2 Timoseewo
4 Nkukuutira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu aliramula+ abalamu n’abafu+ bw’alirabisibwa+ era bw’alijja mu Bwakabaka bwe:+ 2 Buuliranga ekigambo;+ kibuulire n’obunyiikivu mu biseera ebirungi ne mu biseera ebizibu; nenyanga,+ labulanga, buuliriranga, ng’olaga obugumiikiriza era ng’oyigiriza mu ngeri ennungi.+ 3 Kubanga ekiseera kijja abantu lwe bataligumiikiriza kuyigiriza okw’omuganyulo,+ naye nga bagoberera okwegomba kwabwe, balyekuŋŋaanyiza abayigiriza abalibabuulira ebyo bye baagala okuwulira.+ 4 Baligaana okuwuliriza amazima ne bawuliriza ebintu eby’obulimba. 5 Naye ggwe, beera ng’otegeera bulungi mu bintu byonna, gumira ebizibu,+ kola omulimu gw’omubuulizi w’enjiri,* tuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwo.+
6 Kaakano nfukibwa ng’ekiweebwayo eky’eby’okunywa,+ era ekiseera eky’okuteebwa kwange+ kinaatera okutuuka. 7 Nnwanye olutalo olulungi,+ embiro nzimalirizza,+ okukkiriza nkukuumye. 8 Okuva mu kiseera kino, nterekeddwa engule ey’obutuukirivu+ Mukama waffe omulamuzi omutuukirivu+ gy’alimpa ng’empeera ku lunaku luli,+ naye si nze nzekka wabula n’abo bonna abaagala okulabisibwa kwe.
9 Fuba nnyo okujja gye ndi mu bwangu. 10 Dema+ yandekawo olw’okuba yayagala ebintu by’ensi eno,* era yagenda Ssessalonika; Kulesuke yagenda Ggalatiya, ate Tito yagenda Dalumatiya. 11 Lukka yekka y’ali nange. Jjangu ne Makko kubanga wa mugaso nnyo gye ndi mu buweereza. 12 Naye Tukiko+ nnamutuma Efeso. 13 Bw’obanga ojja ondeeteranga ekyambalo kye nnaleka mu Tulowa ewa Kappo era oleetanga n’emizingo, naddala egy’amaliba.
14 Alekizanda omuweesi w’ekikomo yampisa bubi nnyo. Yakuwa* ajja kumusasula okusinziira ku bikolwa bye.+ 15 Naawe mwekuume kubanga yaziyiza nnyo obubaka bwaffe.
16 Mu kwewozaako kwange okwasooka tewali n’omu yali nange, bonna banjabulira—ekyo ka kireme kubavunaanibwa. 17 Naye Mukama waffe yali kumpi nange n’ampa amaanyi nsobole okubuulira mu bujjuvu amawulire amalungi, amawanga gonna gasobole okugawulira;+ era nnawonyezebwa okuva mu kamwa k’empologoma.+ 18 Mukama waffe ajja kumponya ebintu ebibi byonna era ajja kundokola antwale mu Bwakabaka bwe obw’omu ggulu.+ Aweebwe ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.
19 Nnamusiza Pulisika ne Akula+ awamu n’ab’ennyumba ya Onesifolo.+
20 Erasuto+ yasigala mu Kkolinso, naye Tulofiimo+ nnamuleka Mireeto nga mulwadde. 21 Fuba nnyo okujja ng’ekiseera eky’obutiti tekinnatuuka.
Ewubulo ne Pudene ne Liino ne Kulawudiya awamu n’ab’oluganda bonna bakulamusizza.
22 Mukama waffe abeere n’omwoyo gw’olaga. Ekisa kye eky’ensusso kibeere nammwe.