14.
“Amatabi g’enkindu” galaga okwaniriza Yesu nga Kabaka waabwe.
“Okwambala ebyambalo ebyeru” kulaga nga balina okukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu.
“Omwana gw’endiga” ye Yesu Kristo.
Olwo mikisa ki gye basanyukiramu? Ojjukira essanyu eryaliwo mu Isiraeri Kabaka omwesigwa Sulemaani bwe yali ng’afuga? Kino kitulagako katoono ku ssanyu eririba ku nsi wansi w’obufuzi bwa Kabaka Yesu.
Wagenda kubeererawo ddala emirembe mu baana b’abantu era wakati w’abantu n’ebisolo, nga Isaaya bwe yalagula.—Zabbuli 46:9; Isaaya 11:6-9.
Nga Yesu bwe yawonya endwadde bwe yali ku nsi, bwe kityo aliggirawo ddala endwadde okuva ku bantu.—Isaaya 33:24.
Nga bwe yaliisa enkumi ne nkumi z’abantu, bwe kityo aligobera ddala enjala okuva ku bantu.—Zabbuli 72:16.
Nga bwe yazuukiza abafu, bwe kityo alizuukiza abo bonna abataafuna mukisa mujjuvu kugondera Bwakabaka bwa Katonda.—Yokaana 5:28, 29.
Mpolampola, alikomyawo abantu ku kutuukirira Adamu kwe yabuza.
Ebiseera ebyo eby’omu maaso ssi bya kyewuunyo? Wandyagadde okubiraba? Bwe kiba bwe kityo, kolerawo olabe nti ogondera Obwakabaka bwa Katonda ofuuke omu ku ‘ndiga.’
Yiga Baibuli otegeere Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo.—Yokaana 17:3.
Weegatte ku balala nabo abagondera Obwakabaka obwo.—Abebbulaniya 10:25.
Yiga amateeka g’Obwakabaka era ogagondere.—Isaaya 2:3, 4.
Waayo obulamu bwo oweereze Yakuwa era obatizibwe.—Matayo 28:19, 20.
Weewale ebintu ebibi nga okubba, okulimba, obugwenyufu, n’obutamiivu, ebitasanyusa Yakuwa Katonda.—1 Abakkolinso 6:9-11.
Weetabe mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka.—Matayo 24:14.
Olwo nno n’obuyambi bwa Katonda, oliraba Olusuuku lwa Katonda Adamu lwe yasubya bazzukulu be, nga luzziddwawo, era oliraba ekisuubizo kino nga kituukirira: “Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu ntebe nga lyogera nti laba, eweema ya Katonda awamu n’abantu, era anaatuulanga wamu nabo, nabo banaabeeranga bantu be, naye Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, Katonda waabwe: naye alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.”—Okubikkulirwa 21:3, 4.
[Ekipande ekiri ku lupapula 20]
(okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu kitabo)
607 B.C.E. 1914 C.E.
B.C.E. | C.E.
500 1,000 1,500 2,000 2,520
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 11]
Ibulayimu
Isaaka
Yakobo
Yuda
Dawudi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]
144,000
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]
Adam
Yesu