Abaruumi
12 N’olwekyo ab’oluganda, mbeegayirira olw’obusaasizi bwa Katonda, okuwaayo emibiri gyammwe+ nga ssaddaaka ennamu, entukuvu,+ era esiimibwa Katonda, musobole okutuukiriza obuweereza obutukuvu nga mukozesa obusobozi bwammwe obw’okulowooza.+ 2 Mulekere awo okutwalirizibwa enteekateeka y’ebintu eno,* naye mukyusibwe nga mufuna endowooza empya,+ mulyoke mwekakasize+ ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.
3 Okuyitira mu kisa eky’ensusso ekyandagibwa, ntegeeza buli omu ku mmwe obuteetwala nti wa waggulu nnyo,+ naye alage nti alina endowooza ennuŋŋamu, okusinziira ku kukkiriza Katonda kw’amuwadde.+ 4 Kubanga nga bwe tulina ebitundu ebingi ku mubiri ogumu,+ naye nga tebikola mulimu gwe gumu, 5 era naffe wadde tuli bangi, tuli omubiri gumu mu Kristo, naye kinnoomu tuli bitundu bya mubiri, nga buli kimu kyetaaga kinnaakyo.+ 6 Kale, okuva bwe tulina ebirabo eby’enjawulo okusinziira ku kisa eky’ensusso ekyatulagibwa,+ bwe kiba kirabo kya kwogera bya bunnabbi, ka twogere eby’obunnabbi okusinziira ku kukkiriza okwatuweebwa; 7 bwe kuba kuweereza, ka tweyongere okuweereza; oyo ayigiriza yeeyongere okuyigiriza;+ 8 oyo azzaamu abalala amaanyi* yeeyongere okubazzaamu amaanyi;*+ oyo agaba agabenga n’omutima gumu;+ oyo awa obulagirizi* abuwenga n’obunyiikivu;+ oyo asaasira asaasirenga n’omutima gwonna.+
9 Okwagala kwammwe ka kulemenga kuba kwa bunnanfuusi.+ Mukyawe ebintu ebibi,+ munywerere ku birungi. 10 Mu kwagalana ng’ab’oluganda, buli omu ayagalenga nnyo munne. Mu kuwaŋŋana ekitiibwa mmwe muba musooka.+ 11 Temuba bagayaavu,+ wabula mubeerenga bakozi nnyo.* Omwoyo ka gubaleetere okuba abanyiikivu.+ Muweereze Yakuwa* ng’abaddu.+ 12 Musanyukenga olw’essuubi lye mulina. Mugumiikirizenga nga mubonaabona.+ Munyiikirenga okusaba.+ 13 Mugabanenga bye mulina n’abatukuvu ng’obwetaavu bwabwe bwe buli.+ Musembezenga abagenyi.+ 14 Abo ababayigganya mubasabirenga emikisa;+ musabirenga abalala emikisa era temukolimanga.+ 15 Musanyuke n’abo abasanyuka; mukaabire wamu n’abo abakaaba. 16 Mufe ku balala nga bwe mwefaako; temwegulumizanga, naye mubeerenga beetoowaze.+ Temwetwalanga kuba ba magezi.+
17 Temukolanga muntu n’omu kibi olw’okuba abakoze ekibi.+ Mufeeyo ku bintu abantu bonna bye balaba nti bye bisaana. 18 Mukolenga kyonna kye musobola okuba mu mirembe n’abantu bonna.+ 19 Abaagalwa, temuwooleranga ggwanga, naye muleke Katonda y’aba ayoleka obusungu bwe+ kubanga kyawandiikibwa nti: “‘Okuwoolera eggwanga kwange; nze ndisasula,’ Yakuwa bw’agamba.”*+ 20 Naye, “omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe eky’okulya; bw’aba alumwa ennyonta muwe eky’okunywa; kubanga bw’okola bw’otyo ojja kuba otuuma amanda agaaka ku mutwe gwe.”*+ 21 Tokkirizanga kuwangulwa bintu bibi, naye wangulanga ebintu ebibi ng’okola ebirungi.+