Danyeri
4 “Buno bwe bubaka Kabaka Nebukadduneeza bw’aweerezza abantu ab’amawanga ag’enjawulo n’ennimi ez’enjawulo ababeera mu nsi yonna: Emirembe gyammwe gyeyongere! 2 Ndi musanyufu okubategeeza obubonero n’ebyamagero Katonda Asingayo Okuba Waggulu by’ankoledde. 3 Obubonero bw’akola nga bwa kitalo! N’ebyamagero by’akola nga bya maanyi nnyo! Obwakabaka bwe bwe bwakabaka obw’emirembe n’emirembe, era obufuzi bwe bwa mirembe gyonna.+
4 “Nze Nebukadduneeza nnali mu nnyumba yange nga sirina kinneeraliikiriza era nga ndi bulungi mu lubiri lwange. 5 Nnaloota ekirooto ekyantiisa ennyo. Ebyo bye nnalaba ne bye nnayolesebwa bwe nnali nneebase ku kitanda kyange, byantiisa nnyo.+ 6 Kyennava ndagira baleete abasajja abagezigezi bonna ab’omu Babulooni mu maaso gange bambuulire amakulu g’ekirooto ekyo.+
7 “Awo bakabona abakola eby’obufumu, n’abalaguzi, n’Abakaludaaya,* n’abalaguzisa emmunyeenye+ ne bajja, ne mbabuulira ekirooto kyange, naye ne batasobola kumbuulira makulu gaakyo.+ 8 Oluvannyuma, Danyeri ayitibwa Berutesazza,+ erinnya eririna akakwate n’erinnya lya katonda wange,+ era alina omwoyo gwa bakatonda abatukuvu,+ n’ajja mu maaso gange ne mmubuulira ekirooto kyange:
9 “‘Ai Berutesazza omukulu wa bakabona abakola eby’obufumu,+ nkimanyi bulungi nti olina omwoyo gwa bakatonda abatukuvu,+ era nti tewali kyama kikulema.+ Kale nnyinyonnyola bye nnalabye mu kirooto kyange n’amakulu gaabyo.
10 “‘Bwe nnabadde nneebase ku kitanda kyange, nnalabye mu kwolesebwa omuti+ omuwanvu ennyo+ nga guli wakati mu nsi. 11 Omuti ogwo gwakuze ne guggumira, era ne gutuukira ddala ku ggulu. Gwabadde gusobola okulengerwa ensi yonna. 12 Gwabaddeko ebikoola ebirabika obulungi n’ebibala bingi, era gwabaddeko emmere y’ebiramu byonna. Ensolo z’omu nsiko zaabadde ziwummulira wansi waagwo, n’ebinyonyi eby’omu bbanga nga bibeera ku matabi gaagwo, era nga n’ebiramu byonna birya ku gwo.
13 “‘Bwe nnabadde nneebase ku kitanda kyange, nnalabye mu kwolesebwa omutunuulizi, omutukuvu, ng’akka okuva mu ggulu.+ 14 Yayogedde mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Muteme omuti,+ mugutemeko amatabi gaagwo, mukunkumule ebikoola byagwo, era musaasaanye ebibala byagwo! Ebisolo ka bive wansi waagwo bigende era n’ebinyonyi ka bive ku matabi gaagwo. 15 Kyokka muleke ekikonge n’emirandira gyakyo mu ttaka, mu muddo ogw’oku ttale, nga kisibiddwako olukoba olw’ekyuma n’olw’ekikomo. Omusulo ogw’omu ggulu ka gukitobye, era kibeere wamu n’ensolo mu bimera ebiri ku nsi.+ 16 Omutima gwakyo ka gukyusibwe gulekere awo okuba ogw’omuntu kiweebwe ogw’ensolo, era ebiseera musanvu+ ka bikiyiteko.+ 17 Kino kiragiro ekivudde eri abatunuulizi,+ era ekisaliddwawo kivudde mu kigambo ky’abatukuvu, abantu abalamu basobole okukimanya nti Oyo Asingayo Okuba Waggulu y’Afuga mu bwakabaka bw’abantu,+ era nti abuwa oyo yenna gw’ayagala, era abuwa n’omuntu asingayo okuba owa wansi.”
18 “‘Ekyo kye kirooto nze Kabaka Nebukadduneeza kye nnaloose, era kaakano ggwe Berutesazza mbuulira amakulu gaakyo, kubanga abasajja abalala bonna abagezigezi ab’omu bwakabaka bwange tebasobola kumbuulira makulu gaakyo.+ Naye ggwe osobola, kubanga olina omwoyo gwa bakatonda abatukuvu.’
19 “Awo Danyeri, ayitibwa Berutesazza,+ ne yeekangamu era n’atya.
“Naye kabaka n’amugamba nti, ‘Berutesazza, toleka kirooto na makulu gaakyo kukweraliikiriza.’
“Berutesazza n’amuddamu nti, ‘Ai mukama wange, ekirooto ekyo ka kituukirire ku abo abatakwagala, era amakulu gaakyo ka gatuukirire ku balabe bo.
20 “‘Omuti gwe walabye ogwakuze ne guba gwa maanyi, nga gutuukira ddala ku ggulu, era nga gusobola okulengerwa ensi yonna,+ 21 ogwabadde n’ebikoola ebirabika obulungi, n’ebibala bingi, era ogwabaddeko emmere y’ebiramu byonna, ng’ensolo ez’omu nsiko ziwummulira wansi waagwo, era nga n’ebinyonyi eby’omu bbanga bibeera ku matabi gaagwo,+ 22 ye ggwe, Ai kabaka, kubanga ofuuse mukulu nnyo era wa maanyi; ekitiibwa kyo kyeyongedde ne kituuka ku ggulu,+ era n’obufuzi bwo butuuse ensi gy’ekoma.+
23 “‘Kabaka yalabye omutunuulizi, omutukuvu,+ ng’akka okuva mu ggulu, ng’agamba nti: “Muteme omuti, mugusaanyeewo, kyokka muleke ekikonge n’emirandira gyakyo mu ttaka, mu muddo ogw’oku ttale, nga kisibiddwako olukoba olw’ekyuma n’olw’ekikomo. Omusulo ogw’omu ggulu ka gukitobye era ka kibeere wamu n’ensolo ez’oku ttale, okutuusa ng’ebiseera musanvu bikiyiseeko.”+ 24 Amakulu ge gano, Ai kabaka; Oyo Asingayo Okuba Waggulu kino ky’alagidde okutuuka ku mukama wange kabaka: 25 Ojja kugobebwa mu bantu obeerenga wamu n’ensolo ez’omu nsiko. Ojja kulyanga muddo ng’ente; era omusulo ogw’oku ggulu+ gujja kukutobyanga. Ebiseera musanvu+ bijja kukuyitako,+ okutuusa lw’olimanya nti Oyo Asingayo Okuba Waggulu afuga mu bwakabaka bw’abantu, era nti abuwa oyo yenna gw’ayagala.+
26 “‘Naye olw’okuba baagambye nti ekikonge n’emirandira gyakyo birekebwewo,+ obwakabaka bwo bulikuddizibwa bw’olimala okukitegeera nti eggulu lye lifuga. 27 N’olwekyo, Ai kabaka, kkiriza amagezi ge nkuwa. Lekera awo okukola ebibi okole ebirungi, era lekayo ebikolwa ebitali bya butuukirivu olage abaavu ekisa. Oboolyawo ojja kweyongera okuba obulungi era owangaale.’”+
28 Ebyo byonna byatuuka ku Kabaka Nebukadduneeza.
29 Nga wayiseewo emyezi kkumi n’ebiri, kabaka yali atambulira waggulu ku nnyumba mu lubiri lw’omu Babulooni, 30 n’agamba nti: “Kino si ye Babulooni Ekinene kye nnazimba n’amaanyi gange okubaamu ennyumba y’obwakabaka, era kye nnazimba olw’ekitiibwa ky’obukulu bwange?”
31 Kabaka yali akyayogera, eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti: “Wulira ggwe Kabaka Nebukadduneeza, ‘Obwakabaka bukuggiddwako,+ 32 era ogenda kugobebwa mu bantu, obeerenga wamu n’ensolo ez’omu nsiko. Ogenda kulyanga muddo ng’ente, era ebiseera musanvu bigenda kukuyitako, okutuusa lw’olimanya nti Oyo Asingayo Okuba Waggulu y’Afuga mu bwakabaka bw’abantu, era nti abuwa oyo yenna gw’ayagala.’”+
33 Mu kiseera ekyo ebigambo ebyo ne bituukirira ku Nebukadduneeza. Yagobebwa mu bantu n’atandika okulyanga omuddo ng’ente, era omusulo ogw’omu ggulu ne gutobyanga omubiri gwe, enviiri ze ne zikula okwenkana ebyoya by’empungu, n’enjala ze ne ziwanvuwa ng’ez’ebinyonyi.+
34 “Ekiseera ekyo bwe kyaggwaako,+ nze Nebukadduneeza ne ntunula waggulu era ne nziramu okutegeera; ne ntendereza Oyo Asingayo Okuba Waggulu, era Oyo abeerawo emirembe gyonna ne mmutendereza era ne mmugulumiza, kubanga obufuzi bwe bwa mirembe gyonna, n’obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe.+ 35 Abo bonna ababeera ku nsi batwalibwa ng’abataliiwo, era akola nga bw’ayagala mu ggye ery’omu ggulu ne mu abo ababeera ku nsi. Era tewali n’omu asobola kumuziyiza*+ oba okumubuuza nti, ‘Kiki ky’okoze?’+
36 “Mu kiseera ekyo nnaddamu okutegeera, era ekitiibwa ky’obwakabaka bwange, n’ekitiibwa kyange, n’obukulu bwange ne binzirira.+ Abaami bange n’abakungu bange ne baddamu okunneebuuzaako; ne nziramu okufuga mu bwakabaka bwange, era ne mba n’ekitiibwa kingi okusinga ekyasooka.
37 “Kaakano nze Nebukadduneeza, ntendereza Kabaka w’eggulu,+ mmugulumiza, era mmuwa ekitiibwa, kubanga byonna by’akola bituufu, era amakubo ge ga bwenkanya,+ era kubanga asobola okutoowaza ab’amalala.”+