Abebbulaniya
13 Mweyongere okwagalana ng’ab’oluganda.+ 2 Temwerabiranga kusembeza bagenyi,*+ kubanga abamu abaakola batyo baasembeza bamalayika nga tebamanyi.+ 3 Mujjukirenga abaasibibwa mu kkomera,+ nga mulinga abasibiddwa nabo.+ Era mujjukire n’abo abayisibwa obubi kubanga nammwe mukyali mu mubiri.* 4 Obufumbo bubeerenga bwa kitiibwa eri bonna, era ekitanda ky’abafumbo kibeerenga kirongoofu,+ kubanga abagwenyufu* n’abenzi Katonda ajja kubasalira omusango.+ 5 Temubeeranga na mpisa ya kwagala ssente,+ naye mubeerenga bamativu ne bye mulina.+ Kubanga yagamba nti: “Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.”+ 6 N’olwekyo, ka tubeere bagumu tugambe nti: “Yakuwa* ye muyambi wange; Siityenga. Omuntu ayinza kunkola ki?”+
7 Mujjukirenga abo ababakulembera,+ abababuulidde ekigambo kya Katonda; era nga mutunuulira ebiva mu mpisa zaabwe, mukoppe okukkiriza kwabwe.+
8 Yesu Kristo y’omu leero, ne jjo, n’emirembe n’emirembe.
9 Temutwalirizibwa njigiriza ezitali zimu era ezitali za bulijjo; kubanga kiba kirungi omutima okunywezebwa ekisa kya Katonda eky’ensusso, so si eby’okulya,* ebitaganyula abo ababyemalirako.+
10 Ekyoto kye tulina, abo abakola emirimu egy’obuweereza obutukuvu mu weema tebakkirizibwa kulya bikiriko.+ 11 Ennyama y’ebisolo ebiggibwamu omusaayi kabona asinga obukulu n’agutwala mu kifo ekitukuvu ng’ekiweebwayo olw’ekibi, eyokerwa bweru wa lusiisira.+ 12 Bwe kityo, ne Yesu yabonaabonera ebweru w’omulyango gw’ekibuga+ asobole okutukuza abantu n’omusaayi gwe.+ 13 N’olwekyo, ka tugende gy’ali ebweru w’olusiisira nga twetisse ekivume kye yeetikka,+ 14 kubanga wano tetulinaawo kibuga kya lubeerera, naye tunoonya n’obunyiikivu ekyo ekigenda okujja.+ 15 Okuyitira mu ye, ka tuwengayo eri Katonda ssaddaaka ey’okutendereza,+ kwe kugamba, ekibala eky’emimwa+ egirangirira mu lujjudde erinnya lye.+ 16 Ate era, temwerabiranga kukola birungi n’okugabana n’abalala bye mulina,+ kubanga ssaddaaka ng’ezo zisanyusa Katonda.+
17 Muwulirenga abo ababakulembera+ era mubagonderenga,+ kubanga batunula ku lwammwe ng’abo abaliwoza;+ kino balyoke bakikole n’essanyu so si na kusinda, kubanga ekyo kiba kya kabi gye muli.
18 Mutusabirenga kubanga tumanyi nti tulina omuntu ow’omunda omuyonjo,* era twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.+ 19 Naye okusingira ddala mbakubiriza okutusabira nsobole okukomawo amangu gye muli.
20 Kale Katonda ow’emirembe eyazuukiza omusumba w’endiga omukulu,+ Mukama waffe Yesu, ng’alina omusaayi ogw’endagaano ey’olubeerera, 21 abawe buli kintu ekirungi musobole okukola by’ayagala, ng’akolera mu ffe ekyo ekisanyusa mu maaso ge okuyitira mu Yesu Kristo; oyo aweebwe ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.
22 Kaakano mbakubiriza ab’oluganda mubeere bagumiikiriza nga muwuliriza ebigambo bino ebizzaamu amaanyi, kubanga mbawandiikidde ebbaluwa nnyimpi. 23 Mbategeeza nti muganda waffe Timoseewo yasumululwa, era bw’anajja amangu nja kujja naye okubalaba.
24 Munnamusize abo bonna ababakulembera era n’abatukuvu bonna. Abo abali mu Yitale+ babalamusizza.
25 Ekisa eky’ensusso kibeere nammwe mmwenna.