Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa eri Tito, Firemooni, n’Abaebbulaniya
NGA wayise ekiseera bukya ava mu kkomera e Ruumi mu 61 E.E., omutume Pawulo akyalira ekizinga ky’e Kuleete. Akiraba nti embeera y’eby’omwoyo mu bibiina byayo si nnungi, era alekayo Tito asobole okubanyweza. Oluvannyuma, oboolyawo ng’ali e Makedoni, Pawulo awandiika ebbaluwa ng’awa Tito obulagirizi era ng’alaga nti awagira omulimu gwe.
Emabegako, bwe yali anaatera okuva mu kkomera mu 61 E.E., Pawulo yawandiikira Firemooni Omukristaayo eyali abeera e Kkolosaayi. Yamuwandiikira nga mukwano gwe ng’alina ky’amusaba okukola.
Awo nga mu 61 E.E., Pawulo era yawandiika ebbaluwa eri bakkiriza banne Abebbulaniya mu Buyudaaya, n’alaga nti ensinza y’Ekikristaayo yali ya waggulu ku y’Ekiyudaaya. Ebiri mu bbaluwa ezo zonna essatu bituganyula.—Beb. 4:12.
MUBE BANYWEVU MU BY’OMWOYO
Bw’amala okumuwa obulagirizi ku ngeri ‘y’okulonda abakadde mu buli kibuga,’ Pawulo agamba Tito ‘okunenya ennyo’ abo abatawulira “basobole okuba abalamu mu kukkiriza.” Akubiriza bonna ab’omu bibiina by’e Kuleete “okwewala obutatya Katonda . . . n’okubeera n’endowooza ennuŋŋamu.”—Tito 1:5, 10-13; 2:12, NW.
Pawulo era abuulirira ab’oluganda mu Kuleete okuba abanywevu mu by’omwoyo. Alagira Tito ‘okwewala empaka ez’obusiru n’okuwakanira ebikwata ku mateeka.’—Tito 3:9.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:15—Mu ngeri ki ‘ebintu byonna’ gye biri ‘ebirongoofu eri abalongoofu,’ ate nga si birongoofu eri ‘abagwagwa n’abatakkiriza’? Okutegeera ‘ebintu byonna’ Pawulo bye yali ayogerako kituyamba okufuna eky’okuddamu. Yali ayogera ku bintu buli mukkiriza by’alina okwesalirawo okusinziira ku muntu we ow’omunda, so si ebyo Baibuli by’evumirira. Eri omuntu alina endowooza ng’eya Katonda, ebintu ng’ebyo biba birongoofu. Ate eri eyo alina endowooza enkyamu, tebiba birongoofu.a
3:5—Mu ngeri ki Abakristaayo abaafukibwako amafuta gye ‘balokolebwa olw’okunaazibwa,’ era gye ‘bafuulibwa baggya mu mwoyo omutukuvu’? ‘Balokolebwa olw’okunaazibwa’ mu ngeri nti Katonda yabanaaza n’omusaayi gwa Yesu ogw’ekinunulo. ‘Bafuulibwa abaggya mu mwoyo omutukuvu’ olw’okuba bafuuka ‘kitonde kiggya,’ ng’abaana ba Katonda abazaalibwa omwoyo.—2 Kol. 5:17.
Bye Tuyigamu:
1:10-13; 2:15. Abakadde balina okulaga obuvumu nga batereeza ebiba bikyamye mu kibiina.
2:3-5. Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, bannyinaffe abakuze mu by’omwoyo basaanidde okuba ‘abawombeefu, abatawaayiriza, abatafugibwa mwenge, era abayigiriza ebirungi.’ Mu ngeri eyo, baba basobola bulungi okuyamba “abakazi abato” mu kibiina.
3:8, 14. Okussa “omwoyo ku bikolwa ebirungi” kintu ‘kirungi era kigasa’ kubanga kituyamba okubala ebibala mu buweereza bwaffe eri Katonda n’obutatwalirizibwa ensi eno embi.
AKUBIRIZA ‘NG’ASINZIIRA KU KWAGALA’
Firemooni asiimibwa olw’okuteekawo ekyokulabirako ekirungi mu ‘kwagala n’okukkiriza.’ Eky’okuba nti azzaamu nnyo Bakristaayo banne amaanyi kiwa Pawulo ‘essanyu lingi n’okubudaabudibwa.’—Fir. 4, 5, 7, NW.
Mu kifo ky’okulagira obulagizi, Pawulo agonjoola ensonga ezikwata ku Onnessimo ‘ng’asinziira ku kwagala,’ bw’atyo n’ateerawo abalabirizi bonna ekyokulabirako. Agamba Firemooni nti: “Nkwesiga olw’obuwulize bwo, nga nkimanyi nti ojja kukola n’ekisingawo ku bye ŋŋambye.”—Fir. 8, 9, 21, NW.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
10, 11, 18—Mu ngeri ki Onnessimo ‘ataali wa mugaso’ gye yafuuka ‘ow’omugaso’? Onnessimo yali muddu mu maka ga Firemooni e Kkolosaayi naye n’addukira e Ruumi. Kirabika, Onnessimo yabba mukama we okusobola okufuna ssente ezaamutambuza olugendo olwo olwa mayiro 900. Ddala teyalina mugaso gwonna eri Firemooni. Kyokka, Onnessimo bwe yali e Ruumi, Pawulo yamuyamba okufuuka Omukristaayo. Bwe yafuuka ow’oluganda, omusajja ono omuddu ‘ataali wa mugaso’ yafuuka ‘wa mugaso.’
15, 16—Lwaki Pawulo teyasaba Firemooni kuta Onnessimo kuva mu buddu? Pawulo yali ayagala kwewala kintu kyonna ekitakwatagana na mulimu gwe ‘ogw’okubuulira obwakabaka bwa Katonda n’okuyigiriza ebigambo bya Mukama waffe Yesu Kristo.’ N’olwekyo, yasalawo obuteeyingiza mu nkaayana za bantu, gamba ng’ezo ezikwata ku baddu.—Bik. 28:31.
Bye Tuyigamu:
2. Firemooni yakkiriza enkuŋŋaana z’Ekikristaayo okubeera mu maka ge. Nkizo ya maanyi okuba n’olukuŋŋaana olw’okugenda mu nnimiro mu maka gaffe.—Bar. 16:5; Bak. 4:15.
4-7. Tusaanidde okusiima bakkiriza bannaffe abateekawo ekyokulabirako mu kwagala n’okukkiriza.
15, 16. Ebizibu bye tufuna mu bulamu tebisaanidde kutweraliikiriza kisusse. Oluusi muvaamu ebirungi, nga bwe kyali ku Onnessimo.
21. Pawulo yali amanyi nti Firemooni ajja kusonyiwa Onnessimo. Naffe tusaanidde okusonyiwa ow’oluganda aba atunyiizizza.—Mat. 6:14.
‘MUFUBE OKUKULA’
Ng’alaga nti okukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu kisingira wala nnyo okukola ebikolwa by’Amateeka, Pawulo ayogera ku bukulu bw’oyo Eyatandikawo Obukristaayo, obwakabona bwe, ssaddaaka ye, n’endagaano empya. (Beb. 3:1-3; 7:1-3, 22; 8:6; 9:11-14, 25, 26) Okumanya bino byonna kirina okuba nga kyayamba nnyo Abakristaayo Abaebbulaniya okuguma nga bayigganyizibwa Abayudaaya. Pawulo akubiriza bakkiriza banne Abebbulaniya ‘okufuba okukula’ mu by’omwoyo.—Beb. 6:1, NW.
Eri Abakristaayo, okuba n’okukkiriza kikulu kwenkana wa? Pawulo agamba nti, ‘awatali kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa Katonda.’ Akubiriza Abebbulaniya nti: ‘Tuddukenga n’okugumiikiriza okuwakana okuteekeddwa mu maaso gaffe,’ nga kino kikolebwa mu kukkiriza.—Beb. 11:6; 12:1.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
2:14, 15—Eky’okuba nti Setaani ‘alina amaanyi g’okufa’ kitegeeza nti asobola okutta buli gw’ayagala? Nedda. Naye, okuva Setaani lwe yajeemera Katonda mu Adeni, obulimba bwe bwaleeta okufa kubanga Adamu yayonoona, bw’atyo n’aleetera olulyo lw’omuntu ekibi n’okufa. (Bar. 5:12) Ate era, Setaani akozesa abantu okuyigganya abaweereza ba Katonda, oluusi ne batuuka n’okubatta, nga bwe baakola Yesu. Naye, ekyo tekitegeeza nti Setaani alina obuyinza okutta buli gw’ayagala. Singa kyali kityo, yandibadde yamalawo dda abaweereza ba Yakuwa bonna. Yakuwa akuuma abantu be ng’ekibiina era taganya Setaani kubasaanyaawo. Wadde amuleka n’atta abamu ku bo, tukimanyi bulungi nti Katonda ajja kumalawo ebyo byonna Setaani by’atutuusaako.
4:9-11—Mu ngeri ki gye ‘tuyingira mu kiwummulo kya Katonda’? Oluvannyuma lw’ennaku mukaaga ng’atonda ebintu, Katonda yawummula, ng’amanyi nti ekigendererwa kye eri ensi n’abantu kijja kutuukirira. (Lub. 1:28; 2:2, 3) Naffe ‘tuyingira mu kiwummulo kye’ bwe tukkiririza mu ssaddaaka Katonda gye yateekawo okutununula, mu kifo ky’okukola ffe bye tulowooza nti bye binaatutuusa ku bulokozi. Mu kifo ky’okwekolera bye twagala, bwe tukukkiriza mu Yakuwa era ne tugondera Omwana we tufuna emikisa gye buli lunaku ne gituwa ekiwummulo.—Mat. 11:28-30.
9:16—Ani ‘yalagaana’ endagaano empya? Yakuwa ye yakola endagaano empya, ate Yesu Kristo ye ‘yalagaana’ endagaano eyo. Yesu ye Mutabaganya w’endagaano eyo, era bwe yafa, yawaayo ssaddaaka eyali yeetaagisa okugitongoza.—Luk. 22:20; Beb. 9:15.
11:10, 13-16—‘Kibuga’ ki Ibulayimu kye yali alindirira? Ekibuga ekyo kyali kya kabonero. Ibulayimu yali alindirira “Yerusaalemi eky’omu ggulu”—Kristo Yesu ne 144,000 b’afuga nabo. Abafuga ne Yesu bano, nga bali mu kitiibwa kyabwe mu ggulu, era boogerwako ‘ng’ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi ekiggya.’ (Beb. 12:22; Kub. 14:1; 21:2) Ibulayimu yali alindirira okubeera mu bufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda.
12:2—‘Essanyu eryateekebwa mu maaso ga Yesu n’agumira omuti ogw’okubonaabona’ lye liruwa? Lye ssanyu ery’okumanya ebyandivudde mu buweereza bwe—omuli okutukuza erinnya lya Yakuwa, okulaga nti Katonda ye yekka agwanidde okufuga, n’okununula olulyo lw’omuntu okuva mu kufa. Yesu era yali yeesunga empeera ey’okufuga nga Kabaka n’okuweereza nga Kabona Asinga Obukulu ku lw’obulungi bw’abantu.
13:20—Lwaki endagaano empya eyogerwako ‘ng’ey’olubeerera’? Lwa nsonga ssatu: (1) Tewali ndala egenda kudda mu kifo kyayo, (2) ebigivaamu bya lubeerera, era (3) ‘ab’endiga endala’ bajja kwongera okuganyulwa mu ndagaano eyo empya nga Kalumagedoni awedde.—Yok. 10:16.
Bye Tuyigamu:
5:14. Tusaanidde okusoma ennyo Ekigambo kya Katonda, Baibuli, n’okutambulira ku ebyo bye tukiyigamu. Eyo ye ngeri yokka gye tusobola ‘okuyiga okukozesa amagezi gaffe okwawula ekirungi n’ekibi.’—1 Kol. 2:10.
6:17-19. Bwe tuba tukkiririza mu ebyo Katonda bye yasuubiza era bye yalayira okukola, tetujja kuwuguka kuva ku kkubo ery’amazima.
12:3, 4. Mu kifo ‘ky’okukoowa ne tuddirira mu mmeeme zaffe’ nga twolekaganye n’ebizibu ebitonotono, twandikitutte ng’akakisa ak’okukula mu by’omwoyo n’okuyiga okugumira ebizibu ebisingawo okuba eby’amaanyi. Tulina okuba abeetegefu okugumiikiriza “okutuusa ku musaayi,” kwe kugamba, okutuusa okufa.—Beb. 10:36-39.
12:13-15 (NW). Tetulina kuleka ‘kikolo kya busagwa,’ oba omuntu yenna anoonya ensobi ku ngeri buli kintu gye kikolebwamu mu kibiina, kutulemesa ‘kutereeza makubo ga bigere byaffe.’
12:26-28. Ebintu “ebyakolebwa” emikono egitali gya Katonda—enteekateeka y’ebintu eno yonna, wamu “n’eggulu” ery’ababi—bijja kukankanyizibwa bisaanewo. Ekyo bwe kinaabaawo, ebyo byokka “ebitakankanyizibwa”—Obwakabaka n’abo ababuwagira—bye bijja okusigalawo. Nga kikulu nnyo okulangirira Obwakabaka n’obunyiikivu n’okutambulira ku mitindo gyabwo!
13:7, 17. Bwe tufuba okukolera ku kubuulirira kuno ne tuba bawulirize eri abakadde mu kibiina, kituyamba okukolera awamu nabo.
[[Obugambo obuli wansi]