Danyeri
7 Mu mwaka ogwasooka ogw’obufuzi bwa Kabaka Berusazza+ owa Babulooni, Danyeri bwe yali yeebase ku kitanda kye,+ yaloota ekirooto era n’ayolesebwa. Awo n’awandiika bye yalaba mu kirooto ekyo;+ yawandiika kalonda yenna. 2 Danyeri yagamba nti:
“Nnatunuulira ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era laba! empewo ennya ez’eggulu zaali zisiikuula ennyanja ennene.+ 3 Awo ensolo ennene nnya+ ne ziva mu nnyanja, nga buli emu ya njawulo ku ginnaayo.
4 “Ensolo eyasooka yali efaanana ng’empologoma,+ era yalina ebiwaawaatiro ng’eby’empungu.+ Nnatunula okutuusa ebiwaawaatiro byayo lwe byakongolwako, era yasitulwa ku ttaka n’eyimirizibwa ku magulu abiri ng’omuntu, era n’eweebwa omutima gw’omuntu.
5 “Era laba! ensolo endala ey’okubiri yali efaanana ng’eddubu.+ Oludda lwayo olumu lwali luyimusiddwa, era embiriizi ssatu zaali mu kamwa kaayo, mu mannyo gaayo; yagambibwa nti, ‘Situka olye ennyama nnyingi.’+
6 “Oluvannyuma lw’ebyo nneeyongera okutunula, era laba! ensolo endala eyali efaanana ng’engo,+ naye nga ku mugongo gwayo kuliko ebiwaawaatiro bina ebyali ng’eby’ekinyonyi. Ensolo eyo yalina emitwe ena,+ era yaweebwa obuyinza okufuga.
7 “Oluvannyuma lw’ebyo nneeyongera okutunuulira ebyo bye nnali njolesebwa ekiro, ne ndaba ensolo ey’okuna; yali ya ntiisa nnyo, ng’erina amaanyi mangi nnyo, era ng’erina amannyo amanene ag’ekyuma. Yali erya, ng’ebetenta, era ebyasigalawo yabirinnyirira n’ebigere byayo.+ Yali ya njawulo ku nsolo ziri ezaasooka, era yalina amayembe kkumi. 8 Bwe nnali nkyalowooza ku mayembe ago, laba! ejjembe eddala ettono+ ne limera mu go, era amayembe asatu ku gali agaasooka ne gakuulibwa mu maaso gaalyo. Era ejjembe lino lyalina amaaso agalinga ag’omuntu n’akamwa akaali koogeza amalala.*+
9 “Nneeyongera okutunula okutuusa entebe ez’obwakabaka lwe zaateekebwawo, era Oyo Abaddewo Okuva Edda n’Edda+ n’atuula.+ Ebyambalo bye byali byeru ng’omuzira,+ era enviiri z’oku mutwe gwe zaali ng’ebyoya by’endiga ebitukula. Entebe ye yali nnimi za muliro; nnamuziga zaayo zaali muliro ogwaka.+ 10 Omugga ogw’omuliro gwali gukulukuta okuva mu maaso ge.+ Bamalayika lukumi emirundi lukumi baali bamuweereza, era bamalayika mutwalo emirundi mutwalo baali bayimiridde mu maaso ge.+ Awo Kkooti+ n’etuula era ebitabo ne bibikkulwa.
11 “Mu kiseera ekyo nneeyongera okutunula olw’ebigambo ebyoleka amalala* bye nnawulira ng’ejjembe lyogera;+ nnatunula okutuusa ensolo eyo lwe yattibwa, omubiri gwayo ne guzikirizibwa, era n’eweebwayo okwokebwa mu muliro. 12 Naye zo ensolo endala+ zaggibwako obufuzi bwazo, era obulamu bwazo ne bwongezebwayo okumala ekiseera n’ebiro.
13 “Nneeyongera okutunuulira ebyo bye nnali njolesebwa ekiro, ne ndaba oyo eyali afaanana ng’omwana w’omuntu+ ng’ajjira mu bire eby’eggulu; n’akkirizibwa okugenda awaali Oyo Abaddewo Okuva Edda n’Edda,+ ne bamutwala mu maaso ge. 14 N’aweebwa obufuzi,+ n’ekitiibwa,+ n’obwakabaka, abantu b’amawanga gonna n’ennimi zonna bamuweerezenga.+ Obufuzi bwe bwe bufuzi obw’emirembe n’emirembe obutalivaawo, era obwakabaka bwe tebulizikirizibwa.+
15 “Nze Danyeri, omutima gwange gweraliikirira, kubanga ebyo bye nnalaba mu kwolesebwa byantiisa.+ 16 Ne nsemberera omu ku abo abaali bayimiridde awo nsobole okumubuuza amakulu gennyini ag’ebintu ebyo. Yannyanukula era n’ambuulira amakulu g’ebintu ebyo.
17 “‘Ensolo ezo ennya ennene,+ be bakabaka bana abaliyimirira ku nsi.+ 18 Naye abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu wa Byonna+ baliweebwa obwakabaka,+ era buliba bwabwe+ emirembe n’emirembe, weewaawo, emirembe gyonna.’
19 “Ne njagala okumanya ebisingawo ku nsolo ey’okuna eyali ey’enjawulo ku ndala zonna, eyali ey’entiisa ennyo, ng’erina amannyo ag’ekyuma n’enjala ez’ekikomo, era eyali erya, ng’ebetenta, era ng’erinnyirira ebyasigalawo n’ebigere byayo.+ 20 Era ne njagala n’okumanya ebikwata ku mayembe ekkumi+ agaali ku mutwe gwayo, n’ejjembe eddala eryamera amayembe asatu ne gagwa mu maaso gaalyo,+ ejjembe eryalina amaaso n’akamwa akaali koogeza amalala* era eryali eddene okusinga amalala.
21 “Nneeyongera okutunula ng’ejjembe eryo lirwanyisa abatukuvu, era lyali libasinzizza amaanyi,+ 22 okutuusa Oyo Abaddewo Okuva Edda n’Edda+ lwe yajja, omusango ne gusalibwa era abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu wa Byonna+ ne bagusinga; ekiseera ekigereke ne kituuka abatukuvu okuweebwa obwakabaka.+
23 “Awo n’aŋŋamba nti, ‘Ensolo ey’okuna bwe bwakabaka obw’okuna obuliba mu nsi. Buliba bwa njawulo ku bwakabaka obulala bwonna; bulirya ensi yonna, buligirinnyirira, era buligibetenta.+ 24 Amayembe ekkumi, be bakabaka kkumi abaliva mu bwakabaka obwo; walibaawo kabaka omulala alibaddirira, era aliba wa njawulo ku baasooka, era aliweebuula bakabaka basatu.+ 25 Alyogera ebigambo ebibi ku Oyo Asingayo Okuba Waggulu,+ era abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu wa Byonna alibayigganya olutata. Alyagala okukyusa ebiseera n’etteeka, era baliweebwayo mu mukono gwe okumala ekiseera, n’ebiseera, n’ekitundu ky’ekiseera.*+ 26 Naye Kkooti yatuula, obufuzi bwe ne babumuggyako okusobola okumusaanyaawo n’okumuzikiririza ddala.+
27 “‘Obwakabaka n’obufuzi n’ekitiibwa ky’obwakabaka bwonna obuli wansi w’eggulu ne biweebwa abantu abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu wa Byonna.+ Obwakabaka bwabwe bwe bwakabaka obw’emirembe n’emirembe,+ era obufuzi bwonna bulibaweereza era bulibagondera.’
28 “Ebintu ebyo awo we byakoma. Naye nze Danyeri nnatya nnyo era ne mpeeruuka;* naye ebintu ebyo nnabikuumira mu mutima gwange.”