Abaweereza ba Katonda Be Baani Leero?
“Ffe okubeera abantu abalina ebisaanyizo kiva eri Katonda, atusobozesezza okufuna ebisaanyizo eby’okubeera abaweereza b’endagaano empya.” —2 ABAKKOLINSO 3:5, 6, NW.
1, 2. Abakristaayo bonna ab’omu kyasa ekyasooka baalina buvunaanyizibwa ki, naye ebintu byakyuka bitya?
MU KYASA ekyasooka mu Mbala Eriwo, Abakristaayo bonna beenyigira mu buvunaanyizibwa obukulu ennyo—omulimu ogw’okubuulira amawulire amalungi. Bonna baali baafukibwako amafuta era baali baweereza b’endagaano empya. Abamu baalina obuvunaanyizibwa obulala, gamba ng’okuyigiriza mu kibiina. (1 Abakkolinso 12:27-29; Abaefeso 4:11) Abazadde baalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu maka. (Abakkolosaayi 3:18-21) Naye bonna beenyigira mu mulimu omukulu ennyo ogw’okubuulira. Mu Luyonaani olwasooka olw’Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo, obuvunaanyizibwa buno bwali di·a·ko·niʹa—obuweereza.—Abakkolosaayi 4:17.
2 Ebiseera bwe byagenda biyitawo, ebintu byakyuka. Ekibiina ky’abakadde b’ekanisa, abeesigaliza enkizo ey’okubuulira, kyagunjibwawo. (Ebikolwa 20:30) Abakadde b’ekanisa baali batono nnyo bw’obageraageranya n’abalala abaali beeyita Abakristaayo. Wadde abalala abataali bakadde b’ekkanisa bayigiriziddwa nti balina obuvunaanyizibwa obumu, nga mw’otwalidde n’okubaako kye bawaayo okusobola okulabirira abakadde b’ekanisa, bangi ku bo bafuuse bawulizi buwulizi ku nsonga ezikwata ku kubuulira.
3, 4. (a) Mu Kristendomu abantu bafuuka batya abaweereza? (b) Ani atwalibwa ng’omuweereza mu Kristendomu, naye lwaki ebintu bya njawulo mu Bajulirwa ba Yakuwa?
3 Abakadde b’ekanisa beetwala okuba abaweereza (di·aʹko·nos ekiva mu kigambo ky’Oluyonaani, omuweereza).a Okusobola okufuuka abaweereza, bafuna amabaluwa ag’obuyigirize okuva mu matendekero oba mu sseminaariyo era ne batongozebwa. The International Standard Bible Encyclopedia kigamba: “‘Okutongoza’ kitegeeza obukulu obw’enjawulo obuweebwa abaweereza oba bakabona okuyitira ku mikolo emitongole, ng’essira lissibwa ku buyinza obw’okulangirira Ekigambo oba okuwa amasaakalamentu, oba byombi.” Ani atongoza abaweereza? The New Encyclopædia Britannica egamba: “Mu makanisa agakyakozesa ekigambo bisopu, omuweereza atongoza abeera bisopu. Mu makanisa g’Abapresibitaliyani, okutongozebwa kukolebwa abaweereza abali ku kakiiko akafuzi ak’amakanisa g’abapresibitaliyani.”
4 Bwe kityo, mu makanisa ga Kristendomu, enkizo ey’okubeera omuweereza eriko ekkomo lya maanyi. Kyokka, kino si bwe kiri mu Bajulirwa ba Yakuwa. Lwaki nedda? Kubanga si bwe kyali mu kibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka.
Ddala Abaweereza ba Katonda Be Baani?
5. Okusinziira ku Baibuli, abaweereza bazingiramu ani?
5 Okusinziira ku Baibuli, abasinza ba Yakuwa bonna—abali mu ggulu n’ab’oku nsi—baweereza. Bamalayika baaweereza Yesu. (Matayo 4:11; 26:53; Lukka 22:43) Bamalayika era ‘baweereza abo abagenda okusikira obulokozi.’ (Abaebbulaniya 1:14; Matayo 18:10) Yesu yali muweereza. Yagamba: ‘Omwana w’omuntu teyajja kuweerezebwa, naye okuweereza.’ (Matayo 20:28; Abaruumi 15:8) N’olwekyo, okuva abagoberezi ba Yesu bwe baali ‘ab’okutambuliranga mu bigere bye,’ tekyewuunyisa nti nabo bateekwa okubeera abaweereza.—1 Peetero 2:21.
6. Yesu yakiraga atya nti abayigirizwa be basaanidde okubeera abaweereza?
6 Ng’ebulayo akaseera katono alinnye mu ggulu, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’[O]mwana n’[O]mwoyo Omutukuvu; nga mu bayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe.” (Matayo 28:19, 20) Abayigirizwa ba Yesu baali baakufuula abalala abayigirizwa—baali baweereza. Abayigirizwa abappya bandiyize okukwata ebintu byonna Yesu bye yalagira, nga mw’otwalidde n’ekiragiro ky’okugenda okufuula abayigirizwa. Omusajja oba omukazi, omukulu oba omuto, omuyigirizwa wa Yesu Kristo ow’amazima yandibadde muweereza.—Yoweeri 2:28, 29.
7, 8. (a) Byawandiikibwa ki ebiraga nti Abakristaayo bonna ab’amazima baweereza? (b) Bibuuzo ki ebibuuzibwa ku kutongozebwa?
7 Nga kikwatagana n’ekyo, ku lunaku lwa Pentekooti 33 C.E., abayigirizwa ba Yesu bonna abaaliwo, abasajja n’abakazi, baayogera ‘ebintu eby’ekitalo ebya Katonda.’ (Ebikolwa 2:1-11) Okwongereza ku ekyo, omutume Pawulo yawandiika: “Omuntu akkiriza na mutima okuweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa okulokoka.” (Abaruumi 10:10) Pawulo teyayogera bigambo ebyo eri ekibiina ky’abakadde b’ekkanisa ekitono, naye “eri bonna abaali mu Ruumi, abaagalwa Katonda.” (Abaruumi 1:1, 7) Mu ngeri y’emu, bonna ‘abatukuvu mu Efeso n’abakkiriza mu Kristo Yesu ‘okweteekateeka kwabwe kwali kwa kubeera ng’abananise mu bigere byabwe engatto nga bagenda okubuulira amawulire amalungi ag’emirembe.’ (Abaefeso 1:1; 6:15) Era abo bonna abaawulira ebbaluwa eyawandiikibwa eri Abebbulaniya baali ‘baakunyweza essuubi lyabwe awatali kusagaasagana.’—Abaebbulaniya 10:23.
8 Naye, ddi omuntu lw’afuuka omuweereza? Kwe kugamba, ddi lw’atongozebwa? Era ani amutongoza?
Okutongozebwa ng’Omuweereza—Ddi?
9. Yesu yatongozebwa ddi, era ani yamutongoza?
9 Ku kiseera eky’okutongoza omuntu ne ani amutongoza, lowooza ku kyokulabirako kya Yesu Kristo. Teyalina bbaluwa yonna emutongoza oba diguli okuva mu sseminaariyo okukakasa nti yali muweereza, era teyatongozebwa muntu yenna. Kati lwaki tuyinza okugamba nti, yali muweereza? Kubanga ebigambo bya Isaaya ebyaluŋŋamizibwa byatuukirizibwa ku ye: ‘Omwoyo gwa Yakuwa Katonda guli ku nze, kubanga anfuseeko amafuta okubuulira amawulire amalungi.’ (Lukka 4:17-19; Isaaya 61:1) Ebigambo ebyo bimalawo okubuusabuusa kwonna nti Yesu yaweebwa omulimu ogw’okubuulira amawulire amalungi. Ani yagumuwa? Okuva omwoyo gwa Yakuwa bwe gwa mufukako amafuta okukola omulimu ogwo, kitegeerekeka bulungi nti Yesu yatongozebwa Yakuwa Katonda. Kino kyaliwo ddi? Omwoyo gwa Yakuwa gwajja ku Yesu lwe yabatizibwa. (Lukka 3:21, 22) N’olwekyo, yatongozebwa lwe yabatizibwa.
10. Ani afuula omuweereza Omukristaayo okuba ‘alina ebisaanyizo’?
10 Naye ate abagoberezi ba Yesu ab’omu kyasa ekyasooka? Ekifo kye baalina nga abaweereza kyava eri Yakuwa. Pawulo yagamba: “Ffe okubeera abantu abalina ebisaanyizo kiva eri Katonda, atusobozesa okufuna ebisaanyizo eby’okubeera abaweereza b’endagaano empya.” (2 Abakkolinso 3:5, 6, NW) Yakuwa asobozesa atya abamusinza okufuna ebisaanyizo eby’okubeera abaweereza? Lowooza ku kyokulabirako kya Timoseewo, Pawulo gwe yayita “omuweereza wa Katonda mu njiri ya Kristo.”—1 Abasessaloniika 3:2.
11, 12. Timoseewo yakulaakulana atya okutuuka okubeera omuweereza?
11 Ebigambo ebiddirira ebyabuulirwa Timoseewo bituyamba okutegeera engeri gye yafuukamu omuweereza: “Naye ggwe weeyongerenga mu ebyo bye wayiga era bye wasendebwasendebwa okukkiriza, ng’omanyi abaakuyigiriza bwe baali era ng’okuva mu buto wamanyanga ebyawandiikibwa ebitukuvu ebiyinza okukufuula ow’agezi okusobola okufuna obulokozi olw’okukkiriza okuli mu Kristo Yesu.” (2 Timoseewo 3:14, 15, NW) Omusingi gw’okukkiriza kwa Timoseewo, ogwandimuleetedde okwatula mu lwatu, gwali okumanya Ebyawandiikibwa. Ekyo kyali kimwetaagisa kusoma busomi kyokka? Nedda. Timoseewo yali yeetaaga obuyambi okusobola okufuna okumanya okutuufu n’okutegeera okw’eby’omwoyo okw’ebyo bye yali asoma. (Abakkolosaayi 1:9, NW) Bwe kityo Timoseewo “[y]asendebwasendebwa okukkiriza.” Okuva bwe yali ategedde Ebyawandiikibwa “okuva mu buto,” abaasooka okumuyigiriza bateekwa okuba nga baali maama we ne jjajja we, kubanga kirabika kitaawe teyali mukkiriza.—2 Timoseewo 1:5.
12 Kyokka, waaliwo ebirala ebyazingirwamu Timoseewo okusobola okufuuka omuweereza. Ekimu ku byo, okukkiriza kwe kwanywezebwa olw’okukuŋŋaanira awamu n’Abakristaayo ab’omu bibiina ebyali okumpi. Ekyo tukimanya tutya? Kubanga Pawulo lwe yasooka okusisinkana Timoseewo, omuvubuka ono omuto ab’oluganda mu Lusitula ne Ikonio baamwogerako ebintu ebirungi.’ (Ebikolwa 16:2, NW) Okugatta ku ekyo, mu nnaku ezo ab’oluganda abamu baawandiikiranga ebibiina amabaluwa okusobola okubinyweza. Era n’abalabirizi baabikyaliranga okusobola okubizzaamu amaanyi. Enteekateeka ng’ezo zaayamba Abakristaayo nga Timoseewo okukula mu by’omwoyo.—Ebikolwa 15:22-32; 1 Peetero 1:1.
13. Timoseewo yatongozebwa ddi ng’omuweereza, era lwaki wandigambye nti okukulaakulana kwe okw’eby’omwoyo tekwakoma awo?
13 Okusinziira ku kiragiro kya Yesu ekiri mu Matayo 28:19, 20, tusobola okuba abakakafu nti ekiseera kyatuuka okukkiriza kwa Timoseewo ne kumuleetera okukoppa Yesu era n’abatizibwa. (Matayo 3:15-17; Abaebbulaniya 10:5-9) Kano kaali kabonero akalaga okwewaayo kwa Timoseewo eri Katonda n’omutima gwe gwonna. Ku kubatizibwa kwe Timoseewo yafuuka omuweereza. Okuva ku olwo, obulamu bwe, amaanyi ge, na buli kyonna kye yalina kyali kya Katonda. Kino kyali kitundu kikulu eky’okusinza kwe, “obuweereza obutukuvu.” Kyokka, Timoseewo teyamatira na kubeera bubeezi omuweereza. Yeeyongera okukula mu by’omwoyo, n’afuuka omuweereza Omukristaayo akuze mu by’omwoyo. Kino kyabaawo kubanga Timoseewo yabeeranga wamu n’Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo nga Pawulo, olw’okwesomesa yekka, n’okubuulira n’obunyikivu.—1 Timoseewo 4:14; 2 Timoseewo 2:2; Abaebbulaniya 6:1.
14. Leero, omuntu “alina endowooza entuufu ekwata ku bulamu obutaggwaawo” ayinza atya okukulaakulana okutuuka okubeera omuweereza?
14 Leero, okutongozebwa olw’obuweereza obw’Ekikristaayo kufaanana bwe kutyo. Oyo aba “alina endowooza entuufu ekwata ku bulamu obutaggwaawo” ayambibwa okuyiga ebikwata ku Katonda n’ebigendererwa bye okuyitira mu kusoma Baibuli. (Ebikolwa 13:48, NW) Omuntu oyo ayiga okukozesa emisingi gya Baibuli mu bulamu bwe era n’okusaba Katonda ng’alina ekigendererwa. (Zabbuli 1:1-3; Engero 2:1-9; 1 Abasessaloniika 5:17, 18) Akuŋŋaana wamu ne bakkiriza banne abalala era n’akozesa enteekateeka zonna ezikolebwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Matayo 24:45-47; Engero 13:20; Abaebbulaniya 10:23-25) Bw’atyo, akulaakulana okuyitira mu nteekateeka y’eby’enjigiriza ekoleddwa.
15. Kiki ekibaawo omuntu bw’abatizibwa? (Laba n’obugambo obutono obuli wansi.)
15 Oluvannyuma, omuyizi wa Baibuli, ng’amaze okukulaakulanya okwagala eri Yakuwa Katonda n’okukkiriza okunywevu mu ssaddaaka y’ekinunulo, asalawo okwewaayo n’omutima gwe gwonna eri Kitaawe ow’omu ggulu. (Yokaana 14:1) Yeewaayo ng’ayitira mu kusaba olwo nno n’alyoka abatizibwa ng’akabonero akalaga mu lujjudde ekyo kye yakola mu kyama. Okubatizibwa kwe gwe mukolo ogw’okutongozebwa kwe kubanga ku olwo lw’amanyika ng’omuweereza, di·aʹko·nos, eyeewaddeyo ddala eri Katonda. Ateekwa okusigala nga yeeyawudde ku nsi. (Yokaana 17:16; Yakobo 4:4) Yeeweereddeyo ddala nga “ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda” awatali kulekayo kintu kyonna oba kakwakulizo konna. (Abaruumi 12:1)b Ye muweereza wa Katonda, akoppa Kristo.
Obuweereza obw’Ekikristaayo Kye Ki?
16. Obumu ku buvunaanyizibwa bwa Timoseewo ng’omuweereza bwali ki?
16 Obuweereza bwa Timoseewo bwali buzingiramu ki? Yalina emirimu egy’enjawulo nga munne wa Pawulo bwe baatambulanga. Ate bwe yafuuka omukadde, Timoseewo yakolanga n’amaanyi mu kuyigiriza n’okuzzaamu Bakristaayo banne amaanyi. Naye ekitundu ekikulu mu buweereza bwe, nga bwe kyali eri Yesu ne Pawulo, kyali okubuulira amawulire amalungi n’okufuula abayigirizwa. (Matayo 4:23; 1 Abakkolinso 3:5) Pawulo yagamba Timoseewo: “Naye ggwe tamiirukukanga mu byonna, bonaabonanga, kolanga omulimu ogw’omubuulizi w’enjiri, tuukirizanga okuweereza kwo.”—2 Timoseewo 4:5, italiki zaffe.
17, 18. (a) Abakristaayo beenyigira mu buweereza ki? (b) Omulimu ogw’okubuulira mukulu kwenkana wa eri omuweereza Omukristaayo?
17 Kye kimu eri abaweereza Abakristaayo leero. Beenyigira mu buweereza eri abantu bonna, omulimu ogw’okubuulira enjiri, nga balagirira abalala awali obulokozi okusinziira ku ssaddaaka ya Yesu era n’okuyigiriza abawombeefu okukoowoola erinnya lya Yakuwa. (Ebikolwa 2:21; 4:10-12; Abaruumi 10:13) Bawa obukakafu okuva mu Baibuli nti Obwakabaka lye ssuubi lyokka ery’abantu ababonaabona era bakiraga nti wadde ne kaakati ebintu biba birungi okusingawo singa tugoberera emisingi egiva eri Katonda. (Zabbuli 15:1-5; Makko 13:10) Kyokka omuweereza Omukristaayo tabuulira njiri ekwata ku bizibu by’abantu. Wabula, ayigiriza nti ‘okutya Katonda kuwa essuubi ery’obulamu obwa kaakano n’obwo obugenda okujja.’—1 Timoseewo 4:8.
18 Kituufu nti, abaweereza abasinga obungi balina engeri endala ez’okuweerezaamu, eziyinza okwawukana ku Bakristaayo abalala. Bangi balina obuvunaanyizibwa bw’amaka. (Abaefeso 5:21–6:4) Abakadde n’abaweereza balina emirimu mu kibiina. (1 Timoseewo 3:1, 12, 13; Tito 1:5; Abaebbulaniya 13:7) Abakristaayo bangi bayamba mu kuzimba Kingdom Hall ez’enjawulo. Abamu balina enkizo ey’ekitalo ennyo ey’okukola nga bannakyewa mu gamu ku maka ga Beseri aga Watch Tower Society. Kyokka, abaweereza Abakristaayo bonna beenyigira mu kubuulira amawulire amalungi. Tewaliwo n’omu atalina kukola mulimu ogwo. Okwenyigira mu mulimu guno kye kyawulawo omuntu yenna ng’omuweereza Omukristaayo ow’amazima.
Endowooza y’Omuweereza Omukristaayo
19, 20. Ndowooza ki abaweereza Abakristaayo gye bateekwa okukulaakulanya?
19 Abaweereza ba Kristendomu abasinga obungi basuubira okuweebwa ekitiibwa eky’enjawulo, era bafuna ebitiibwa nga “revulandi” ne “Faaza.” Kyokka, omuweereza Omukristaayo akimanyi nti Yakuwa yekka y’asaanidde okuweebwa ekitiibwa eky’enjawulo. (1 Timoseewo 2:9, 10) Tewali muweereza Mukristaayo n’omu asaanidde okufuna ekitiibwa ng’ekyo ekya waggulu ennyo oba eyeegomba ebitiibwa eby’enjawulo. (Matayo 23:8-12) Akimanyi nti amakulu agali mu kigambo di·a·ko·niʹa bwe “buweereza.” Ekigambo ekikwataganyizibwa nakyo emirundi egimu kikozesebwa mu Baibuli ku buweereza obumu omuntu bwe yenyigiramu, gamba nga okuweereza mu woteeri. (Lukka 4:39; 17:8; Yokaana 2:5) Wadde ng’enkozesa yaakyo ku bikwata ku buweereza obw’Ekikristaayo ya kitiibwa, di·aʹko·nos aba akyali muweereza.
20 N’olwekyo, tewali muweereza Mukristaayo n’omu alina ensonga okwetwala okuba omukulu ennyo. Abaweereza Abakristaayo ab’amazima—wadde abo abalina obuvunaanyizibwa obw’enjawulo mu kibiina—baddu abawombeefu. Yesu yagamba: “Buli ayagala okuba omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe: na buli ayagala okuba ow’olubereberye mu mmwe anaabanga muddu wammwe.” (Matayo 20:26, 27) Bwe yali alaga abayigirizwa be endowooza ennungi ey’okukulaakulanya, Yesu yabanaaza ebigere, ng’akola omulimu ogw’omuddu asingirayo ddala okuba owa wansi. (Yokaana 13:1-15) Nga bwali buweereza bwa bwetoowaze nnyo! N’olwekyo, abaweereza Abakristaayo n’obuwombeefu baweereza Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo. (2 Abakkolinso 6:4; 11:23) Balaga obuwombeefu nga baweerezaŋŋana. Ate bwe babuulira amawulire amalungi, awatali kwerowoozaako baweereza baliraanwa baabwe abatali bakkiriza.—Abaruumi 1:14, 15; Abaefeso 3:1-7.
Gumiikiriza mu Buweereza
21. Pawulo yaweebwa mpeera ki olw’okugumiikiriza mu buweereza?
21 Eri Pawulo, okubeera omuweereza kyali kyetaagisa obugumiikiriza. Yagamba Abakkolosaayi nti yabonaabona nnyo okusobola okubabuulira amawulire amalungi. (Abakkolosaayi 1:24, 25) Kyokka, olw’okuba yagumiikiriza, bangi bakkiriza amawulire amalungi era ne bafuuka abaweereza. Baazaalibwa ng’abaana ba Katonda era baganda ba Yesu Kristo, nga balina essuubi ery’okufuuka ebitonde eby’omwoyo ebiri awamu naye mu ggulu. Nga mpeera ya kitiibwa nnyo olw’okubeera abagumiikiriza!
22, 23. (a) Lwaki abaweereza Abakristaayo leero beetaaga obugumiikiriza? (b) Bibala ki eby’ekitalo ebiva mu bugumiikiriza obw’Ekikristaayo?
22 Obugumiikiriza bwetaagisa leero eri abaweereza ba Katonda ab’amazima. Bangi babonaabona n’endwadde buli lunaku oba obulumi obuleetebwa obukadde. Abazadde bakola n’amaanyi—bangi nga bali bwannamunigina—okukuza abaana baabwe. N’obuvumu, abaana ku ssomero baziyiza embeera embi ezibeetoolodde. Abakristaayo bangi boolekaganye n’ebizibu eby’enfuna. Era bangi babonaabona olw’okuyigganyizibwa oba boolekagana n’ebizibu olw’okubeera mu ‘biro eby’okulaba ennaku’! (2 Timoseewo 3:1) Yee, abaweereza ba Yakuwa kati abawerera ddala obukadde nga mukaaga basobola okwogera nga Pawulo nti: “Naye mu byonna nga twetendereza ng’abaweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi.” (2 Abakkolinso 6:4) Abaweereza Abakristaayo tebalekulira. Mazima ddala, balina okusiimibwa olw’obugumiikiriza bwabwe.
23 Kyokka era, nga bwe kyali eri Pawulo, obugumiikiriza buleeta ebibala eby’ekitalo. Bwe tugumiikiriza, tukuuma enkolagana yaffe ey’oku lusegere ne Yakuwa era ne tusanyusa omutima gwe. (Engero 27:11) Tunyweza okukkiriza kwaffe era ne tufuula abayigirizwa, oluganda lwaffe olw’Ekikristaayo ne lweyongera. (1 Timoseewo 4:16) Yakuwa ayambye abaweereza be era awadde omukisa obuweereza bwabwe mu nnaku zino ez’oluvanyuma. N’ekivuddemu, ensigalira ya 144,000 bakuŋŋanyiziddwa, era n’obukadde n’obukadde bw’abalala balina essuubi ery’okunyumirwa obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda olw’oku nsi. (Lukka 23:43; Okubikkulirwa 14:1) Mazima ddala, obuweereza obw’Ekikristaayo ngeri emu Yakuwa mw’alagira ekisa kye. (2 Abakkolinso 4:1) Ka ffenna tubutwale nga bwa muwendo era tubeere basanyufu nti ebibala byabwo bijja kubeerawo emirembe gyonna.—1 Yokaana 2:17.
[Obugambo obuli wansi]
a Ekigambo ky’Oluyonaani di·aʹko·nos ye nsibuko y’ekigambo “ddiikoni,” omukungu mu kkanisa. Mu makanisa abakazi mwe bayinza okubeera abadiikoni, bayinza okuyitibwa abadiikoni abakazi.
b Wadde nga Abaruumi 12:1 lukwata ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta, omusingi ogululimu era gukwata ne ku ‘ndiga endala.’ (Yokaana 10:16) Abo ‘beegatta ne Yakuwa okumuweerezanga n’okwagala erinnya lya Yakuwa, okuba abaddu be.’—Isaaya 56:6.
Osobola Okunnyonnyola?
• Buvunaanyizibwa ki Abakristaayo bonna ab’omu kyasa ekyasooka bwe baalina?
• Omuweereza Omukristaayo atongozebwa ddi era ani amutongoza?
• Ndowooza ki omuweereza Omukristaayo gy’asaanye okukulaakulanya?
• Lwaki omuweereza Omukristaayo asaanye okugumiikiriza ng’ayolekaganye n’ebizibu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Okubatizibwa kabonero akalaga okwewaayo eri Katonda era kwe kulaga okutongozebwa kw’omuntu ng’omuweereza
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 17]
Timoseewo yayigirizibwa Ekigambo kya Katonda okuva mu buto. Yafuuka omuweereza atongozeddwa bwe yabatizibwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Abaweereza Abakristaayo beetegefu okuweereza