Matayo
24 Awo Yesu bwe yali ava mu yeekaalu, abayigirizwa be ne bajja okumulaga ebizimbe bya yeekaalu. 2 N’abagamba nti: “Ebintu bino byonna temubiraba? Mazima mbagamba nti, tewali jjinja lirisigala ku linnaalyo; gonna galisuulibwa wansi.”+
3 Bwe yali atudde ku Lusozi olw’Emizeyituuni, abayigirizwa be ne bajja w’ali nga bali bokka ne bamugamba nti: “Tubuulire, ebintu ebyo biribaawo ddi, era kabonero ki akaliraga okubeerawo*+ kwo, n’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu?”*+
4 Yesu n’abagamba nti: “Mwekuume waleme kubaawo ababuzaabuza;+ 5 kubanga bangi balijjira mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze Kristo,’ era balibuzaabuza bangi.+ 6 Muliwulira entalo mu bifo ebitali bimu. Naye temutyanga kubanga ebintu ebyo birina okubaawo, naye enkomerero eriba ekyali.+
7 “Eggwanga lirirumba eggwanga, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka,+ era walibaawo enjala+ ne musisi mu bifo ebitali bimu.+ 8 Bino byonna ye ntandikwa y’obuyinike.*
9 “Abantu balibawaayo mubonyaabonyezebwe+ era balibatta,+ era mulikyayibwa amawanga gonna olw’erinnya lyange.+ 10 Ate era bangi balyesittala, baliryaŋŋanamu enkwe, era balikyawagana. 11 Bannabbi ab’obulimba bangi balijja era balikyamya bangi,+ 12 era olw’okweyongera kw’obujeemu, okwagala kw’abasinga obungi kuliwola. 13 Naye oyo agumiikiriza* okutuuka ku nkomerero y’alirokolebwa.+ 14 N’amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna,+ olwo enkomerero n’eryoka ejja.
15 “Kale, bwe mulabanga eky’omuzizo ekizikiriza, nnabbi Danyeri kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu+ (omusomi akozese okutegeera), 16 abo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi.+ 17 Oyo aliba waggulu ku nnyumba tavangayo okuggya ebintu mu nnyumba ye; 18 n’oyo aliba mu nnimiro taddangayo mu nnyumba ye okunona ekyambalo kye eky’okungulu. 19 Mu kiseera ekyo, zirisanga abakazi abaliba embuto n’abo abaliba bayonsa! 20 Musabe ekiseera kye muliddukiramu kireme kubaawo mu biseera bya butiti oba ku Ssabbiiti; 21 kubanga walibaawo ekibonyoobonyo ekinene+ ekitabangawo kasookedde ensi ebaawo, era tekiribaawo nate.+ 22 Mu butuufu, singa ennaku ezo tezaakendeezebwako, tewandibaddewo awonawo. Naye olw’abalonde, ennaku ezo zirikendeezebwako.+
23 “Ate era, omuntu yenna bw’abagambanga nti, ‘Laba! Kristo ali wano,’+ oba nti, ‘Ali wali,’ temukkirizanga.+ 24 Kubanga Bakristo ab’obulimba ne bannabbi ab’obulimba+ balijja, era balikola obubonero obw’amaanyi n’ebyewuunyisa okukyamya abantu,+ bwe kiba kisoboka bakyamye n’abalonde. 25 Laba! Mbalabudde. 26 N’olwekyo, abantu bwe babagambanga nti, ‘Laba! Ali mu ddungu,’ temugendangayo; ‘Laba! Ali mu kisenge eky’omunda,’ temukkirizanga.+ 27 Ng’okumyansa kw’eggulu bwe kubeera ebuvanjuba ne kulabikira ebugwanjuba, n’okubeerawo* kw’Omwana w’omuntu bwe kuliba.+ 28 Awaba ekifudde, empungu* we zikuŋŋaanira.+
29 “Amangu ddala ng’ekibonyoobonyo eky’omu nnaku ezo kiwedde, enjuba erijjako ekizikiza,+ omwezi tegulyaka, emmunyeenye ziriwanuka waggulu ne zigwa, n’amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.+ 30 Awo akabonero k’Omwana w’omuntu kalirabika ku ggulu; ebika byonna eby’oku nsi birikuba ebiwoobe+ era baliraba Omwana w’omuntu+ ng’ajjira ku bire eby’eggulu, n’amaanyi n’ekitiibwa kingi.+ 31 Ekkondeere lirivuga mu ddoboozi eddene, era alituma bamalayika be ne bakuŋŋaanya abalonde be okuva ku njuyi ennya;* okuva ku luuyi olumu olw’eggulu okutuuka ku lulala.+
32 “Mulabire ku mutiini muyige: Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera ne gassaako ebikoola, mumanya nti ekiseera eky’omusana kinaatera okutuuka.+ 33 Bwe kityo nammwe bwe mulabanga ebintu bino byonna, mumanyanga nti ali kumpi, ku luggi.+ 34 Mazima ddala mbagamba nti omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu bino byonna bimaze okubaawo. 35 Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo.+
36 “Naye eby’olunaku olwo n’ekiseera,* tewali abimanyi,+ ka babe bamalayika mu ggulu oba Omwana, wabula Kitange yekka.+ 37 Ng’ennaku za Nuuwa bwe zaali,+ n’okubeerawo* kw’Omwana w’omuntu bwe kutyo bwe kuliba.+ 38 Kubanga mu nnaku ezo ng’Amataba tegannajja, abantu baali balya, nga banywa, nga bawasa, era nga bafumbirwa, okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato,+ 39 era ne batafaayo okutuusa Amataba lwe gajja ne gabasaanyaawo bonna.+ N’okubeerawo kw’Omwana w’omuntu bwe kutyo bwe kuliba. 40 Awo abasajja babiri baliba mu nnimiro; omu alitwalibwa omulala alirekebwa. 41 Abakazi babiri baliba nga basa ku lubengo; omu alitwalibwa omulala alirekebwa.+ 42 N’olwekyo, mubeere bulindaala, kubanga temumanyi lunaku Mukama wammwe lw’alijjirako.+
43 “Mumanye kino: Singa nnyini nnyumba yali amanyi ekiseera omubbi kye yandijjiddemu,+ yandisigadde atunula n’ataganya nnyumba ye kumenyebwa.+ 44 N’olw’ensonga eyo, nammwe mubeerenga beetegefu+ kubanga Omwana w’omuntu ajjira mu kiseera* kye mutamusuubiriramu.
45 “Ddala omuddu omwesigwa era ow’amagezi y’ani, mukama we gwe yasigira ab’omu nju ye okubawanga emmere yaabwe mu kiseera ekituufu?+ 46 Omuddu oyo aba musanyufu mukama we bw’ajja n’amusanga ng’akola bw’atyo!+ 47 Mazima mbagamba nti alimusigira ebintu bye byonna.
48 “Naye singa omuddu aba mubi n’agamba mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange aluddeyo,’+ 49 n’atandika okukuba baddu banne, n’okulya era n’okunywa n’abatamiivu, 50 mukama w’omuddu oyo alijjira ku lunaku n’ekiseera ky’atamusuubiriramu,+ 51 era alimubonereza nnyo, n’amuteeka wamu ne bannanfuusi. Eyo gy’alikaabira era n’aluma obugigi.+