Wali Olidde ku Mugaati ogw’Obulamu?
WALIWO abalambuzi abaagenda okulambula ebifo eby’ebyafaayo mu kibuga Besirekemu. Enjala bwe yabaluma, baagenda mu kawooteeri ne balya emmere eyitibwa falafel. Emmere eno guba mugaati gwe baliirako kawo, ennyaanya, obutungulu, n’enva endala endiirwa. Bwe baamala okulya baafuna amaanyi ne beeyongera okulambula.
Omugaati abalambuzi abo gwe baalya gwava dda nga gufumbibwa mu kibuga Besirekemu. Erinnya Besirekemu litegeeza “Ennyumba ey’Emigaati,” era emigaati gibadde gifumbibwa mu kibuga ekyo okumala enkumi n’enkumi z’emyaka. (Luusi 1:22; 2:14) Ogumu ku migaati egisinga okuliibwa mu Besirekemu guyitibwa pita bread.
Emyaka ng’enkumi nnya emabega, mu bukiikaddyo bw’ekibuga Besirekemu, Saala mukyala wa Ibulayimu, yafumba “emigaati” gye baawa abagenyi abasatu abaali babakyalidde. (Olubereberye 18:6, NW) Obuwunga Saala bwe yakolamu emigaati buyinza okuba nga bwali bwa ŋŋaano eyitibwa emmer oba nga bwa ssayiri. Saala yafumba emigaati egyo mu bwangu era kirabika yakozesa amayinja agookya.—1 Bassekabaka 19:6.
Ekyo kiraga nti mu maka ga Ibulayimu beefumbiranga emigaati. Olw’okuba baatambulanga okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala, kirabika Saala n’abazaana be tebaalina byoto birungi bya kufumbirako migaati ng’ebyo ebyakozesebwanga mu kibuga Uli, Saala gye yasooka okubeera. Kirabika gwabanga mulimu gwa maanyi okufuna obuwunga obulungi kubanga baalinanga okusa eŋŋaano ku lubengo oba okugisekula mu kinu.
Nga wayiseewo ebyasa bina, Amateeka Katonda ge yawa Abaisiraeri gaali tegakkiriza muntu kutwala lubengo lwa munne okuba omusingo olw’ekyo kye yabanga amuwola, kubanga yandibadde ng’atutte “obulamu bw’omuntu.” (Ekyamateeka 24:6) Olubengo Katonda yalutwalanga nga lwa muwendo nnyo, kubanga ab’omu maka bwe bataabanga nalwo, baabanga tebasobola kukola migaati ate nga ye yabanga emmere yaabwe eya buli lunaku.—Laba akasanduuko “Engeri Emigaati Gye Gyafumbibwangamu mu Biseera eby’Edda.”
OMUGAATI OGUWA ABANTU AMAANYI
Bayibuli eyogera ku migaati emirundi mingi era emirundi egimu abawandiisi ba Bayibuli baakozesanga ekigambo “omugaati” nga bategeeza mmere. Yesu yatukubiriza okusaba Katonda nti: “Otuwe emmere yaffe eya leero.” (Matayo 6:11) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “emmere” mu kyawandiikibwa ekyo kitegeeza omugaati, era Yesu yali alaga nti tusaanidde okuba abakakafu nti buli lunaku Katonda ajja kutuwa bye twetaaga.—Zabbuli 37:25.
Naye, waliwo ekintu eky’omugaso ennyo okusinga omugaati oba emmere. Yesu yagamba nti:“Omuntu taba mulamu na mmere yokka, naye na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.” (Matayo 4:4) Ebigambo ebyo byali byayogerwako mu kiseera Katonda we yaweeranga Abaisiraeri buli kimu kye baali beetaaga. Ekyo kyaliwo ng’Abaisiraeri baakava e Misiri. Baali baakamala omwezi nga gumu mu ddungu Sinaayi, era ng’emmere gye baava nayo e Misiri eneetera okuggwaawo. Baatya nti baali bagenda kufiira mu ddungu olw’enjala era baatandika okwemulugunya nga bagamba nti: “Twali tulya emmere [emigaati] nga tukkuta” e Misiri.—Okuva 16:1-3.
Kyo kituufu nti emigaati gye baalyanga e Misiri gyali giwooma nnyo kubanga gyafumbibwanga abafumbi b’emigaati abakugu. Naye Yakuwa yali tasobola kuleka bantu be kufa njala. Yabasuubiza nti:“Laba, nditonnyesa emmere [emigaati] okuva mu ggulu ku lwammwe.” Eky’okulya ekyo kyava mu ggulu era Abaisiraeri baakiraba ku makya. Kyalinga obuweke bw’omuzira era nga kifaanana olufu. Olwakiraba, beebuuza nti: “Kiki kino?” Musa yabagamba nti “Eyo y’emmere Mukama gy’abawadde okulya.” Abaisiraeri bagituuma “emmaanu”a era gye baalya okumala emyaka 40 gye baamala mu ddungu.—Okuva 16:4, 13-15, 31.
Abaisiraeri bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo bwe baalaba emmaanu. Yali ‘ewoomerera ng’emigaati egiriko omubisi gw’enjuki’ era buli omu yafunanga emumala. (Okuva 16:18) Naye ekiseera bwe kyayitawo, Abaisiraeri baatandika okulowooza ku mmere ey’ebika eby’enjawulo gye baalyanga nga bakyali e Misiri. Beemulugunya nga bagamba nti: “Amaaso gaffe tegalina kirala kye galaba okuggyako emmaanu.” (Okubala 11:6, NW) Baatuuka n’okugamba nti: “Twetamiddwa emmere eno enyoomebwa.” (Okubala 21:5, NW) Kyewuunyisa nnyo nti Abaisiraeri beetamwa “emmere ey’omu ggulu.”—Zabbuli 105:40.
OMUGAATI OGW’OBULAMU
Okufaananako ebintu ebirala, omugaati guyinza okutwalibwa ng’ekintu ekitali kikulu. Naye Bayibuli eyogera ku mugaati ogw’enjawulo omuntu yenna gw’atasaanidde kunyooma. Omugaati guno Yesu gwe yageraageranya ku mmaanu Abaisiraeri gye baanyooma, gusobozesa omuntu okufuna obulamu obutaggwaawo.
Yesu yagamba abaali bamuwuliriza nti: ‘Nze mugaati ogw’obulamu. Bajjajjammwe baalya emmaanu mu ddungu naye ne bafa. Guno gwe mugaati oguva mu ggulu, buli muntu yenna agulyako aleme okufa. Nze mugaati omulamu ogwava mu ggulu; era omuntu yenna bw’alya ku mugaati guno ajja kubeerawo emirembe gyonna; omugaati gwe nnaagaba ku lw’obulamu bw’ensi gwe mubiri gwange.’—Yokaana 6:48-51.
Bangi ku abo abaali bawuliriza Yesu tebaakitegeera nti ebigambo “omugaati” ne “omubiri” bye yakozesa byali bya kabonero. Naye, ebigambo ebyo byali bituukirawo. Emigaati gyabeesangawo Abayudaaya ng’emmaanu bwe yabeesaawo Abaisiraeri okumala emyaka 40 mu ddungu. Wadde ng’emmaanu yava eri Katonda, yali tesobola kuyamba bantu kufuna bulamu obutaggwaawo. Naye yo ssaddaaka ya Yesu esobozesa abo abamukkiririzaamu okufuna obulamu obutaggwaawo. Mazima ddala Yesu gwe ‘mugaati ogw’obulamu.’
Bw’ofumba caayi, oboolyawo oyinza okuliirako omugaati. Era osaanidde okwebaza Katonda olw’okukuwa “omugaati” oba emmere buli lunaku. (Matayo 6:11, The New English Bible) Wadde nga tuwoomerwa nnyo emigaati, tetusaanidde kwerabira Yesu Kristo, ‘omugaati ogw’obulamu.’
Obutafaananako Baisiraeri, tuyinza tutya okulaga nti tusiima omugaati ogw’obulamu? Yesu yagamba nti: “Bwe muba munjagala, mujja kukwata ebiragiro byange.” (Yokaana 14:15) Bwe tunaakwata ebiragiro bya Yesu, tujja kufuna emikisa mingi awamu n’obulamu obutaggwaawo.—Ekyamateeka 12:7.
a Ekigambo “emmaanu” kirabika kiva mu bigambo by’Olwebbulaniya “man hu’?” ebitegeeza, “kiki kino?”