Olubereberye
2 Bwe bityo eggulu n’ensi n’ebintu byonna ebibirimu ne biggwa okutondebwa.+ 2 Ku lunaku olw’omusanvu Katonda yali amalirizza emirimu gye yali akola, era ku lunaku olw’omusanvu yatandika okuwummula emirimu gye gyonna gye yali akola.+ 3 Katonda n’awa olunaku olw’omusanvu omukisa era n’alulangirira okuba olutukuvu, kubanga ku olwo Katonda yatandika okuwummula emirimu gye gyonna egy’okutonda; ng’atonze ebintu byonna bye yali ateeseteese okukola.
4 Bino bye byafaayo by’eggulu n’ensi mu kiseera we byatonderwa, ku lunaku Yakuwa* Katonda lwe yatonderako ensi n’eggulu.+
5 Ku nsi kwali tekunnabaako miti wadde ebimera ebirala, kubanga Yakuwa Katonda yali tannatonnyesa nkuba ku nsi era nga tewali muntu wa kulima nsi. 6 Naye olufu lwavanga mu ttaka ne luginnyikiza yonna.
7 Yakuwa Katonda n’akola omuntu mu nfuufu+ y’ensi n’afuuwa mu nnyindo ze omukka ogw’obulamu,+ omuntu n’afuuka omulamu.+ 8 Ate era Yakuwa Katonda n’asimba olusuku mu Edeni,+ ku ludda olw’ebuvanjuba, n’ateeka omwo omuntu gwe yali atonze.+ 9 Yakuwa Katonda n’ameza ku ttaka buli muti ogulabika obulungi era omulungi okulya, n’omuti ogw’obulamu+ wakati mu lusuku, era n’omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi.+
10 Waaliwo omugga ogwali gukulukuta okuva mu Edeni okufukirira olusuku, era gweyawulamu ne gufuuka emigga ena.* 11 Ogusooka guyitibwa Pisoni; ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kavira erimu zzaabu. 12 Zzaabu w’ensi eyo mulungi. Era eriyo ne bedola* n’amayinja agayitibwa sokamu. 13 Ogw’okubiri guyitibwa Gikoni; ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kuusi. 14 Ogw’okusatu guyitibwa Kidekeri;*+ ogwo gwe guyita ebuvanjuba wa Bwasuli.+ Ate ogw’okuna guyitibwa Fulaati.+
15 Yakuwa Katonda n’atwala omuntu n’amuteeka mu lusuku Edeni okululimanga n’okululabiriranga.+ 16 Yakuwa Katonda n’awa omuntu ekiragiro kino: “Ku buli muti ogw’omu lusuku olyangako nga bw’oyagala.+ 17 Naye omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi togulyangako, kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.”+
18 Yakuwa Katonda n’agamba nti: “Si kirungi omusajja okweyongera okubeeranga yekka. Ŋŋenda kumukolera omuyambi; omuntu amusaanira.”+ 19 Yakuwa Katonda yali akoze mu nfuufu buli nsolo ey’omu nsiko na buli ekibuuka mu bbanga; n’atandika okubireeta eri omuntu alabe buli kimu bw’anaakiyita, era buli kiramu erinnya lye yakituuma lye lyaba erinnya lyakyo.+ 20 Bw’atyo omusajja n’atuuma amannya ensolo zonna ez’awaka, n’ebibuuka mu bbanga na buli nsolo ey’omu nsiko, naye ye omusajja teyalina muyambi; teyalina munne amusaanira. 21 Awo Yakuwa Katonda ne yeebasa omusajja otulo tungi; bwe yali yeebase n’amuggyamu olumu ku mbiriizi ze, we lwava n’azzaawo ennyama. 22 Yakuwa Katonda olubiriizi lwe yaggya mu musajja n’alukolamu omukazi, n’amuleeta eri omusajja.+
23 Omusajja n’agamba nti:
“Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange
Era omubiri oguvudde mu mubiri gwange.
Ono anaayitibwanga Mukazi,
Kubanga aggiddwa mu musajja.”+
24 Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina n’anywerera* ku mukazi we era banaabanga omubiri gumu.+ 25 Bombi omusajja ne mukazi we baabeeranga bwereere+ naye nga tebakwatibwa nsonyi.