Okkiriza Katonda Okwogera Naawe Buli Lunaku?
MIRUNDI emeka gye weeraba mu ndabirwamu? Bangi ku ffe, ekyo tukikola buli lunaku—oboolyawo emirundi egiwerako. Lwaki? Kubanga tufaayo nnyo ku ndabika yaffe.
Okusoma Baibuli kuyinza okugeraageranyizibwa ku kweraba mu ndabirwamu. (Yakobo 1:23-25) Obubaka obuli mu Kigambo kya Katonda bulina amaanyi agasobola okutuyamba okumanya ekyo kye tuli. “Kiyingirira ddala n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo.” (Abebbulaniya 4:12) Mu ngeri endala, kyawula ekyo kye twoleka ku ngulu okuva ku ekyo kye tuli munda. Okufaananako endabirwamu, kitulaga we twetaaga okukola enkyukakyuka.
Baibuli tekoma kutulaga we twetaaga kukola nkyukakyuka kyokka, naye era etuyamba okumanya engeri y’okuzikolamu. Omutume Pawulo yagamba nti: “Buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda, era kigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kutereeza ebintu, ne mu kukangavvula mu butuukirivu.” (2 Timoseewo 3:16, 17) Weetegereze emiganyulo ena egiragiddwa mu kyawandiikibwa kino, ng’essatu ku gyo—okunenya, okutereeza ebintu, n’okukangavvula—gizingiramu okukola enkyukakyuka mu ndowooza ne mu nneeyisa yaffe. Bwe kiba nti twetaaga okweraba mu ndabirwamu buli lunaku okusobola okukakasa nti tulabika bulungi, tetwandisinzeewo nnyo okusoma Ekigambo kya Katonda obutayosa!
Ng’amaze okulonda Yoswa okukulembera eggwanga lya Isiraeri, Yakuwa Katonda yamugamba nti: “Ekitabo kino eky’amateeka tekiivenga mu kamwa ko, naye onookirowoozangamu emisana n’ekiro, olyoke weekuumenga okukola nga byonna bwe biri ebiwandiikiddwamu: kubanga bw’onootereezanga bw’otyo ekkubo lyo, era bw’onooweebwanga omukisa bw’otyo.” (Yoswa 1:8) Okusobola okufuna emikisa gya Katonda, Yoswa yalina okusomanga Ekigambo kya Katonda “emisana n’ekiro” obutayosa.
Zabbuli esooka nayo eraga emiganyulo egiri mu kusoma Baibuli obutayosa. Egamba nti: “Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw’ababi, newakubadde okuyimirira mu kkubo ly’abo abalina ebibi, newakubadde okutuula ku ntebe y’abanyooma. Naye amateeka ga Mukama ge gamusanyusa; era mu mateeka ge mw’alowooleza emisana n’ekiro. Naye alifaanana ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’ensulo ez’amazzi, ogubala emmere yaagwo mu ntuuko zaayo, era amalagala gaagwo tegawotoka; na buli ky’akola, akiweerwako omukisa.” (Zabbuli 1:1-3) Awatali kubuusabuusa, twagala okubeera ng’omuntu oyo.
Abantu bangi baagifuula mpisa yaabwe okusoma Baibuli buli lunaku. Omukristaayo omu bwe yabuuzibwa ensonga lwaki asoma Baibuli buli lunaku, yagamba nti: “Bwe kiba nti nsaba Katonda buli lunaku era nga musuubira okuwulira bye nsaba, lwaki nange si muwuliriza nga nsoma Ekigambo kye obutayosa? Bwe tuba twagala okubeera mikwano gye, lwaki twandikomye ku kusaba busabi kyokka?” Ekyo kye yayogera kituufu. Okusoma Baibuli kiringa kuwuliriza Katonda; kubanga bwe tukola bwe tutyo tufuna endowooza ye.
Engeri gy’Oyinza Okunywerera ku Nteekateeka y’Okusoma Baibuli Obutayosa
Oboolyawo wakola dda enteekateeka ey’okusoma Baibuli. Omaze okusoma Baibuli yonna okuva ku kitabo ekisooka okutuuka ku kisembayo? Eno y’engeri esingayo obulungi esobola okukuyamba okutegeera ebyo ebiri mu Baibuli. Wadde kiri kityo, abamu bagezezaako emirundi mingi okusoma Baibuli yonna, naye oluvannyuma wabaawo ekitaataaganya enteekateeka yaabwe ne balekera awo okugisoma. Naawe ekyo kyali kituuseeko? Kiki ky’oyinza okukola okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyo eky’okusoma Baibuli yonna? Lwaki togezaako okukolera ku magezi gano wammanga?
Kola Enteekateeka ey’Okusoma Baibuli Buli Lunaku. Funayo ekiseera buli lunaku ekinaakwanguyira okusomeramu Baibuli. Singa wabaawo ekikulemesa okusoma Baibuli mu kiseera ekyo kye walonda, oyinza okugisoma mu kiseera ekirala olunaku ne lutakuyitako nga tosomye Kigambo kya Katonda. Mu ngeri eno oba okoppa ekyokulabirako kya ab’e Beroya ab’edda. Baibuli eboogerako bw’eti: “Bakkiriza mangu ekigambo, era buli lunaku beekenneenyanga n’obwegendereza Ebyawandiikibwa okulaba obanga ebintu ebyo byali bituufu.”−Ebikolwa 17:11.
Beera n’Ekiruubirirwa. Ng’ekyokulabirako, bw’osoma esuula ssatu oba ttaano buli lunaku, ojja kusobola okusoma Baibuli yonna mu mwaka gumu. Ekipande ekiri ku mpapula eziddirira kiraga engeri gy’oyinza okukikolamu. Lwaki togezaako okugoberera programu eno? Wansi w’omutwe “Ennaku z’Omwezi,” wandiikawo olunaku lw’ojja okusomerako essuula eziweereddwa. Ate mu kasanduuko akaweereddwa, teeka akabonero ku ssuula z’oba omaze okusoma. Kino kijja kukuyamba okutegeera w’onaaba otuuse ng’osoma.
Bw’oba omaze okusoma Baibuli yonna, tolekera awo kugisoma. Oyinza okukozesa programu eyo yennyini okusoma Baibuli yonna buli mwaka, oboolyawo nga buli mulundi otandikira ku bitundu eby’enjawulo. Naye, bw’oba nga wandyagadde okusoma Baibuli yonna mpolampola, oyinza okufunayo ennaku bbiri oba ssatu n’osoma essuula eziweereddwa.
Buli lw’onoosoma Baibuli, ojja kumanya ebintu ebipya ebikwata ku bulamu bwo—oboolyawo by’obadde tomanyiddeko ddala. Lwaki kiri bwe kityo? “Embeera y’ensi eno ekyukakyuka,” era obulamu bwaffe n’embeera zaffe nabyo bikyukakyuka buli kiseera. (1 Abakkolinso 7:31) N’olwekyo, beera mumalirivu okweraba buli lunaku mu ndabirwamu y’Ekigambo kya Katonda, Baibuli. Mu ngeri eyo, ojja kuba mukakafu nti okkiriza Katonda okwogera naawe buli lunaku.—Zabbuli 16:8.
[Ekipande/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23-26]
1
Enteekateeka y’Okusoma Baibuli
EKY’OKUKOLA. Jjuzaamu Ennaku z’Omwezi z’osuubira okusomeramu essuula eziweereddwa. Teeka akabonero ku ssuula ezo z’oba omaze okusoma. Oyinza okusoma ebitabo bya Baibuli ng’obiva kumu oba ng’osinziira ku ngeri gye bisengekeddwamu wammanga. Bw’osoma essuula ezirina okusomebwa buli lunaku, ojja kusobola okusoma Baibuli yonna mu mwaka gumu.
◆ Soma essuula eziriko obubonero OBUMYUFU okusobola okutegeera engeri Katonda gye yakolaganangamu n’Abaisiraeri. [Meaning: relationship and interactions]
● Soma essuula eziriko obubonero obwa BBULU okusobola okutegeera engeri ekibiina Ekikristaayo gye kyagenda kikulaakulanamu.
2
MUSA BYE YAWANDIIKA
OLUNAKU ESSUULA □✔
/ OLUBEREBERYE 1-3 □
/ 4-7 □
/ 8-11 □
/ ◆ 12-15 □
/ ◆ 16-18 □
/ ◆ 19-22 □
/ ◆ 23-24 □
/ ◆ 25-27 □
/ ◆ 28-30 □
/ ◆ 31-32 □
/ ◆ 33-34 □
/ ◆ 35-37 □
/ ◆ 38-40 □
/ ◆ 41-42 □
/ ◆ 43-45 □
/ ◆ 46-48 □
/ ◆ 49-50 □
/ OKUVA ◆ 1-4 □
/ ◆ 5-7 □
/ ◆ 8-10 □
/ ◆ 11-13 □
/ ◆ 14-15 □
/ ◆ 16-18 □
/ ◆ 19-21 □
/ 22-25 □
/ 26-28 □
/ 29-30 □
/ ◆ 31-33 □
/ ◆ 34-35 □
/ 36-38 □
/ 39-40 □
/ EBY’ABALEEVI 1-4 □
/ 5-7 □
/ 8-10 □
/ 11-13 □
/ 14-15 □
/ 16-18 □
/ 19-21 □
/ 22-23 □
/ 24-25 □
/ 26-27 □
/ OKUBALA 1-3 □
/ 4-6 □
/ 7-9 □
/ ◆ 10-12 □
/ ◆ 13-15 □
/ ◆ 16-18 □
/ ◆ 19-21 □
/ ◆ 22-24 □
/ ◆ 25-27 □
/ 28-30 □
/ ◆ 31-32 □
/ ◆ 33-36 □
/ EKYAMATEEKA 1-2 □
/ ◆ 3-4 □
/ 5-7 □
/ 8-10 □
/ 11-13 □
3
/ 14-16 □
/ ◆ 17-19 □
/ 20-22 □
/ 23-26 □
/ 27-28 □
/ ◆ 29-31 □
/ ◆ 32 □
/ ◆ 33-34 □
ABAISRAERI BAYINGIRA MU NSI ENSUUBIZE
OLUNAKU ESSUULA □✔
/ YOSWA ◆ 1-4 □
/ ◆ 5-7 □
/ ◆ 8-9 □
/ ◆ 10-12 □
/ ◆ 13-15 □
/ ◆ 16-18 □
/ ◆ 19-21 □
/ ◆ 22-24 □
/ EKY’ABALAMUZI ◆ 1-2 □
/ ◆ 3-5 □
/ ◆ 6-7 □
/ ◆ 8-9 □
/ ◆ 10-11 □
/ ◆ 12-13 □
/ ◆ 14-16 □
/ ◆ 17-19 □
/ ◆ 20-21 □
/ LUUSI ◆ 1-4 □
BAKABAKA WE BAAFUGIRA ISIRAERI
OLUNAKU ESSUULA □✔
/ 1 SAMWIRI ◆ 1-2 □
/ ◆ 3-6 □
/ ◆ 7-9 □
/ ◆ 10-12 □
/ ◆ 13-14 □
/ ◆ 15-16 □
/ ◆ 17-18 □
/ ◆ 19-21 □
/ ◆ 22-24 □
/ ◆ 25-27 □
/ ◆ 28-31 □
/ 2 SAMWIRI ◆ 1-2 □
/ ◆ 3-5 □
/ ◆ 6-8 □
/ ◆ 9-12 □
/ ◆ 13-14 □
/ ◆ 15-16 □
/ ◆ 17-18 □
/ ◆ 19-20 □
/ ◆ 21-22 □
/ ◆ 23-24 □
/ 1 BASSEKABAKA ◆ 1-2 □
/ ◆ 3-5 □
/ ◆ 6-7 □
/ ◆ 8 □
/ ◆ 9-10 □
/ ◆ 11-12 □
4
/ 1 BASSEKABAKA ◆ 13-14 □
/ ◆ 15-17 □
/ ◆ 18-19 □
/ ◆ 20-21 □
/ ◆ 22 □
/ 2 BASSEKABAKA ◆ 1-3 □
/ ◆ 4-5 □
/ ◆ 6-8 □
/ ◆ 9-10 □
/ ◆ 11-13 □
/ ◆ 14-15 □
/ ◆ 16-17 □
/ ◆ 18-19 □
/ ◆ 20-22 □
/ ◆ 23-25 □
/ 1 EBYOMUMIREMBE 1-2 □
/ 3-5 □
/ 6-7 □
/ 8-10 □
/ 11-12 □
/ 13-15 □
/ 16-17 □
/ 18-20 □
/ 21-23 □
/ 24-26 □
/ 27-29 □
/ 2 EBYOMUMIREMBE 1-3 □
/ 4-6 □
/ 7-9 □
/ 10-14 □
/ 15-18 □
/ 19-22 □
/ 23-25 □
/ 26-28 □
/ 29-30 □
/ 31-33 □
/ 34-36 □
ABAYUDAAYA BAVA MU BUWAMBE
OLUNAKU ESSUULA □✔
/ EZERA ◆ 1-3 □
/ ◆ 4-7 □
/ ◆ 8-10 □
/ NEKKEMIYA ◆ 1-3 □
/ ◆ 4-6 □
/ ◆ 7-8 □
/ ◆ 9-10 □
/ ◆ 11-13 □
/ ESEZA ◆ 1-4 □
/ ◆ 5-10 □
MUSA BYE YAWANDIIKA
OLUNAKU ESSUULA □✔
/ YOBU 1-5 □
/ 6-9 □
/ 10-14 □
/ 15-18 □
/ 19-20 □
5
/ 21-24 □
/ 25-29 □
/ 30-31 □
/ 32-34 □
/ 35-38 □
/ 39-42 □
EBITABO BY’ENNYIMBA N’EBIGAMBO EBY’AMAGEZI
OLUNAKU ESSUULA □✔
/ ZABBULI 1-8 □
/ 9-16 □
/ 17-19 □
/ 20-25 □
/ 26-31 □
/ 32-35 □
/ 36-38 □
/ 39-42 □
/ 43-47 □
/ 48-52 □
/ 53-58 □
/ 59-64 □
/ 65-68 □
/ 69-72 □
/ 73-77 □
/ 78-79 □
/ 80-86 □
/ 87-90 □
/ 91-96 □
/ 97-103 □
/ 104-105 □
/ 106-108 □
/ 109-115 □
/ 116-119:63 □
/ 119:64-176 □
/ 120-129 □
/ 130-138 □
/ 139-144 □
/ 145-150 □
/ ENGERO 1-4 □
/ 5-8 □
/ 9-12 □
/ 13-16 □
/ 17-19 □
/ 20-22 □
/ 23-27 □
/ 28-31 □
/ OMUBUULIZI 1-4 □
/ 5-8 □
/ 9-12 □
/ OLUYIMBA 1-8 □
BANNABBI
OLUNAKU ESSUULA □✔
/ ISAAYA 1-4 □
/ 5-7 □
/ 8-10 □
6
/ ISAAYA 11-14 □
/ 15-19 □
/ 20-24 □
/ 25-28 □
/ 29-31 □
/ 32-35 □
/ 36-37 □
/ 38-40 □
/ 41-43 □
/ 44-47 □
/ 48-50 □
/ 51-55 □
/ 56-58 □
/ 59-62 □
/ 63-66 □
/ YEREMIYA 1-3 □
/ 4-5 □
/ 6-7 □
/ 8-10 □
/ 11-13 □
/ 14-16 □
/ 17-20 □
/ 21-23 □
/ 24-26 □
/ 27-29 □
/ 30-31 □
/ 32-33 □
/ 34-36 □
/ 37-39 □
/ 40-42 □
/ 43-44 □
/ 45-48 □
/ 49-50 □
/ 51-52 □
/ OKUKUNGUBAGA 1-2 □
/ 3-5 □
/ EZEEKYERI 1-3 □
/ 4-6 □
/ 7-9 □
/ 10-12 □
/ 13-15 □
/ 16 □
/ 17-18 □
/ 19-21 □
/ 22-23 □
/ 24-26 □
/ 27-28 □
/ 29-31 □
/ 32-33 □
/ 34-36 □
/ 37-38 □
/ 39-40 □
/ 41-43 □
/ 44-45 □
/ 46-48 □
/ DANYERI 1-2 □
/ 3-4 □
/ 5-7 □
/ 8-10 □
/ 11-12 □
7
/ KOSEYA 1-7 □
/ 8-14 □
/ YOWEERI 1-3 □
/ AMOSI 1-5 □
/ 6-9 □
/ MIKKA 1-7 □
/ ZEKKALIYA 1-7 □
/ 8-11 □
/ 12-14 □
/ MALAKI 1-4 □
EBIKWATA KU BULAMU BWA YESU N’OBUWEEREZA BWE
OLUNAKU ESSUULA □✔
/ MATAYO 1-4 □
/ 5-7 □
/ 8-10 □
/ 11-13 □
/ 14-17 □
/ 18-20 □
/ 21-23 □
/ 24-25 □
/ 26 □
/ 27-28 □
/ MAKKO ●1-3 □
/ ●4-5 □
/ ●6-8 □
/ ●9-10 □
/ ●11-13 □
/ ●14-16 □
/ LUKKA 1-2 □
/ 3-5 □
/ 6-7 □
/ 8-9 □
/ 10-11 □
/ 12-13 □
/ 14-17 □
/ 18-19 □
/ 20-22 □
/ 23-24 □
/ YOKAANA 1-3 □
/ 4-5 □
/ 6-7 □
/ 8-9 □
/ 10-12 □
/ 13-15 □
/ 16-18 □
/ 19-21 □
OKUKULAAKULANA KW’EKIBIINA EKIKRISTAAYO
OLUNAKU ESSUULA □✔
/ EBIKOLWA ● 1-3 □
/ ● 4-6 □
/ ● 7-8 □
/ ● 9-11 □
8
/ EBIKOLWA (cont.) ● 12-14 □
/ ● 15-16 □
/ ● 917-19 □
/ ● 20-21 □
/ ● 22-23 □
/ ● 24-26 □
/ ● 27-28 □
EBBALUWA ZA PAWULO
OLUNAKU ESSUULA □✔
/ ABARUUMI 1-3 □
/ 4-7 □
/ 8-11 □
/ 12-16 □
/ 1 ABAKKOLINSO 1-6 □
/ 7-10 □
/ 11-14 □
/ 15-16 □
/ 2 ABAKKOLINSO 1-6 □
/ 7-10 □
/ 11-13 □
/ ABAGGALATIYA 1-6 □
/ ABEEFESO 1-6 □
/ ABAFIRIPI 1-4 □
/ ABAKKOLOSAAYI 1-4 □
/ 1 ABASSESSALONIIKA 1-5 □
/ 2 ABASSESSALONIIKA 1-3 □
/ 1 TIMOSEEWO 1-6 □
/ 2 TIMOSEEWO 1-4 □
/ ABEBBULANIYA 1-6 □
/ 7-10 □
/ 11-13 □
ABATUME ABALALA N’ABAYIGIRIZWA BYE BAAWANDIIKA
OLUNAKU ESSUULA □✔
/ YAKOBO 1-5 □
/ 1 PEETERO 1-5 □
/ 2 PEETERO 1-3 □
/ 1 YOKAANA 1-5 □
/ 2 YOKAANA/3 YOKAANA/ YUDA □
/ OKUBIKKULIRWA 1-4 □
/ 5-9 □
/ 10-14 □
/ 15-18 □
/ 19-22 □
Ekisooka, salira awali obutonyeze
Eky’okubiri, gatta empapula zombi era ozizingeko
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]
Osobola okuwaayo ekiseera buli lunaku okusoma Baibuli?